LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 32
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yeremiya agula ekibanja (1-15)

      • Essaala ya Yeremiya (16-25)

      • Yakuwa bye yamuddamu (26-44)

Yeremiya 32:1

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 27:3.

Marginal References

  • +Yer 25:1

Yeremiya 32:2

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +Nek 3:25; Yer 33:1; 38:28

Yeremiya 32:3

Marginal References

  • +Yer 37:18, 21
  • +Yer 34:2, 3; 37:8, 17

Yeremiya 32:4

Marginal References

  • +2Sk 25:6, 7; Yer 38:17, 18; 39:5; Ezk 12:13

Yeremiya 32:5

Marginal References

  • +Yer 21:4; Ezk 17:15

Yeremiya 32:7

Marginal References

  • +Yos 21:8, 18; Yer 1:1
  • +Lev 25:23, 24

Yeremiya 32:9

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwa.”

Marginal References

  • +Lub 23:16

Yeremiya 32:10

Marginal References

  • +Yer 32:44
  • +Lus 4:9

Yeremiya 32:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 11

Yeremiya 32:12

Marginal References

  • +Yer 36:4, 26
  • +Yer 51:59
  • +Yer 33:1

Yeremiya 32:15

Marginal References

  • +Am 9:14; Zek 3:10

Yeremiya 32:17

Marginal References

  • +Is 40:26; Kub 4:11

Yeremiya 32:18

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Kuv 34:6, 7; Kbl 14:18

Yeremiya 32:19

Marginal References

  • +Is 28:29
  • +Nge 15:3; Beb 4:13
  • +Mub 12:14; Yer 17:10; Bar 2:6

Yeremiya 32:20

Marginal References

  • +Kuv 7:3, 5; 9:15, 16; Ma 4:34; 2Sa 7:23; Is 63:12

Yeremiya 32:21

Marginal References

  • +Kuv 6:1, 6; 15:16; Ma 26:8

Yeremiya 32:22

Marginal References

  • +Lub 13:14, 15; 26:3
  • +Kuv 3:8

Yeremiya 32:23

Marginal References

  • +Ma 28:15; Yos 23:16

Yeremiya 32:24

Marginal References

  • +Ma 28:52; 2Sk 25:1; Yer 33:4; Ezk 4:1, 2
  • +Lev 26:31, 33
  • +Yer 14:12; 15:2

Yeremiya 32:28

Footnotes

  • *

    Obut., “n’osasula ensobi za bataata mu kifuba ky’abaana baabwe.”

Marginal References

  • +2Sk 25:4; Yer 20:5

Yeremiya 32:29

Marginal References

  • +2Sk 25:9, 10; 2By 36:17, 19; Kuk 4:11
  • +Yer 7:18; 19:13; 44:25

Yeremiya 32:30

Marginal References

  • +Ma 9:7; 2Sk 17:9

Yeremiya 32:31

Marginal References

  • +1Sk 11:7; 2Sk 21:1, 4
  • +2Sk 23:27; 24:3, 4

Yeremiya 32:32

Marginal References

  • +1Sk 11:9, 10; 2Sk 23:26; 1By 10:13
  • +Ezk 22:6
  • +Mi 3:5, 11

Yeremiya 32:33

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +2By 29:6; Yer 2:27
  • +Yer 25:3; 35:15

Yeremiya 32:34

Marginal References

  • +2Sk 21:1, 4; Yer 23:11; Ezk 8:5, 6

Yeremiya 32:35

Footnotes

  • *

    Obut., “okukeeranga ne mbayigiriza.”

  • *

    Laba Awanny., “Ggeyeena.”

  • *

    Obut., “okuyisa.”

Marginal References

  • +Yos 15:8, 12
  • +2By 28:1, 3; 33:1, 6; Yer 7:31
  • +Lev 18:21; Ma 18:10, 12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1992, lup. 4

