LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • nwt Yobu 1:1-42:17
  • Yobu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yobu
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yobu

YOBU

1 Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi eyali ayitibwa Yobu.*+ Yali musajja mwesigwa era nga mugolokofu;*+ yali atya Katonda, era nga yeewala okukola ebibi.+ 2 Yalina abaana ab’obulenzi musanvu n’ab’obuwala basatu. 3 Yalina endiga 7,000, eŋŋamira 3,000, ente 1,000,* endogoyi* 500, n’abaweereza bangi nnyo, era ye yali asinga ekitiibwa mu bantu bonna ab’Ebuvanjuba.

4 Batabani be baakolanga embaga buli omu mu nnyumba ye era ku lunaku lwe.* Baayitanga bannyinaabwe abasatu okunywa n’okuliira awamu nabo. 5 Ennaku z’embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga abatukuze. Yagolokokanga ku makya n’aweerayo buli omu ku bo ebiweebwayo ebyokebwa,+ kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baayonoonye, ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Bw’atyo Yobu bwe yakolanga.+

6 Awo olunaku ne lutuuka, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani+ naye n’agendera mu bo.+

7 Yakuwa n’abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n’okugitambulatambulamu.”+ 8 Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Olowoozezza* ku muweereza wange Yobu? Tewali alinga ye mu nsi. Musajja mwesigwa era mugolokofu,*+ atya Katonda, era yeewala ebibi.” 9 Awo Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Yobu atiira bwereere Katonda?+ 10 Tomutaddeeko lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye,+ ne byonna by’alina? Omulimu gw’emikono gye oguwadde omukisa,+ era n’ebisolo bye byaze mu nsi. 11 Kale golola omukono gwo omuggyeko byonna by’alina, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.” 12 Awo Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Byonna by’alina biri mu mukono gwo.* Kyokka ye tomukwatako!” Awo Sitaani n’ava mu maaso ga Yakuwa.+

13 Awo ku lunaku batabani be ne bawala be lwe baali nga balya era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,+ 14 omubaka yagenda eri Yobu n’amugamba nti: “Ente bwe zibadde zirima era nga n’endogoyi ziriira okumpi nazo, 15 Abaseba bazze ne bazitwala, era ne batta abaweereza bo n’ekitala. Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.”

16 Yali akyayogera, omulala n’ajja n’agamba Yobu nti: “Omuliro gwa Katonda* guvudde mu ggulu ne gwokya endiga n’abaweereza bo! Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.”

17 Yali akyayogera, omulala n’ajja n’agamba Yobu nti: “Abakaludaaya+ bazze nga bali mu bibinja bisatu, ne banyaga eŋŋamira ne bazitwala, era ne batta abaweereza bo n’ekitala. Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.”

18 Yali akyayogera, omulala n’ajja n’agamba Yobu nti: “Batabani bo ne bawala bo bwe babadde balya era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, 19 embuyaga ey’amaanyi evudde mu ddungu n’ekuba ensonda ennya ez’ennyumba, ennyumba n’egwira abaana bo ne bafa. Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.”

20 Awo Yobu n’ayimuka n’ayuza ebyambalo bye, n’asalako enviiri ze, n’akka ku maviivi n’avunnama ku ttaka 21 n’agamba nti:

“Nnava mu lubuto lwa mmange nga ndi bwereere,

Era ndiddayo nga sirina kantu.+

Yakuwa ye yampa+ era Yakuwa y’anzigyeeko.

Erinnya lya Yakuwa lyeyongere okutenderezebwa.”

22 Mu ebyo byonna ebyamutuukako, Yobu teyayonoona wadde okunenya Katonda.*

2 Awo olunaku ne lutuuka nate, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani naye n’agendera mu bo okweyanjula eri Yakuwa.+

2 Yakuwa n’abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n’okugitambulatambulamu.”+ 3 Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Olowoozezza* ku muweereza wange Yobu? Tewali alinga ye ku nsi. Musajja mwesigwa+ era mugolokofu,* atya Katonda, era yeewala ebibi. Akyakuumye obugolokofu bwe+ wadde ng’ogezezzaako okundeetera mmusunguwalire+ mmutte* awatali nsonga.” 4 Naye Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Olususu ku lw’olususu. Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe. 5 Kale golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.”+

6 Awo Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Laba! Ali mu mukono gwo!* Naye tomutta!” 7 Awo Sitaani n’ava mu maaso ga Yakuwa, n’alwaza Yobu amayute agaluma ennyo,+ okuva ku bigere okutuuka ku mutwe. 8 Yobu n’akwata oluggyo okweyaguza; n’atuula mu vvu.+

9 Mukyala we n’amugamba nti: “Okyakuumye obugolokofu bwo? Weegaane Katonda ofe!” 10 Kyokka Yobu n’amugamba nti: “Oyogera ng’abakazi abasirusiru. Tunakkirizanga birungi byokka okuva eri Katonda ow’amazima, ebibi ne tutabikkiriza?”+ Mu ebyo byonna ebyamutuukako, Yobu teyayonoona na mimwa gye.+

11 Mikwano gya Yobu abasatu, Erifaazi+ Omutemani, Birudaadi+ Omusuuki,+ ne Zofali+ Omunaamasi, bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku Yobu, buli omu n’ava mu kitundu ky’ewaabwe, ne balagaana okusisinkana bagende basaasire Yobu era bamubudeebude. 12 Bwe baamulengera, tebaamutegeererawo. Naye bwe baategeera nti ye Yobu, ne batema emiranga, ne bayuza ebyambalo byabwe, ne bamansa enfuufu mu bbanga era ne bagyeyiira ku mitwe.+ 13 Ne batuula naye ku ttaka okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro. Tewali n’omu yayogera naye, kubanga baalaba nga yali mu bulumi bwa maanyi.+

3 Oluvannyuma Yobu yatandika okwogera, n’akolimira olunaku lwe yazaalibwa.*+ 2 Yobu n’agamba nti:

 3 “Olunaku lwe nnazaalibwa ka luzikirire,+

N’ekiro omuntu mwe yagambira nti: ‘Oli lubuto lwa mwana wa bulenzi!’

 4 Olunaku olwo ka lube ekizikiza.

Katonda ali waggulu aleme kulufaako;

Ka luleme kuba na kitangaala.

 5 Ekizikiza eky’amaanyi* ka kirweddize.

Ekire ekikutte ka kirubikke.

Byonna ebireeta ekizikiza ka birutiise.

 6 Ekiro ekyo ka kibuutikirwe ekizikiza ekikutte;+

Ka kireme kusanyukira wamu n’ennaku ez’omwaka,

Era ka kireme kubalirwa mu myezi.

 7 Mazima ddala! Ekiro ekyo ka kibeerenga kigumba;

Ka kiremenga kuwulirwamu maloboozi ga ssanyu.

 8 Abo abakolimira ennaku ka bakikolimire,

Abo abasobola okuzuukusa Leviyasani.*+

 9 Emmunyeenye ez’amakya gaakyo ka zikwate ekizikiza;

Ekitangaala kye kirindirira ka kireme kulabika,

Era ka kireme kulaba mmambya.

10 Kubanga tekyaggala nzigi za lubuto lwa mmange,+

Nneme kulaba mitawaana.

11 Lwaki saafa nga nzaalibwa?

Lwaki saafa nga nva mu lubuto?+

12 Lwaki waaliwo amaviivi agandera,

Era n’amabeere agannyonsa?

13 Kaakano nnandibadde ngalamidde nga sitawaanyizibwa;+

Nnandibadde nneebase era nga mpummudde+

14 Wamu ne bassekabaka b’ensi n’abawabuzi baabwe,

Abeezimbira ebifo kaakano ebyafuuka amatongo,

15 Oba wamu n’abaami abaalina zzaabu,

Abaalina ennyumba ezaali zijjudde ffeeza.

16 Lwaki saali ng’omwana afiira mu lubuto lwa nnyina,

Ng’abaana abatalabanga ku kitangaala?

17 Eyo mu ntaana n’ababi bakkakkana,

Era eyo abakoowu bawummula.+

18 Eyo abasibe bafuna obuweerero;

Tebawulira ddoboozi ly’abo ababawaliriza okukola emirimu.

19 Eyo ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baba benkana,+

Era omuddu aba takyafugibwa mukama we.

20 Lwaki Katonda awa ekitangaala oyo abonaabona,

Era lwaki awa obulamu abo abali mu nnaku ey’amaanyi?+

21 Lwaki abo abaagala okufa, tebafa?+

Wadde nga banoonya okufa okusinga eby’obugagga ebyakwekebwa,

22 Bajaganya nnyo,

Era basanyuka nnyo bwe batuuka mu ntaana.

23 Lwaki awa ekitangaala omuntu abuliddwa ekkubo,

Omuntu Katonda gw’ataddeko ekikomera?+

24 Kubanga okusinda ye mmere yange,+

Okusinda kwange+ kuyiika ng’amazzi.

25 Kye mbadde ntya kye kinzijidde;

Era kye mbadde ntya kye kintuuseeko.

26 Sirina mirembe wadde obuweerero,

Wadde ekiwummulo, wabula mitawaana gye gyeyongera okujja.”

4 Awo Erifaazi+ Omutemani n’addamu nti:

 2 “Omuntu bw’agezaako okwogera naawe, oneetamwa?

Kubanga ani ayinza okwefuga n’atabaako ky’ayogera?

 3 Kituufu owabudde bangi,

Era wazzangamu abanafu amaanyi.

 4 Ebigambo byo byayimusanga abo abaabanga bagwa;

Era wagumyanga abo abaabanga n’amaviivi amanafu.

 5 Naye kaakano emitawaana gikutuuseeko n’otendewalirwa;*

Okwatiddwako ne weeraliikirira.

 6 Eky’okuba nti otya Katonda tekikugumya?

Eky’okuba nti otambulira mu bugolokofu+ tekikuwa ssuubi?

 7 Gezaako okujjukira: Muntu ki atalina musango eyali asaanyeewo?

Era ddi abatuukirivu lwe baali bazikiriziddwa?

 8 Kye ndabye kiri nti abo abagunja ebibi,

N’abo abasiga emitawaana bakungula bye bimu.

 9 Bazikirizibwa omukka gwa Katonda,

Era basaanawo olw’obusungu bwe obungi.

 10 Empologoma ewuluguma, era empologoma envubuka evaamu eddoboozi,

Naye n’amannyo g’empologoma ez’amaanyi gamenyeka.

11 Empologoma efa olw’okubulwa omuyiggo,

Era abaana b’empologoma basaasaana.

12 Waliwo ekigambo ekyandeeterwa mu kyama,

Amatu gange ne gakiwulira mu kaama.

13 Nga ntawaanyizibwa ebirowoozo mu kwolesebwa okw’ekiro,

Abantu we babeerera mu tulo otungi,

14 Nnajugumira nnyo,

Amagumba gange gonna ne gajjula entiisa.

15 Waliwo ekyampita* mu maaso;

Obwoya obw’oku mubiri gwange ne buyimuka.

16 Kyayimirira,

Naye saategeera nfaanana yaakyo;

Mu maaso gange waaliwo ekintu;

Waaliwo akasiriikiriro, oluvannyuma ne mpulira eddoboozi erigamba nti:

17 ‘Omuntu obuntu asobola okuba omutuukirivu okusinga Katonda?

Omuntu asobola okuba omulongoofu okusinga eyamukola?’

18 Laba! Teyeesiga baweereza be,

Ne bamalayika* be abanoonyaamu ensobi.

19 Kati olwo tazinoonya n’okusingawo mu abo ababeera mu nnyumba ez’ettaka,

Abaava mu nfuufu,+

Abazikirizibwa amangu ng’ekiwojjolo?

20 Bazikirizibwa okuva ku makya okutuuka akawungeezi;

Basaanawo emirembe gyonna, ne wataba n’omu akissaako omwoyo.

21 Tebali nga weema esikiddwamu omuguwa gwayo?

Bafa nga tebalina magezi.

5 “Kale koowoola! Waliwo omuntu yenna akuyitaba?

Ani ku batukuvu gw’onookoowoola?

 2 Kubanga okusiba ekiruyi kujja kutta omusirusiru,

N’obuggya bujja kutta oyo atalina magezi.

 3 Ndabye omusirusiru ng’asimba amakanda,

Naye mangu ddala ekifo w’abeera ne kikolimirwa.

 4 Abaana be tebalina bukuumi bwonna,

Era babetentebwa ku mulyango gw’ekibuga+ nga tewali abataasa.

 5 By’akungula biriibwa alumwa enjala,

Abiggya ne mu maggwa,

Era ebintu byabwe bigwa mu mutego.

 6 Kubanga ebintu eby’akabi tebimeruka mu nfuufu,

Era emitawaana tegiva mu ttaka.

 7 Kubanga omuntu azaalirwa kubonaabona,

Ng’ensasi z’omuliro bwe zimansuka waggulu.

 8 Naye nnandijulidde eri Katonda,

Era Katonda gwe nnandyanjulidde ensonga zange,

 9 Oyo akola ebikulu era ebitanoonyezeka,

Akola ebintu eby’ekitalo ebitabalika.

10 Atonnyesa enkuba ku nsi

N’afukirira ennimiro.

11 Agulumiza abeetoowaze,

N’abennyamivu abagulumiza ne bafuna obulokozi.

12 Alemesa enteekateeka z’ab’enkwe,

Emirimu gy’emikono gyabwe ne gigwa butaka.

13 Akwasa abagezi mu bukujjukujju bwabwe,+

Enteekateeka z’abagezigezi ne zigootaana.

14 Baba mu kizikiza emisana,

Era bawammanta mu ttuntu nga gy’obeera kiro.

15 Awonya omuntu ekitala ekiva mu kamwa kaabwe,

N’omwavu amuwonya mu mukono gw’ow’amaanyi,

16 Olwo omunaku n’aba n’essuubi,

Naye akamwa k’abatali batuukirivu ne kaziba.

17 Laba! Alina essanyu oyo Katonda gw’anenya;

Kale togaananga kukangavvulwa Omuyinza w’Ebintu Byonna!

18 Kubanga aleeta obulumi, naye n’asiba ebiwundu;

Amenya, naye n’awonya n’emikono gye.

19 Ajja kukuwonya emitawaana mukaaga,

N’ogw’omusanvu tegujja kukukolako kabi.

20 Anaakununula mu kufa ng’enjala egudde,

Ne mu lutalo anaakuwonya ekitala.

21 Anaakuwonya olulimi olukuba,+

Era okuzikirira bwe kunajja, tookutye.

22 Ojja kusekereranga okuzikirira n’enjala,

Era ensolo z’omu nsiko toozitye.

23 Amayinja g’oku ttale tegajja kukutuusaako kabi,*

Era onoobanga mu mirembe n’ensolo z’omu nsiko.

24 Ojja kumanya nti weema yo eri mu mirembe,*

Bw’onoolambulanga eddundiro lyo tewali ky’onoosanga nga kibuze.

25 Ojja kuba n’abaana bangi,

Era bazzukulu bo bajja kuba bangi ng’omuddo gw’oku ttale.

26 Oligenda mu ntaana ng’okyalina amaanyi,

Ng’ebinywa by’emmere ey’empeke ekunguddwa mu kiseera kyayo.

27 Laba! Bino tubinoonyerezzaako, era bituufu.

Wuliriza era bikkirize.”

6 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Singa obulumi bwange+ busobola okupimibwa

Ne buteekebwa wamu n’ebizibu byange ku minzaani,

 3 Kaakano bizitowa okusinga omusenyu gw’ennyanja.

Kyenvudde njogera ebitaliimu nsa.*+

 4 Kubanga obusaale bw’Omuyinza w’Ebintu Byonna bunfumise,

Mpulira ng’obusagwa bwabwo bumbunye.+

Eby’entiisa okuva eri Katonda binnumbye.

 5 Endogoyi ey’omu nsiko+ ekaaba ng’erina omuddo?

Oba ente eŋooŋa ng’erina emmere?

 6 Emmere etawooma eriika nga teriimu munnyo,

Oba amazzi g’eggi gawooma?

 7 Ŋŋaanye okukwata ku bintu ng’ebyo.

Biringa obutwa mu mmere yange.

 8 Singa nfuna kye nsaba,

Era singa Katonda ampa kye njagala!

 9 Singa Katonda akkiriza okumbetenta,

Singa agolola omukono gwe n’ansaanyaawo!+

10 Ekyo kyandimpadde obuweerero;

Era nnandijaganyizza wadde nga nnina obulumi bungi,

Kubanga sigaanangako bigambo by’Omutukuvu.+

11 Nkyalina amaanyi okulindirira?+

Waliwo ekirungi kyonna ekinnindiridde, ekinsigaza nga nkyali mulamu?*

12 Ndi mugumu ng’olwazi?

Oba omubiri gwange gwa kikomo?

13 Waliwo engeri yonna gye nnyinza okwerabiriramu,

Ng’ate byonna ebinnyamba okweyimirizaawo binzigiddwako?

14 Omuntu atalaga munne kwagala okutajjulukuka,+

Aba tatya Omuyinza w’Ebintu Byonna.+

15 Baganda bange bennyini tebeesigika ng’obugga+ bw’omu kiseera eky’obutiti,

Bali ng’amazzi ag’obugga bw’omu kiseera eky’obutiti agakalira.

16 Bbalaafu abufuula buddugavu,

Era omuzira ogusaanuuka gwekweka omwo.

17 Naye mu kiseera eky’omusana buggwaamu amazzi ne busaanawo;

Omusana bwe gwaka ennyo nga bukalira.

18 Ekkubo lyabwo likyuka;

Bukulukutira mu ddungu ne busaanawo.

19 Abatambuze abava e Tema+ babunoonya;

N’abatambuze abava e Seba+ babulindirira.

20 Baswala olw’okubwesigira obwereere;

Basoberwa nga batuuse we bwali.

21 Nammwe bwe mutyo bwe muli gye ndi;+

Mulabye entiisa ey’ebizibu ebintuuseeko ne mutya.+

22 Mbagambyeko nti, ‘Mubeeko kye mumpa,’

Oba mbasabyeko ekirabo okuva mu by’obugagga byammwe?

23 Mbasabyeko okunnunula mu mukono gw’omulabe,

Oba okumponya* abo abambonyaabonya?

24 Mumpabule, nange nja kusirika;+

Munnyambe okutegeera ensobi gye nnakola.

25 Ebigambo eby’amazima tebireeta bulumi!+

Naye okunenya kwammwe kugasa ki?+

26 Mwagala okunnenya olw’ebigambo byange,

Ebigambo by’omusajja atalina ssuubi,+ ebitwalibwa empewo?

