LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 47
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakobo agenda eri Falaawo (1-12)

      • Abantu baguza Yusufu ebyabwe byonna bafune emmere (13-26)

      • Abayisirayiri bakkalira e Goseni (27-31)

Olubereberye 47:1

Marginal References

  • +Lub 46:31
  • +Lub 45:10; Kuv 8:22

Olubereberye 47:2

Marginal References

  • +Bik 7:13

Olubereberye 47:3

Marginal References

  • +Lub 12:16; 26:12, 14; 31:17, 18; 46:33, 34

Olubereberye 47:4

Marginal References

  • +Lub 15:13; Ma 26:5; Zb 105:23; Bik 7:6
  • +Bik 7:11
  • +Lub 45:10

Olubereberye 47:6

Marginal References

  • +Lub 45:17, 18

Olubereberye 47:9

Footnotes

  • *

    Oba, “nga ndi mugwira.”

  • *

    Oba, “nga bagwira.”

Marginal References

  • +Yob 14:1, 2
  • +Lub 25:7; 35:28

Olubereberye 47:11

Marginal References

  • +Lub 45:10; Kuv 1:8, 11; 12:37; Kbl 33:3

Olubereberye 47:13

Marginal References

  • +Lub 41:30, 31

Olubereberye 47:14

Marginal References

  • +Lub 41:56; 44:25

Olubereberye 47:21

Marginal References

  • +Lub 41:48, 49

Olubereberye 47:22

Marginal References

  • +Lub 41:45

Olubereberye 47:24

Marginal References

  • +Lub 41:34

Olubereberye 47:25

Marginal References

  • +Lub 45:5; Bik 7:11
  • +Lub 47:19

Olubereberye 47:26

Marginal References

  • +Lub 47:22

Olubereberye 47:27

Marginal References

  • +Lub 47:4
  • +Kuv 1:7; Ma 10:22; Zb 105:24; Bik 7:17

Olubereberye 47:28

Marginal References

  • +Lub 47:9

Olubereberye 47:29

Marginal References

  • +Lub 49:33
  • +Lub 46:4; 50:13; Bik 7:15, 16

Olubereberye 47:30

Footnotes

  • *

    Obut., “ngalamiranga wamu ne bakitange.”

Marginal References

  • +Lub 25:9, 10; 49:29, 30

Olubereberye 47:31

Marginal References

  • +Lub 50:5
  • +Beb 11:21

General

Lub. 47:1Lub 46:31
Lub. 47:1Lub 45:10; Kuv 8:22
Lub. 47:2Bik 7:13
Lub. 47:3Lub 12:16; 26:12, 14; 31:17, 18; 46:33, 34
Lub. 47:4Lub 15:13; Ma 26:5; Zb 105:23; Bik 7:6
Lub. 47:4Bik 7:11
Lub. 47:4Lub 45:10
Lub. 47:6Lub 45:17, 18
Lub. 47:9Yob 14:1, 2
Lub. 47:9Lub 25:7; 35:28
Lub. 47:11Lub 45:10; Kuv 1:8, 11; 12:37; Kbl 33:3
Lub. 47:13Lub 41:30, 31
Lub. 47:14Lub 41:56; 44:25
Lub. 47:21Lub 41:48, 49
Lub. 47:22Lub 41:45
Lub. 47:24Lub 41:34
Lub. 47:25Lub 45:5; Bik 7:11
Lub. 47:25Lub 47:19
Lub. 47:26Lub 47:22
Lub. 47:27Lub 47:4
Lub. 47:27Kuv 1:7; Ma 10:22; Zb 105:24; Bik 7:17
Lub. 47:28Lub 47:9
Lub. 47:29Lub 49:33
Lub. 47:29Lub 46:4; 50:13; Bik 7:15, 16
Lub. 47:30Lub 25:9, 10; 49:29, 30
Lub. 47:31Lub 50:5
Lub. 47:31Beb 11:21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 47:1-31

Olubereberye

47 Awo Yusufu n’agenda n’agamba Falaawo+ nti: “Kitange ne baganda bange bazze okuva mu nsi ya Kanani n’ebisibo byabwe, n’amagana gaabwe, ne byonna bye balina, era bali mu kitundu ky’e Goseni.”+ 2 Ku baganda be n’atwalako abasajja bataano n’abanjula eri Falaawo.+

3 Falaawo n’abuuza baganda be nti: “Mukola mulimu ki?” Ne bamuddamu nti: “Abaweereza bo balunzi ba ndiga, era ne bajjajjaffe baali balunzi ba ndiga.”+ 4 Era ne bagamba Falaawo nti: “Tuzze okubeera mu nsi eno ng’abagwira,+ kubanga mu nsi ya Kanani enjala ya maanyi nnyo era teri muddo gwa bisibo by’abaweereza bo.+ Tukwegayiridde kkiriza abaweereza bo babeere mu kitundu ky’e Goseni.”+ 5 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Kitaawo ne baganda bo bazze eno gy’oli. 6 Ensi ya Misiri eri mu mikono gyo. Bateeke mu kitundu ekisinga obulungi mu nsi.+ Bateeke mu kitundu ky’e Goseni, era mu bo bw’oba omanyiimu abasajja abalina obusobozi, bawe ogw’okulabirira ebisolo byange.”

