ZABBULI
EKITABO EKISOOKA
(Zabbuli 1-41)
1 Alina essanyu omuntu atakolera ku magezi g’ababi,
Wadde okuyimirira mu kkubo ly’aboonoonyi,+
Wadde okutuula awamu n’abanyoomi.+
2 Naye amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa,+
Era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro.+
3 Anaabanga ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi,
Ogubala ebibala mu kiseera kyagwo,
Era ebikoola byagwo tebiwotoka.
Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.+
4 Ababi bo tebali bwe batyo;
Balinga ebisusunku empewo by’efuumuula.
5 Eyo ye nsonga lwaki ababi tebalisigala nga bayimiridde ng’omusango gusalibwa;+
Era aboonoonyi tebalisigala nga bayimiridde mu kibiina ky’abatuukirivu.+
2 Bakabaka b’ensi beeteekateeka,
3 Bagamba nti: “Ka tukutule enjegere zaabwe
Era tusuule eri emiguwa gyabwe!”
4 Oyo atudde mu ggulu aliseka;
Yakuwa alibanyoomoola.
5 Mu kiseera ekyo alyogera gye bali nga musunguwavu
Era alibatiisa mu busungu bwe obubuubuuka,
6 Ng’agamba nti: “Nze kennyini ntadde kabaka wange+
Ku lusozi lwange olutukuvu, Sayuuni.”+
11 Muweereze Yakuwa n’okutya
Musanyuke nga bwe mukankana.
12 Muwe omwana ekitiibwa;*+ bwe mutakola mutyo, Katonda ajja kusunguwala*
Muzikirire muve mu kkubo,+
Kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Balina essanyu abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali adduka Abusaalomu mutabani we.+
3 Ai Yakuwa, lwaki abalabe bange bayitiridde obungi?+
Lwaki bangi basituka okunnwanyisa?+
2 Bangi banjogerako nti:
“Katonda tajja kumulokola.”+ (Seera)*
7 Situka Ai Yakuwa! Ndokola Ai Katonda wange!+
Ojja kukuba abalabe bange bonna ku luba;
Ojja kumenyaamenya amannyo g’ababi.+
Omukisa gwo guli ku bantu bo. (Seera)
Eri akubiriza eby’okuyimba; kugenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
4 Bwe nkukoowoola, nnyanukula, Ai Katonda wange omutuukirivu.+
Mu buyinike bwange nteeraawo obuddukiro.*
Nkwatirwa ekisa owulire okusaba kwange.
2 Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okumpeebuula?
Mulituusa wa okwagala ebitaliimu nsa n’okunoonya ebitali bya mazima. (Seera)
3 Mukimanye nti Yakuwa ayisa mu ngeri ya njawulo oyo omwesigwa gy’ali;*
Yakuwa ajja kuwulira bwe nnaamukoowoola.
4 Bwe musunguwala temwonoona.+
Mwogerere mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe, era musirike. (Seera)
6 Waliwo bangi abagamba nti: “Ani anaatulaga ebirungi?”
Ekitangaala ky’obwenyi bwo ka kitwakire, Ai Yakuwa.+
7 Omutima gwange ogujjuzza essanyu
Erisinga ery’abo abakungudde emmere ennyingi era abalina omwenge omusu omungi.
Eri akubiriza eby’okuyimba ebya Nekira.* Zabbuli ya Dawudi.
5 Wulira ebigambo byange, Ai Yakuwa;+
Ssaayo omwoyo eri okusinda kwange.
2 Wulira okuwanjaga kwange,
Ai Kabaka wange era Katonda wange, kubanga ggwe gwe nsaba.
3 Ai Yakuwa, ku makya ojja kuwulira eddoboozi lyange;+
Ku makya nja kukutegeeza ebinneeraliikiriza+ era nnindirire.
5 Tewali muntu wa malala ayinza kuyimirira mu maaso go.
Yakuwa akyawa abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe era abakuusa.*+
7 Naye nze nja kujja mu nnyumba yo+ olw’okwagala kwo okungi okutajjulukuka;+
Nja kuvunnama nga ntunudde eri yeekaalu yo entukuvu* olw’okukutya.+
8 Nkulembera mu makubo go ag’obutuukirivu, Ai Yakuwa, olw’abalabe abanneetoolodde;
Njerulira ekkubo lyo.+
9 Tewali kye boogera kiyinza kwesigika;
Munda bajjudde ttima jjereere;
Emimiro gyabwe ntaana ezaasamye;
Olulimi lwabwe lwogera ebigambo ebiwaanawaana.+
10 Naye Katonda ajja kubasalira omusango;
Enkwe zaabwe zijja kubaviirako okugwa.+
Ka bagobebwe olw’ebibi byabwe ebingi,
Kubanga bakujeemedde.