27 Mwandikubye akalulu ku mulekwa,+

Era ne mutunda mukwano gwammwe!+

28 Kaakano mukyuke muntunuulire,

Kubanga sisobola kubalimba.

29 Mbasaba muddemu mwerowooze, muleme kunsalira musango mu bukyamu.

Mu butuufu, muddemu mwerowooze, kubanga nkyakuumye obutuukirivu bwange.

30 Olulimi lwange lwogera ebitali bya bwenkanya?

Mulowooza simanyi nti waliwo ekikyamu?

7 “Obulamu bw’omuntu ku nsi si bwa kukuluusana?

N’ennaku ze teziri ng’ez’omupakasi?+

 2 Yeegomba ekisiikirize ng’omuddu,

Era alindirira empeera ye ng’omupakasi.+

 3 Bwe ntyo nange nnagabana emyezi egitangasa,

Era nnaweebwa obudde obw’ekiro obw’okulabiramu ennaku.+

 4 Bwe ngalamira wansi nneebuuza nti, ‘Nnaayimuka ddi?’+

Era obudde bwe bulwawo okukya, nkulungutana okukeesa obudde.*

 5 Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ettaka;+

Olususu lwange lujjudde ebikakampa n’amasira.+

 6 Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye,+

Ziggwaawo awatali ssuubi.+

 7 Jjukira nti obulamu bwange mpewo,+

Era nti n’eriiso lyange terikyaddamu kulaba ssanyu.*

 8 Eriiso erindaba leero teririddamu kundaba;

Amaaso go galinnoonya, naye ndiba sikyaliwo.+

 9 Ng’ekire bwe kiggwaawo ne kibula;

N’oyo akka emagombe* tavaayo.+

10 Talikomawo nate mu nnyumba ye,

N’abo be yabeeranga nabo balimwerabira.+

11 N’olwekyo sijja kusirika.

Nja kwogera n’obulumi ku mwoyo;

Nja kwemulugunya olw’ennaku yange ennyingi!+

12 Ndi nnyanja oba ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja,

Olyoke onteekeko omukuumi?

13 Bwe ŋŋamba nti, ‘Ekitanda kyange kinampeweeza,

Era nti obuliri bwange bunaakendeeza ku nnaku yange,’

14 Ontiisa n’ebirooto,

Era onkanga n’okwolesebwa,

15 Ne nnondawo okufa ekiziyiro,

Mu kifo ky’okuba n’omubiri guno.*+

16 Nneetamiddwa obulamu;+ sikyayagala kweyongera kuba mulamu.

Ndeka, kubanga ennaku zange ziringa omukka.+

17 Omuntu obuntu kye ki olyoke omufeeko,

Era omusseeko omwoyo?*+

18 Lwaki omwekebejja buli ku makya,

Era n’omugezesa buli kiseera?+

19 Tonzigyeeko maaso go,

N’ondeka ne mmira ku malusu?+

20 Bwe mba nnayonoona, nnyinza kukukolako kabi ki, ggwe eyeetegereza abantu?+

Lwaki ombonereza?

Nfuuse mugugu gy’oli?

21 Lwaki tonsonyiwa kyonoono kyange

N’ensobi yange?

Kubanga nnaatera okugalamira mu nfuufu;+

Era olinnoonya, naye ndiba sikyaliwo.”

8 Awo Birudaadi+ Omusuuki+ n’addamu nti:

 2 “Onootuusa wa okwogera bw’otyo?+

Ebigambo byo biringa embuyaga!

 3 Katonda anaakola ekitali kya bwenkanya,

Oba Omuyinza w’Ebintu Byonna anaaleka obutuukirivu?

 4 Abaana bo bwe baba nga baayonoona mu maaso ge,

Yabaleka ne babonerezebwa olw’obujeemu bwabwe;*

 5 Naye singa odda eri Katonda,+

Ne weegayirira Omuyinza w’Ebintu Byonna akukwatirwe ekisa,

 6 Era singa oli mulongoofu era mugolokofu,+

Yandibadde akufaako,

N’akuzza mu kifo kye walimu mu kusooka.

 7 Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,

Ebiseera byo eby’omu maaso byandibadde birungi nnyo.+

 8 Nkusaba weebuuze ku b’emirembe egyayita,

Olowooze ku ebyo bajjajjaabwe bye baazuula.+

 9 Kubanga ffe twazaaliddwa jjo, tetulina kye tumanyi,

N’ennaku ze tumala ku nsi ziringa ekisiikirize.

10 Tebaakuyigirize

Ne bakubuulira bye bamanyi?*

11 Ekitoogo kiyinza okukula ne kiwanvuwa awatali lutobazi?

N’olumuli luyinza okuwanvuwa awatali mazzi?

12 Ne bwe biba tebinnamulisa era nga tebinnatemebwa,

Bye bisooka ebimera ebirala byonna okuwotoka.

13 Ekyo kye kituuka ku abo* bonna abeerabira Katonda,

Essuubi ly’oyo atatya Katonda* liriggwaawo,

14 Oyo ateeka obwesige bwe mu bintu ebitaliimu nsa,

Era nga bye yeesiga biringa ennyumba ya nnabbubi.

15 Ajja kwesigama ku nnyumba ye, naye ejja kugwa;

Ajja kugezaako okugyekwatako, naye tejja kusigala ng’eyimiridde.

16 Alinga ekimera ekiriko amazzi ekiri mu kasana,

Amatabi ge gabuna mu nnimiro.+

17 Emirandira gye gyezingirazingira mu ntuumu y’amayinja;

Anoonya ennyumba mu mayinja.*

18 Naye bw’akuulibwa* mu kifo kye,

Ekifo ekyo kijja kumwegaana kigambe nti, ‘Sikulabangako.’+

19 Bw’atyo bw’anaasaanawo;*+

Era abalala bajja kuloka okuva mu nfuufu.

20 Mazima ddala, Katonda talyabulira abo abakuuma obugolokofu;*

Era taliyamba* bantu babi,

21 Kubanga akamwa ko ajja kukajjuza enseko,

N’emimwa gyo ajja kugijjuza amaloboozi ag’essanyu.

22 Abakukyawa bajja kuswala,

Ne weema z’ababi zijja kusaanawo.”

9 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Mazima ddala mmanyi nga bwe kityo bwe kiri.

Naye omuntu obuntu ayinza atya okuba omutuufu mu maaso ga Katonda?+

 3 Omuntu bw’ayagala okuwoza naye,*+

Omuntu oyo tayinza kuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo bya Katonda olukumi.

 4 Katonda wa magezi* era wa maanyi mangi.+

Ani ayinza okumuwakanya n’atafuna mitawaana?+

 5 Asiguukulula* ensozi ne wataba amanya,

Azivuunika mu busungu bwe.

 6 Akankanya ensi n’eva mu kifo kyayo,

Empagi zaayo ne zikankana.+

 7 Alagira enjuba n’eteyaka,

Era abikka ekitangaala ky’emmunyeenye;+

 8 Abamba eggulu ng’ali yekka,+

Era atambulira ku mayengo g’ennyanja amanene;+

 9 Yakola ebibinja by’emmunyeenye ebiyitibwa Asi, Kesiri, ne Kima,+

Era n’ebibinja by’emmunyeenye eby’omu bukiikaddyo;

10 Akola ebintu eby’ekitalo era ebitanoonyezeka,+

Akola ebintu ebyewuunyisa ebitabalika.+

11 Ampitako ne simulaba,

Ayitawo ne simutegeera.

12 Bw’akwakkula ekintu, ani ayinza okumuziyiza?

Ani ayinza okumugamba nti: “Okola ki?’+

13 Katonda tajja kufuga busungu bwe;+

N’abo abayamba Lakabu*+ bajja kumuvunnamira.

14 Kale sisaanidde kwegendereza nnyo nga mmwanukula?

Sisaanidde kulonda bigambo na bwegendereza nga mpoza naye?

15 Ne bwe nnandibadde omutuufu, sandimwanukudde.+

Nnandyegayiridde bwegayirizi omulamuzi wange* ankwatirwe ekisa.

16 Bwe nnaamukoowoola, anannyanukula?

Sikkiriza nti anaawulira eddoboozi lyange,

17 Kubanga ammenyaamenya ng’akozesa kibuyaga,

Era annyongera ebiwundu awatali nsonga.+

18 Taŋŋanya kussa ku mukka;

Annyongera bwongezi bizibu.

19 Bwe kuba kwegera maanyi, Katonda y’asinga.+

Bwe kuba kulaga bwenkanya, agamba nti: ‘Ani ayinza okunvunaana?’

20 Ne bwe nnandibadde omutuufu, akamwa kange kandinsalidde omusango;

Ne bwe nkuuma obugolokofu bwange,* ajja kunsingisa omusango.*

21 Ne bwe nkuuma obugolokofu bwange,* seekakasa;

Nneetamiddwa* obulamu buno.

22 Byonna kye kimu. Kyenva ŋŋamba nti,

‘Abatalina musango* n’abakola ebibi, bonna abazikiriza.’

23 Amataba ag’amaanyi bwe gatta abantu embagirawo,

Akudaalira abataliiko musango abali mu nnaku.

24 Ensi yaweebwayo mu mukono gw’omubi;+

Katonda abikka ku maaso g’abalamuzi baayo.

Kale bw’ataba ye, kati olwo ani akikola?

25 Ennaku zange ziri ku misinde mingi okusinga omuddusi;+

Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi konna.

26 Ziyita mangu ng’amaato ag’emmuli,

Ng’empungu ezikka ku muyiggo gwazo.

27 Bwe ŋŋamba nti, ‘Nja kwerabira okwemulugunya kwange,

Nkyuse endabika y’oku maaso gange mbe musanyufu,’

28 Era nsigala ntidde olw’obulumi bwange;+

Era nkimanyi nti tojja kuntwala ng’atalina musango.

29 Omusango gujja kunsinga.

Kale lwaki nteganira obwereere?+

30 Ne bwe nnaaba amazzi agava mu muzira ogusaanuuse,

Era engalo zange ne nzinaaba ne sabbuuni,+

31 Ojja kunsuula mu kinnya,

N’engoye zange zinneenyinyale.

32 Kubanga Katonda si muntu nga nze ndyoke mmwanukule,

Era mpoze naye.+

33 Tewali ayinza kutuwozesa,*

N’atulamula.*

34 Singa alekera awo okunkuba,*

N’okuntiisa,+

35 Nnandyogedde naye nga sitya,

Kubanga sitya kwogera naye.

10 “Nneetamiddwa obulamu.+

Nja kwemulugunya.

Era nja kwogera wadde nga ndi mu nnaku ya maanyi!

 2 Nja kugamba Katonda nti: ‘Tonsingisa musango.

Mbuulira ensonga lwaki onnwanyisa.

 3 Kirina bwe kikugasa okubonyaabonya,

Okunyooma omulimu gw’emikono gyo,+

Ate n’osanyukira amagezi g’ababi?

 4 Amaaso go galinga ag’abantu?

Oba olaba ng’abantu bwe balaba?

 5 Ennaku zo ziringa ennaku z’abantu,

Oba emyaka gyo giringa emyaka gy’omuntu,+

 6 Olyoke onoonyereze ensobi yange

Era onoonye ekibi kyange?+

 7 Okimanyi nti sirina musango;+

Era tewali n’omu ayinza kunnunula mu mukono gwo.+

 8 Ggwe wammumba era ggwe wankola n’engalo zo,+

Naye kaakano oyagala kunsaanyaawo.

 9 Jjukira nti wankola mu bbumba,+

Naye kaakano onzizaayo mu nfuufu.+

10 Tewanjiwa ng’ayiwa amata

N’onfuula bbongo?

11 Wannyambaza olususu n’ennyama,

Era wagatta wamu amagumba gange n’ebinywa byange.+

12 Wampa obulamu era n’ondaga okwagala okutajjulukuka;

Okuumye bulungi obulamu bwange.+

13 Naye wayagala okukola ebintu bino mu kyama.*

Nkimanyi nti ebintu bino biva gy’oli.

14 Singa nnayonoona, wandindabye,+

Era tewandinzigyeeko musango olw’ensobi yange.

15 Bwe mba nga nnina omusango, zinsanze!

Era ne bwe mba nga sigulina, siyinza kuyimusa mutwe gwange,+

Kubanga nzijudde obuswavu era mbonaabona.+

16 Bwe nnyimusa omutwe gwange, onjigga ng’empologoma+

Era n’oddamu okundaga amaanyi go.

17 Oleeta abajulirwa abalala bannumirize

Era oyongere okunsunguwalira,

Wadde nga nfuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa.

18 Kale lwaki wanzigya mu lubuto lwa mmange?+

Nnandibadde nnafa nga tewannabaawo n’omu andaba.

19 Nnandibadde ng’atabangawo;

Nnandiggiddwa mu lubuto lwa mmange ne ntwalibwa butereevu mu ntaana.’

20 Ennaku zange si ntono?+ Andeke;

Anzigyeko amaaso ge nfune ku buweerero*+

21 Nga sinnagenda eyo gye siive+

Mu nsi ekutte ekizikiza eky’amaanyi,*+

22 Mu nsi ey’ekizikiza ekikutte,

Ensi ey’ekisiikirize n’obutabangufu,

Eyo ekitangaala gye kiringa ekizikiza.”

11 Awo Zofali+ Omunaamasi n’addamu nti:

 2 “Ebigambo ebyo byonna tebigwanidde kuddibwamu?

Oba okwogera ennyo kwe kuleetera omuntu okuba omutuufu?*

 3 Ebigambo byo ebitaliimu nsa binaasirisa abantu?

Bw’okudaala bw’otyo wanaabulawo omuntu yenna akunenya?+

 4 Ogamba nti, ‘Bye njigiriza bituufu,+

Era ndi mulongoofu mu maaso go.’+

 5 Naye singa Katonda ayasamya akamwa ke

N’ayogera naawe!+

 6 Yandikubuulidde ebyama ebikufuula ow’amagezi,

Kubanga amagezi geeyoleka mu ngeri nnyingi.

Era wanditegedde nti Katonda tayagala na kujjukira ezimu ku nsobi zo.

 7 Osobola okuzuula ebintu bya Katonda eby’ebuziba,

Oba okuzuula byonna ebikwata ku Muyinza w’Ebintu Byonna?

 8 Amagezi gasinga eggulu obugulumivu. Kiki ky’oyinza okukola?

Gasinga amagombe* obuwanvu. Kiki ky’oyinza okumanya?

 9 Gasinga ensi obunene

Era gasinga ennyanja obugazi.

10 Bw’ajja n’akwata omuntu n’amutwala mu kkooti,

Ani ayinza okumuziyiza?

11 Kubanga amanya abantu we babeerera abalimba.

Bw’alaba ebibi, anaabibuusa amaaso?

12 Endogoyi ey’omu nsiko erimala kuzaala muntu,

Omuntu omusirusiru n’alyoka ategeera.

13 Teekateeka omutima gwo

Era ogolole emikono gyo gy’ali.

14 Omukono gwo bwe guba nga gukola ebikyamu, guteeke wala,

Era tokkiriza butali butuukirivu kubeera mu weema zo.

15 Olwo nno lw’onooyimusa omutwe gwo nga toliiko kikyamu kyonna;

N’oyimirira ng’oli munywevu, nga tolina ky’otya.

16 Era ojja kwerabira ennaku yo;

Ojja kugyerabira ebe ng’amazzi agakulukuse ne gakuyitako.

17 Obulamu bwo bujja kuba butangaavu okusinga obudde obw’omu ttuntu,

N’ekizikiza kyabwo kijja kuba ng’obudde obw’oku makya.

18 Ojja kuba mugumu olw’okuba eriyo essuubi,

Era ojja kutunulatunula ogalamire nga tewali ky’otya.

19 Ojja kugalamira nga tewali akutiisa,

Era abantu bangi bajja kwagala obalage ekisa.

20 Naye amaaso g’ababi gajja kuziba;

Era bajja kubulwa obuddukiro,

Okufa kwe kujja okuba essuubi lyabwe.”+

12 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Mazima ddala mmwe bantu abamanyi,

Era bwe mulifa amagezi galikoma!

 3 Naye nange ntegeera.*

Temunsinga n’akatono.

Ani atamanyi bintu ebyo?

 4 Nfuuse eky’okusekererwa eri mikwano gyange,+

Kubanga nkoowoola Katonda nga mmusuubira okunziramu.+

Omuntu omutuukirivu era ataliiko kya kunenyezebwa kaakano asekererwa.

 5 Omuntu ateefiirayo akudaalira ababonaabona,

Ng’alowooza nti okubonaabona kw’abo bokka abatateredde.

 6 Weema z’abanyazi zirimu emirembe,+

N’abo abanyiiza Katonda tebalina kibatiisa,+

Abo abalina katonda waabwe mu ngalo zaabwe.

 7 Naye buuza ebisolo, bijja kukuyigiriza;

Buuza n’ebinyonyi eby’omu bbanga, bijja kukubuulira.

 8 Oba weetegereze ensi,* ejja kukuyigiriza;

N’eby’ennyanja ebiri mu nnyanja bijja kukubuulira.

 9 Kiruwa ku ebyo byonna ekitamanyi

Nti omukono gwa Yakuwa gwe gukoze kino?

10 Mu mukono gwe mwe muli obulamu bwa buli kintu ekiramu

N’obulamu* bw’abantu bonna.+

11 Okutu tekugezesa bigambo

Ng’olulimi bwe lulega ku mmere?+

12 Abakadde si be baba n’amagezi,+

Era abo abawangadde si be baba n’okutegeera?

13 Alina amagezi n’amaanyi;+

Alina ekigendererwa awamu n’okutegeera.+

14 Bw’amenya ekintu, tekiyinza kuddamu kuzimbibwa;+

Ky’aggala tewali ayinza kukiggula.

15 Bw’aziyiza enkuba okutonnya, buli kimu kikala;+

Bw’aleka enkuba n’etonnya, amazzi gajjula ensi.+

16 Alina amaanyi n’amagezi;+

Oyo awaba n’oyo awabya bombi babe;

17 Aleetera abawi b’amagezi okutambula nga tebambadde ngatto,*

Era n’abalamuzi abafuula basirusiru.+

18 Asumulula enjegere za bakabaka,+

N’abasiba enkoba mu biwato.

