LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 44
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Kiragulwa nti Abayudaaya bajja kufuna emitawaana mu Misiri (1-14)

      • Abantu tebakolera ku kulabula kwa Yakuwa (15-30)

        • “Nnaabakyala w’Eggulu” asinzibwa (17-19)

Yeremiya 44:1

Footnotes

  • *

    Oba, “Menfisi.”

Marginal References

  • +Yer 43:4, 7
  • +Ezk 29:10; 30:6
  • +Ezk 30:18
  • +Yer 46:14; Ezk 30:16
  • +Ezk 29:14; 30:14

Yeremiya 44:2

Marginal References

  • +2Sk 25:9, 10; Yer 39:8
  • +Kuk 1:1

Yeremiya 44:3

Marginal References

  • +Yer 11:17
  • +Ma 13:6-9; 32:17; Yer 19:4

Yeremiya 44:4

Footnotes

  • *

    Obut., “nga nkeera ne ntuma.”

Marginal References

  • +2By 36:15, 16; Is 65:2; Yer 7:24-26; 35:15

Yeremiya 44:5

Marginal References

  • +Yer 19:13

Yeremiya 44:6

Marginal References

  • +Is 6:11; Yer 39:8

Yeremiya 44:8

Marginal References

  • +1Sk 9:7; Yer 24:9; 42:18

Yeremiya 44:9

Marginal References

  • +2Sk 21:19, 20; 24:8, 9
  • +1Sk 11:1-3
  • +Yer 44:19

Yeremiya 44:10

Marginal References

  • +Yer 36:22-24
  • +Ma 6:1, 2

Yeremiya 44:12

Marginal References

  • +Ezk 30:13
  • +Yer 42:17, 18

Yeremiya 44:13

Marginal References

  • +Yer 21:9; 42:22; 43:11

Yeremiya 44:15

Marginal References

  • +Yer 43:4, 7
  • +Yer 44:1

Yeremiya 44:17

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 7:18.

Marginal References

  • +Yer 7:18

Yeremiya 44:18

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 7:18.

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1999, lup. 13-14

Yeremiya 44:19

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 7:18.

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2030

Yeremiya 44:21

Marginal References

  • +Yer 11:13; Ezk 16:24, 25

Yeremiya 44:22

Marginal References

  • +1Sk 9:8, 9; Kuk 2:15; Ezk 33:29

Yeremiya 44:23

Marginal References

  • +2By 36:15, 16; Dan 9:11

Yeremiya 44:25

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 7:18.

Marginal References

  • +Yer 7:18; 44:15, 17

Yeremiya 44:26

Marginal References

  • +Ezk 20:39
  • +Is 48:1, 2; Yer 5:2

Yeremiya 44:27

Marginal References

  • +Yer 1:10
  • +Yer 44:12

Yeremiya 44:28

Marginal References

  • +Lev 26:44; Is 27:13; Yer 44:14

Yeremiya 44:30

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +2Sk 25:7; Yer 34:21; 39:5

General

Yer. 44:1Yer 43:4, 7
Yer. 44:1Ezk 29:10; 30:6
Yer. 44:1Ezk 30:18
Yer. 44:1Yer 46:14; Ezk 30:16
Yer. 44:1Ezk 29:14; 30:14
Yer. 44:22Sk 25:9, 10; Yer 39:8
Yer. 44:2Kuk 1:1
Yer. 44:3Yer 11:17
Yer. 44:3Ma 13:6-9; 32:17; Yer 19:4
Yer. 44:42By 36:15, 16; Is 65:2; Yer 7:24-26; 35:15
Yer. 44:5Yer 19:13
Yer. 44:6Is 6:11; Yer 39:8
Yer. 44:81Sk 9:7; Yer 24:9; 42:18
Yer. 44:92Sk 21:19, 20; 24:8, 9
Yer. 44:91Sk 11:1-3
Yer. 44:9Yer 44:19
Yer. 44:10Yer 36:22-24
Yer. 44:10Ma 6:1, 2
Yer. 44:12Ezk 30:13
Yer. 44:12Yer 42:17, 18
Yer. 44:13Yer 21:9; 42:22; 43:11
Yer. 44:15Yer 43:4, 7
Yer. 44:15Yer 44:1
Yer. 44:17Yer 7:18
Yer. 44:21Yer 11:13; Ezk 16:24, 25
Yer. 44:221Sk 9:8, 9; Kuk 2:15; Ezk 33:29
Yer. 44:232By 36:15, 16; Dan 9:11
Yer. 44:25Yer 7:18; 44:15, 17
Yer. 44:26Ezk 20:39
Yer. 44:26Is 48:1, 2; Yer 5:2
Yer. 44:27Yer 1:10
Yer. 44:27Yer 44:12
Yer. 44:28Lev 26:44; Is 27:13; Yer 44:14
Yer. 44:302Sk 25:7; Yer 34:21; 39:5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 44:1-30