11 Naye abo bonna abaddukira gy’oli bajja kusanyuka;+
Bajja kwogereranga waggulu n’essanyu.
Ojja kubakuuma,
Era abo abaagala erinnya lyo bajja kusanyuka.
12 Abatuukirivu bonna ojja kubawa omukisa, Ai Yakuwa;
Ojja kubakwatirwa ekisa, era ojja kubakuuma ng’olinga akozesa engabo ennene.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; kugenderako ebivuga eby’enkoba ebireegeddwa okuvugira mu ddoboozi lya Seminisi.* Zabbuli ya Dawudi.
6 Ai Yakuwa, tonnenya ng’oli musunguwavu,
Era tongolola ng’oliko ekiruyi.+
2 Nkwatirwa ekisa,* Ai Yakuwa, kubanga mpulira amaanyi ganzigwaamu.
Mponya, Ai Yakuwa,+ kubanga amagumba gange gakankana.
6 Nkooye olw’okusinda;+
Ekiro kyonna ekitanda kyange nkitobya amaziga;
Obuliri bwange mbutotobaza nga nkaaba.+
8 Muve we ndi mmwe mmwenna abakola ebintu ebibi,
Kubanga Yakuwa ajja kuwulira okukaaba kwange.+
9 Yakuwa ajja kuwulira okwegayirira kwange;+
Yakuwa ajja kukkiriza okusaba kwange.
10 Abalabe bange bonna bajja kuswala era batye;
Bajja kukyuka mangu baddeyo nga baswadde.+
Oluyimba olw’okukungubaga Dawudi lwe yayimbira Yakuwa olw’ebigambo bya Kuusi Omubenyamini.
7 Ai Yakuwa Katonda wange, nzirukidde gy’oli.+
Mponya abo bonna abanjigganya era ndokola.+
2 Baleme kuntaagulataagula ng’empologoma,+
Ne bantwala nga tewali n’omu antaasa.
3 Ai Yakuwa Katonda wange, bwe mba nga nze musobya,
Bwe mba nga nnakola ebitali bya bwenkanya,
4 Bwe mba nga oyo ankolera ebirungi mmukoze ebibi,+
Oba bwe mba nga nnanyaga ebintu by’omulabe wange awatali nsonga,*
5 Omulabe wange k’angobe ankwate;
K’anninnyirire ku ttaka nfe
Ekitiibwa kyange kisaanewo mu nfuufu. (Seera)
6 Situka mu busungu, Ai Yakuwa;
Yimuka olwanyise abalabe bange abaswakidde;+
Golokoka ku lwange, olagire wabeewo obwenkanya.+
7 Amawanga ka gakwetooloole;
Era ojja kugavunaana ng’oyima waggulu.
8 Yakuwa ajja kulamula amawanga.+
Nnamula, Ai Yakuwa, okusinziira ku butuukirivu bwange
N’okusinziira ku bugolokofu bwange.+
9 Nkwegayiridde komya ebikolwa ebibi eby’ababi.
10 Katonda ye ngabo yange,+ era ye Mulokozi w’abo abalina omutima omugolokofu.+
11 Katonda Mulamuzi mutuukirivu,+
Buli lunaku Katonda alangirira emisango gy’asalidde ababi.
13 Ateekateeka eby’okulwanyisa bye eby’omutawaana;
Ateekateeka obusaale bwe obwakaayakana.+
14 Laba omuntu ali olubuto lw’ebintu ebibi;
Afuna olubuto lw’ebintu ebibi n’azaala obulimba.+
15 Asima ekinnya ekiwanvu,
Naye n’agwa mu kinnya kyennyini ky’asimye.+
16 Emitawaana gy’aleeta gijja kumuddira,+
Ebikolwa eby’obukambwe by’akola bijja kumuddira.
17 Nnaatenderezanga Yakuwa olw’okuba mwenkanya;+
Nnaayimbanga okutendereza erinnya lya Yakuwa+ Oyo Asingayo Okuba Waggulu.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Gittisu.* Zabbuli ya Dawudi.
8 Ai Yakuwa Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna;
Ekitiibwa kyo okitadde waggulu n’okusinga eggulu!+
2 Oyolesezza amaanyi go okuva mu kamwa k’abaana abato n’abawere+
Olw’abalabe bo,
Okusirisa omulabe n’oyo awoolera eggwanga.