19 Aleetera bakabona okutambula nga tebambadde ngatto,+

Era aggyako abafuzi abanyweredde mu buyinza;+

20 Asirisa abawi b’amagezi abantu be beesiga,

N’abakadde abaggyako okutegeera;

21 Ab’ekitiibwa abaleetera okunyoomebwa,+

Era ab’amaanyi abafuula banafu;*

22 Abikkula ebintu eby’ebuziba ebiri mu kizikiza,+

Amulisa ekitangaala mu bifo ebikutte ekizikiza;

23 Amawanga agafuula ga maanyi agazikirize;

Agaziya amawanga agatwale mu buwaŋŋanguse.

24 Abakulembeze b’abantu abaggyako okutegeera,*

Era abaleetera okubundabundira mu malungu omutali makubo.+

25 Bawammantira mu kizikiza+ omutali kitangaala;

Abaleetera okutagala ng’abatamiivu.+

13 “Mazima eriiso lyange lirabye ebyo byonna,

N’okutu kwange kubiwulidde ne kubitegeera.

 2 Bye mumanyi nange mbimanyi;

Temunsinga.

 3 Nnandyagadde okwogera n’Omuyinza w’Ebintu Byonna kennyini;

Katonda gwe njagala okunnyonnyola ensonga zange.+

 4 Naye mmwe munjogerako bya bulimba;

Muli basawo abataliiko kye mugasa.+

 5 Singa musirikidde ddala,

Ekyo kyandiraze nti mulina amagezi.+

 6 Mbasaba muwulirize kye ŋŋamba,

Era musseeyo omwoyo ku mpoza yange.

 7 Munaayogera ebitali bituufu ku lwa Katonda,

Munaayogera eby’obulimba ku lulwe?

 8 Munaaba ku ludda lwe?

Oba munaagezaako okuwoza omusango gwa Katonda ow’amazima?

 9 Bw’anaabeekebejja, ebinaavaamu binaaba birungi?+

Munaamubuzaabuza nga bwe mwandibuzaabuzizza abantu?

10 Bwe munaagezaako okusaliriza mu nkukutu

Ajja kubanenya.+

11 Ekitiibwa kye tekiibatiise,

Era taabaleetere ntiisa?

12 Engero zammwe tezigasa, ziringa evvu;

N’engabo zammwe nnafu ng’engabo ez’ebbumba.

13 Kale musirike njogere.

Kyonna ekinantuukako ka kintuukeko!

14 Lwaki nneeteeka mu kabi*

Obulamu bwange ne mbutwalira mu ngalo zange?

15 Nja kulindirira, wadde ng’ayinza okunzita;+

Nja kwewozaako mu maaso ge.

16 Ajja kufuuka mulokozi wange,+

Kubanga tewali muntu atatya Katonda* ayinza okujja mu maaso ge.+

17 Muwulirize bulungi ebigambo byange;

Musseeyo omwoyo ku bye njogera.

18 Laba, nsengese empoza yange;

Mmanyi nga sirina musango.

19 Ani anampakanya?

Bwe siibeeko kye njogera nja kufa!

20 Ai Katonda, nkusaba onkolere ebintu bibiri,*

Nneme okukwekweka:

21 Nzigyaako omukono gwo omuzito oguteeke wala,

N’entiisa yo k’ereme kunkanga.+

22 Nkoowoola, nkwanukule,

Oba ka njogere ggwe onziremu.

23 Ensobi zange n’ebibi byange, bye biruwa?

Mbuulira ekyonoono kyange n’ekibi kyange.

24 Lwaki okweka amaaso go+

N’ontwala ng’omulabe wo?+

25 Onookanga akakoola akatwalibwa empewo?

Oba onoowondera ebisubi ebikalu?

26 Weeyongera okuwandiika emisango eginvunaanibwa,

Era onvunaana ebibi bye nnakola mu buvubuka.

27 Oteeka ebigere byange mu nvuba,

Wekkaanya amakubo gange gonna,

Era olamba buli we nninnya.

28 Omuntu* aggwaawo ng’ekintu ekivunze;

Ng’ekyambalo ekiriiriddwa ebiwuka.

14 “Omuntu azaalibwa omukazi,

Aba n’obulamu bumpi,+ era nga bujjudde ebizibu.*+

 2 Ayanya ng’ekimuli ate n’awotoka;*+

Adduka ng’ekisiikirize n’abulawo.+

 3 Omutaddeko amaaso go,

Era omuleeta awoze* naawe.+

 4 Omuntu atali mulongoofu asobola okuzaala omulongoofu?+

Tekisoboka!

 5 Bwe kiba nti ennaku ze zaagerekebwa,

Omuwendo gw’emyezi gye guli naawe;

Omuteereddewo ekkomo ly’atayinza kusukka.+

 6 Muggyeeko amaaso go awummule,

Okutuusa lw’anaamalako olunaku lwe ng’omukozi akolera empeera.+

 7 Bwe batema omuti

Wabaawo essuubi nti guliroka,

Era nti n’amatabi gaagwo galyeyongera okukula.

 8 Emirandira gyagwo bwe gikaddiyira mu ttaka,

Era n’ekikonge kyagwo ne kifiira mu ttaka,

 9 Guloka nga gufunye otuzzi;

Ne gussaako amatabi ng’ekimera ekiggya.

10 Naye omuntu afa n’aba nga takyalina ky’asobola kukola;

Omuntu bw’afa, aba ali ludda wa?+

11 Amazzi gaggwaamu mu nnyanja,

N’omugga guggwaamu amazzi ne gukalira.

12 N’abantu bagalamira ne batayimuka.+

Ng’eggulu likyaliwo, tebalizuukuka

Era tebalizuukusibwa mu tulo twabwe.+

13 Kale singa onkwese emagombe,*+

N’onkuumira eyo okutuusa obusungu bwo lwe bwandiyise,

N’ongerera ekiseera n’onzijukira!+

14 Omuntu bw’afa, asobola okuddamu okuba omulamu?+

Nja kulindirira mmaleko ennaku zange zonna ezingerekeddwa,

Okutuusa lwe nditeebwa.+

15 Olimpita, nange ndikuyitaba.+

Olyagala nnyo* omulimu gw’engalo zo.

16 Naye kaakano obala buli kigere kye ntambula;

Ebibi byange byokka by’otunuulira.

17 Ebibi byange bisibiddwa mu nsawo,

N’ensobi zange ozisibye ne ggaamu.

18 Ng’olusozi bwe lugwa ne lusaanawo

Era ng’olwazi bwe luggibwa mu kifo kyalwo,

19 Era ng’amazzi bwe gaggweereza amayinja,

Era ne gakuluggusa ettaka,

Naawe bw’otyo bw’omazeewo essuubi omuntu ly’alina.

20 Omumala amaanyi okutuusa lw’asaanawo;+

Okyusa endabika ye n’omugoba n’agenda.

21 Abaana be baweebwa ebitiibwa, n’atakimanya;

Era bafeebezebwa, n’atakitegeera.+

22 Obulumi abuwulira akyalina omubiri gwe,

Era akungubaga akyali mulamu.”

15 Awo Erifaazi+ Omutemani n’addamu nti:

 2 “Omuntu ow’amagezi anaddamu ng’ayogera ebigambo ebitaliimu nsa,

Oba anajjuza olubuto lwe embuyaga ey’ebuvanjuba?

 3 Tekigasa kunenya muntu na bigambo bugambo,

Era n’okwogera obwogezi tekigasa.

 4 Kubanga oleetera abalala obutatya Katonda,

Era oleetera abalala obutalowooza ku Katonda.

 5 Kubanga ensobi z’okola ze zikuleetera okwogera bw’otyo,

Era okozesa olulimi olulimba.

 6 Akamwa ko ke kakusalira omusango, so si nze;

Emimwa gyo gye gikulumiriza.+

 7 Ggwe muntu eyasooka okuzaalibwa,

Oba ggwe wasooka ensozi okubaawo?

 8 Owuliriza ebyo Katonda by’ayogera mu kyama,

Oba olowooza ggwe wekka alina amagezi?

 9 Kiki ky’omanyi ffe kye tutamanyi?+

Kiki ky’otegeera ffe kye tutategeera?

10 Abakaddiye n’ab’envi bali wamu naffe,+

Abasajja abasinga kitaawo obukulu.

11 Okubudaabudibwa Katonda tekikumala,

Oba ebigambo bye tukubuulira mu bukkakkamu?

12 Kiki ekireetera omutima gwo okwegulumiza,

Era lwaki otunuza busungu?

13 Kubanga Katonda kennyini gw’osunguwalidde,

N’oleka ebigambo ng’ebyo okuva mu kamwa ko.

14 Omuntu obuntu ayinza atya okuba omulongoofu,

Oba omuntu yenna azaalibwa omukazi ayinza atya okuba omutuukirivu?+

15 Laba! Teyeesiga batukuvu be,

Era n’eggulu si ddongoofu mu maaso ge.+

16 Kati olwo kiba kitya bwe kituuka ku muntu omubi era atali mwesigwa,+

Omuntu anywa obutali butuukirivu ng’amazzi!

17 Mpuliriza nkubuulire!

Nja kukubuulira bye ndabye,

18 Abantu ab’amagezi bye boogedde nga babiggya ku bakitaabwe,+

Ebintu bye batakwese.

19 Be bokka abaaweebwa ensi,

Era tewali mugwira eyayita mu bo.

20 Omuntu omubi abonaabona ennaku zonna ez’obulamu bwe,

Emyaka gyonna egyagerekerwa omuntu anyigiriza abalala.

21 Awulira mu matu ge amaloboozi agamutiisa;+

Alumbibwa abazigu mu kiseera eky’emirembe.

22 Takikkiriza nti aliva mu kizikiza;+

Era alindirira okuttibwa n’ekitala.

23 Adda eno n’eri ng’anoonya emmere,* era abuuza nti: “Eruwa?”

Akimanyi bulungi nti ekiseera eky’ekizikiza kituuse.

24 Ennaku n’obuyinike bimutiisa;

Bimumala amaanyi nga kabaka ow’amaanyi azze okulumba.

25 Kubanga agalulira Katonda omukono,

Era agezaako okujeemera* Omuyinza w’Ebintu Byonna;

26 Afubutuka okumulumba,

N’engabo ye ennene era engumu;

27 Mugevvu mu maaso,

Era agezze n’akabina;

28 Abeera mu bibuga ebigenda okuzikirizibwa,

Mu nnyumba ezitajja kusulwamu,

Ezijja okufuuka entuumu y’amayinja.

29 Tajja kugaggawala, era eby’obugagga bye tebijja kuba bingi,

Era ebintu bye tebijja kwala mu nsi.

30 Tajja kuva mu kizikiza;

Omuliro gujja kukaza ettabi lye,

Era ajja kuggibwawo n’omukka oguva mu kamwa ka Katonda.*+

31 Tasaanidde kuwaba ne yeesiga ebitaliimu,

Kubanga by’anaafunamu bijja kuba tebigasa;

32 Bijja kubaawo ng’olunaku lwe terunnatuuka,

Era amatabi ge tegajja kweyongera bungi.+

33 Ajja kuba ng’omuzabbibu ogukunkumula ezzabbibu eritannaba kwengera,

Era ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebimuli byagwo.

34 Kubanga abatatya Katonda* banaabanga bagumba,+

Era omuliro gujja kwokya weema ze baafuna mu kulya enguzi.

35 Baba mbuto za bizibu ne bazaala ebibi,

Era embuto zaabwe zizaala obulimba.”

16 Yobu n’addamu nti:

 2 “Mpulidde bingi ebiringa ebyo.

Mu kifo ky’okumbudaabuda mwongedde kunnakuwaza!+

 3 Ebigambo ebyo ebitaliimu tebiikome?

Kiki ekibaleetera okunnyanukula bwe mutyo?

 4 Nange nsobola okwogera nga bwe mwogera.

Singa mmwe mubadde mu mbeera gye ndimu,

Nnandibadde nsobola okuboogerera ebigambo,

Ne mbanyeenyeza n’omutwe.+

 5 Naye mu kifo ky’ekyo, nnandyogedde ebigambo ebyandibazzizzaamu amaanyi,

Era ebigambo byange byandibaleetedde obuweerero.+

 6 Bwe njogera obulumi bwange tebukendeera,+

Era bwe ndekera awo okwogera, obulumi bwange bukendeera kyenkana wa?

 7 Naye kaakano ankooyezza;+

Ab’omu maka gange bonna* abasaanyizzaawo.

 8 Era onkutte, ekyo kifuuse mujulirwa,

Obukovvu bwange bunnumiriza mu maaso gange.

 9 Obusungu bwe buntaaguddetaagudde, era ansibidde ekiruyi.+

Annumidde obugigi.

Omulabe wange antunuuliza bukambwe.+

10 Bayasamizza akamwa kaabwe okummira,+

Era bankubye empi ku matama ne banswaza;

Bankuŋŋaanirako.+

11 Katonda ampaayo eri abavubuka,

Era ansuula mu mikono gy’ababi.+

12 Nnali mu mirembe, naye n’ammenyaamenya;+

Yankwata ku nsingo n’ambetenta;

Era n’andasa obusaale bwe.

13 Abalasi be ab’obusaale banzingiza enjuyi zonna;+

Afumita ensigo zange+ era tansaasira;

Ayiwa amazzi g’omu kalulwe kange ku ttaka.

14 Ambomolabomola ng’abomola ekisenge;

Annumba ng’omulwanyi omuzira.

15 Ntunze ebibukutu okubikka omubiri gwange,+

Era ekitiibwa* kyange nkiziise mu nfuufu.+

16 Amaaso gange gamyuse olw’okukaaba amaziga,+

Era gazzeeko ekifu eky’amaanyi,*

17 Wadde ng’emikono gyange tegikolangako kintu kyonna kibi,

Era nga n’okusaba kwange kulongoofu.

18 Ggwe ensi, tobikka musaayi gwange!+

N’okukaaba kwange kuleme kubaako we kuwummulira!

19 Ne kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;

Oyo asobola okumpolereza ali waggulu.

20 Mikwano gyange bansekerera,+

Ng’amaaso gange gakaabira Katonda amaziga.+

21 Ka wabeewo asala omusango wakati w’omuntu ne Katonda,

Ng’omuntu bwe yandisaze omusango wakati w’omuntu ne munne.+

22 Kubanga emyaka egijja mitono,

Era ndigenda ne sikomawo.+

17 “Amaanyi gampedde, ennaku zange ziweddeyo;

Entaana y’ennindiridde.+

 2 Abakudaazi banneetoolodde,+

Era amaaso gange galaba ebikolwa byabwe eby’obujeemu.

 3 Nkusaba okkirize kye nkusingira, era okikuume.

Omulala anankwata mu ngalo n’anneeyimirira y’ani?+

 4 Kubanga emitima gyabwe ogikisizza okutegeera;+

Eyo ye nsonga lwaki tobagulumiza.

 5 Ebintu bye asobola okubigabirako mikwano gye,

Ng’ate amaaso g’abaana be gayimbaala olw’enjala.

 6 Anfudde eky’okusekererwa* mu bantu,+

Era mpandulirwa amalusu mu maaso.+

 7 Ennaku ereetedde amaaso gange okuyimbaala,+

Era nzenna nkozze.

 8 Abantu abatuukirivu bandaba ne beewuunya,

N’ataliiko musango anakuwala olw’oyo atatya Katonda.*

 9 Omutuukirivu yeeyongera okunywerera mu kkubo lye,+

N’ataliiko musango yeeyongera okuba n’amaanyi.+

10 Kale mmwenna mukomeewo muddemu bye mubadde mwogera,

Kubanga mu mmwe sirabyemu muntu wa magezi.+

11 Ennaku zange ziweddeyo;+

Bye mbadde nteekateeka, bye mbadde nneegomba, bikomye.+

12 Ekiro bakiyita misana,

Nga bagamba nti, ‘Bunaatera okutangaala kubanga obudde buzibye.’

13 Bwe nnindirira, amagombe* ge gajja okuba amaka gange;+

Nja kwala obuliri bwange mu kizikiza.+

14 Entaana*+ nja kugigamba nti, ‘Ggwe kitange!’

N’envunyu ngigambe nti, Ggwe mmange era mwannyinaze!’

15 Kale essuubi lyange liri ludda wa?+

Waliwo omuntu yenna ayinza okugamba nti nnina essuubi?

16 Lijja kukkirira mu miryango gy’amagombe* egisibiddwa,

Ffenna lwe tulikkirira mu nfuufu.”+

18 Awo Birudaadi+ Omusuuki n’addamu nti:

 2 “Onookoma ddi okwogera bw’otyo?

Sooka okirage nti otegeera, naffe tulyoke twogere.

 3 Lwaki otutwala ng’ensolo+

Era ng’abasiru?*

 4 Ne bwe weetaagulataagula olw’obusungu,

Ensi eneeyabulirwa ku lulwo,

Oba olwazi lunaava mu kifo kyalwo?

 5 Mu butuufu, ettaala y’omubi ejja kuzikizibwa,

N’omuliro gwe gujja kulekera awo okwaka.+

 6 Ekitangaala ky’omu weema ye kijja kufuuka kizikiza,

N’ettaala emumulisa ejja kuzikizibwa.

 7 Takyatambuza maanyi,

N’amagezi ge gajja kumusuula.+

 8 Ebigere bye bijja kumutwala mu kitimba,

Era ajja kutambula akigwemu.

 9 Omutego gujja kumukwata ekisinziiro;

Ekyambika kijja kumunyweza.+

10 Bamuteze omuguwa mu ttaka,

Era bateze omutego mu kkubo lye.

11 Ebitiisa bimwetoolodde enjuyi zonna+

Era bimugoba bugeregere.

12 Aggwaamu amaanyi,

N’akatyabaga+ kajja kumuleetera okutagala.*

13 Olususu lwe luliiriddwa;

Ekirwadde eky’akabi kimulidde* emikono n’amagulu.

14 Asikambulwa mu weema ye+

N’atwalibwa eri kabaka w’entiisa.

15 Abantu b’atamanyi* bajja kubeera mu weema ye;

Amayinja agookya gajja kumansirwa mu maka ge.+

16 Emirandira gye gijja kukalira wansi we,

N’amatabi ge gajja kuwotokera waggulu we.

17 Taliddamu kujjukirwa ku nsi,

N’erinnya lye teririmanyibwa* mu nguudo.

18 Ajja kuggibwa mu kitangaala atwalibwe mu kizikiza,

Era ajja kugobebwa mu nsi.

19 Taliba na mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,

Era w’abeera* tewalisigalawo muntu n’omu.

20 Olunaku lwe bwe lunaatuuka, abantu b’Ebugwanjuba bajja kuwuniikirira,

N’abantu b’Ebuvanjuba bajja kutya.

