LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Ssebutemba lup. 8
  • By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Yigiriza mu Ngeri Ennyangu
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Ekitundu 2—Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Ssaayo Omwoyo ku ‘Kuyigiriza’ Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Ssebutemba lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli

Printed Edition
Ow’oluganda ayogera nnyo ng’ayigiriza omuyizi we

Okwogera Ennyo: Tosaanidde kulowooza nti olina okunnyonnyola buli kimu. Yesu yakozesanga ebibuuzo okuyamba abantu okulowooza n’okutegeera ekituufu. (Mat 17:24-27) Okukozesa ebibuuzo kiyamba omuyizi okuwa endowooza ye era naawe kikuyamba okumanya obanga by’ayiga abitegeera era abikkiriza. (be 253 ¶3-4) Bw’obuuza ekibuuzo, mugumiikirize akuddemu. Omuyizi bw’addamu ekikyamu, tomubuulira kifuutu, wabula kozesa ebibuuzo ebirala ebinaamuyamba okufuna eky’okuddamu ekituufu. (be 238 ¶1-2) Yogera mpolampola omuyizi asobole okutegeera ebintu ebipya by’omuyigiriza.​—be 230 ¶4.

Awa kalonda mungi akwata ku nsonga lwaki abantu bakaddiwa era ne bafa

Okukalubya Ebintu: Weewale okumubuulira buli kimu ky’omanyi ku nsonga gye mwogerako. (Yok 16:12) Essira lisse ku nsonga enkulu eri mu katundu. (be 226-227 ¶4-5) Ebintu ebitakwatagana na nsonga gye muliko, ne bwe biba nga binyuma, biyinza okubuutikira ensonga enkulu. (be 235 ¶3) Omuyizi bw’aba ng’ategedde ensonga enkulu, mugende ku katundu akaddako.

Ow’oluganda ayogera nnyo ng’ayigiriza omuyizi we

Okusoma Obusomi Obutundu: Ekigendererwa kyaffe si kumalako bumazi katabo, wabula kutuuka ku mutima gw’omuyizi. (Luk 24:32) Kozesa Ekigambo kya Katonda kubanga kya maanyi, era essira lisse ku byawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu. (2Ko 10:4; Beb 4:12; be 144 ¶1-3) Kozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera. (be 245 ¶2-4) Lowooza ku bizibu omuyizi by’ayolekagana nabyo awamu n’enzikiriza ze, era by’omuyigiriza obituukaganye n’embeera ye. Mubuuze ebibuuzo nga bino: “Olowooza ki ku bino by’oyize?” “Kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa?” “Onooganyulwa otya bw’onookissa mu nkola?”​—be 238 ¶3-5; 259 ¶1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share