3 Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo,
Omwezi n’emmunyeenye bye wakola,+ nneebuuza nti,
4 Omuntu kye ki, ggwe okumulowoozaako,
Omwana w’omuntu kye ki, ggwe okumufaako?+
6 Wamuwa obuyinza ku mirimu gy’emikono gyo;+
Wateeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye:
7 Ebisibo byonna n’ente,
N’ensolo ez’omu nsiko,+
8 Ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
Buli ekiyita mu nnyanja.
9 Ai Yakuwa Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna!
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Musulabbeni.* Zabbuli ya Dawudi.
א [Alefu]
9 Ai Yakuwa, nnaakutenderezanga n’omutima gwange gwonna;
Nnaayogeranga ku bikolwa byo byonna eby’ekitalo.+
2 Nnaasanyukanga era ne njagulizanga mu ggwe;
Nnaayimbanga ennyimba ezitendereza erinnya lyo, Ai ggwe Asingayo Okuba Waggulu.+
ב [Besu]
3 Abalabe bange bwe banadduka ne baddayo,+
Bajja kwesittala basaanewo okuva mu maaso go.
4 Kubanga ondaze obwenkanya n’ompolereza;
Otuula ku ntebe yo n’olamula mu butuukirivu.+
ג [Gimeri]
5 Onenyezza amawanga+ n’ozikiriza ababi,
Erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
ה [Ke]
ו [Wawu]
ז [Zayini]
11 Muyimbire Yakuwa abeera mu Sayuuni;
Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.+
12 Oyo awoolera eggwanga olw’omusaayi gwabwe ogwayiibwa abajjukira;+
Talyerabira kukaaba kw’abo ababonyaabonyezebwa.+
ח [Kesu]
13 Nkwatirwa ekisa, Ai Yakuwa; laba engeri abo abatanjagala gye bambonyaabonyaamu,
Ggwe annyimusa okunzigya ku miryango gy’okufa,+
14 Ndyoke nnangirire ebikolwa byo eby’ettendo mu miryango gya muwala wa Sayuuni,+
Era nsanyukire mu bikolwa byo eby’obulokozi.+
ט [Tesu]
15 Amawanga gagudde mu kinnya kye gaasima;
Ekigere kyago kikwatiddwa mu kitimba kye gaatega.+
16 Yakuwa yeemanyisa olw’emisango gy’asala.+
Ababi bakwatiddwa mu ebyo bye bakola n’emikono gyabwe.+
Kiggayoni.* (Seera)
י [Yodi]
17 Ababi bajja kugenda emagombe,*
Amawanga gonna ageerabira Katonda.
כ [Kafu]
19 Situka, Ai Yakuwa! Tokkiriza muntu kuwangula.
Amawanga ka gasalirwe omusango mu maaso go.+
20 Baleetere okutya, Ai Yakuwa,+
Amawanga ka gamanye nti go bantu buntu. (Seera)
ל [Lamedi]
10 Ai Yakuwa, lwaki oyimirira wala?
Lwaki weekweka mu biseera eby’obuyinike?+
Anyooma Yakuwa.
4 Mu malala ge, omubi tanoonyereza;
Mu birowoozo bye byonna agamba nti: “Teri Katonda.”+
5 By’akola bimugendera bulungi,+
Naye amateeka go gamusukkulumyeko, tagategeera;+
Anyooma abalabe be bonna.
פ [Pe]
7 Akamwa ke kajjudde ebikolimo, obulimba, n’okutiisatiisa;+
Olulimi lwe lwogera ebigambo eby’omutawaana era ebirumya.+
8 Ateega okumpi n’ebyalo;
Avaayo gye yeekwese n’atta omuntu atalina musango.+
ע [Ayini]
Aliimisa alabe gw’ayinza okukola akabi.+
9 Yeekweka n’ateega ng’empologoma eri mu bwekwekero bwayo.*+
Ateega okukwasa oyo ateesobola.
Amukwasa bw’asika ekitimba kye ne kyesiba.+
10 Oyo ateesobola amaanyi gamuggwa n’agwa wansi;
Abo be biggidde obubi bagwa mu mikono gye.*
11 Agamba mu mutima gwe nti: “Katonda yeerabidde.+
Atunudde eri.
Talaba.”+
ק [Kofu]
12 Situka, Ai Yakuwa.+ Ai Katonda, yimusa omukono gwo.+
Abateesobola tobeerabira.+
13 Lwaki omubi anyooma Katonda?
Agamba mu mutima gwe nti: “Tojja kunvunaana.”
