Eby’Abaleevi
13 Yakuwa era n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti: 2 “Omuntu bw’afunanga ekizimba, oba bw’abanga n’ekikakampa, oba ekiba ku lususu,* nga kiyinza okufuuka endwadde y’ebigenge*+ ku lususu, anaatwalibwanga eri Alooni kabona oba eri omu ku batabani be bakabona.+ 3 Kabona anaakeberanga ekirwadde ekiri ku lususu. Obwoya obuli awalwadde bwe bunaabanga bufuuse bweru era nga n’ekirwadde kirabika kiyingidde nnyo mu lususu, eyo ndwadde ya bigenge. Kabona anaabikeberanga, era anaamulangiriranga nti si mulongoofu. 4 Naye ekiba ekiri ku lususu lwe bwe kiba ekyeru era nga kirabika tekiyingidde nnyo mu lususu era nga n’obwoya obuli awali ekiba tebufuuse bweru, kabona anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku musanvu.+ 5 Kabona anaamukeberanga ku lunaku olw’omusanvu, era bwe kinaalabikanga nti ekirwadde tekyeyongedde, era nga tekibunye ku lususu, kabona era anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku endala musanvu.
6 “Kabona anaddangamu n’amukebera ku lunaku olw’omusanvu, era ekirwadde bwe kinaabanga tekikyalabika nnyo era nga tekibunye ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu;+ kyali kikakampa bukakampa. Omuntu oyo anaayozanga ebyambalo bye n’aba mulongoofu. 7 Naye ekikakampa* bwe kibunanga ku lususu lwe oluvannyuma lw’okulabika mu maaso ga kabona okulangirirwa nti mulongoofu, anaddangayo* eri kabona. 8 Kabona anaakikeberanga, era ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebyo bigenge.+
9 “Omuntu bw’anaakwatibwanga endwadde y’ebigenge, anaatwalibwanga eri kabona, 10 era kabona anaamukeberanga.+ Bw’anaabanga n’ekizimba ku lususu nga kyeru, era nga kireetedde n’obwoya obuliwo okufuuka obweru era nga waliwo n’ebbwa,+ 11 ebyo bigenge ebitawona ebiri ku lususu, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Tamwawulanga ku bantu balala,+ kubanga si mulongoofu. 12 Singa ebigenge biyiwa ku lususu lw’omuntu lwonna, ne bibuna ku lususu lwe lwonna okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, kabona w’asobola okulaba, 13 era nga kabona amukebedde n’alaba ng’ebigenge bibunye ku lususu lwe lwonna, anaalangiriranga nti omuntu oyo mulongoofu.* Olususu lwe lwonna lufuuse lweru, mulongoofu. 14 Naye ebbwa bwe linaalabikanga ku lususu lwe, taabenga mulongoofu. 15 Kabona bw’anaalabanga ebbwa eryo, anaamulangiriranga nti si mulongoofu.+ Ebbwa eryo si lirongoofu. Ebyo bigenge.+ 16 Naye singa ebbwa liddamu ne lifuuka lyeru, anaagendanga eri kabona. 17 Kabona anaamukeberanga,+ era singa awali ekirwadde waba wafuuse weeru, kabona anaamulangirira nti mulongoofu. Omuntu oyo mulongoofu.
