Yeremiya
12 Ai Yakuwa, oli mutuukirivu.+
Bwe nkwemulugunyiza era bwe njogera naawe ku nsonga z’obwenkanya, oba mwenkanya.
Naye lwaki ababi bibagendera bulungi,+
Era lwaki ab’enkwe tebalina kibeeraliikiriza?
2 Wabasimba, era basimbye emirandira.
Bakuze ne babala ebibala.
Bakwogerako, naye mu birowoozo byabwe eby’omunda ennyo* bakuli wala.+
3 Naye nze ommanyi bulungi, Ai Yakuwa;+ ondaba.
Okebedde omutima gwange n’olaba nga gussa kimu naawe.+
Balondobemu ng’endiga ezigenda okuttibwa,
Obaawule obalinze olunaku olw’okuttibwa.
4 Ensi erituusa wa okukala
N’ebimera eby’oku ttale birituusa wa okuwotoka?+
Ensolo n’ebinyonyi bisaanyeewo
Olw’ebibi ababeera mu nsi bye bakola.
Bagambye nti: “Talaba kinaatutuukako.”
Wadde nga tolina ky’otya mu nsi ey’emirembe,
Onooba otya mu bisaalu ebiziyivu ku lubalama lwa Yoludaani?
6 Ne baganda bo bennyini ab’omu nnyumba ya kitaawo,
Bakuliddemu olukwe.+
Bakukolimidde.
Tobakkiriza,
Ne bwe bakugamba ebirungi.
7 “Ndeseewo ennyumba yange;+ njabulidde obusika bwange.+
Omwagalwa wange mmuwaddeyo mu mikono gy’abalabe be.+
8 Obusika bwange bunfuukidde empologoma mu kibira.
Ampulugumidde.
Kyenvudde mmukyawa.
9 Gye ndi, obusika bwange bulinga ekinyonyi ekirya ennyama ekya langi ennyingi;*
Ebinyonyi ebirala ebirya ennyama bikyetooloola ne bikirwanyisa.+
Mmwe ebisolo byonna eby’omu nsiko, mujje mukuŋŋaane,
Mujje mulye.+
Ekibanja kyange ekirungi bakifudde ddungu.
11 Kifuuse lukoola.
Ensi yonna bagifudde matongo,
Naye tewali afaayo.+
12 Abazikiriza bazze nga bayita mu bukubo obwakala obuli mu ddungu;
Ekitala kya Yakuwa kizikiriza abantu abali mu nsi eno yonna.+
Tewali n’omu ali mu mirembe.
13 Basize eŋŋaano, naye bakungudde maggwa.+
Bakoze nnyo ne beekooya, naye tebaganyuddwa.
Yakuwa abasunguwalidde nnyo era tajja kubaza birime byabwe
Balyoke baswale.”
14 Bw’ati Yakuwa bw’agamba baliraanwa bange bonna ababi, abakwata ku busika bwe nnawa abantu bange Isirayiri:+ “Laba ŋŋenda kubasimbula okuva mu nsi yaabwe,+ era nja kusimbula ennyumba ya Yuda okuva mu bo. 15 Naye oluvannyuma lw’okubasimbula, nja kubasaasira nate era buli omu mmuzzeeyo eri obusika bwe era mu nsi ye.”
16 “Era bwe banaayiga amakubo g’abantu bange era n’okulayira mu linnya lyange nti, ‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu!’ nga bwe baayigiriza abantu bange okulayira Bbaali, bajja kuweebwa ekifo mu bantu bange. 17 Naye eggwanga lyonna erinaagaana okuŋŋondera, nalyo nja kulisimbulira ddala ndizikirize,” Yakuwa bw’agamba.+