ר [Lesu]
14 Naye ggwe olaba emitawaana n’ennaku.
Olaba n’obaako ky’okolawo.+
ש [Sini]
16 Yakuwa Kabaka emirembe n’emirembe.+
Amawanga gasaanyeewo ku nsi.+
ת [Tawi]
17 Naye ojja kuwulira okwegayirira kw’abawombeefu, Ai Yakuwa.+
Ojja kugumya emitima gyabwe+ era obawulirize.+
18 Ensonga z’abaana abatalina bakitaabwe n’abo abanyigirizibwa+ ojja kuzikwata mu bwenkanya,
Abantu baleme kuddamu kubatiisatiisa.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
11 Nzirukidde eri Yakuwa.+
Kale muyinza mutya okuŋŋamba nti:
“Dduka ng’ekinyonyi ogende ku lusozi lwo!*
2 Laba ababi bwe baweta omutego;
Akasaale kaabwe bakateeka ku kaguwa k’omutego,
Balasize mu nzikiza abo abalina omutima omugolokofu.
4 Yakuwa ali mu yeekaalu ye entukuvu.+
Entebe ya Yakuwa eri mu ggulu.+
Amaaso ge geetegereza abaana b’abantu.+
6 Ajja kutonnyesa ku babi ebyambika;*
Omuliro n’amayinja agookya+ n’embuyaga eyokya bye bijja okuba omugabo gw’ekikopo kyabwe.
7 Yakuwa mutuukirivu+ era ayagala ebikolwa eby’obutuukirivu.+
Abagolokofu alibalaga ekisa.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku bivuga ebireegeddwa okuvugira mu ddoboozi lya Seminisi.* Zabbuli ya Dawudi.
12 Ndokola, Ai Yakuwa, kubanga abeesigwa tebakyaliwo;
Abantu ab’amazima baweddewo mu bantu.
2 Abantu boogera eby’obulimba buli omu eri munne;
Boogera n’emimwa gyabwe ebigambo ebiwaanawaana era nga balina emitima emikuusa.*+
3 Yakuwa ajja kusaanyaawo emimwa gyonna egyogera ebigambo ebiwaanawaana
Era n’olulimi olwewaana,+
4 Abo abagamba nti: “Tujja kuwangula nga tukozesa ennimi zaffe.
Emimwa gyaffe tugikozesa nga bwe twagala;
Ani anaatufuga?”+
5 “Olw’okuba abanaku banyigirizibwa,
Olw’okuba abaavu basinda,+
Nja kusituka mbeeko kye nkola,” Yakuwa bw’agamba.
“Nja kubawonya abo ababajooga.”
6 Ebigambo bya Yakuwa birongoofu;+
Biringa ffeeza alongoosereddwa mu kyoto eky’ebbumba, n’aggibwamu amasengere emirundi musanvu.
7 Ojja kubakuuma, Ai Yakuwa;+
Buli omu ku bo ojja kumuwonya abantu b’omulembe guno emirembe gyonna.
8 Ababi beetaaya,
Olw’okuba abaana b’abantu bawagira eby’obugwagwa.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
13 Ai Yakuwa, olituusa wa okunneerabira? Mirembe gyonna?
Olituusa wa okunneekweka?+
2 Ndituusa wa okweraliikirira,
N’okuba n’ennaku mu mutima gwange buli lunaku?
Omulabe wange alituusa wa okunkajjalako?+
3 Ntunuulira onziremu, Ai Yakuwa Katonda wange.
Amaaso gange gawe ekitangaala nneme okufa,*
4 Omulabe wange aleme kugamba nti: “Mmuwangudde!”
Tokkiriza balabe bange kusanyuka nga ngudde.+
5 Nneesiga okwagala kwo okutajjulukuka;+
Omutima gwange gujja kusanyukira ebikolwa byo eby’obulokozi.+
6 Nja kuyimbira Yakuwa olw’okuba ankoledde ebirungi bingi.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
14 Omusirusiru* agamba mu mutima gwe nti:
“Yakuwa taliiyo.”+
Beeyisa bubi era bye bakola bya muzizo.
Tewali n’omu akola birungi.+
2 Naye Yakuwa ayima mu ggulu n’atunuulira abaana b’abantu
Okulaba obanga waliwo ategeera, okulaba obanga waliwo anoonya Yakuwa.+
3 Bonna bawabye,+
Bonna boonoonefu.
Tewali akola birungi.
Tewali n’omu bw’ati.