Yeremiya

44 Awo ekigambo ne kijjira Yeremiya eri Abayudaaya bonna abaali babeera mu nsi ya Misiri,+ mu Migudooli,+ Tapanesi,+ Noofu,*+ ne mu Pasuloosi,+ nga kigamba nti: 2 “Bw’ati Yakuwa Katonda ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Mulabye akabi konna ke ndeese ku Yerusaalemi+ ne ku bibuga by’omu Yuda byonna; leero bisigadde matongo, tebiriimu bantu.+ 3 Kiri bwe kityo olw’ebintu ebibi bye baakola okunsunguwaza bwe baagenda ne bawaayo ssaddaaka+ era bwe baaweereza bakatonda abalala bo bennyini be baali batamanyi, newakubadde mmwe wadde bajjajjammwe.+ 4 Nnabatumiranga abaweereza bange bannabbi, nga mbatuma enfunda n’enfunda,* babagambe nti: “Temukola kintu kino eky’omuzizo kye nkyawa.”+ 5 Naye ne batawuliriza, era ne batalekaayo bibi bye baali bakola eby’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala.+ 6 Obusungu bwange n’ekiruyi kyange kyebyava bifukibwa ne bibuubuukira ku bibuga bya Yuda ne ku nguudo za Yerusaalemi, ne bifuuka matongo ne bisigala awo bityo, nga bwe biri leero.’+

7 “Kale bw’ati Yakuwa Katonda w’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Lwaki mwereetako akabi, ne kiba nti buli musajja, buli mukazi, na buli mwana omuto n’omuwere, asaanawo mu Yuda, ne mutasigazaawo muntu? 8 Lwaki munnyiiza olw’ebyo bye mukola n’emikono gyammwe nga muwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala mu nsi ya Misiri gye mugenze okubeera? Mujja kuzikirira mufuuke ekintu kye banaajulizanga nga bakolima era ekivume mu mawanga gonna ag’oku nsi.+ 9 Mwerabidde ebintu ebibi bajjajjammwe, bakabaka ba Yuda,+ ne bakyala baabwe bye baakola,+ awamu n’ebintu ebibi mmwe ne bakyala bammwe bye mwakola+ mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? 10 N’okutuusa leero tebannaba kwetoowaza, tebalaze kutya,+ era tebatambulidde mu mateeka gange n’ebiragiro bye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe.’+

11 “Kale Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Laba mmaliridde okubatuusaako akabi, n’okuzikiriza Yuda yonna. 12 Nja kutwala aba Yuda abaasigalawo abaali bamaliridde okugenda mu nsi ya Misiri okubeera eyo, era bonna bajja kuzikirira mu nsi ya Misiri.+ Bajja kuttibwa n’ekitala era basaanewo olw’enjala; omugagga n’omwavu, omukulu n’omuto, bajja kufa ekitala n’enjala. Bajja kufuuka ekikolimo, ekintu eky’entiisa, ekikolimirwa, era ekivume.+ 13 Nja kubonereza abo ababeera mu nsi ya Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, nga nkozesa ekitala, enjala, n’endwadde.+ 14 Ate era aba Yuda abaasigalawo abaagenda okubeera mu nsi ya Misiri tebajja kusimattuka wadde okuwonawo baddeyo mu nsi ya Yuda. Bajja kwagala okuddayo babeere eyo, naye tebajja kuddayo, okuggyako abatono abanaawonawo.’”