21 Ekyo kye kituuka ku weema z’omukozi w’ebibi,

Ne ku kifo ky’oyo atamanyi Katonda.”

19 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Munaatuusa wa okunnyiiza,+

Nga mummenyaamenya n’ebigambo byammwe?+

 3 Munnenyezza* emirundi kkumi;

Temukwatiddwa nsonyi kumpisa bubi bwe muti.+

 4 Bwe mba nga nnakola ensobi,

Ensobi eyo eba yange.

 5 Bwe mweyongera okunneekulumbalizaako,

Nga mugamba nti ekivume ekindiko kiŋŋwanidde,

 6 Mumanye nga Katonda y’ampabizza,

N’ankwasiza mu kitimba kye.

 7 Laba! Bwe ndeekaana nti, ‘Ettemu!’ tewaba anziramu;+

Nkoowoola bannyambe, naye tewali bwenkanya.+

 8 Ekkubo lyange alizibye n’ekisenge ky’amayinja, era sirina we mpita;

Amakubo gange agataddemu ekizikiza.+

 9 Anzigyeeko ekitiibwa kyange,

Era aggye engule ku mutwe gwange.

10 Ammenyaamenya enjuyi zonna okutuusa lwe nsaanawo;

Essuubi lyange alisiguukuludde ng’omuti.

11 Obusungu bwe bumbuubuukira,

Era antwala ng’omulabe we.+

12 Eggye lye lijja ne linzingiza,

Lisiisira okwetooloola weema yange.

13 Angobyeeko baganda bange,

N’abo abammanyi banjabulidde.+

14 Mikwano gyange egy’oku lusegere* gigenze,

N’abo be nnali mmanyi obulungi banneerabidde.+

15 Abo be nnakyazanga mu maka gange+ n’abazaana bange bantwala ng’omuntu gwe batamanyi;

Ndi mugwira gye bali.

16 Mpita omuddu wange, naye tannyanukula;

Mmwegayirira ankwatirwe ekisa.

17 Mukyala wange anneenyinyala olw’omukka oguva mu kamwa kange,+

Era mpunyirira baganda bange.*

18 N’abaana abato bannyooma;

Bwe nsituka, bansekerera.

19 Mikwano gyange gyonna egy’oku lusegere ginkyaye,+

N’abo be nnayagalanga banneefuulidde.+

20 Nzenna nkozze nsigadde magumba meereere,+

Era mponera watono okufa.

21 Munsaasire, munsaasire mikwano gyange,

Kubanga Katonda ankubye.+

22 Lwaki munjigganya nga Katonda bw’anjigganya,+

Ne munnumba olutatadde?+

23 Kale singa ebigambo byange biwandiikiddwa,

Singa biwandiikiddwa mu kitabo!

24 Kale singa byoleddwa ku lwazi,

N’ekkalaamu ey’ekyuma n’erisasi ne bibeera okwo emirembe n’emirembe!

25 Kubanga nkimanyi nti omununuzi wange+ mulamu;

Alijja n’ayimirira ku nsi.*

26 Wadde ng’olususu lwange lwonooneddwa bwe luti,

Ndiraba Katonda nga nkyalina omubiri gwange,

27 Nze kennyini ndimulaba, so si mulala,+

Amaaso gange galimulaba.

Naye muli mpulira nga ntendewaliddwa!

28 Kubanga mugamba nti, ‘Tumuyigganya tutya?’+

Okuva bwe kiri nti nze nvaako obuzibu.

29 Mutye ekitala,+

Kubanga abakola ebibi babonerezebwa na kitala;

Kale mumanye nga waliyo omulamuzi.”+

20 Awo Zofali+ Omunaamasi n’addamu nti:

 2 “Ebirowoozo byange kyebivudde bimpaliriza okwogera,

Kubanga ndi munakuwavu.

 3 Mpulidde okunenya okunnyiizizza;

Okutegeera kwange kumpaliriza okubaako kye nziramu.

 4 Mazima ddala, kino wandibadde okimanyi,

Kubanga kibadde bwe kityo kasookedde omuntu* ateekebwa ku nsi,+

 5 Nti essanyu ly’omubi liba lya kaseera katono

Era nti essanyu ly’oyo atatya Katonda* liba lya kaseera buseera.+

 6 Ekitiibwa kye ne bwe kirinnya okutuuka mu ggulu

N’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,

 7 Alisaanawo emirembe gyonna ng’empitambi ye;

Abo abaamulabanga balyebuuza nti, ‘Ali ludda wa?’

 8 Alibulawo ng’ekirooto, ne bataddamu kumulaba;

Aligobebwa ng’okwolesebwa okw’ekiro.

 9 Eriiso eryamulabako teririddamu kumulaba,

N’ekifo kye tekiriddamu kumulabako.+

10 Abaana be balyagala okusaasirwa abaavu,

Era aliddiza abalala eby’obugagga byabwe.+

11 Amagumba ge gaali gajjudde amaanyi g’ekivubuka,

Naye amaanyi ago aligalamira nago mu nfuufu.

12 Wadde ng’ekibi kimuwoomera mu kamwa,

N’akikweka wansi w’olulimi lwe,

13 N’akigaaya mpolampola nga tayagala kiggweewo,

Era n’akibatika mu kamwa ke,

14 Ky’alya kijja kwonoonekera munda ye;

Kijja kuba ng’obusagwa* bw’enswera munda ye.

15 Amize eby’obugagga, naye ajja kubisesema;

Byonna Katonda ajja kubiggya mu lubuto lwe.

16 Ajja kunuuna obusagwa bw’enswera;

Amannyo* g’omusota ogw’obusagwa gajja kumutta.

17 Taliraba migga gy’amazzi,

Egy’omubisi gw’enjuki, n’egy’omuzigo.

18 Aliwaayo ebintu bye nga tabikozesezza;*

Taliganyulwa mu by’obugagga bye yafuna.+

19 Kubanga amenyeemenye abaavu n’abaleka awo;

Anyaze ennyumba gy’ataazimba.

20 Naye taliba na mirembe;

Eby’obugagga by’alina tebirimuwonya.

21 Tasigazizzaawo kya kulya;

Eyo ye nsonga lwaki eby’obugagga bye tebiriba bya lubeerera.

22 Eby’obugagga bye bwe birisukkirira obungi, alyeraliikirira;

Era alifuna ebizibu bingi.

23 Bw’aliba alya,

Katonda alimwolekeza obusungu bwe,

Bulimutonnyako ne butuuka mu byenda bye.

24 Bw’alidduka eby’okulwanyisa eby’ekyuma,

Obusaale obulasibwa okuva ku mutego ogw’ekikomo bulimufumita.

25 Asika akasaale mu mugongo gwe,

Akasaale akamasamasa okuva mu kalulwe ke,

Entiisa n’emukwata.+

26 Ekizikiza ekikutte kirindiridde eby’obugagga bye;

Omuliro ogutaliiko awujja gulimwokya;

Akabi kalituuka ku abo bonna abaliwonawo mu weema ye.

27 Eggulu liryanika ekibi kye;

N’ensi erimulwanyisa.

28 Amataba galisaanyaawo ennyumba ye;

Amazzi galiba mangi nnyo ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.*

29 Ogwo gwe mugabo Katonda gw’awa omuntu omubi,

Era bwe busika Katonda bw’amuwa.”

21 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Muwulirize bulungi kye ŋŋamba;

Eyo ye ngeri gye muba munkubagizaamu.

 3 Mundeke njogere;

Bwe nnaamala okwogera mulyoke munkudaalire.+

 4 Nneemulugunyiza bantu?

Singa kibadde bwe kityo, nnandibadde nva mu mbeera.

 5 Muntunuulire, mwewuunye;

Mukwate ku mimwa.

 6 Bwe nkirowoozaako, nnakuwala,

Nzenna ne nneesisiwala.

 7 Lwaki ababi baba balamu,+

Ne bakaddiwa, era ne bagaggawala?*+

 8 Baba n’abaana baabwe bulijjo,

Era balaba ne bazzukulu baabwe.

 9 Amaka gaabwe gaba mu mirembe nga tewali kye gatya,+

Era Katonda tababonereza na muggo gwe.

10 Ente zaabwe ennume ziwakisa enkazi;

Era ente zaabwe zizaala bulungi era tezivaamu mawako.

11 Abaana baabwe baddukira wabweru ng’ekisibo,

Era babuukabuuka nga badda eno n’eri.

12 Bayimba nga bwe bakuba obugoma obutono n’entongooli

Era banyumirwa amaloboozi g’endere.+

13 Ababi baba basanyufu obulamu bwabwe bwonna,

Era bakka emagombe* mu mirembe.*

14 Bagamba Katonda ow’amazima nti, ‘Tuveeko!

Tetwagala kumanya makubo go.+

15 Omuyinza w’Ebintu Byonna y’ani, tulyoke tumuweereze?+

Kitugasa ki okumumanya?’+

16 Naye nkimanyi nti tebalina buyinza ku by’obugagga byabwe.+

Endowooza* y’ababi endi wala.+

17 Mirundi emeka ettaala y’ababi lwe yali ezikiziddwa?+

Mirundi emeka lwe baali batuukiddwako akatyabaga?

Mirundi emeka Katonda lwe yali abazikirizza mu busungu bwe?

18 Baali babaddeko ng’ebisubi ebitwalibwa empewo,

Era ng’ebisusunku ebitwalibwa embuyaga?

19 Katonda alibonereza abaana olw’ebibi bya kitaabwe.

Naye Katonda alimusasula era alikimanya.+

20 Amaaso ge gennyini ka galabe okuzikirira kwe,

Era k’anywe obusungu bw’Omuyinza w’Ebintu Byonna.+

21 Kubanga bw’amala okuvaawo aba afaayo ki ku ebyo ebituuka ku b’omu nnyumba ye,

Ng’emyezi gye gisaliddwako?+

22 Waliwo omuntu yenna ayinza okubaako ky’ayigiriza Katonda,+

Nga y’asalira n’abantu ab’ekitiibwa omusango?+

23 Omuntu omu afa ng’akyalina amaanyi,+

Ng’ali mu mirembe era nga talina kintu kyonna kimweraliikiriza,+

24 Ng’ebisambi bye bigezze

Era nga n’amagumba ge magumu.*

25 Naye omulala n’afa nga mwennyamivu,

Nga taleganga ku kintu kyonna kirungi.

26 Bombi bagalamira mu nfuufu,+

Envunyu ne zibabuutikira.+

27 Laba! mmanyi bulungi kye mulowooza,

N’akabi ke muteesa okuntuusaako.+

28 Kubanga mugamba nti, ‘Ennyumba y’omukungu eri ludda wa?

Era weema omubi gye yabeerangamu eri ludda wa?’+

29 Abo abatambula eŋŋendo temubabuuzanga?

Temwekenneenya ebyo bye boogera,*

30 Nti omuntu omubi awonyezebwawo ku lunaku olw’akatyabaga

N’anunulwa ku lunaku olw’obusungu?

31 Ani anaamunenya olw’enneeyisa ye?

Era ani anaamusasula olw’ekyo ky’akoze?

32 Bw’atwalibwa mu ntaana,

Amalaalo ge gajja kukuumibwa.

33 Ebifunfugu by’omu kiwonvu bijja kumuwoomera,+

Era abantu bonna bamugoberera,*+

Okufaananako abo abatabalika abaamusookayo.

34 Kale lwaki mumbudaabuda n’ebigambo ebitaliimu nsa?+

Byonna bye mwogera bya bulimba!”

22 Awo Erifaazi+ Omutemani n’addamu nti:

 2 “Omuntu asobola okuba ow’omugaso eri Katonda?

Omuntu yenna ow’amagezi alina ky’amugasa?+

 3 Omuyinza w’Ebintu Byonna kimusanyusa olw’okuba oli mutuukirivu,

Oba alina bw’aganyulwa bw’okuuma obwesigwa bwo?+

 4 Anaakubonereza,

Era n’akuwozesa olw’okumussaamu ekitiibwa?

 5 Ebibi byo si bye bingi,

Era nga tebiriiko kkomo?+

 6 Kubanga oggya omusingo ku baganda bo awatali nsonga,

N’abantu obambulamu ebyambalo byabwe n’obaleka bukunya.*+

 7 Abakooye tobawa mazzi ga kunywa,

N’abalumwa enjala tobawa mmere.+

 8 Ettaka liba ly’abo ab’amaanyi,+

Era ab’ekitiibwa be balibeerako.

 9 Wagobanga bannamwandu nga tolina ky’obawadde,

Era wanafuyanga emikono gy’abaana abatalina bakitaabwe.*

10 Kyova weetooloolwa emitego,*+

Era eby’entiisa bikukanga;

11 Era eyo ye nsonga lwaki waliwo ekizikiza eky’amaanyi n’oba nga tosobola kulaba,

Era amazzi amangi gakubikka.

12 Katonda tali waggulu mu ggulu?

Era laba emmunyeenye zonna bwe ziri waggulu ennyo.

13 Naye ogambye nti: ‘Katonda amanyi ki?

Asobola okusala emisango ng’ekizikiza eky’amaanyi kimusiikirizza?

14 Ebire bimusiikiriza n’atalaba

Ng’atambulira ku nkulungo y’eggulu.’

15 Onookwata ekkubo ery’edda

Abantu ababi lye baatambuliramu,

16 Okufa be kwakwakkula amangu,

Omusingi gwabwe ne gutwalibwa amataba?*+

17 Baagambanga Katonda ow’amazima nti: ‘Tuveeko!’

Era nti ‘Omuyinza w’Ebintu Byonna ayinza kutukola ki?’

18 So ng’ate ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi.

(Sisobola kuba na ndowooza ng’eyo embi.)

19 Abatuukirivu baliraba okuzikirira kw’ababi ne basanyuka,

Era abo abatalina musango balibasekerera ne bagamba nti:

20 ‘Abalabe baffe bazikiriziddwa,

Era omuliro gulyokya abasigaddewo.’

21 Manya Katonda obe n’emirembe;

Olyoke ofune ebintu ebirungi.

22 Kkiriza amateeka ge,

Era okuumire ebigambo bye mu mutima gwo.+

23 Bw’onodda eri Omuyinza w’Ebintu Byonna, ojja kuddamu obeere bulungi;+

Era bw’onoggya obutali butuukirivu mu weema yo,

24 N’osuula zzaabu wo mu nfuufu

Era zzaabu w’e Ofiri+ n’omusuula mu biwonvu omuli amayinja,

25 Kale Omuyinza w’Ebintu Byonna anaaba zzaabu wo,

Era anaaba ffeeza wo asingayo obulungi.

26 Onoosanyuka olw’Omuyinza w’Ebintu Byonna,

Era onooyimusa amaaso go eri Katonda.

27 Onoomwegayirira n’akuwulira;

Era onoosasulanga obweyamo bwo.

28 Kyonna ky’onoosalangawo okukola tekiigwe butaka,

N’ekitangaala kinaamulisa ekkubo lyo.

29 Kubanga onoofeebezebwa bw’onooyogeza amalala,

Naye anaalokola abawombeefu.

30 Ajja kununula abo abataliiko musango;

Era engalo zo bwe zinaaba ennongoofu, ojja kununulibwa.”

23 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Ne leero nja kweyongera okwemulugunya;+

Mpeddemu amaanyi olw’okusinda.

 3 Kale singa mmanyi gye nnyinza okusanga Katonda!+

Nnandigenze gy’abeera.+

 4 Nnandyanjudde ensonga zange mu maaso ge,

Era ne nneewozaako;

 5 Nnanditegedde engeri gye yandinzizeemu,

Era nnandissizzaayo omwoyo ku by’aŋŋamba.

 6 Yandikozesezza obuyinza bwe obungi okumpakanya?

Nedda, yandimpulirizza.+

 7 Eyo omugolokofu yanditereezezza ensonga ze naye,

Era Omulamuzi wange yandinnejjeerezza.

 8 Naye bwe ŋŋenda ebuvanjuba, simulabayo;

Era bwe nkomawo, simusanga.

 9 Bw’aba akolera ku mukono ogwa kkono, simulaba;

Bw’akyuka n’adda ku mukono ogwa ddyo, era sisobola kumulaba.

10 Kyokka amanyi ekkubo lye nkutte.+

Bw’alimala okungezesa, ndiba nga zzaabu alongooseddwa.+

11 Ebigere byange bigoberedde ebigere bye;

Sikyamye kuva mu kkubo lye.+

12 Sivanga ku biragiro bye.

Ebigambo bye mbyagadde nnyo+ n’okusinga ekyo ky’anneetaagisa.*

13 Bw’aba amaliridde okukola ekintu, ani ayinza okumulemesa?+

Bw’aba alina ky’ayagala okukola, akikola.+

14 Kubanga ajja kutuukiriza byonna by’anteekeddeteekedde,

Era abirina mu bungi.

15 Kyenva mmweraliikirira;

Bwe mmulowoozaako, nneeyongera okutya.

16 Katonda aleetedde omutima gwange okutekemuka,

Omuyinza w’Ebintu Byonna andeetedde okutya.

17 Naye ekizikiza tekinsirisizza,

Wadde nga kibisse amaaso gange.

24 “Lwaki Omuyinza w’Ebintu Byonna tassaawo kiseera kya kusaliramu musango?+

Lwaki abo abamumanyi tebalaba lunaku lwe olw’okusalirako omusango?

 2 Abantu bajjulula obubonero obulamba ensalosalo;+

Banyaga endiga ne bazitwala mu malundiro gaabwe.

 3 Batwala endogoyi z’abaana abatalina bakitaabwe,

Era batwala ente ya nnamwandu ng’omusingo.+

 4 Bagoba abaavu mu nguudo;

Abateesobola abali mu nsi babeekweka.+

 5 Abaavu banoonya emmere ng’endogoyi ez’omu nsiko+ bwe ziginoonya mu ddungu;

Mu ddungu gye banoonya emmere ey’okuliisa abaana baabwe.

 6 Bakungula mu nnimiro z’abalala

Era balonderera ebiba bisigalidde mu nnimiro z’emizabbibu ez’ababi.

 7 Basula bwereere, nga tebalina kye bambadde;+

Tebalina kya kwebikka mu budde obw’empewo.

 8 Enkuba ey’omu nsozi ebakuba;

Beekwata ku njazi olw’okubulwa aw’okweggama.