7 Awo Yusufu n’atwala Yakobo kitaawe n’amwanjula eri Falaawo era Yakobo n’ayagaliza Falaawo emikisa. 8 Falaawo n’abuuza Yakobo nti: “Olina emyaka emeka?” 9 Yakobo n’agamba Falaawo nti: “Emyaka gye mmaze nga mbundabunda* giri 130. Emyaka gy’obulamu bwange gibadde mitono era nga gya nnaku,+ era tegituuse myaka gya bulamu bwa bakitange gye baamala nga babundabunda.”*+ 10 Oluvannyuma lw’ebyo, Yakobo n’ayagaliza Falaawo emikisa era n’ava mu maaso ge.

11 Bw’atyo Yusufu n’asenza kitaawe ne baganda be mu nsi ya Misiri, n’abawa obutaka mu kitundu ekisinga obulungi mu nsi eyo, mu kitundu ky’e Lamusesi,+ nga Falaawo bwe yalagira. 12 Yusufu n’awanga kitaawe ne baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna emmere okusinziira ku bungi bw’abaana baabwe.

13 Tewaaliwo mmere mu nsi yonna olw’okuba enjala yali ya maanyi nnyo; abantu b’omu nsi ya Misiri n’ab’omu nsi ya Kanani ne banafuwa olw’enjala.+ 14 Yusufu n’akuŋŋaanya ssente zonna ezaali mu nsi ya Misiri ne mu nsi ya Kanani ezaavanga mu mmere abantu gye baagulanga,+ n’azitwala mu nnyumba ya Falaawo. 15 Ssente zaalwaddaaki ne ziggwaawo mu nsi ya Misiri ne mu nsi ya Kanani era Abamisiri bonna ne batandika okujja eri Yusufu nga bagamba nti: “Tuwe emmere! Lwaki tufiira mu maaso go olw’okuba ssente zituweddeko?” 16 Yusufu n’abagamba nti: “Ssente bwe ziba nga zibaweddeko, muleete ebisolo byammwe mbaweemu emmere.” 17 Ne batandika okuleetera Yusufu ebisolo byabwe; Yusufu n’abawanga emmere nga bo bamuwaamu embalaasi zaabwe, ebisibo byabwe, amagana gaabwe, n’endogoyi zaabwe; n’abawa emmere omwaka ogwo gwonna nga bo bamuwaamu ebisolo byabwe.

18 Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja gy’ali omwaka ogwaddirira ne bamugamba nti: “Tetujja kukukisa mukama waffe, ssente n’ebisolo twabikuwa. Tetusigazza kintu kyonna kya kuwa mukama waffe okuggyako emibiri gyaffe n’ettaka lyaffe. 19 Lwaki enjala etuttira mu maaso go ettaka lyaffe lisigalire awo? Tugule ffe n’ettaka lyaffe otuweemu emmere era tunaafuuka baddu ba Falaawo, n’ettaka lyaffe linaaba lirye; tuwe ensigo tube balamu tuleme okufa, n’ettaka lyaffe lireme kusigalira awo.” 20 Yusufu n’agulira Falaawo ettaka lyonna ery’Abamisiri, kubanga buli Mumisiri yatunda ettaka lye olw’okuba enjala yali ya maanyi nnyo; ettaka ne lifuuka lya Falaawo.

21 N’asengula abantu okuva mu bitundu byonna eby’e Misiri n’abazza mu bibuga.+ 22 Ettaka lya bakabona lyokka ly’ataagula,+ kubanga omugabo gwa bakabona ogw’emmere gwavanga wa Falaawo, era baalyanga ku mugabo gwabwe ogw’emmere Falaawo gwe yabawanga. Eyo ye nsonga lwaki bo tebaatunda ttaka lyabwe. 23 Yusufu n’agamba abantu nti: “Laba, leero ngulidde Falaawo ettaka lyammwe era nammwe mbaguze mube ba Falaawo. Kale ensigo ziizo ze munaasiga mu nnimiro. 24 Bwe zinaabala, Falaawo munaamuwaako kimu kya kutaano+ naye ebitundu ebina ebinaasigalawo bye binaaba ebyammwe eby’okusiga mu nnimiro n’okulya, mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe n’abaana bammwe abato.” 25 Awo ne bamugamba nti: “Owonyezza obulamu bwaffe.+ Ka tusiimibwe mu maaso ga mukama waffe, era tunaaba baddu ba Falaawo.”+ 26 Awo Yusufu n’ateeka etteeka erikyakola ne leero mu nsi yonna eya Misiri, Falaawo okuweebwanga kimu kya kutaano eky’amakungula. Ettaka lya bakabona lyokka lye litaafuuka lya Falaawo.+

27 Abayisirayiri ne beeyongera okubeera mu nsi ya Misiri mu kitundu ky’e Goseni,+ ne bakkalira ne bazaala ne baala nnyo.+ 28 Yakobo n’amala emyaka 17 mu nsi ya Misiri; bwe kityo emyaka Yakobo gye yawangaala gyali 147.+

29 Isirayiri bwe yakitegeera nti yali anaatera okufa,+ n’ayita mutabani we Yusufu n’amugamba nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange ondayirire nti ojja kundaga okwagala okutajjulukuka era obe mwesigwa gye ndi. Nkwegayiridde tonziikanga mu Misiri.+ 30 Bwe nfanga,* onzigyanga e Misiri n’onziika we baaziika bajjajjange.”+ Awo Yusufu n’agamba nti: “Nja kukola nga bw’ogambye.” 31 Yakobo n’amugamba nti: “Ndayirira.”+ N’amulayirira. Awo Isirayiri n’akyuka n’atunula emitwetwe n’avunnama.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share