Yeremiya 32:37

Marginal References

  • +Ma 30:3; Yer 29:14; Ezk 37:21
  • +Yer 23:3, 6; 33:16; Ezk 34:25

Yeremiya 32:38

Marginal References

  • +Yer 31:33; Mi 4:5

Yeremiya 32:39

Marginal References

  • +Ezk 11:19
  • +Ma 5:29

Yeremiya 32:40

Marginal References

  • +Is 55:3; 61:8
  • +Ezk 39:29
  • +Ezk 36:26

Yeremiya 32:41

Marginal References

  • +Is 65:19; Zef 3:17
  • +Is 58:11; Yer 24:6; Am 9:15

Yeremiya 32:42

Marginal References

  • +Yer 31:28; Zek 8:14, 15

Yeremiya 32:43

Marginal References

  • +Ezk 37:14

Yeremiya 32:44

Marginal References

  • +Yer 32:10, 25
  • +Yer 31:23
  • +Yer 17:26; 33:13
  • +Zb 126:1

General

Yer. 32:1Yer 25:1
Yer. 32:2Nek 3:25; Yer 33:1; 38:28
Yer. 32:3Yer 37:18, 21
Yer. 32:3Yer 34:2, 3; 37:8, 17
Yer. 32:42Sk 25:6, 7; Yer 38:17, 18; 39:5; Ezk 12:13
Yer. 32:5Yer 21:4; Ezk 17:15
Yer. 32:7Yos 21:8, 18; Yer 1:1
Yer. 32:7Lev 25:23, 24
Yer. 32:9Lub 23:16
Yer. 32:10Yer 32:44
Yer. 32:10Lus 4:9
Yer. 32:12Yer 36:4, 26
Yer. 32:12Yer 51:59
Yer. 32:12Yer 33:1
Yer. 32:15Am 9:14; Zek 3:10
Yer. 32:17Is 40:26; Kub 4:11
Yer. 32:18Kuv 34:6, 7; Kbl 14:18
Yer. 32:19Is 28:29
Yer. 32:19Nge 15:3; Beb 4:13
Yer. 32:19Mub 12:14; Yer 17:10; Bar 2:6
Yer. 32:20Kuv 7:3, 5; 9:15, 16; Ma 4:34; 2Sa 7:23; Is 63:12
Yer. 32:21Kuv 6:1, 6; 15:16; Ma 26:8
Yer. 32:22Lub 13:14, 15; 26:3
Yer. 32:22Kuv 3:8
Yer. 32:23Ma 28:15; Yos 23:16
Yer. 32:24Ma 28:52; 2Sk 25:1; Yer 33:4; Ezk 4:1, 2
Yer. 32:24Lev 26:31, 33
Yer. 32:24Yer 14:12; 15:2
Yer. 32:282Sk 25:4; Yer 20:5
Yer. 32:292Sk 25:9, 10; 2By 36:17, 19; Kuk 4:11
Yer. 32:29Yer 7:18; 19:13; 44:25
Yer. 32:30Ma 9:7; 2Sk 17:9
Yer. 32:311Sk 11:7; 2Sk 21:1, 4
Yer. 32:312Sk 23:27; 24:3, 4
Yer. 32:321Sk 11:9, 10; 2Sk 23:26; 1By 10:13
Yer. 32:32Ezk 22:6
Yer. 32:32Mi 3:5, 11
Yer. 32:332By 29:6; Yer 2:27
Yer. 32:33Yer 25:3; 35:15
Yer. 32:342Sk 21:1, 4; Yer 23:11; Ezk 8:5, 6
Yer. 32:35Yos 15:8, 12
Yer. 32:352By 28:1, 3; 33:1, 6; Yer 7:31
Yer. 32:35Lev 18:21; Ma 18:10, 12
Yer. 32:37Ma 30:3; Yer 29:14; Ezk 37:21
Yer. 32:37Yer 23:3, 6; 33:16; Ezk 34:25
Yer. 32:38Yer 31:33; Mi 4:5
Yer. 32:39Ezk 11:19
Yer. 32:39Ma 5:29
Yer. 32:40Is 55:3; 61:8
Yer. 32:40Ezk 39:29
Yer. 32:40Ezk 36:26
Yer. 32:41Is 65:19; Zef 3:17
Yer. 32:41Is 58:11; Yer 24:6; Am 9:15
Yer. 32:42Yer 31:28; Zek 8:14, 15
Yer. 32:43Ezk 37:14
Yer. 32:44Yer 32:10, 25
Yer. 32:44Yer 31:23
Yer. 32:44Yer 17:26; 33:13
Yer. 32:44Zb 126:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 32:1-44