4 Tewali n’omu ku boonoonyi ategeera?
Balya abantu bange ng’abalya emmere.
Tebakoowoola Yakuwa.
5 Balifuna entiisa ey’amaanyi,+
Kubanga Yakuwa ali n’omulembe gw’abatuukirivu.
6 Mmwe aboonoonyi mugezaako okulemesa enteekateeka z’omunaku,
Naye Yakuwa kye kiddukiro kye.+
7 Singa nno Isirayiri afuna obulokozi okuva mu Sayuuni!+
Yakuwa ng’akomezzaawo abantu be abaawambibwa,
Yakobo k’asanyuke, Isirayiri k’ajaguze.
Zabbuli ya Dawudi.
15 Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo?
Ani ayinza okubeera ku lusozi lwo olutukuvu?+
Atuukiriza by’asuubiza* ne bwe kiba nga kimukosa.+
Oyo akola ebyo taasagaasaganenga.*+
Mikutamu* ya Dawudi.
16 Ai Katonda nkuuma, kubanga nzirukidde gy’oli.+
2 Ŋŋambye Yakuwa nti: “Ggwe Yakuwa, ggwe Nsibuko y’ebintu ebirungi byonna.
4 Abo abaweereza bakatonda abalala beeyongerako nnaku.+
Siiweengayo gye bali biweebwayo eby’okunywa eby’omusaayi,
Era akamwa kange tekaayatulenga mannya gaabwe.+
5 Yakuwa gwe mugabo gwange,+ era kye kikopo kyange.+
Okuuma obusika bwange.
6 Ekitundu kye bampimiddeko kirungi.
Ndi mumativu n’obusika bwange.+
7 Nnaatenderezanga Yakuwa ambuuliridde.+
Ne bwe buba kiro, ebirowoozo byange* bimpabula.+
8 Yakuwa mmuteeka mu maaso gange bulijjo.+
Olw’okuba ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.*+
9 Omutima gwange kyeguva gusanyuka; nzenna ndi musanyufu.*
Era ndi* mu mirembe.
10 Kubanga tolindeka magombe.*+
Tolireka mwesigwa wo kulaba kinnya.*+
11 Ommanyisa ekkubo ery’obulamu.+
W’oli waliwo okusanyuka kungi;+
Ku mukono gwo ogwa ddyo waliwo essanyu emirembe n’emirembe.
Essaala ya Dawudi.
17 Ai Yakuwa, wulira nga nkusaba wabeewo obwenkanya;
Ssaayo omwoyo nga nkuwanjagira;
Wulira okusaba kwange okutaliimu bukuusa.+
2 Omusango gwange gusale mu bwenkanya;+
Amaaso go ka galabe ekituufu.
Ojja kukiraba nti sirina kibi kye nteeseteese kukola,
Akamwa kange tekoogedde bintu bibi.
4 Ku bikwata ku bikolwa by’abantu,
Ng’ekigambo ky’akamwa ko bwe kiri, nneewala amakubo g’omunyazi.+
6 Ai Katonda nkukoowoola, kubanga ojja kunziramu.+
Ntegera okutu.* Wulira ebigambo byange.+
7 Mu ngeri ey’ekitalo laga okwagala kwo okutajjulukuka,+
Ai ggwe Omulokozi w’abo abaddukira ku mukono gwo ogwa ddyo
Okuwona abo abakujeemera.
9 Mponya ababi abannumba,
Abalabe bange abatanjagala abanneetooloola.+
10 Emitima gyabwe gyaguba;*
Emimwa gyabwe gyogeza malala;
11 Batukugira;+
Batulabiriza nga baagala okutusuula.
12 Omulabe alinga empologoma egenda okuyuzaayuza omuyiggo gwayo,
Alinga empologoma envubuka ebwamye ng’erina ky’eteeze.
13 Ai Yakuwa, situka omwaŋŋange+ omuwangule;
Kozesa ekitala kyo omponye ababi;
14 Ai Yakuwa, kozesa omukono gwo onnunule
Mu bantu b’omu nsi eno,* abalina omugabo mu bulamu buno,+
Abo b’okkusa ebintu byo ebirungi,+
Era abalekera abaana baabwe abangi eby’obusika.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi omuweereza wa Yakuwa. Oluyimba luno yaluyimbira Yakuwa ku lunaku Yakuwa lwe yamununula mu mukono gw’abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo. Yagamba nti:+
18 Nkwagala nnyo, Ai Yakuwa amaanyi gange.+
2 Yakuwa lwe lwazi lwange era kye kigo kyange; y’annunula.+
Katonda wange lwe lwazi lwange+ mwe nzirukira,
Ye ngabo yange era lye jjembe* lyange ery’obulokozi;* kye kiddukiro kyange.+
3 Nkoowoola Yakuwa, oyo agwanidde okutenderezebwa,
Era nja kununulibwa mu mukono gw’abalabe bange.+
6 Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa,
Nnakaabirira Katonda wange annyambe.