18 “Omuntu bw’afunanga ejjute ku lususu, ejjute eryo ne liwona, 19 naye mu kifo awabadde ejjute ne wajjawo ekizimba ekyeru oba ekiba ekimyukirivu, anaagendanga eri kabona. 20 Kabona anaakikeberanga,+ era bwe kirabikanga nga kiyingidde nnyo mu lususu era nga n’obwoya obuliwo bufuuse bweru, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ndwadde ya bigenge efulumidde awabadde ejjute. 21 Naye kabona bw’anaakikeberanga n’alaba nga tewaliiwo bwoya bweru era nga tekiyingidde nnyo mu lususu era nga tekikyalabika nnyo, kabona anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku musanvu.+ 22 Naye bwe kibanga kibunye ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebyo bigenge. 23 Naye ekiba bwe kibanga kikyali mu kifo kimu era nga tekyeyongeddeeko, ejjute lye linaabanga lireetedde olususu okulunguula, era kabona anaalangiriranga nti mulongoofu.+
24 “Oba omuntu bw’abanga n’enkovu ey’omuliro ku lususu, awo awali enkovu ne wajjawo ekiba ekimyukirivu oba ekyeru, 25 kabona anaakikeberanga. Obwoya obuli awali ekiba bwe bubanga bufuuse bweru era nga kirabika kiyingidde nnyo mu lususu, ebyo bigenge ebifulumidde mu nkovu, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ndwadde ya bigenge. 26 Naye kabona bw’anaakikeberanga, n’alaba ng’awali ekiba tewaliiwo bwoya bweru era nga tekiyingidde nnyo mu lususu era nga tekirabika nnyo, kabona anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku musanvu.+ 27 Kabona anaamukeberanga ku lunaku olw’omusanvu, era bwe kibanga kibunye ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ndwadde ya bigenge. 28 Naye ekiba bwe kibanga tekikyuseeko era nga tekibunye ku lususu era nga tekikyalabika nnyo, eba nkovu nga y’ezimbye, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo eba nkovu nga y’ezimbye.
29 “Omusajja oba omukazi bw’afunanga ekirwadde ku mutwe oba ku kalevu, 30 kabona anaakeberanga ekirwadde ekyo.+ Bwe kirabikanga nga kiyingidde nnyo mu lususu, era nga n’enviiri* za kyenvu era nga za ntalaga, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ekyo kirwadde eky’oku mutwe oba eky’oku kalevu. Ebyo bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu. 31 Naye kabona bw’alabanga ng’ekirwadde kirabika tekiyingidde nnyo mu lususu era nga we kiri tewaliiwo nviiri nzirugavu, omuntu alina ekirwadde ekyo kabona anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku musanvu.+ 32 Kabona anaakeberanga ekirwadde ekyo ku lunaku olw’omusanvu; era ekirwadde bwe kibanga tekibunye, era nga we kiri tewaliiwo nviiri za kyenvu, era ng’ekirwadde ekyo kirabika tekiyingidde nnyo mu lususu, 33 anaamwebwangako enviiri, naye ezo eziri awali ekirwadde tezimwebwangako. Omuntu alina ekirwadde ekyo kabona anaamwawulanga ku bantu abalala okumala ennaku musanvu.
34 “Kabona anaddangamu okukebera awali ekirwadde ekyo ku lunaku olw’omusanvu, era ekirwadde eky’oku mutwe ne ku kirevu bwe kibanga tekibunye ku lususu, era nga kirabika tekiyingidde nnyo mu lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, era anaayozanga ebyambalo bye n’aba mulongoofu. 35 Naye ekirwadde ekyo bwe kibunanga ku lususu oluvannyuma lw’okulangirirwa nti mulongoofu, 36 kabona anaamukeberanga, era ekirwadde ekyo bwe kibanga kibunye ku lususu, kabona tekiimwetaagisenga kukebera obanga enviiri zifuuse za kyenvu; omuntu oyo si mulongoofu. 37 Naye bw’akeberebwanga ne balaba ng’ekirwadde ekyo tekyeyongedde era nga we kibadde wamezeewo enviiri enzirugavu, ekirwadde ekyo kiba kiwonye. Mulongoofu, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.+
38 “Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’ebiba ebyeru ku lususu,* 39 kabona anaamukeberanga.+ Ebiba ebiri ku lususu bwe binaabanga bisiiwuukiridde, ekyo kirwadde ekitali kya mutawaana ekiyiye ku lususu. Omuntu oyo mulongoofu.