Yeremiya

32 Yakuwa yayogera ne Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya owa Yuda, ng’ogwo gwe gwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza.*+ 2 Mu kiseera ekyo amagye ga kabaka wa Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era nga nnabbi Yeremiya asibiddwa mu Luggya lw’Abakuumi+ mu nnyumba ya* kabaka wa Yuda. 3 Kabaka Zeddeekiya owa Yuda yali amusibye+ ng’agamba nti, “Lwaki olagula bw’oti? Ogamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ekibuga kino nja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kukiwamba,+ 4 era Kabaka Zeddeekiya owa Yuda tajja kusimattuka Bakaludaaya, kubanga ajja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kwogera naye maaso ku maaso.”’+ 5 ‘Ajja kutwala Zeddeekiya e Babulooni abeere eyo okutuusa lwe ndisalawo eky’okumukolera,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Wadde mulwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula.’”+

6 Yeremiya n’agamba nti: “Yakuwa aŋŋambye nti, 7 ‘Kanameri mutabani wa Salumu kitaawo omuto ajja kujja akugambe nti: “Weegulire ekibanja mu Anasosi,+ kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw’okukinunula.”’”+

8 Kanameri mutabani wa taata wange omuto yajja gye ndi mu Luggya lw’Abakuumi nga Yakuwa bwe yali agambye, n’aŋŋamba nti: “Nkwegayiridde gula ekibanja kyange mu Anasosi, mu kitundu kya Benyamini, kubanga ggwe olina obuyinza okukitwala n’okukinunula. Kyegulire.” Awo ne mmanya nti ekyo kyali bwe kityo olw’ekigambo kya Yakuwa.

9 Awo ne ngula ekibanja kya Kanameri mutabani wa taata wange omuto mu Anasosi. Nnamupimira ssente,+ sekeri* musanvu n’ebitundu bya ffeeza kkumi, 10 ne mpandiika endagaano,+ ne ngissaako akabonero, ne mpita abajulizi,+ era ne mpima ssente ku minzaani. 11 Nnakwata endagaano ey’obuguzi eyateekebwako akabonero nga bwe kirina okuba mu mateeka n’ebiragiro, awamu n’eyo etaaliko kabonero, 12 era endagaano ey’obuguzi ne ngiwa Baluki+ mutabani wa Neriya+ mutabani wa Maseya nga waliwo Kanameri mutabani wa taata wange omuto, abajulizi abassa omukono ku ndagaano y’obuguzi, era n’Abayudaaya bonna abaali batudde mu Luggya lw’Abakuumi.+

13 Ne ŋŋamba Baluki mu maaso gaabwe nti: 14 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Twala endagaano zino, endagaano ey’obuguzi, eriko akabonero n’etaliiko kabonero, oziteeke mu kibya eky’ebbumba, zisobole okuwangaala ekiseera ekiwanvu.’ 15 Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Ennyumba n’ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu bijja kuddamu okugulibwa mu nsi eno.’”+

16 Bwe nnamala okuwa Baluki mutabani wa Neriya endagaano ey’obuguzi, ne nsaba Yakuwa nga ŋŋamba nti: 17 “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Ggwe wakola eggulu n’ensi ng’okozesa amaanyi go amangi+ n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kikulema, 18 ggwe alaga enkumi n’enkumi okwagala okutajjulukuka, naye n’obonereza abaana olw’ensobi za bakitaabwe,*+ ggwe Katonda ow’amazima, ow’ekitiibwa, era ow’amaanyi; erinnya lyo ggwe Yakuwa ow’eggye. 19 Ebigendererwa byo bya kitalo era ebikolwa byo bya maanyi;+ amaaso go galaba amakubo g’abantu gonna,+ osobole okuwa buli muntu okusinziira ku makubo ge n’ebikolwa bye.+ 20 Wakola obubonero n’ebyamagero mu nsi ya Misiri ebimanyiddwa ne leero, ne weekolera erinnya mu Isirayiri ne mu bantu bonna+ nga bwe kiri leero. 21 Ate era waggya abantu bo Isirayiri mu nsi ya Misiri ng’okola obubonero n’ebyamagero ng’okozesa omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, era n’okola n’eby’entiisa.+

22 “Oluvannyuma wabawa ensi eno gye walayira okuwa bajjajjaabwe,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 23 Bajja ne bagifuna, naye tebaagondera ddoboozi lyo wadde okutambulira mu mateeka go. Tebaakola na kimu ku ebyo bye wabalagira okukola, kyewava obatuusaako akabi kano konna.+ 24 Laba! Abantu bazze ne bakola ebifunvu okuwamba ekibuga,+ era olw’ekitala,+ n’enjala, n’endwadde,+ ekibuga kijja kugwa mu mikono gy’Abakaludaaya abakirwanyisa; byonna bye wayogera bituukiridde nga bw’olaba. 25 Naye, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, oŋŋambye nti, ‘Weegulire ekibanja era oyite abajulizi,’ wadde ng’ekibuga kijja kuweebwayo mu mukono gw’Abakaludaaya.”