 9 Omwana atalina kitaawe akwakkulwa ku mabeere ga nnyina;+

Era ebyambalo by’abaavu bitwalibwa ng’omusingo,+

10 Ne bawalirizibwa okutambula obukunya, nga tebalina kye bambadde,

N’okulumwa enjala nga beetisse ebinywa by’emmere ey’empeke.

11 Bakuluusana mu musana omungi nga bali wakati w’ebisenge by’amayinja;

Basogola ezzabbibu mu masogolero, kyokka ne balumwa ennyonta.+

12 Abafa basindira mu kibuga;

N’abatuusiddwako ebisago eby’amaanyi bawanjaga,+

Naye Katonda takifaako.*

13 Waliwo abo abajeemera ekitangaala;

Tebategeera makubo gaakyo,+

Era tebatambulira mu mpenda zaakyo.

14 Omutemu agolokoka ng’obudde bukya,

N’atta ateesobola n’omwavu,+

Ate ekiro n’abba.

15 Amaaso g’omusajja omwenzi galinda obudde ne buwungeera,+

N’agamba nti, ‘Tewali n’omu ajja kundaba!’+

Ne yeebikka mu maaso.

16 Ekiro bamenya ennyumba ne bayingira;

Emisana beggalira mu nnyumba.

Beewala ekitangaala.+

17 Gye bali, obudde obw’oku makya bulinga ekizikiza ekikutte;

Bamanyidde ebintu eby’entiisa eby’omu kizikiza ekikutte.

18 Naye batwalibwa amazzi.

Ekibanja kyabwe kijja kukolimirwa.+

Tebaliddayo mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.

19 Ng’ekyeya n’ebbugumu bwe bimalawo omuzira ogusaanuuse,

N’amagombe* bwe gatyo bwe gamalawo aboonoonyi.+

20 Nnyina ajja kumwerabira, n’envunyu zijja kumulya.

Tajja kujjukirwa nate.+

Era obutali butuukirivu bujja kumenyebwa ng’omuti.

21 Ayisa bubi omukazi omugumba,

Era abonyaabonya nnamwandu.

22 Katonda ajja kukozesa amaanyi ge okuggyawo ab’amaanyi;

Ne bwe baba mu bifo ebya waggulu tebaba na ssuubi ku bulamu.

23 Katonda abaleka ne baba bagumu era ne bawulira nga balina obukuumi,+

Naye amaaso ge galaba byonna bye bakola.*+

24 Bagulumizibwa okumala akaseera katono, oluvannyuma ne basaanawo.+

Bafeebezebwa+ era ne bafa ng’abantu abalala bonna;

Basalibwa ng’ebirimba by’eŋŋaano ebisalibwa ku kikolo.

25 Kale ani ayinza okuleeta obukakafu obulaga nti ndi mulimba,

Oba okuwakanya ebigambo byange?”

25 Awo Birudaadi+ Omusuuki n’addamu nti:

 2 “Obufuzi n’amaanyi ag’entiisa bibye;

Assaawo emirembe mu ggulu.

 3 Amagye ge gasobola okubalibwa?

Ani atayakirwa kitangaala kye?

 4 Kati olwo, omuntu obuntu ayinza atya okuba omutuukirivu mu maaso ga Katonda,+

Oba omuntu azaalibwa omukazi ayinza atya obutabaako musango?*+

 5 Bwe kiba nti gy’ali omwezi tegwaka,

Era nga n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge,

 6 Kati olwo kiba kitya eri omuntu obuntu alinga envunyu,

Era omwana w’omuntu alinga olusiriŋŋanyi!”

26 Awo Yobu n’addamu nti:

 2 “Ng’oyambye oyo atalina maanyi!

Ng’olokodde omukono ogutalina maanyi!+

 3 Amagezi g’owadde oyo atalina magezi nga mangi nnyo,+

Ng’omanyisizza amagezi go!

 4 Ani gw’ogezaako okwogera naye,

Era ani eyakuleetedde okwogera ebigambo ng’ebyo?*

 5 Abaafa bakankana;

Bali wansi n’okusinga amazzi n’ebyo ebigalimu.

 6 Emagombe* teri kikwekeddwa Katonda,+

Era alaba byonna ebiri mu kifo eky’okuzikiririramu.

 7 Abamba eggulu ery’ebukiikakkono* mu bbanga ejjereere.+

Era awanika ensi awatali kigiwanirira.

 8 Asiba amazzi mu bire bye,+

Ebire ne bitaabika olw’obuzito;

 9 Asiikiriza entebe ye ey’obwakabaka,

Ng’agibikkako ekire kye.+

10 Ateeka ensalo ku mazzi;+

Ateekawo ensalo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza.

11 Empagi z’eggulu zeenyeenya;

Bw’akangula ku ddoboozi zikankana.

12 Afuukuula ennyanja ng’akozesa amaanyi ge,+

Era ng’akozesa okutegeera kwe, amenyaamenya ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja.*+

13 Omukka gw’assa gwerula eggulu;

Engalo ze zifumita omusota omuzibu okukwata.

14 Naye ebyo bitono nnyo ku ebyo by’akola;

Bye tumuwulirako bye bitono ddala.+

Kale ani ayinza okutegeera engeri gy’aleeteramu eggulu okubwatuka n’amaanyi?”+

27 Awo Yobu ne yeeyongera okwogera, n’agamba nti:

 2 “Nga Katonda atandaze bwenkanya+ bw’ali omulamu,

Era ng’Omuyinza w’Ebintu Byonna andeetedde ennaku eno+ bw’ali omulamu,

 3 Bwe mba nga nkyassa,

Era nga n’omukka oguva eri Katonda gukyandimu,+

 4 Emimwa gyange tegijja kwogera bitali bya butuukirivu;

N’olulimi lwange telujja kwogera bya bulimba!

 5 Kikafuuwe nze okubayita abatuukirivu!

Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu* bwange!+

 6 Nja kukuuma obutuukirivu bwange era siribuleka;+

Omutima gwange tegujja kunvunaana obulamu bwange bwonna.

 7 Omulabe wange k’abe ng’ababi,

N’abo abankuba ka babe ng’abatali batuukirivu.

 8 Omuntu atatya Katonda* aba na ssuubi ki bw’aba ng’azikiriziddwa,+

Nga Katonda aggyeewo obulamu bwe?

 9 Katonda anaawulira okwegayirira kwe

Bw’anaaba mu buyinike?+

10 Oba omuntu oyo anaasanyuka olw’Omuyinza w’Ebintu Byonna?

Anaakoowoola Katonda ebbanga lyonna?

11 Nja kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;*

Sijja kubakisa kintu kyonna ekikwata ku Muyinza w’Ebintu Byonna.

12 Bwe muba nga mmwenna mwafuna okwolesebwa,

Lwaki bye mwogera tebiriimu nsa?

13 Guno gwe mugabo omuntu omubi gw’afuna okuva eri Katonda,+

Obusika abo abanyigiriza abalala bwe bafuna okuva eri Omuyinza w’Ebintu Byonna.

14 Abaana be bwe banaayala, bajja kuttibwa n’ekitala,+

Ne bazzukulu be tebajja kuba na mmere emala.

15 Abo abanaasigalawo bajja kufa endwadde,

Era bannamwandu baabwe tebajja kubakaabira.

16 Ne bw’atuuma ffeeza n’aba ng’enfuufu,

Era n’aba n’ebyambalo bingi ng’entuumu y’ebbumba,

17 Ne bw’abikuŋŋaanya,

Omutuukirivu alibyambala,+

N’abataliiko musango baligabana ffeeza we.

18 Ennyumba omubi gy’azimba eba nnafu ng’ekiyumba ky’ekiwuka,

Eba ng’akasiisira+ k’omukuumi.

19 Ajja kugenda okwebaka nga mugagga, naye tajja kukungula kintu kyonna;

Bw’anaazibula amaaso ge, tewajja kubaawo kintu kyonna.

20 Entiisa emubuutikira ng’amataba;

Kibuyaga amukwakkula ekiro n’amutwala.+

21 Empewo ey’ebuvanjuba ejja kumutwala, asaanewo;

Emuggya mu kifo w’abeera.+

22 Ejja kumukuntirako awatali kusaasira,+

Nga bw’agezaako okugidduka.+

23 Emukubira mu ngalo

Era n’emufuuyira oluwa+ ng’esinziira mu kifo kyayo.*

28 “Eriyo ekifo gye basima ffeeza

Ne gye baggya zzaabu gwe balongoosa;+

 2 Ekyuma kisimibwa mu ttaka,

Amayinja gasaanuusibwa* ne bafunamu ekikomo.+

 3 Omuntu agoba ekizikiza;

Akkira ddala wansi mu kizikiza ekikutte,

Ng’anoonya amayinja.

 4 Asima mu bifo ebyesudde okuva abantu we babeera,

Mu bifo ebyerabirwa, ebiri ewala ennyo okuva abantu we batambulira;

Abantu abamu bakkirayo ku miguwa ne balengejja.

 5 Emmere erimwa ku nsi;

Naye wansi eyo wayiikuddwa ng’awookeddwa omuliro.

 6 Eyo mu mayinja eriyo safiro,

N’enfuufu erimu zzaabu.

 7 Teri kinyonyi ekirya ennyama ekimanyi ekkubo erigendayo;

Ne kamunye omuddugavu talirabangako.

 8 Teri nsolo nkambwe yali eritambuliddemu;

N’empologoma ey’amaanyi teriyitangamu.

 9 Omuntu ayasa olwazi olugumu n’engalo ze;

Asaanyaawo ensozi ng’azisima okuva ku ntobo yaazo.

10 Atema emikutu gy’amazzi+ mu njazi;

N’amaaso ge galaba buli kintu eky’omuwendo ennyo.

11 Aziba ensulo z’emigga

Era ebyakisibwa abiteeka mu kitangaala.

12 Naye amagezi gayinza kusangibwa wa?+

Era okutegeera kusibuka wa?+

13 Teri muntu ategeera muwendo gwago,+

Era tewali we gayinza kusangibwa mu nsi.

14 Obuziba bugamba, ‘Tegali mu nze!’

N’ennyanja egamba, ‘Tegali nange!’+

15 Tegagulwa zzaabu alongooseddwa;

Ne ffeeza tapimibwa okugagula.+

16 Era tegagulwa zzaabu w’e Ofiri,+

Wadde amayinja ga sokamu n’aga safiro agatasangikasangika.

17 Zzaabu n’endabirwamu tebiyinza kugeraageranyizibwa nago;

Era tegayinza kuwaanyisibwa na kibya kya zzaabu omulungi.*+

18 Amayinja ag’omuwendo omungi ag’omu nnyanja n’amayinja agamasamasa tebiyinza kugeraageranyizibwa nago,+

Kubanga ensawo ejjudde amagezi ya muwendo nnyo okusinga ensawo ejjudde luulu.

19 Tegayinza kugeraageranyizibwa na mayinja ga topazi+ ag’e Kuusi;

Era tegayinza kugulwa zzaabu alongooseddwa.

20 Naye amagezi gava wa,

Era okutegeera kusibuka wa?+

21 Gakisiddwa ebiramu byonna,+

Era gakisiddwa n’ebinyonyi eby’omu bbanga.

22 Okuzikirira n’okufa bigamba nti,

‘Amatu gaffe gaawulirako buwulizi ebigoogerwako.’

23 Katonda amanyi engeri y’okugafunamu;

Ye yekka amanyi gye gali,+

24 Kubanga alaba ensi gy’ekoma,

Era alaba buli kimu ekiri wansi w’eggulu.+

25 Bwe yawa empewo amaanyi* gaayo,+

Era n’apima amazzi,+

26 Bwe yateerawo enkuba etteeka,+

N’enkuba erimu okubwatuka ne kibuyaga n’agiteerawo ekkubo,+

27 Olwo n’alaba amagezi era n’annyonnyola kye gali;

Yagassaawo era n’agagezesa.

28 Awo n’agamba omuntu nti:

‘Laba! Okutya Yakuwa ge magezi,+

Era okwewala ebintu ebibi kwe kutegeera.’”+

29 Yobu n’ayongera okwogera, ng’agamba nti:

 2 “Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita,

Mu kiseera Katonda we yandabiriranga,

 3 Ettaala ye bwe yagimulisanga ku mutwe gwange,

Bwe yammulisanga nga ntambulira mu kizikiza,+

 4 Bwe nnali nga nkyali muvubuka,

Katonda bwe yali nga ye mukwano gwange ow’oku lusegere era ng’ali mu weema yange,+

 5 Omuyinza w’Ebintu Byonna bwe yali ng’akyali nange,

Nga n’abaana* bange banneetoolodde,

 6 Ebigere byange bwe byasaabanga omuzigo,

Nga n’enjazi zinfukira emigga gy’amafuta.+

 7 Bwe nnagendanga ku mulyango gw’ekibuga,+

Ne ntuula mu kibangirizi ekya lukale,+

 8 Abavubuka bandabanga ne bansegulira,*

N’abasajja abakadde baasitukanga ne bayimirira.+

 9 Abakungu tebaayogeranga;

Baakwatanga ku mimwa.

10 Ab’ebitiibwa tebaanyeganga;

Olulimi lwabwe lwakwatiranga ku kibuno kyabwe.

11 Buli eyampuliranga yanjogerangako bulungi,

N’abo abandabanga banjogerangako birungi.

12 Kubanga nnayambanga abaavu abansabanga obuyambi,+

N’omwana atalina kitaawe n’omuntu yenna ataalina amuyamba.+

13 Gwe nnawonyanga yansabiranga omukisa,+

Nnasanyusanga omutima gwa nnamwandu.+

14 Obutuukirivu nnabwambalanga ng’olugoye;

Obwenkanya bwange bwali ng’ekyambalo* era ng’ekiremba.

15 Nnabanga maaso eri muzibe

Era nnabanga bigere eri omulema.

16 Nnali kitaawe w’abaavu;+

Nnanoonyerezanga ku nsonga z’abo be nnali simanyi.+

17 Nnamenyanga emba z’omwonoonyi+

Ne nzigya omuyiggo mu kamwa ke.

18 Nnagambanga nti, ‘Nja kufiira mu maka gange,*+

Era ennaku zange zijja kuba nnyingi ng’omusenyu.

19 Emirandira gyange gijja kulanda gituuke awali amazzi,

N’omusulo gujja kubeera ku matabi gange ekiro kyonna.

20 Ekitiibwa kyange kizzibwa buggya buli kiseera,

Era omutego oguli mu mukono gwange gunaalasanga obusaale.’

21 Abantu bantegeranga amatu,

Ne balindirira mu kasirise mbawe amagezi.+

22 Bwe nnamalanga okwogera, tewali kye baayongerangako;

Ebigambo byange byagwanga* mpolampola mu matu gaabwe.

23 Bannindiriranga ng’abalindirira enkuba;

Baamiranga ebigambo byange ng’abamira enkuba eya ttoggo.+

24 Bwe nnabamwenyezanga, nga tebayinza na kukikkiriza;

Essanyu lye nnayolekanga ku maaso lyabazzangamu amaanyi.

25 Ng’omukulembeze waabwe, nnabawanga obulagirizi,

Nnali nga kabaka ali mu ggye lye,+

Era ng’omuntu abudaabuda abakungubaga.+

30 “Kaakano be nsinga obukulu,

Bansekerera,+

Nga ne bakitaabwe sandibakkirizza

Kubeera na mbwa ezaakuumanga ekisibo kyange.

 2 Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?

Amaanyi gabaweddemu.

 3 Bakozze olw’obwavu n’olw’okulumwa enjala;

Bakeketa ettaka ekkalu

Eryayonoonebwa ne lirekebwa awo.

 4 Banoga enkunga mu bisaka;

Era emirandira gy’obuti y’emmere yaabwe.

 5 Bagobebwa mu kitundu;+

Abantu babakubira enduulu ng’ababbi.

 6 Babeera mu nkonko,*

Ne mu binnya eby’omu ttaka ne mu njazi.

 7 Bakaabira mu bisaka

Ne beekuma wamu mu myennyango.

 8 Bagobebwa mu nsi

Ng’abaana b’abo abatalina magezi n’abatalina mugaso.

 9 Naye kaakano bankudaalira ne mu nnyimba zaabwe;+

Nfuuse eky’okusekererwa* gye bali.+

10 Tebanjagalirako ddala era banneesamba;+

Tebatya kumpandulira malusu mu maaso.+

11 Olw’okuba Katonda anzigyeeko eby’okulwanyisa* n’antoowaza,

Kye baagala kye bakolera mu maaso gange.

12 Ku mukono gwange ogwa ddyo basituka ng’ekibinja okunnumba;

Bandeetera okudduka

Era bateeka enkonge ez’okuzikiriza mu kkubo lyange.

13 Baggyawo amakubo gange

Ne bongera ku buyinike bwange,+

Awatali n’omu abaziyiza.*

14 Bajja nga balinga abayita mu kituli ekigazi ekiri mu kisenge;

Banjolekera ng’eno bwe bazikiriza.

15 Entiisa embuutikidde;

Ekitiibwa kyange kigenda ng’ekitwalibwa empewo,

N’obulokozi bwange bubulawo ng’ekire.

16 Obulamu bugenda bunzigwaamu;+

Ndi mu kiseera eky’obuyinike.+

17 Ekiro amagumba gammeketa;*+

Obulumi tebulekera awo.+

18 Ekyambalo kyange kifufunyadde olw’amaanyi amangi;

Era kintuga ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.

19 Katonda ansudde mu bitosi;

Nfuuse nfuufu na vvu.

20 Nkukaabirira onnyambe, naye tonnyanukula;+

Nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.

21 Onkambuwalidde;+

Onnwanyisa n’omukono gwo ogw’amaanyi.

22 Onsitula n’ontwalira mu mpewo;

N’onjuuyayuuya mu mbuyaga.

23 Mmanyi ng’ojja kuntwala mu kufa,

Mu nnyumba abantu bonna abalamu gye balisisinkana.

24 Naye tewali n’omu ayinza kukuba muntu amenyese,+

Ng’awanjaga mu kiseera eky’akatyabaga.

25 Saakaabiranga abo abaali mu buzibu?

Abaavu tebankwasanga ennaku?+

26 Wadde nga nnali nsuubira birungi, ebibi bye byajja;

Nnalindirira ekitangaala, naye ekizikiza kye kyajja.

27 Omutima gwange gwali mweraliikirivu;

Nnayolekagana n’ekiseera eky’obuyinike.

28 Ntambula nnyiikadde;+ tewali kitangaala.

Nga ndi wakati mu bantu nsituka ne nsaba bannyambe.

