LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 39
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Googi n’eggye lye bazikirizibwa (1-10)

      • Baziikibwa mu Kiwonvu kya Kamoni-Googi (11-20)

      • Abayisirayiri ba kuzzibwayo mu nsi yaabwe (21-29)

        • Omwoyo gwa Katonda gufukibwa ku Isirayiri (29)

Ezeekyeri 39:1

Marginal References

  • +Ezk 38:2
  • +Ezk 27:13; 32:26

Ezeekyeri 39:2

Marginal References

  • +Ezk 38:4, 15

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 283

Ezeekyeri 39:4

Marginal References

  • +Ezk 38:21
  • +Kub 19:17, 18

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 182

Ezeekyeri 39:5

Marginal References

  • +Yer 25:33

Ezeekyeri 39:6

Marginal References

  • +Ezk 38:22

Ezeekyeri 39:7

Marginal References

  • +Ezk 38:16
  • +Is 6:3

Ezeekyeri 39:9

Footnotes

  • *

    Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.

Marginal References

  • +Zb 46:9

Ezeekyeri 39:11

Footnotes

  • *

    Oba, “Ekiwonvu ky’Eggye lya Googi.”

Marginal References

  • +Ezk 38:2
  • +Ezk 39:15

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 182

Ezeekyeri 39:12

Marginal References

  • +Ma 21:22, 23

Ezeekyeri 39:13

Marginal References

  • +Ezk 38:16

Ezeekyeri 39:15

Marginal References

  • +Ezk 39:11

Ezeekyeri 39:16

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Ebibinja.”

Marginal References

  • +Ezk 39:12

Ezeekyeri 39:17

Marginal References

  • +Is 34:6-8; Yer 46:10; Zef 1:7
  • +Kub 19:17, 18

Ezeekyeri 39:20

Marginal References

  • +Ezk 38:4-6; Kag 2:22; Kub 19:17, 18

Ezeekyeri 39:21

Footnotes

  • *

    Obut., “omukono.”

Marginal References

  • +Kuv 7:4; 14:4; Is 37:20; Ezk 38:16; Mal 1:11

Ezeekyeri 39:23

Marginal References

  • +2By 7:21, 22
  • +Ma 31:18; Is 59:2
  • +Lev 26:24, 25; Ma 32:30; Zb 106:40, 41

Ezeekyeri 39:25

Marginal References

  • +Yer 30:3; Ezk 34:13
  • +Kos 1:11; Zek 1:16
  • +Ezk 36:21

Ezeekyeri 39:26

Marginal References

  • +Dan 9:16
  • +Lev 26:5, 6

Ezeekyeri 39:27

Marginal References

  • +Yer 30:10; Am 9:14; Zef 3:20
  • +Is 5:16; Ezk 36:23

Ezeekyeri 39:28

Marginal References

  • +Ma 30:4

Ezeekyeri 39:29

Marginal References

  • +Is 45:17; 54:8; Yer 29:14
  • +Is 32:14, 15; Yow. 2:28

General

Ezk. 39:1Ezk 38:2
Ezk. 39:1Ezk 27:13; 32:26
Ezk. 39:2Ezk 38:4, 15
Ezk. 39:4Ezk 38:21
Ezk. 39:4Kub 19:17, 18
Ezk. 39:5Yer 25:33
Ezk. 39:6Ezk 38:22
Ezk. 39:7Ezk 38:16
Ezk. 39:7Is 6:3
Ezk. 39:9Zb 46:9
Ezk. 39:11Ezk 38:2
Ezk. 39:11Ezk 39:15
Ezk. 39:12Ma 21:22, 23
Ezk. 39:13Ezk 38:16
Ezk. 39:15Ezk 39:11
Ezk. 39:16Ezk 39:12
Ezk. 39:17Is 34:6-8; Yer 46:10; Zef 1:7
Ezk. 39:17Kub 19:17, 18
Ezk. 39:20Ezk 38:4-6; Kag 2:22; Kub 19:17, 18
Ezk. 39:21Kuv 7:4; 14:4; Is 37:20; Ezk 38:16; Mal 1:11
Ezk. 39:232By 7:21, 22
Ezk. 39:23Ma 31:18; Is 59:2
Ezk. 39:23Lev 26:24, 25; Ma 32:30; Zb 106:40, 41
Ezk. 39:25Yer 30:3; Ezk 34:13
Ezk. 39:25Kos 1:11; Zek 1:16
Ezk. 39:25Ezk 36:21
Ezk. 39:26Dan 9:16
Ezk. 39:26Lev 26:5, 6
Ezk. 39:27Yer 30:10; Am 9:14; Zef 3:20
Ezk. 39:27Is 5:16; Ezk 36:23
Ezk. 39:28Ma 30:4
Ezk. 39:29Is 45:17; 54:8; Yer 29:14
Ezk. 39:29Is 32:14, 15; Yow. 2:28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 39:1-29