26 Awo Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 27 “Nze Yakuwa Katonda w’abantu bonna, waliwo ekintu kyonna ekiyinza okunnema? 28 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Laba mpaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne mu mukono gwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era ajja kukiwamba.+ 29 Ate era Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino bajja kujja bakikumeko omuliro bakyokye+ awamu n’ennyumba ez’obusolya abantu kwe baaweerangayo ssaddaaka eri Bbaali, era kwe baaweerangayo ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri bakatonda abalala okunnyiiza.’+

30 “‘Abantu b’omu Isirayiri n’ab’omu Yuda bakoze bintu bibi byokka mu maaso gange okuviira ddala mu buto bwabwe;+ abantu b’omu Isirayiri bannyiiza olw’ebyo bye bakola n’emikono gyabwe,’ Yakuwa bw’agamba. 31 ‘Ekibuga kino, okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa okutuusa leero, kindeetedde obusungu n’ekiruyi,+ n’olwekyo kiteekwa okuggibwa mu maaso gange,+ 32 olw’ebintu ebibi byonna abantu b’omu Isirayiri ne Yuda bye bakoze okunnyiiza—bo bennyini, bakabaka baabwe,+ abaami baabwe,+ bakabona baabwe, bannabbi baabwe,+ n’abantu b’omu Yuda era n’ababeera mu Yerusaalemi. 33 Bankuba amabega ne batantunuulira;+ wadde nga nnagezaako enfunda n’enfunda okubayigiriza,* tewali n’omu ku bo eyawuliriza asobole okugololwa.+ 34 Baateeka ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange bagifuule etali nnongoofu.+ 35 Ate era baazimba ebifo ebigulumivu eby’okusinzizaamu Bbaali mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu*+ okwokya* mu muliro batabani baabwe ne bawala baabwe okubawaayo eri Moleki;+ ekintu kye sibaragirangako+ era ekitayingirangako mu mutima gwange* kukola kintu ng’ekyo eky’omuzizo, ekyaleetera Yuda okwonoona.’

36 “Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku kibuga kino kye mugamba nti ekitala, n’enjala, n’endwadde bijja kukiweesaayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, 37 ‘Laba, nja kubakuŋŋaanya mbaggye mu nsi gye nnabasaasaanyiza nga ndiko obusungu bungi n’ekiruyi,+ era nja kubakomyawo mu kifo kino babeere mu mirembe.+ 38 Bajja kubeera bantu bange, era nange nja kubeera Katonda waabwe.+ 39 Nja kubawa omutima gumu+ n’ekkubo limu bantyenga, ku lw’obulungi bwabwe ne ku lw’obulungi bw’abaana baabwe abalibaddirira.+ 40 Ate era nja kukola nabo endagaano ey’olubeerera+ nti sirirekera awo kubakolera birungi;+ nja kubateekamu okuntya mu mitima gyabwe, baleme okunvaako.+ 41 Nnaasanyukanga okubakolera ebirungi,+ era nja kubasimba mu nsi eno+ n’omutima gwange gwonna n’amaanyi gange gonna.’”

42 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nga bwe nnaleeta akabi ak’amaanyi ku bantu bano, bwe ntyo bwe nnaabakolera ebirungi bye mbasuubiza.+ 43 Ebibanja bijja kuddamu okugulibwa mu nsi eno,+ wadde nga mugamba nti: “Ensi efuuse matongo, teriimu bantu wadde ensolo, era eweereddwayo eri Abakaludaaya.”’

44 “‘Ebibanja bijja kugulibwa, endagaano z’obuguzi zijja kukolebwa era ziteekebweko obubonero, n’abajulizi bajja kuyitibwa bajje mu kitundu kya Benyamini,+ mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, mu bibuga bya Yuda,+ mu bibuga eby’omu kitundu eky’ensozi, mu bibuga eby’omu lusenyi,+ ne mu bibuga eby’ebukiikaddyo, kubanga nja kukomyawo abantu baabwe abaawambibwa,’+ Yakuwa bw’agamba.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share