7 Awo ensi n’etandika okukankana n’okuyuuguuma;+
Emisingi gy’ensozi ne gikankana,
Gyakankana kubanga yali asunguwadde.+
10 Yeebagala kerubi n’ajja ng’abuuka mu bbanga.+
Yakkira ku biwaawaatiro by’ekitonde eky’omwoyo.*+
12 Omuzira n’amanda agaaka byava mu kwakaayakana okwali mu maaso ge
Ne biyita mu bire.
13 Awo Yakuwa n’awuluguma mu ggulu;+
Eddoboozi ly’Oyo Asingayo Okuba Waggulu ne liwulirwa,+
Ne waba omuzira n’amanda agaaka.
15 Entobo z’emigga zaalabika;+
Emisingi gy’ensi gyeyerula olw’okuboggola kwo, Ai Yakuwa,
Olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.+
16 Yayima waggulu n’agolola omukono gwe,
N’ankwata n’anzigya mu mazzi amawanvu.+
17 Yannunula mu mukono gw’omulabe wange ow’amaanyi,+
Yannunula mu mukono gw’abo abatanjagala era abaali bansinga amaanyi.+
18 Bannumba ku lunaku lwe nnali mu buzibu,+
Naye Yakuwa yannyamba.
21 Kubanga ntambulidde mu makubo ga Yakuwa,
Era ekibi eky’okuva ku Katonda wange sikikoze.
22 Amateeka ge gonna gali mu maaso gange;
Era ebiragiro bye sijja kubibuusa maaso.
25 Eri omwesigwa oba mwesigwa;+
Eri oyo ataliiko kya kunenyezebwa naawe olaga nti toliiko kya kunenyezebwa;+
26 Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu,+
Naye eri atali mugolokofu olaga nti oli mugezi nnyo.+
28 Ggwe okoleeza ettaala yange, Ai Yakuwa,
Katonda wange afuula ekizikiza kyange ekitangaala.+
29 Bw’onnyamba nsobola okulwanyisa ekibinja ky’abazigu;+
Olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe.+
Ngabo eri abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.+
31 Ani Katonda okuggyako Yakuwa?+
Era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?+
33 Ebigere byange abifuula ng’eby’empeewo;
Ansobozesa okuyimirira ku bifo ebigulumivu.+
34 Ayigiriza emikono gyange okulwana entalo;
Emikono gyange gisobola okuweta omutego ogw’ekikomo.
35 Ompa engabo yo ey’obulokozi,+
Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira,
Era obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa.+
37 Nja kuwondera abalabe bange mbatuukeko;
Sijja kudda okutuusa nga basaanyeewo.
38 Nja kubabetenta baleme okusituka;+
Bajja kugwa mbalinnyeko.
39 Ojja kumpa amaanyi nnwane olutalo;
Ojja kuleetera abalabe bange okugwa mu maaso gange.+
41 Bawanjaga, naye tewali abataasa;
Bakaabirira ne Yakuwa, naye tabaddamu.
42 Nja kubasekulasekula babe ng’enfuufu efuumuulibwa empewo;
Nja kubakasuka eri ng’ebisooto eby’omu nguudo.
43 Ojja kumponya okwemulugunya kw’abantu.+
Ojja kunnonda okukulembera amawanga.+
Eggwanga lye simanyi lijja kumpeereza.+
44 Bajja kuwulira buwulizi ebinkwatako baŋŋondere;
Abagwira bajja kujja gye ndi nga bakankana.+
45 Abagwira bajja kuggwaamu amaanyi;*
Bajja kuva mu bigo byabwe bajje nga bakankana.
46 Yakuwa mulamu! Olwazi lwange lutenderezebwe!+
Katonda ow’obulokozi bwange agulumizibwe.+
47 Katonda ow’amazima awoolera eggwanga ku lwange;+
Assa amawanga wansi w’obuyinza bwange.
48 Annunula mu mukono gw’abalabe bange abakambwe;
Onsitula n’onteeka waggulu w’abo abannwanyisa;+
Omponya omuntu akola eby’obukambwe.