29 Ebibe bifuuse baganda bange,

Era ndi mukwano gw’abaana ba maaya.+

30 Olususu lwange luddugadde era lususumbuse;+

Amagumba gange gookya olw’ebbugumu.*

31 Entongooli yange ekozesebwa mu kukungubaga kwokka,

N’endere yange efuuyirwa abo abakaaba amaziga.

31 “Nnakola endagaano n’amaaso gange.+

Kale nnyinza ntya okutunuulira omukazi omulala ne mmwegwanyiza?+

 2 Singa nkikola, mugabo ki gwe nfuna okuva eri Katonda ali mu ggulu

Era busika ki bwe nfuna okuva waggulu eri Omuyinza w’Ebintu Byonna?

 3 Akabi tekalindirira mwonoonyi?

N’emitawaana tegirindirira abo abakola ebintu ebibi?+

 4 Talaba makubo gange+

Era ebigere byonna bye ntambula tabibala?

 5 Nnali njogeddeko ebitali bya mazima?

Nnali nnimbyeko omuntu yenna?+

 6 Katonda k’ampime ku minzaani entuufu;+

Ajja kutegeera obugolokofu bwange.+

 7 Ebigere byange bwe biba nga byawaba okuva mu kkubo+

Oba ng’omutima gwange gwagoberera amaaso gange+

Oba ng’engalo zange si nnongoofu,

 8 Kale ka nsige omuntu omulala alye,+

Era bye nsimba ka bikuulibwe.*

 9 Omutima gwange bwe guba nga gwegomba omukazi,+

Ne nteegera+ ku mulyango gwa muliraanwa wange,

10 Kale mukazi wange k’ase eŋŋaano y’omusajja omulala

Era abasajja abalala ka beegatte naye.*+

11 Kubanga ekyo kyandibadde kikolwa kya buswavu,

Yandibadde nsobi egwanira omuntu okubonerezebwa abalamuzi.+

12 Gwandibadde muliro ogwokya era oguzikiriza,*+

Ne gusaanyaawo n’ebintu byonna bye nnina.

13 Abaweereza bange abasajja oba abakazi bwe mba nga saabalaga bwenkanya,

Nga balina kye banneemulugunyaako,*

14 Kale nnaakola ntya nga Katonda anjolekedde?*

Nnaamuddamu ki ng’ayagala mmunnyonnyole?+

15 Eyantonda mu lubuto lwa mmange nabo si ye yabatonda?+

Ffenna si ye yatubumba nga tetunnazaalibwa?*+

16 Bwe kiba nti abaavu nnabamma bye baali beetaaga,+

Oba nga nnanakuwaza nnamwandu;*+

17 Bwe mba nga nnalyanga emmere yange nzekka

Ne siwa ku bamulekwa;+

18 (Kubanga okuva mu buvubuka bwange bamulekwa babadde bantwala nga kitaabwe,

Era okuva obuto* mbadde ndabirira bannamwandu.)

19 Bwe mba nga nnalaba omuntu yenna ng’afa empewo olw’obutaba na kya kwambala,

Oba omwavu nga talina kya kwebikka;+

20 Bw’aba nga teyansabira mukisa,+

Nga yeebisse ekyambalo ky’ebyoya by’endiga zange;

21 Bwe mba nga nnatiisatiisa mulekwa okumukuba ekikonde+

Bwe yali ayagala mmuyambe ku mulyango gw’ekibuga;*+

22 Kale omukono gwange ka gukutuke ku kibegaabega kyange,

Era ka gumenyekere mu lukokola.

23 Kubanga nnali ntya okubonerezebwa Katonda,

Era nnali siyinza kuyimirira mu maaso ga kitiibwa kye.

24 Bwe mba nga nnateeka obwesige bwange mu zzaabu,

Oba nga nnagamba zzaabu omulungi nti, ‘Ggwe bukuumi bwange!’+

25 Bwe mba nga nneewaananga olw’obugagga bwange obungi+

N’olw’ebintu ebingi bye nnafuna;+

26 Bwe mba nga nnalaba enjuba* ng’eyaka

Oba omwezi nga gutambula mu kitiibwa kyagwo;+

27 Omutima gwange ne gusikirizibwa,

Era omumwa gwange ne gunywegera omukono gwange okubisinza;+

28 Kale ekyo kyandibadde kibi ekigwanira omuntu okubonerezebwa abalamuzi,

Kubanga nnandibadde nneegaanye Katonda ow’amazima ali mu ggulu.

29 Nnali nsanyukidde okuzikirizibwa kw’omulabe wange+

Oba okujaganya ng’afunye ekizibu?

30 Saaganyanga kamwa kange kwonoona

Nga mmukolimira afe.+

31 Abantu b’omu weema yange tebaagambanga nti,

‘Ani ayinza okuzuula oyo atakkuse mmere ya Yobu?’+

32 Abantu be simanyi* tebaasulanga bweru;+

Abatambuze nnabagguliranga enzigi zange.

33 Nnali ngezezzaako okukweka ebibi byange ng’abantu abalala bwe bakola,+

Okukweka ensobi zange mu nsawo y’ekyambalo kyange?

34 Nnali ntidde ekibiina ky’abantu,

Oba nnali ntidde okunyoomebwa amaka amalala,

Ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru?

35 Kale singa wabaawo ampuliriza!+

Nnanditadde omukono ku ebyo bye njogedde.

Omuyinza w’Ebintu Byonna k’anziremu!+

Kale singa oyo annumiriza awandiika by’anvunaana mu kiwandiiko!

36 Nnandikisitulidde ku kibegaabega kyange,

Nnandikisibye ku mutwe gwange ne kiba ng’engule.

37 Nnandimutegeezezza buli kigere kye nnatambula;

Nnandimutuukiridde ng’omulangira, nga sirina kye ntya.

38 Ettaka lyange bwe liba nga lyankaabirira nga linneemululgunyaako

Era nga n’ensalosalo zaalyo zaakaabira wamu;

39 Bwe mba nga nnalya ebibala byalyo nga sibisasulidde,+

Oba nga nnanakuwaza bannyiniryo;+

40 Kale ettaka ka limeremu amaggwa mu kifo ky’eŋŋaano,

Era ka limeremu omuddo oguwunya obubi mu kifo kya ssayiri.”

Ebigambo bya Yobu bikomye wano.

32 Awo abasajja abo abasatu ne balekera awo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeekakasa nti mutuukirivu.*+ 2 Naye Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi+ ow’omu luggya lwa Laamu yali musunguwavu nnyo. Yasunguwalira Yobu olw’okuba yali agezaako okulaga nti ye mutuufu so si Katonda.+ 3 Yasunguwalira ne mikwano gya Yobu abasatu olw’okuba baabulwa eky’okumuddamu ekituufu, kyokka ne bagamba nti Katonda mubi.+ 4 Eriku yali akyalinze okubaako ky’addamu Yobu, olw’okuba baali bamusinga obukulu.+ 5 Bwe yalaba ng’abasajja abo abasatu babuliddwa eky’okwogera, obusungu bwe ne bubuubuuka. 6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’atandika okwogera n’agamba nti:

“Nze ndi muto mu myaka,*

Mmwe muli bakadde.+

Kyenvudde nsirika olw’okuba mbassaamu ekitiibwa,+

Ne seetantala kubabuulira kye mmanyi.

 7 Ndowoozezza nti, ‘Abakulu ka boogere,*

Era ab’emyaka emingi ka boogere eby’amagezi.’

 8 Omwoyo omutukuvu Katonda gw’awa abantu,

Omukka gw’Omuyinza w’Ebintu Byonna, gwe gubawa okutegeera.+

 9 Okukula si kwe kwokka okugeziwaza* omuntu,

Era abakadde si be bokka abamanyi ekituufu.+

10 Kyenva ŋŋamba nti, ‘Mumpulirize,

Nange mbabuulire kye mmanyi.’

11 Laba! Nnindiridde ebigambo byammwe;

Mpulirizza ensonga zammwe,+

Nga munoonya eby’okwogera.+

12 Mbawulirizza bulungi,

Naye tewali n’omu ku mmwe asobodde kulaga nti Yobu mukyamu,*

Oba ayanukudde ebigambo bye.

13 N’olwekyo temugamba nti, ‘Tuzudde amagezi;

Katonda y’ayinza okulaga nti mukyamu so si abantu.’

14 Ebigambo bye tabyolekezza nze,

Kale sijja kumuddamu mu ngeri gye mumuzzeemu.

15 Basobeddwa, babuliddwa eby’okuddamu;

Tebakyalina kya kwogera.

16 Nnindiridde, naye tebakyalina kya kwogera;

Bayimiridde buyimirizi awo, tebakyalina kya kuddamu.

17 Nange ka mbeeko kye njogera;

Nange ka njogere kye mmanyi,

18 Kubanga nnina bingi eby’okwogera;

Omwoyo omutukuvu oguli mu nze gumpaliriza.

19 Munda yange nninga omwenge ogusaanikiddwa,

Nninga ensawo z’omwenge ez’amaliba empya ezaagala okwabika.+

20 Ka njogere mpeweere!

Ka njasamye akamwa kange mbeeko kye nziramu.

21 Sijja kwekubiira ku ludda lwa muntu yenna;+

Era sijja kubaako muntu yenna gwe mpaanawaana,

22 Kubanga simanyi kuwaanawaana;

Singa nkikola, Omutonzi wange asobola okunsaanyaawo mu bwangu.

33 “Kaakano Yobu, wulira ebigambo byange;

Wuliriza byonna bye ŋŋamba.

 2 Laba! Nteekwa okwasamya akamwa kange;

Olulimi lwange luteekwa okwogera.

 3 Ebigambo byange birangirira obugolokofu bw’omutima gwange,+

N’emimwa gyange gyogera mu bwesimbu bye mmanyi.

 4 Omwoyo gwa Katonda gwe gwantonda,+

Era omukka gw’Omuyinza w’Ebintu Byonna gwampa obulamu.+

 5 Nziraamu bw’oba ng’osobola;

Yanja ensonga zo mu maaso gange; weeteeketeeke okuwoza.

 6 Laba! Nze nninga ggwe mu maaso ga Katonda;

Nange nnabumbibwa mu ttaka.+

 7 N’olwekyo tontya,

Ebigambo byange tebijja kukuzitoowerera.

 8 Mazima oyogedde nga mpulira,

Mpulidde ng’ogamba nti,

 9 ‘Ndi mulongoofu, tewali kibi kye nnakola;+

Ndi mulongoofu, sirina nsobi gye nnakola.+

10 Naye Katonda afuna ensonga kw’asinziira okunziyiza;

Antwala ng’omulabe we.+

11 Ateeka ebigere byange mu nvuba;

Yekkaanya amakubo gange gonna.’+

12 Naye toli mutuufu kwogera bw’otyo, n’olwekyo ka nkuddemu:

Katonda asukkulumye ku bantu.+

13 Lwaki omwemulugunyaako?+

Olw’okuba tazzeemu bigambo byo byonna?+

14 Katonda ayogera enfunda n’enfunda,

Naye tewali assaayo omwoyo,

15 Mu kirooto, mu kwolesebwa okw’ekiro,+

Ng’abantu bali mu tulo otungi,

Nga beebase ku bitanda byabwe.

16 Aggula amatu gaabwe,+

N’awandiika by’abayigiriza mu mitima gyabwe,

17 Asobole okuggya omuntu ku bikolwa ebibi+

Era amuziyize okuba n’amalala.+

18 Katonda amuwonya okukka mu kinnya,*+

N’okuttibwa n’ekitala.*

19 Era obulumi omuntu bw’aba nabwo ng’ali ku kitanda kye,

N’okulumwa amagumba buli kiseera, bimukangavvula,

20 Ne yeetamwa* emmere,

N’agaana n’okulya emmere ewooma.+

21 Omubiri gumuggwaako,

Amagumba agataalabikanga ne gakukunala.

22 Asemberera ekinnya,*

Obulamu bwe busemberera abo abaagala okumutta.

23 Naye bw’afuna omubaka,*

Amuwolereza omu mu lukumi,

Okutegeeza omuntu ekituufu,

24 Katonda amukwatirwa ekisa n’agamba nti,

‘Muwonye okukka mu kinnya!*+

Nzudde ekinunulo!+

25 Omubiri gwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka;+

Era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.’+

26 Ajja kwegayirira Katonda+ amusaasire,

Ajja kujaganya ng’alabye amaaso ga Katonda,

Era Katonda obutuukirivu bwe ajja kuddamu abuwe omuntu.

27 Omuntu oyo aligamba abantu nti,

‘Nnayonoona+ ne nkola ekitali kituufu,

Naye saafuna ekyo ekyali kiŋŋwanira.*

28 Annunudde ne sikka mu kinnya,*+

Era ndiraba ekitangaala.’

29 Mu butuufu ebintu ebyo byonna Katonda abikolera omuntu

Enfunda n’enfunda,

30 Okumuggya mu kinnya,*

Ayakirwe ekitangaala eky’obulamu.+

31 Ssaayo omwoyo Yobu! Mpuliriza!

Sirika nneeyongere okwogera.

32 Bw’oba olina ky’ogamba, kiŋŋambe.

Yogera kubanga njagala kukakasa obanga oli mutuufu.

33 Bw’oba tolina kya kwogera, mpuliriza;

Sirika nkuyigirize ebintu eby’amagezi.”

34 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera n’agamba nti:

 2 “Muwulirize ebigambo byange, mmwe ab’amagezi;

Mumpulirize mmwe abamanyi ebingi.

 3 Kubanga okutu kugezesa ebigambo

Ng’olulimi bwe lulega ku mmere.

 4 Ka tweyawulirewo ekituufu;

Ka twesalirewo ekirungi.

 5 Kubanga Yobu agambye nti, ‘Ndi mutuufu,+

Naye Katonda tandaze bwenkanya.+

 6 Nnyinza okwogera eby’obulimba ku ngeri gye ŋŋwanidde okulamulwamu?

Ekiwundu kyange tekisobola kuwona, wadde nga sirina kibi kye nkoze.’+

 7 Muntu ki alinga Yobu,

Anywa obunyoomi ng’amazzi?

 8 Abeera n’abakozi b’ebibi,

Era abeera wamu n’abantu ababi.+

 9 Agambye nti, ‘Omuntu talina ky’aganyulwa

Mu kugezaako okusanyusa Katonda.’+

10 N’olwekyo mumpulirize mmwe abasajja abategeevu:*

Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi,+

Tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!+

11 Kubanga ajja kusasula omuntu okusinziira ku bikolwa bye,+

Era ajja kumuleka atuukibweko ebiva mu makubo ge.

12 Mazima ddala Katonda tayinza kukola bintu bibi;+

Omuyinza w’Ebintu Byonna tayinza kukola kitali kya bwenkanya.+

13 Ani yamuwa omulimu gw’okulabirira ensi,

Era ani yamussaawo okufuga ensi yonna?

14 Bw’abassaako ebirowoozo bye,*

Bw’abaggyako omwoyo gwe n’omukka gwe,+

15 Abantu bonna bafa,

Ne baddayo mu nfuufu.+

16 Bw’oba ng’olina okutegeera, ssaayo omwoyo ku kino;

Wuliriza n’obwegendereza kye ŋŋamba.

17 Omuntu atayagala bwenkanya asaanidde okufuga,

Oba wandinenyezza omuntu ow’amaanyi omutuukirivu?

18 Oyinza okugamba kabaka nti, ‘Tolina mugaso,’

Oba abakungu nti, ‘Muli babi’?+

19 Waliwo Oyo ateekubiira ku ludda lw’abaami,

Era abagagga n’abaavu* abayisa kyenkanyi,+

Kubanga bonna mirimu gya mikono gye.+

20 Bayinza okufa ekibwatukira+ mu matumbi budde;+

Bakankana nnyo ne bafa;

N’ab’amaanyi baggibwawo, naye si na mikono gya bantu.+

21 Kubanga amaaso ga Katonda galaba amakubo g’omuntu,+

Era alaba empenda ze zonna.

22 Teri kizikiza oba kisiikirize

Ababi gye bayinza okwekweka.+

23 Kubanga Katonda talina muntu yenna gwe yagerekera ekiseera

Okuyimirira mu maaso ge alamulwe.

24 Amenya ab’amaanyi nga tekimwetaagisizza kunoonyereza,

Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.+

25 Kubanga amanyi bye bakola;+

Abawangula ekiro, ne bazikirizibwa.+

26 Abakuba olw’ebikolwa byabwe ebibi,

Mu kifo abantu bonna we basobola okulabira,+

27 Olw’okuba balekedde awo okumugoberera,+

Era tebafaayo ku makubo ge;+

28 Baleetera abaavu okumukaabirira,

N’awulira okukaaba kw’abo abateesobola.+

29 Katonda bw’asirika ani ayinza okumunenya?

Bw’akweka amaaso ge, ani ayinza okumulaba?

K’abe ng’agakwese ggwanga oba muntu, ebivaamu bye bimu,

30 Omuntu atatya Katonda* aleme okufuga+

Oba okutega abantu emitego.

31 Waliwo ayinza okugamba Katonda nti,

‘Mbonerezeddwa wadde nga sizzizza musango;+

32 Njigiriza kye simanyi;

Bwe mba nga nnina ekikyamu kye nnakola, siriddamu kukikola’?

33 Akusasule nga bw’oyagala ng’ate tokkiriza by’asazeewo?

Ggwe olina okusalawo so si nze.

Kale, mbuulira ky’omanyi obulungi.

34 Abantu abategeevu* bajja kuŋŋamba,

—Omuntu yenna ow’amagezi awulira bye njogera ajja kuŋŋamba nti—

35 ‘Yobu ayogeza butamanya,+

Era ebigambo bye si bya magezi.’

36 Yobu k’agezesebwe* mu bujjuvu

Kubanga by’addamu biringa ebyo abantu ababi bye baddamu!

37 Ku kibi kye ayongerako bujeemu;+

Akuba mu ngalo ze n’obunyoomi ng’ali mu maaso gaffe

Era ayogera ku Katonda ow’amazima ebigambo bingi ebivvoola!”+

35 Eriku ne yeeyongera okwogera n’agamba nti:

 2 “Oli mukakafu ddala nti oli mutuufu n’otuuka n’okugamba nti,

‘Ndi mutuukirivu okusinga Katonda’?+

 3 Ogamba nti, ‘Kikugasa kitya?*

Ndi bulungi okusinga bwe nnandibadde nga nnyonoonye?’+

 4 Nja kukuddamu ggwe

Ne mikwano gyo+ b’oli nabo.

 5 Tunula waggulu olabe,

Weetegereze ebire+ ebiri waggulu.