15 Abasajja bonna abaali bamanyi nti bakazi baabwe bawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala ne bakazi baabwe bonna abaali bayimiridde awo, abaali ekibiina ekinene, n’abantu bonna abaali babeera mu nsi ya Misiri,+ mu Pasuloosi,+ ne baddamu Yeremiya nti: 16 “Tetujja kuwuliriza by’otugambye mu linnya lya Yakuwa. 17 Mu kifo ky’ekyo, tujja kukola ebyo byonna akamwa kaffe bye koogedde, okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri Nnaabakyala w’Eggulu,* nga bwe twakolanga ffe,+ ne bajjajjaffe, ne bakabaka baffe, n’abaami baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi bwe twalyanga emmere ne tukkuta, nga tuli bulungi, era nga tetutuukibwako kabi konna. 18 Okuva bwe twalekera awo okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri Nnaabakyala w’Eggulu,* tetukyalina kantu konna era tuzikiriziddwa ekitala n’enjala.”

19 Abakazi ne bongerako nti: “Bwe twabanga tuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri Nnaabakyala w’Eggulu,* abaami baffe si be baatukkirizanga okufumba obugaati obubumbiddwa mu kifaananyi kye obw’okuwaayo nga ssaddaaka, era n’okuwaayo gy’ali ebiweebwayo eby’eby’okunywa?”

20 Awo Yeremiya n’ayogera n’abantu bonna, nga muno mwe mwali abasajja ne bakazi baabwe n’abantu bonna abaali boogera naye, n’abagamba nti: 21 “Ssaddaaka ze mwawaayo mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi,+ mmwe, ne bajjajjammwe, ne bakabaka bammwe, n’abaami bammwe, n’abantu b’omu nsi—Yakuwa yazijjukira era n’azirowoozaako! 22 Yakuwa yatuuka n’aba nga takyasobola kugumiikiriza bikolwa byammwe ebibi n’eby’omuzizo bye mwali mukoze, ensi yammwe n’eryoka efuuka amatongo, ekintu eky’entiisa, era ekintu ekikolimirwa, nga tewali muntu agibeeramu, nga bwe kiri leero.+ 23 Akabi kano kabatuuseeko olw’okuba muwaddeyo ssaddaaka zino era olw’okuba mwonoona mu maaso ga Yakuwa ne mutagondera ddoboozi lya Yakuwa era ne mutagondera mateeka ge, ebiragiro bye, ne by’abajjukiza, nga bwe kiri leero.”+

24 Yeremiya yeeyongera n’agamba abantu bonna n’abakazi bonna nti: “Muwulire ekigambo kya Yakuwa, mmwe mmwenna aba Yuda abali mu nsi ya Misiri. 25 Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Ebyo mmwe ne bakazi bammwe bye mwayogera n’akamwa kammwe mubituukirizza n’emikono gyammwe, kubanga mwagamba nti: “Mazima ddala tujja kutuukiriza bye tweyama, okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri Nnaabakyala w’Eggulu.”*+ Mazima ddala mmwe abakazi mujja kutuukiriza bye mweyama, era mujja kukola bye mweyama.’

26 “Kale muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe mmwenna aba Yuda ababeera mu nsi ya Misiri: ‘“Laba ndayira mu linnya lyange ekkulu,” Yakuwa bw’agamba, “nti tewali muntu yenna owa Yuda+ mu nsi yonna eya Misiri aliddamu okukozesa erinnya lyange ng’alayira nti, ‘Nga Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’ali omulamu!’+ 27 Kaakano ndi bulindaala okubatuusaako akabi so si ekintu ekirungi;+ abantu bonna aba Yuda abali mu nsi ya Misiri bajja kuttibwa n’ekitala n’enjala, okutuusa lwe banaasaanawo.+ 28 Batono nnyo abanaawona ekitala era abanaava mu nsi ya Misiri ne baddayo mu nsi ya Yuda.+ Aba Yuda abaasigalawo ne bagenda mu nsi ya Misiri okubeera eyo balimanya obanga ebigambo ebyange bye bituukiridde, oba ebyabwe!”’”

29 “‘Era kano ke kabonero ke mbawa,’ Yakuwa bw’agamba, ‘nja kubabonereza mu nsi eno, mulyoke mukimanye nti ebigambo bye nnayogera nti nja kubatuusaako akabi bijja kutuukirira. 30 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba mpaayo Falaawo Kofera kabaka wa Misiri mu mukono gw’abalabe be n’abo abaagala okumutta nga bwe nnawaayo Kabaka Zeddeekiya owa Yuda mu mukono gwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, eyali omulabe we era eyali ayagala okumutta.”’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share