49 Kyennaava nkugulumiza mu mawanga, Ai Yakuwa,+
Era nnaayimbiranga erinnya lyo ennyimba ez’okutendereza.+
50 Alokola kabaka gwe yalonda;*+
Alaga gwe yafukako amafuta okwagala okutajjulukuka,+
Akulaga Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
2 Buli lunaku bifulumya ebigambo byabyo,
Era buli kiro byoleka amagezi.
3 Tewali kwogera wadde ebigambo;
Era tewali kiwulirwa.
Enjuba agisimbidde weema mu ggulu;
5 Eringa omugole omusajja ava mu kisenge kye;
Eringa omusajja ow’amaanyi asanyuka okudduka embiro z’empaka.
6 Eva ku luuyi olumu olw’eggulu,
Ne yeetooloola n’edda ku luuyi olulala;+
Era tewali kintu kyonna ekitatuukibwako bbugumu lyayo.
7 Etteeka lya Yakuwa lyatuukirira,+ lizzaamu amaanyi.+
Yakuwa by’atujjukiza byesigika,+ bigeziwaza atalina bumanyirivu.+
8 Ebiragiro bya Yakuwa bya butuukirivu, bisanyusa omutima;+
Amateeka ga Yakuwa malongoofu, gawa ekitangaala.+
9 Okutya Yakuwa+ kulongoofu, kwa mirembe na mirembe.
Emisango Yakuwa gy’asala, agisala mu mazima era mu butuukirivu.+
10 Ebyo birungi nnyo okusinga zzaabu,
Okusinga zzaabu omulungi* omungi;+
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,+ omubisi gw’enjuki ogutonnya okuva mu bisenge byagwo.
12 Ani ayinza okumanya ensobi ze?+
Nsonyiwa ebibi bye nnakola naye ne simanya nti mbikoze.
14 Ebigambo by’akamwa kange n’okufumiitiriza kw’omutima gwange,
Ka bikusanyuse,+ Ai Yakuwa Olwazi lwange+ era Omununuzi wange.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
20 Yakuwa akuddemu ku lunaku olw’obuyinike.
Erinnya lya Katonda wa Yakobo ka likukuume.+
3 Ajjukire ebiweebwayo byo byonna;
Akkirize ekiweebwayo kyo ekyokebwa.* (Seera)
4 Akuwe omutima gwo bye gwagala,+
Era awe enteekateeka zo zonna omukisa.
5 Tujja kwogerera waggulu n’essanyu olw’ebikolwa byo eby’obulokozi;+
Tujja kuwanika bbendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.+
Yakuwa k’atuukirize byonna by’osaba.
6 Kaakano nkimanyi nti Yakuwa alokola gwe yafukako amafuta.+
Addamu okusaba kwe ng’ayima mu ggulu lye ettukuvu
8 Beesittadde ne bagwa;
Naye ffe tusituse ne tuddawo.+
9 Ai Yakuwa, lokola kabaka!+
Ajja kutuddamu ku lunaku lwe tunaamukoowoola atuyambe.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
2 Omuwadde omutima gwe bye gwagala;+
Tomummye ky’akusaba. (Seera)
4 Yakusaba obulamu n’obumuwa,+
Okuwangaala, emirembe n’emirembe.
5 Ebikolwa byo eby’obulokozi bimuleetera ekitiibwa kingi.+
Omuwa obukulu n’ettendo.
7 Kabaka yeesiga Yakuwa;+
Talisagaasagana* olw’okwagala okutajjulukuka okw’oyo Asingayo Okuba Waggulu.+
8 Omukono gwo gulikwata abalabe bo bonna;
Omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo bonna abatakwagala.
9 Lw’oliboolekeza obwanga olibafuula ng’abasuuliddwa mu kyokero.
Yakuwa alibamira mu busungu bwe, era omuliro gulibasaanyaawo.+
10 Bazzukulu* baabwe olibazikiriza ne baggwaawo ku nsi,
N’abaana baabwe olibazikiriza ne baggwaawo mu bantu.
13 Ai Yakuwa, situka mu maanyi go.
Tuliyimba ennyimba okutendereza amaanyi go.
Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Mpeewo ey’Oku Makya Ennyo nga Busaasaana.”* Zabbuli ya Dawudi.
22 Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?+
Lwaki ombeera wala n’otonnyamba,
N’otowulira kukaaba kwange nga ndi mu bulumi?+
2 Katonda wange, nkukoowoola emisana naye n’otoddamu;+
N’ekiro sisirika.