40 “Omusajja bw’akuunyuukanga enviiri ku mutwe gwe n’afuna ekiwalaata, anaabanga mulongoofu. 41 Bw’akuunyuukanga enviiri ez’omu kawompo ne wajjawo ekiwalaata, anaabanga mulongoofu. 42 Naye ku mutwe awali ekiwalaata oba ku kyenyi bwe wajjangawo ebbwa erimyukirivu, ebyo biba bigenge ebiyiye ku mutwe oba ku kyenyi. 43 Kabona anaamukeberanga, era singa ku kyenyi oba ku mutwe awali ekiwalaata waba wazimbye olw’ekirwadde, nga wamyukirivu, era ng’olususu lulinga oluliko endwadde y’ebigenge, 44 aba mugenge. Si mulongoofu, era kabona anaamulangirira nti si mulongoofu olw’endwadde eri ku mutwe gwe. 45 Omuntu alina endwadde y’ebigenge engoye ze zinaabanga njulifuyulifu, taafenga ku nviiri ze, era anaabikkanga ku mimwa gye;* era anaayogereranga waggulu nti, ‘Siri mulongoofu, siri mulongoofu!’ 46 Ekiseera kyonna ky’anaamala ng’alina endwadde eyo, tajja kuba mulongoofu. Olw’okuba si mulongoofu, anaabeeranga yekka. Anaabeeranga wabweru w’olusiisira.+
47 “Endwadde y’ebigenge bw’ebeeranga ku kyambalo, ka kibe eky’ebyoya by’endiga oba ekya kitaani, 48 oba mu wuzi z’olugoye oluluke olwa kitaani oba olw’ebyoya by’endiga, oba ku ddiba oba ku kintu kyonna ekyakolebwa mu ddiba, 49 era ebbala erya kacungwa oba erimyukirivu ery’ekirwadde ne liba ku kyambalo oba ku ddiba oba mu wuzi ez’olugoye oluluke oba ku kintu kyonna eky’eddiba, ekyo kinaabanga kivudde ku ndwadde ya bigenge, era kirina okulagibwa kabona. 50 Kabona anaakeberanga ekintu ekiriko endwadde eyo, era anaakyawulanga ku bintu ebirala okumala ennaku musanvu.+ 51 Bw’anaakeberanga endwadde eyo ku lunaku olw’omusanvu, n’alaba ng’ebunye ku kyambalo, oba mu wuzi ez’olugoye oluluke, oba ku ddiba (ka libe nga likozesebwa litya), eba ndwadde ya bigenge ekwata, era ekintu ekiriko endwadde eyo tekiba kirongoofu.+ 52 Anaayokyanga ekyambalo oba olugoye olwalukibwa mu byoya by’endiga oba mu wuzi eza kitaani, oba ekintu kyonna eky’eddiba ekiriko endwadde eyo, kubanga ebyo bigenge ebikwata. Kirina okwokebwa omuliro.
53 “Naye kabona bw’anaakikeberanga n’alaba ng’endwadde tebunye ku kyambalo oba mu wuzi z’olugoye oluluke oba ku kintu kyonna eky’eddiba, 54 kabona anaalagiranga ne bakyoza, era anaakyawulanga ku bintu ebirala okumala ennaku endala musanvu. 55 Kabona anaakeberanga ekintu ekyo nga kimaze okwozebwa obulungi. Awali endwadde eyo bwe wabanga tewakyuseeko, ekintu ekyo tekiibenga kirongoofu wadde ng’endwadde eneebanga tebunye. Onookyokyanga omuliro kubanga endwadde eneebanga ekiridde ng’eva munda oba kungulu.
56 “Naye kabona bw’anaakikeberanga, n’alaba ng’awali endwadde tewakyalabika nnyo oluvannyuma lw’okwozebwa obulungi, ekitundu ekiriko endwadde eyo anaakiyuzanga ku kyambalo oba ku ddiba oba ku lugoye oluluke. 57 Kyokka, endwadde eyo bw’ebanga ekyalabika awalala ku kyambalo oba mu wuzi z’olugoye oluluke, oba ku kintu kyonna eky’eddiba, endwadde eyo eba esaasaana, era onooyokyanga mu muliro ekintu kyonna ekiriko endwadde eyo.+ 58 Naye endwadde bw’ebanga tekyalabika ku kyambalo oba mu wuzi z’olugoye oluluke oba ku kintu kyonna eky’eddiba ky’oba oyozezza, onookyozanga omulundi ogw’okubiri, era kinaabanga kirongoofu.
59 “Eryo lye tteeka erikwata ku ndwadde y’ebigenge eneebanga ku kyambalo eky’ebyoya by’endiga oba ekya kitaani, oba mu wuzi z’olugoye oluluke, oba ku kintu kyonna eky’eddiba, kabona okusobola okukirangirira nti kirongoofu oba nti si kirongoofu.”