 6 Bw’oyonoona, omulumya otya?+

Ebibi byo bwe byeyongera obungi, omukolako ki?+

 7 Bw’obeera omutuukirivu, omuwa ki;

Kiki ky’akufunako?+

 8 Ebikolwa byo ebibi birumya muntu nga ggwe,

N’obutuukirivu bwo buyamba mwana wa muntu.

 9 Abantu balaajana olw’okunyigirizibwa okungi;

Balaajana bawone okufugibwa ab’amaanyi.*+

10 Naye tewali n’omu agamba nti, ‘Katonda ali ludda wa, Omutonzi wange ow’Ekitalo,+

Oyo aviirako ennyimba okuyimbibwa ekiro?’+

11 Atuyigiriza+ bingi okusinga ensolo ez’oku nsi,+

Atufuula ba magezi okusinga ebinyonyi eby’omu bbanga.

12 Abantu bakoowoola naye taddamu,+

Olw’amalala g’ababi.+

13 Mazima ddala Katonda tawuliriza bigambo bitaliimu;*+

Omuyinza w’Ebintu Byonna tabissaako mwoyo.

14 Kati olwo kiba kitya bwe weemulugunya nti tomulaba!+

Ensonga zo ziri mu maaso ge, n’olwekyo mulindirire.+

15 Kubanga takubonerezza na busungu;

Era tafuddeeyo wadde nga tobadde mwegendereza.+

16 Yobu ayasamiza bwereere akamwa ke;

Ayogera ebigambo bingi mu butamanya.”+

36 Eriku ne yeeyongera n’agamba nti:

 2 “Ŋŋumiikirizaako katono nkunnyonnyole,

Kubanga nkyalina eby’okwogera ku lwa Katonda.

 3 Nja kwogera byonna bye mmanyi,

Era nja kulangirira nti obutuukirivu bwa Mutonzi wange.+

 4 Mazima ddala ebigambo byange si bya bulimba;

Oyo eyatuukirira mu kumanya+ ali wano mu maaso go.

 5 Mu butuufu, Katonda wa maanyi+ era teyeesamba muntu yenna;

Alina okutegeera kungi.

 6 Tajja kuwonyaawo bulamu bw’ababi,+

Naye ababonaabona ajja kubalaga obwenkanya.+

 7 Amaaso ge tagaggya ku batuukirivu;+

Abatuuza ku ntebe ez’obwakabaka ne bakabaka,*+ era bagulumizibwa emirembe gyonna.

 8 Naye bwe basibibwa empingu

Era ne bakwatibwa mu miguwa egy’okubonyaabonyezebwa,

 9 Abalaga kye bakoze,

Ebibi bye bakoze olw’amalala gaabwe.

10 Aggula amatu gaabwe bawulire okuwabulwa

Era abagamba balekere awo okwonoona.+

11 Bwe bamugondera ne bamuweereza,

Bajja kuba bulungi ennaku zaabwe zonna,

Era bajja kuba mu ssanyu emyaka gyabwe gyonna.+

12 Naye bwe batamugondera, bajja kuttibwa n’ekitala*+

Era bafiire mu butamanya.

13 Abatatya Katonda* bajja kusiba ekiruyi.

Ne bw’abasiba tebamwegayirira abayambe.

14 Bafa bakyali bavubuka,+

Obulamu bwabwe babumala* bali wamu ne bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu.+

15 Naye ababonaabona Katonda abanunula mu kubonaabona kwabwe;

Aggula amatu gaabwe nga banyigirizibwa.

16 Akuggya mu buzibu+

N’akutwala mu kifo ekigazi awatali kukugirwa,+

Ng’emmere ewooma eri ku mmeeza yo kye kikubagizo gy’oli.+

17 Awo oliba mumativu ng’ababi basaliddwa omusango,+

Omusango nga gusaliddwa ne wabaawo obwenkanya.

18 Naye weegendereze obusungu buleme kukuleetera ttima,*+

Era tokkiriza nguzi nnene kukuwabya.

19 Okuwanjaga

Oba okufuba kwo kunaakuwonya ennaku?+

20 Teweegomba budde bwa kiro,

Abantu we baviira mu bifo byabwe.

21 Weegendereze oleme kukola kibi,

N’olondawo ekyo mu kifo ky’okubonaabona.+

22 Laba! Katonda agulumiziddwa mu buyinza bwe;

Muyigiriza ki alinga ye?

23 Ani aluŋŋamizza ekkubo lye*+

Oba amugambye nti, ‘Ky’okoze kikyamu’?+

24 Jjukira okugulumiza emirimu gye,+

Abantu gye bayimbyeko mu nnyimba.+

25 Abantu bonna bagirabye,

Abantu bagirengerera wala.

26 Katonda mukulu okusinga bwe tumanyi;+

Emyaka gye tegiyinza kumanyika.*+

27 Atwala waggulu amatondo g’amazzi,+

Ne gafuuka enkuba n’olufu;

28 Ebire ne bigiyiwa,+

N’etonnyera abantu ku nsi.

29 Waliwo ayinza okutegeera engeri ebire gye byebamba mu bbanga,

Oba okubwatuka okuva mu weema ye?*+

30 Laba bw’asaasaanya okumyansa*+ kwe ku bire

N’abikka obuziba* bw’ennyanja.

31 Ebyo by’akozesa okubeesaawo abantu;

Abawa emmere mu bungi.+

32 Akwata okumyansa kw’eggulu n’engalo ze,

N’akwolekeza ekyo kye kugenda okukuba.+

33 Okubwatuka kwe okw’eggulu kumwogerako,

N’ebisibo bitutegeeza oyo ajja.*

37 “Awo omutima gwange ne gukuba

Era ne guntundugga.

 2 Wuliriza n’obwegendereza okuwuuma kw’eddoboozi lye

N’okubwatuka okuva mu kamwa ke.

 3 Okubwatuka akusindika wansi w’eggulu lyonna

Era asindika okumyansa+ kwe ku nkomerero y’ensi.

 4 Oluvannyuma eddoboozi liwuluguma;

Abwatuka n’eddoboozi ery’amaanyi,+

Era okumyansa takuziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.

 5 Okubwatuka kw’eddoboozi lya Katonda+ kwa kitalo;

Akola ebintu eby’ekitalo ebisukkulumye okutegeera kwaffe.+

 6 Agamba omuzira nti, ‘Gwa ku nsi,’+

Era n’enkuba nti, ‘Tonnya n’amaanyi.’+

 7 Katonda ayimiriza ebintu byonna abantu bye bakola*

Abantu bonna basobole okumanya by’akola.

 8 Ensolo ez’omu nsiko zigenda gye zisula

Era zisigala mu bisulo byazo.

 9 Embuyaga eva mu kifo kyayo n’ekunta,+

Era empewo eva ebukiikakkono ereeta obunnyogovu.+

10 Omukka Katonda gw’assa gukola omuzira,+

Amazzi amangi ne gakwata.+

11 Ebire abijjuza amazzi;

Okumyansa+ kwe akubunyisa mu bire;

12 Ebire byetooloola ne bigenda gy’aba abiragidde;

Kyonna ky’abiragira+ okukola ku nsi bikikola.

13 Akozesa ebire okubonereza,*+ okufukirira ensi,

N’okulaga okwagala okutajjulukuka.+

14 Yobu, wuliriza bino;

Sirika olowooze ku mirimu gya Katonda egy’ekitalo.+

15 Omanyi engeri Katonda gy’afugamu* ebire

N’engeri gy’aleetera ebimyanso okumyansa okuva mu kire kye?

16 Omanyi ebire bwe biseeyeeya?+

Egyo gye mirimu egy’ekitalo egy’Oyo eyatuukirira mu kumanya.+

17 Lwaki ebyambalo byo bibuguma

Ng’ensi esirise olw’embuyaga ey’ebukiikaddyo?+

18 Oyinza okubamba eggulu awamu naye+

Ne liba ggumu ng’endabirwamu ey’ekyuma?

19 Tubuulire kye tuba tumugamba;

Tetusobola kuddamu kubanga tuli mu kizikiza.

20 Bamutegeeze nti njagala kwogera?

Oba waliwo omuntu yenna ayogedde ekintu ekigwanira okumutegeezebwa?+

21 Tebasobola na kulaba kitangaala*

Wadde nga kyakaayakana ku ggulu,

Okutuusa empewo lw’ejja n’etwala ebire.

22 Mu bukiikakkono evaayo okwakaayakana okulinga zzaabu;

Ekitiibwa kya Katonda+ kiwuniikiriza.

23 Omuyinza w’Ebintu Byonna tetuyinza kumutegeera,+

Alina amaanyi mangi,+

Byonna by’akola bulijjo biba bya bwenkanya+ era bya butuukirivu.+

24 N’olwekyo, abantu bagwanidde okumutya.+

Kubanga teyeekubiira ku ludda lw’abo abalowooza nti ba magezi.”+

38 Awo Yakuwa n’ayanukula Yobu ng’asinziira mu mbuyaga:+

 2 “Ani oyo aziyiza okubuulirira kwange

Era ayogeza obutamanya?+

 3 Weeteeketeeke ng’omusajja

Nkubuuze ebibuuzo onziremu.

 4 Wali ludda wa nga nzisaawo emisingi gy’ensi?+

Mbuulira, bw’oba olowooza nti otegeera.

 5 Ani yasalawo ebipimo byayo, bw’oba omanyi,

Era ani yagireegako omuguwa okugipima?

 6 Emisingi gyayo gyateekebwa ku ki,

Era ani yasimba ejjinja lyayo ery’oku nsonda,+

 7 Emmunyeenye ez’oku makya+ bwe zaayogerera waggulu n’essanyu,

Abaana ba Katonda*+ bonna ne baleekaana olw’essanyu?

 8 Ani yaggalira ennyanja+

Bwe yawaguza n’eva mu lubuto,

 9 Bwe nnagyambaza ebire

Era ne ngizinga mu kizikiza ekikutte,

10 Bwe nnagiteerawo w’erina okukoma

Ne ngiteekako enzigi n’ebisiba,+

11 Ne ngigamba nti, ‘Okomanga wano, era tosukkangawo;

Wano amayengo go ag’amalala we ganaakomanga’?+

12 Wali owaddeko amakya ebiragiro

Oba n’omanyisa emmambya ekifo kyayo,+

13 Ggwe wagamba ekitangaala eky’oku makya kibune mu buli kanyomero k’ensi

Kigobeyo ababi?+

14 Ensi ekyuka ng’ebbumba eriri wansi w’akabonero,

N’ebintu ebigiriko biringa ekyambalo ekitoneddwatoneddwa.

15 Naye ababi baggibwako ekitangaala kyabwe,

N’omukono gwabwe oguwanikiddwa gumenyebwa.

16 Wali ogenze ebuziba awasibuka ensulo z’ennyanja,

Oba wali olambuddeko obuziba bw’ennyanja?+

17 Wali olagiddwa enzigi z’okufa,+

Oba wali olabye enzigi z’ekizikiza ekikutte?*+

18 Omanyi obugazi bw’ensi?+

Nziraamu, bw’oba nga bino byonna obimanyi.

19 Ekitangaala kisula wa?+

Era ekizikiza kibeera wa,

20 Obitwale mu kifo kyabyo

Era otegeere amakubo agagenda gye bibeera?

21 Kino okimanyi olw’okuba wali wazaalibwa dda

Era ng’owangadde emyaka mingi?*

22 Wali oyingiddeko mu materekero g’omuzira,+

Oba wali olabye ku materekero g’omuzira,+

23 Bye nnaterekera ebiseera eby’okulabiramu ennaku,

N’olunaku olw’olutalo?+

24 Ekitangaala* kiva wa okusaasaana,

Era embuyaga ez’ebuvanjuba ziva wa okukunta ku nsi?+

25 Ani yassaawo emikutu amataba mwe gayita

Era eyakola ekkubo ly’enkuba erimu okubwatuka,+

26 Esobole okutonnya abantu gye batabeera,

Mu ddungu eteri bantu,+

27 Efukirire ensi eyayonoonebwa

Era emeze omuddo?+

28 Enkuba erina kitaawe waayo,+

Era ani yazaala amatondo g’omusulo?+

29 Omuzira gwava mu lubuto lw’ani,

Era ani yazaala omuzira oguva mu ggulu+

30 Amazzi ne gaba ng’agabikkiddwako ejjinja,

Ne kungulu ku nnyanja ne kukwata?+

31 Osobola okusiba emiguwa gy’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kima,

Oba okusumulula emiguwa gy’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kesiri?+

32 Osobola okufulumya ekibinja ky’emmunyeenye mu kiseera kyakyo?

Oba okuluŋŋamya ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Asi n’abaana baakyo?

33 Omanyi amateeka agafuga eggulu,+

Oyinza okugakozesa ku nsi?

34 Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire

Amazzi amangi ennyo ne gakuyiikako?+

35 Oyinza okusindika ebimyanso?

Binajja ne bikugamba nti, ‘Tuutuno!’

36 Ani yateeka mu bire* amagezi,+

Era ani yawa ebbanga okutegeera?+

37 Ani ow’amagezi asobola okubala ebire,

Oba ani asobola okuttulula ensumbi z’amazzi ez’omu ggulu+

38 Enfuufu n’efuuka ebisooto

N’ettaka ne lyekwata?

39 Osobola okuyiggira empologoma eky’okulya

Oba okukkusa empologoma envubuka+

40 Bwe zibwama mu bisulo byazo

Oba bwe ziteegera gye zibeera?

41 Ani ateekerateekera nnamuŋŋoona emmere+

Abaana be bwe bakaabira Katonda abayambe

Era ne babundabunda olw’okubulwa eky’okulya?

39 “Omanyi ekiseera embuzi ez’omu nsozi mwe zizaalira?+

Wali weetegerezza empeewo nga zizaala?+

 2 Oyinza okubala emyezi gye zimala nga ziri ggwako?

Omanyi ekiseera mwe zizaalira?

 3 Zikutama nga zizaala abaana baazo,

obulumi bwazo ne bukoma.

 4 Abaana baazo bafuna amaanyi ne bakulira ku ttale;

Bagenda ne batadda gye ziri.

 5 Ani yata endogoyi ey’omu nsiko,+

Era ani yasumulula emiguwa gyayo?

 6 Eddungu lye nnafuula amaka gaayo

N’ensi ey’olunnyo gye nnafuula ekifo w’ebeera.

 7 Enyooma oluyoogaano lw’omu kibuga;

Tewulira ddoboozi ly’oyo akozesa ensolo emirimu.

 8 Etaayaaya mu nsozi ng’enoonya omuddo,

Ng’enoonya buli awali akaddo.

 9 Sseddume ey’omu nsiko* enekkiriza okukuweereza,+

Eneesula mu kisibo kyo?

10 Oyinza okugisiba omuguwa n’ekulimira,

Oba eneekugoberera ekulimire mu kiwonvu?

11 Oneesiga amaanyi gaayo amangi

N’ogireka ekukolere emirimu egy’amaanyi?

12 Onoogyesiga okukuleetera by’okungudde,*

Era eneebikuŋŋaanyiza mu gguuliro lyo?

13 Maaya akuba ebiwaawaatiro bye n’essanyu,

Naye ebiwaawaatiro bye n’ebyoya bye biyinza okugeraageranyizibwa ku bya ssekanyolya?+

14 Aleka amagi ge ku ttaka

Era agabugumiza mu nfuufu.

15 Yeerabira nti abantu bayinza okugalinnyako ne gamenyeka

Oba nti ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.

16 Ayisa bubi abaana be, nga gy’obeera nti si y’abazaala;+

Tatya kuteganira bwereere.

17 Katonda yamumma* amagezi,

Era n’atamuwa kutegeera.

18 Naye bw’ayimuka n’akuba ebiwaawaatiro bye,

Asekerera embalaasi n’oyo agyebagadde.

19 Ggwe owa embalaasi amaanyi gaayo?+

Ggwe wayambaza obulago bwayo olugingirima olwenyeenya?

20 Osobola okugireetera okubuuka ng’enzige?

Okufugula kwayo kwa ntiisa.+

21 Esambirira ettaka mu kiwonvu n’ebuuka n’amaanyi;+

Efubutuka okugenda mu lutalo.*+

22 Esekerera okutya, era terina ky’etya.+

Tedda mabega olw’ekitala.

23 Akasawo k’obusaale kagikubaganirako,

N’effumu limyansa.

24 Ekankana olw’okucamuukirira, n’efubutuka emisinde,*

Era teyimirira ng’eŋŋombe evuze.*

25 Eŋŋombe bw’evuga, egamba nti, ‘Otyo!’

Ewunyiriza olutalo ng’ekyali wala,

Era ewulira enduulu z’olutalo n’abaduumizi nga baleekaana.+

26 Magga atumbiira waggulu mu bbanga lwa magezi go,

N’abuuka ng’adda ebukiikaddyo?

27 Oba ggwe olagira empungu okubuuka waggulu+

N’ezimba eyo ekisu kyayo,+

28 N’esula waggulu ku kagulungujjo,

N’ebeera eyo mu kigo kyayo ku lwazi olugulumivu?*

29 Eyo gy’esinziira okunoonya emmere;+

Amaaso gaayo galaba wala.

30 Abaana baayo banywa omusaayi;

Era awali ekifudde w’ebeera.”+

40 Yakuwa era n’agamba Yobu nti:

 2 “Oyo anoonya ensobi anaawakanya Omuyinza w’Ebintu Byonna?+

Oyo ayagala okunenya Katonda ayanukule.”+

 3 Awo Yobu n’addamu Yakuwa nti:

 4 “Laba! Sisaanira.+

Kiki kye nnyinza okukuddamu?

Nkutte ku mumwa gwange.+

 5 Njogedde omulundi gumu, era sijja kuddamu;

Weewaawo emirundi ebiri, era sijja kuddamu kwogera.”

 6 Awo Yakuwa n’addamu Yobu ng’asinziira mu mbuyaga, n’amugamba nti:+

 7 “Weeteeketeeke ng’omusajja

Nkubuuze ebibuuzo onziremu.+

 8 Onoobuusabuusa* obwenkanya bwange?

Ononsalira omusango, ggwe obeere omutuufu?+

 9 Olina omukono ogw’amaanyi ng’ogwa Katonda ow’amazima,+

Oba eddoboozi lyo liyinza okubwatuka ng’erirye?+

10 Weetoneetone ekitiibwa n’amaanyi;

Yambala ekitiibwa n’obulungi.

11 Fuka obusungu bwo obungi;

Tunuulira buli muntu yenna ow’amalala omukkakkanye.