Ezeekyeri

39 “Omwana w’omuntu, langirira ebinaatuuka ku Googi,+ omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ndi mulabe wo ggwe Googi, omwami akulira abaami b’e Meseki ne Tubali.+ 2 Ndikukyusa ne nkukulembera ne nkuleetera okuva mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala,+ ne nkutwala ku nsozi za Isirayiri. 3 Omutego oguli mu mukono gwo ogwa kkono ndigukuba ne gugwa, era ndikusuuza obusaale obuli mu mukono gwo ogwa ddyo. 4 Ggwe n’abasirikale bo bonna n’amawanga agaliba naawe, muligwa ku nsozi za Isirayiri.+ Ndibawaayo ne muliibwa ebinyonyi ebirya ennyama ebya buli ngeri n’ensolo ez’omu nsiko.”’+

5 “‘Muligwa ku ttale,+ kubanga nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

6 “‘Ndisindika omuliro ne gwokya Magoogi n’abo bonna abatudde entende mu bizinga,+ era balimanya nti nze Yakuwa. 7 Ndimanyisa abantu bange Abayisirayiri erinnya lyange ettukuvu, era siriddamu kuleka linnya lyange ttukuvu kuvumaganyizibwa; era amawanga galimanya nti nze Yakuwa,+ Omutukuvu mu Isirayiri.’+

8 “‘Laba! Kijja, era kirikolebwa,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Luno lwe lunaku lwe nnayogerako. 9 Abantu ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma, eby’okulwanyisa ne babikumisa omuliro: engabo entono* n’ennene, emitego n’obusaale, embuukuuli n’amafumu. Balibikumisa omuliro+ okumala emyaka musanvu. 10 Baliba tebeetaaga kutyaba nku ku ttale oba mu kibira, kubanga eby’okulwanyisa bye balikumisanga omuliro.’

“‘Era balinyaga abo abaabanyaganga, era baliggya ebintu ku abo abaabatwalangako ebyabwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

11 “‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi+ ekifo eky’okumuziikamu mu Isirayiri, mu kiwonvu ky’abo abagenda ebuvanjuba w’ennyanja, era kiriziba ekkubo ly’abo abayita mu kiwonvu. Eyo gye baliziika Googi n’eggye lye lyonna, era ekifo ekyo kiriyitibwa Ekiwonvu Kamoni-Googi.*+ 12 Ab’ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okulongoosa ensi.+ 13 Abantu bonna mu nsi eyo balyetaba mu mulimu gw’okubaziika, era ekyo kiribaleetera ettutumu ku lunaku lwe ndyegulumiza,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

14 “‘Abantu baliweebwa omulimu ogw’okuyitaayita mu nsi buli kiseera okuziika emirambo egiriba gikyali kungulu, basobole okulongoosa ensi. Balyeyongera okunoonya okumala emyezi musanvu. 15 Abo abaliyitaayita mu nsi bwe baliraba awali eggumba ly’omuntu, balissaawo akabonero. Oluvannyuma abo abaaweebwa omulimu gw’okuziika, baliziika eggumba eryo mu Kiwonvu Kamoni-Googi.+ 16 Era eyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona.* Era balirongoosa ensi.’+

17 “Kale omwana w’omuntu, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Gamba ebinyonyi ebya buli ngeri n’ensolo zonna ez’omu nsiko nti: “Mukuŋŋaane mujje. Mukuŋŋaanire awali ssaddaaka yange gye mbategekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri.+ Mujja kulya ennyama era munywe omusaayi.+ 18 Mujja kulya ennyama y’ab’amaanyi, era munywe omusaayi gw’abaami b’ensi—endiga ennume, endiga ento, embuzi, n’ente ennume—ensolo zonna eza ssava ez’omu Basani. 19 Mujja kulya amasavu era munywe omusaayi okutuusa lwe munaatamiira ssaddaaka gye mbategekedde.”’

20 “‘Mujja kuliira ku mmeeza yange mukkute embalaasi n’abavuzi b’amagaali, ab’amaanyi n’abalwanyi aba buli ngeri,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

21 “‘Ndyolesa ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba omusango gwe nsaze, n’amaanyi ge* njolesezza mu go.+ 22 Okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo, ab’ennyumba ya Isirayiri balimanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe. 23 Amawanga galimanya nti ab’ennyumba ya Isirayiri baatwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ensobi zaabwe n’olw’obutaba beesigwa gye ndi.+ Kyennava mbeekweka+ ne mbawaayo eri abalabe baabwe,+ bonna ne battibwa n’ekitala. 24 Nnababonereza okusinziira ku butali bulongoofu bwabwe n’ebibi byabwe, era nnabeekweka.’

25 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ndikomyawo aba Yakobo+ abaawambibwa era ndisaasira ab’ennyumba ya Isirayiri yonna;+ era erinnya lyange ettukuvu ndirirwanirira n’obunyiikivu.+ 26 Bwe balimala okufeebezebwa olw’obutaba beesigwa gye ndi,+ balitebenkera mu nsi yaabwe, nga tewali n’omu abatiisa.+ 27 Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi z’abalabe baabwe,+ ndyetukuza mu bo ng’amawanga mangi galaba.’+

28 “‘Kale balimanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe, bwe ndibawaŋŋangusiza mu mawanga, ate oluvannyuma ne mbakuŋŋaanya ne mbakomyawo mu nsi yaabwe, awatali kulekayo n’omu.+ 29 Siriddamu kubeekweka,+ kubanga ndifuka omwoyo gwange ku nnyumba ya Isirayiri,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share