12 Tunuulira buli muntu ow’amalala omutoowaze,

Era linnyirira ababi mu kifo we bayimirira.

13 Bonna bakweke mu nfuufu;

Basibire* mu kifo ekyekusifu,

14 Awo nange nja kukkiriza* nti

Omukono gwo ogwa ddyo gusobola okukulokola.

15 Kale laba envubu gye nnatonda nga bwe nnakutonda.

Erya muddo ng’ente.

16 Laba amaanyi agali mu kiwato kyayo,

N’amaanyi agali mu binywa by’olubuto lwayo!

17 Ekakanyaza omukira gwayo ne guba ng’omuti gw’entolokyo;

Ebinywa by’ebisambi byayo byagattibwa wamu.

18 Amagumba gaayo galinga enseke ez’ekikomo;

Amagulu gaayo galinga emitayimbwa.

19 Y’ekwata ekifo ekisooka* mu mirimu gya Katonda;

Omutonzi waayo ye yekka ayinza okugisemberera n’ekitala kye.

20 Ensozi ensolo ez’omu nsiko kwe zizannyira

Ze zigibaliza emmere.

21 Egalamira wansi w’emiti egy’amaggwa,

Mu bitoogo, mu ntobazi.

22 Yeewogoma mu bisiikirize by’emiti egy’amaggwa;

Era emiti emyalava egy’omu kiwonvu gigyetooloola.

23 Omugga bwe gwefuukuula, tetya.

Omugga Yoludaani+ ne bwe gujjula okutuuka ku kamwa kaayo, tetya.

24 Waliwo ayinza okugikwata ng’eraba,

Oba okufumita ennyindo yaayo n’eddobo?*

41 “Leviyasani*+ osobola okugivubisa eddobo,

Oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?

 2 Osobola okuyisa omuguwa mu nnyindo zaayo

Oba okufumita emba zaayo n’eddobo?*

 3 Eneekwegayirira,

Oba eneeyogera naawe n’eggonjebwa?

 4 Eneekola naawe endagaano

Osobole okugifuula omuddu wo ennaku zonna?

 5 Onoozannya nayo ng’azannya n’ekinyonyi

Oba onoogisibira bawala bo bagizannyise?

 6 Abasuubuzi banaagiwaanyisaamu ebyamaguzi ebirala?

Banaagigabanyizaamu abasuubuzi?

 7 Onoofumita eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo?+

Oba onoofumita omutwe gwayo amafumu agaswagga ebyennyanja?

 8 Gikwateko;

Olutalo lw’onoolwana nayo tolirwerabira era tolikiddamu!

 9 Toyinza kugimala maanyi.

N’okugirabako obulabi kiyinza okukutiisa.*

10 Tewali n’omu ayinza kwetantala kugicookooza.

N’olwekyo ani ayinza okunneetantala?+

11 Ani eyasooka okumpa ekintu kyonna, mmusasule?+

Buli ekiri wansi w’eggulu kyange.+

12 Siireme kwogera ku magulu gaayo,

Ku maanyi gaayo, ne ku ngeri ennungi gye yakulamu.

13 Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky’okungulu?

Ani anaayingira mu kamwa kaayo?

14 Ani ayinza okwasamya akamwa kaayo?

Amannyo gaayo gonna ga ntiisa.

15 Ku mugongo gwayo kuliko amagalagamba*

Agasibaganye.

16 Buli limu lyekutte ku linnaalyo,

Empewo n’eba nga tesobola kugayitamu.

17 Buli limu lyekwatidde ku linnaalyo;

Geekutte wamu era tegayinza kwawulibwa.

18 Bw’efugula, wabaawo ekitangaala,

N’amaaso gaayo galinga ekitangaala ky’enjuba evaayo.

19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebimyanso;

Muvaamu ensasi z’omuliro.

20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka,

Ng’oguva mu kyoto kye bataddemu ebisubi.

21 Omukka gw’essa gukoleeza amanda,

Ennimi z’omuliro ziva mu kamwa kaayo.

22 Ensingo yaayo erimu amaanyi mangi,

Etiisa abo abali mu maaso gaayo.

23 Enfunyiro z’omubiri gwayo zigattiddwa wamu;

Nnywevu era tezisagaasagana, ziringa ezaakolebwa mu kyuma ekisaanuuse.

24 Omutima gwayo mugumu ng’ejjinja,

Mugumu ng’olubengo.

25 Bw’eyimuka, n’ab’amaanyi batya;

Bw’ekuba amazzi abantu basoberwa.

26 Ekitala tekisobola kugiwangula;

Wadde effumu, oba akasaale, oba omuwunda.+

27 Ekyuma ekitwala ng’ebisubi,

Ekikomo ekitwala ng’ekiti ekivunze.

28 Akasaale tekayinza kugiddusa;

Amayinja g’envuumuulo gaba nga bisubi ku yo.

29 Embuukuuli egitwala ng’akasubi,

Era esekerera effumu erigaluddwa.

30 Wansi waayo eringa enzigyo eziriko obwogi;

Yeekulula mu bitosi ng’ekyuma ekiwuula.+

31 Ereetera ennyanja okutokota ng’entamu;

Esiikuula ennyanja n’eba ng’entamu erimu amafuta ag’akaloosa ageesera.

32 Weeyise erekawo amayengo agamasamasa.

Omuntu ayinza n’okulowooza nti obuziba bulina envi.

33 Tewali kiringa yo ku nsi,

Ekitonde ekitatya.

34 Buli ekirina amalala ekitunuuliza busungu.

Ye kabaka w’ensolo zonna ez’omu nsiko ez’amaanyi.”

42 Awo Yobu n’ayanukula Yakuwa ng’agamba nti:

 2 “Kaakano mmanyi ng’osobola okukola ebintu byonna,

Era nga buli ky’olowooza okukola tekiyinza kukulema.+

 3 Wagambye nti, ‘Ani oyo aziyiza okubuulirira kwange mu butamanya?’+

N’olwekyo nnayogera, naye nga sitegeera,

Ku bintu eby’ekitalo bye simanyi.+

 4 Wagambye nti, ‘Wuliriza njogere.

Nja kukubuuza ebibuuzo onziremu.’+

 5 Amatu gange gaawulira ebikukwatako,

Naye kaakano nkulaba n’amaaso gange.

 6 Eyo ye nsonga lwaki mmenyawo* bye nnayogera,+

Era nneenenya mu nfuufu n’evvu.”+

7 Yakuwa bwe yamala okwogera ne Yobu, Yakuwa n’agamba Erifaazi Omutemani nti:

“Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne mikwano gyo ababiri,+ kubanga temunjogeddeeko bituufu+ ng’omuweereza wange Yobu. 8 Kaakano mutwale ente ennume musanvu n’endiga ennume musanvu eri omuweereza wange Yobu, muweeyo ssaddaaka eyokebwa era omuweereza wange Yobu ajja kubasabira.+ Ye gwe nnaawuliriza nneme okubabonereza olw’obusirusiru bwammwe, kubanga temunjogeddeeko bya mazima ng’omuweereza wange Yobu.”

9 Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuuki ne Zofali Omunaamasi, ne bagenda ne bakola nga Yakuwa bwe yabagamba. Yakuwa n’akkiriza essaala ya Yobu.

10 Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye,+ Yakuwa n’akomya okubonaabona kwa Yobu+ n’amuddizaawo eby’obugagga bye. Yakuwa n’amuwa ebintu ebikubisaamu emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.+ 11 Baganda ba Yobu bonna ne bannyina n’abo abaali mikwano gye+ ne bajja ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamusaasira era ne bamubudaabuda olw’ebizibu byonna Yakuwa bye yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwa ssente ng’ekirabo n’empeta eya zzaabu.

12 Yakuwa yawa Yobu emikisa mu kiseera ky’obulamu bwe ekyasembayo okusinga ekyasooka,+ Yobu n’aba n’endiga 14,000, eŋŋamira 6,000, emigogo gy’ente 1,000, n’endogoyi enkazi 1,000.+ 13 Era yafuna abaana ab’obulenzi abalala musanvu n’ab’obuwala basatu.+ 14 Omuwala eyasooka yamutuuma Yemima, ow’okubiri yamutuuma Keeziya, ate ow’okusatu n’amutuuma Kereni-kappuki. 15 Mu nsi yonna temwali bakazi balabika bulungi nga bawala ba Yobu, era kitaabwe yabawa obusika awamu ne bannyinaabwe.

16 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu yawangaala emyaka 140, n’alaba abaana be n’abazzukulu okutuukira ddala ku bannakasatwe. 17 Yobu n’afa ng’akaddiye era ng’amatidde ennaku z’obulamu bwe.

Liyinza okuba litegeeza, “Ekintu ekikyayibwa.”

Oba, “ataliiko kya kunenyezebwa era omugolokofu.”

Obut., “emigogo gy’ente 500.”

Obut., “endogoyi enkazi.”

Oba, “buli omu mu nnyumba ye ng’oluwalo lwe lutuuse.”

Oba, “bamalayika.”

Obut., “Omutima gwo ogutadde.”

Oba, “ataliiko kya kunenyezebwa era omugolokofu.”

Oba, “biri mu buyinza bwo.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Laddu.”

Oba, “talina kintu kibi kye yayogera ku Katonda.”

Mu Lwebbulaniya ebigambo “abaana ba Katonda ow’amazima” bikozesebwa ku bamalayika.

Obut., “Omutima gwo ogutadde.”

Oba, “ataliiko kya kunenyezebwa era omugolokofu.”

Obut., “mmumire.”

Oba, “ali mu buyinza bwo.”

Obut., “n’akolimira olunaku lwe.”

Oba, “ekizikiza n’ekisiikirize ky’okufa.”

Kirabika ono ggoonya oba ekisolo ekirala ekinene eky’omu nnyanja.

Obut., “n’oggwaamu amaanyi.”

Oba, “ekitonde eky’omwoyo ekyampita.”

Oba, “N’ababaka.”

Oba, “gajja kukola naawe endagaano.”

Obut., “emirembe ye weema yo.”

Oba, “nga sisoose kulowooza.”

Oba, “ekinandeetera okwongezaayo obulamu bwange.”

Oba, “okunnunula eri.”

Oba, “okutuusa emmambya lw’esala.”

Obut., “kulaba birungi.”

Laba Awanny.

Obut., “Mu kifo ky’amagumba gange.”

Obut., “omusseeko omutima.”

Obut., “Yabasindika mu mukono gw’obujeemu bwabwe.”

Obut., “Ne baggyayo ebigambo ebiri mu mitima gyabwe.”

Obut., “Bwe gatyo bwe gabeera amakubo g’abo.”

Oba, “lya kyewaggula.”

Oba, “Atunuulira ennyumba ey’amayinja.”

Oba, “bw’amiribwa.”

Oba, “Bwe lityo ekkubo lye bwe lijja okuggwaawo.”

Oba, “abataliiko kya kunenyezebwa.”

Obut., “talikwata ku mukono gwa.”

Oba, “okumutwala mu kkooti.”

Obut., “alina omutima ogw’amagezi.”

Oba, “Aggyawo.”

Oboolyawo ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja. Laba Awanny.

Era kiyinza okuvvuunulwa, “oyo gwe mpoza naye.”

Oba, “Ne bwe mba nga sirina musango.”

Obut., “ajja kugamba nti nnakyama.”

Oba, “Ne bwe mba nga sirina musango.”

Oba, “Nnyooma; Ŋŋaana.”

Oba, “Abakuuma obugolokofu.”

Oba, “kututabaganya.”

Obut., “N’atussaako ffembi omukono gwe.”

Obut., “anzigyako omuggo gwe.”

Obut., “Era ebintu bino wabikweka mu mutima gwo.”

Oba, “nsobole okusanyukako.”

Oba, “ey’ekizikiza era ey’ekisiikirize ky’okufa.”

Oba, “oyo eyeewaana anaaba mutuufu?”

Laba Awanny.

Obut., “nnina omutima.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “yogera n’ensi.”

Oba, “N’omukka.”

Oba, “nga bambuddwamu buli kintu.”

Obut., “asumulula omusipi gw’ab’amaanyi.”

Obut., “omutima.”

Obut., “Lwaki ntwalira omubiri gwange mu mannyo gange.”

Oba, “tewali kyewaggula.”

Obut., “ebintu bibiri, tobinkola.”

Kirabika Yobu y’ayogerwako wano.

Oba, “ennaku.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “n’atemebwa.”

Obut., “ondeeta mpoze.”

Laba Awanny.

Oba, “Oliyaayaanira.”

Obut., “omugaati.”

Oba, “okuwangula.”

Obut., “kamwa ke.”

Oba, “bakyewaggula.”

Oba, “Abo abakuŋŋaana nange.”

Oba, “amaanyi.” Obut., “ejjembe.”

Oba, “ekisiikirize ky’okufa.”

Obut., “olugero; eŋŋombo.”

Oba, “olwa kyewaggula.”

Laba Awanny.

Obut., “Ekinnya.”

Laba Awanny.

Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’abatali balongoofu.”

Oba, “okuwenyera.”

Obut., “Omubereberye w’okufa amulidde.”

Obut., “Ekintu ekitali kikye.”

Obut., “Era taliba na linnya.”

Oba, “w’abeera akaseera obuseera.”

Oba, “Munvumye.”

Oba, “Ab’eŋŋanda zange.”

Obut., “abaana b’enda yange,” kwe kugamba, olubuto olwanzaala (olubuto lwa mmange).

Obut., “ku nfuufu.”

Oba, “olulyo lw’omuntu; Adamu.”

Oba, “lya kyewaggula.”

Oba, “ng’akalulwe.”

Obut., “Olulimi.”

Obut., “era talibimira.”

Obut., “lw’obusungu bwe.”

Oba, “ne baba ba maanyi.”

Laba Awanny.

Oba, “mu kaseera buseera,” kwe kugamba, bafa mangu nga tebawulidde bulumi.

Oba, “Amagezi; Enkwe.”

Obut., “ng’obusomyo bw’amagumba ge bubisi.”

Obut., “bubonero bwabwe.”

Obut., “ajja kuwalula abantu bonna.”

Obut., “N’abali obukunya obambulamu ebyambalo byabwe.”

Oba, “bamulekwa.”

Obut., “emitego gy’ebinyonyi.”

Obut., “omugga.”

Oba, “kye yandagira.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda talina gw’avunaana.”

Laba Awanny.

Obut., “amakubo gaabwe.”

Oba, “okuba omulongoofu.”

Obut., “Era mukka (mwoyo) gw’ani ogukuvuddemu?”

Laba Awanny.

Obut., “obukiikakkono.”

Obut., “Lakabu.”

Oba, “nja kukuuma obugolokofu.”

Oba, “Kyewaggula.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “nga nkozesa omukono gwa Katonda.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bamukubira mu ngalo, era ne bamufuuyira oluwa nga basinziira mu kifo kyabwe.”

Obut., “gafukibwa.”

Oba, “alongooseddwa.”

Obut., “obuzito.”

Oba, “n’abaweereza.”

Obut., “ne beekweka.”

Oba, “ng’ekizibaawo ekitaliiko mikono.”

Obut., “mu kisu kyange.”

Obut., “byatonnyanga.”

Oba, “mu biwonvu.”

Obut., “olugero; eŋŋombo.”

Obut., “asumuludde akaguwa k’omutego gwange.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Awatali n’omu abayamba.”

Obut., “amagumba gange gakubibwamu ebituli.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “olw’omusujja.”

Oba, “bazzukulu bange ka bakuulibwe.”

Obut., “abasajja abalala ka bamufukamireko.”

Obut., “ogulya okutuusa lwe guzikiriza.”

Oba, “Nga balina omusango gwe banvunaana.”

Obut., “ayimuse?”

Obut., “mu lubuto.”

Obut., “nnaleetera amaaso ga nnamwandu okuziba.”

Obut., “okuva mu lubuto lwa mmange.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bwe nnalaba nga nnina obuyambi ku mulyango gw’ekibuga.”

Obut., “ekitangaala.”

Oba, “Abagwira.”

Oba, “yali yeetwala nti mutuukirivu.”

Obut., “ndi mutono mu nnaku.”

Obut., “Ennaku ka zoogere.”

Oba, “Ennaku ennyingi si ze zokka ezigeziwaza.”

Oba, “kunenya Yobu.”

Oba, “ntaana.”

Oba, “n’eky’okulwanyisa.”

Obut., “Obulamu bwe ne bwetamwa.”

Oba, “entaana.”

Oba, “malayika.”

Oba, “ntaana.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Era tekyangasa.”

Oba, “ntaana.”

Oba, “ntaana.”

Obut., “omutima.”

Obut., “omutima gwe.”

Oba, “ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa.”

Oba, “Kyewaggula.”

Obut., “abalina omutima.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kitange, Yobu k’agezesebwe.”

Kirabika ayogera ku Katonda.

Obut., “omukono gw’ab’amaanyi.”

Oba, “bulimba.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “atuuza bakabaka ku ntebe ez’obwakabaka.”

Oba, “n’eky’okulwanyisa.”

Oba, “Bakyewaggula.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “bukoma.”

Oba, “kukuleetera okukuba mu ngalo olw’ettima.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “avumiridde ekkubo lye; amunenyezza olw’ekkubo lye.”

Oba, “teginoonyezeka.”

Obut., “nsiisira ye.”

Obut., “ekitangaala.”

Obut., “emirandira.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekijja.”

Obut., “ateeka akabonero ku mukono gwa buli muntu.”

Obut., “omuggo.”

Oba, “gy’alagiramu.”

Kwe kugamba, ekitangaala ky’enjuba.

Oba, “bamalayika.”

Oba, “z’ekisiikirize ky’okufa.”

Obut., “ennaku nnyingi.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Okumyansa kw’eggulu.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “mu bantu.”

Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.

Obut., “ensigo zo.”

Obut., “yamuleetera okwerabira.”

Obut., “Efuluma okugenda okusisinkana eby’okulwanyisa.”

Obut., “n’emira ettaka.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “tekkiriza maloboozi ga ŋŋombe.”

Obut., “ku linnyo ly’olwazi.”

Oba, “Onojjulula.”

Obut., “Sibira obwenyi bwabwe.”

Oba, “nja kukutendereza.”

Oba, “Ye ntandikwa.”

Obut., “n’omutego.”

Oboolyawo ono ggoonya.

Obut., “n’eriggwa.”

Oba, “okukusuula wansi.”

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Yeenyumiririza mu magalagamba gaayo.”

Oba, “nzizaayo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share