6 Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu,
Abantu bampisaamu amaaso era bannyooma.+
7 Bonna abandaba bansekerera;+
Beenyinyimbwa era banyeenya emitwe gyabwe olw’obunyoomi nga bagamba nti:+
8 “Yeesiga Yakuwa, kale k’amununule!
K’amulokole kubanga amwagala nnyo!”+
9 Ggwe wanzigya mu lubuto,+
Ggwe wandeetera obutabaako kye nneeraliikirira nga ndi ku mabeere ga mmange.
10 Okuva lwe nnazaalibwa, ggwe gwe nnakwasibwa okundabirira;*
Okuviira ddala mu lubuto lwa mmange, ggwe Katonda wange.
14 Nfukibwa ng’amazzi;
Amagumba gange gonna gasowose.
15 Amaanyi gange gakaze ng’oluggyo;+
Olulimi lwange lukwatira ku kibuno kyange;+
Onzisa wansi mu nfuufu y’okufa.+
Zintaayiza ng’ekibinja ky’abakozi b’ebibi,+
Okufaananako empologoma, ziri ku mikono gyange n’ebigere byange.+
17 Nsobola okubala amagumba gange gonna.+
Batunula ne banneekaliriza.
19 Ai Yakuwa, tobeera wala.+
Ggwe maanyi gange; yanguwa onnyambe.+
20 Mponya ekitala,
Obulamu bwange obw’omuwendo buwonye embwa ezinnumba.+
23 Mmwe abatya Yakuwa, mumutendereze!
Mmwe mmwenna ezzadde lya Yakobo, mumuwe ekitiibwa!+
Mumutye mmwe mmwenna ezzadde lya Isirayiri.
Bwe yamukaabirira amuyambe, yawuliriza.+
25 Nja kukutendereza mu kibiina ekinene;+
Nja kusasula obweyamo bwange mu maaso g’abo abamutya.
Ka banyumirwe obulamu* emirembe gyonna.
27 Ensi yonna ejja kujjukira edde eri Yakuwa.
Ebika byonna eby’omu mawanga bijja kuvunnama mu maaso go.+
28 Yakuwa ye Kabaka;+
Afuga amawanga.
29 Abagagga* bonna ab’omu nsi bajja kulya era bajja kuvunnama;
Abo bonna abakka mu nfuufu bajja kufukamira mu maaso ge;
Tewali n’omu ku bo ayinza kuwonyaawo bulamu bwe.
30 Bazzukulu baabwe balimuweereza;
Omulembe oguliddawo gulitegeezebwa ebikwata ku Yakuwa.
31 Balijja ne boogera ku butuukirivu bwe.
Balibuulira abantu abatannazaalibwa ebyo bye yakola.
Zabbuli ya Dawudi.
Siijulenga kintu kyonna.+
Ankulembera mu makubo* ag’obutuukirivu olw’erinnya lye.+
4 Ne bwe ntambulira mu kiwonvu ekikutte enzikiza,+
Sirina kabi ke ntya,+
Kubanga oli nange;+
Omuggo gwo guŋŋumya.*
5 Ontegekera emmeeza mu maaso g’abalabe bange.+
6 Mazima ddala obulungi bwo n’okwagala okutajjulukuka bijja kungoberera ennaku zonna ez’obulamu bwange,+
Era nnaabeeranga mu nnyumba ya Yakuwa ennaku zange zonna.+
Zabbuli ya Dawudi.
24 Ensi ne byonna ebigiriko bya Yakuwa,+
Ettaka n’abo abalibeerako.
2 Kubanga ye yagisimba ku nnyanja,+
Era ye yaginyweza ku migga.
3 Ani ayinza okwambuka ku lusozi lwa Yakuwa,+
Era ani ayinza okuyimirira mu kifo kye ekitukuvu?
4 Oyo ataliiko musango era alina omutima omulongoofu,+
Oyo atalayiridde bulamu bwange* kirayiro kya bulimba,
Wadde okulayira mu bukuusa.+
6 Guno gwe mulembe gw’abo abamunoonya,
Ogw’abo abaagala obalage ekisa, Ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
7 Mmwe enzigi, muyimuse emitwe gyammwe;+
Mmwe emiryango egy’edda, mweggule,*
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire!+
8 Kabaka ono ow’ekitiibwa y’ani?
9 Mmwe enzigi,+ muyimuse emitwe gyammwe;
Mmwe emiryango egy’edda, mweggule,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire!
10 Kabaka ono ow’ekitiibwa y’ani?
Yakuwa ow’eggye, ye Kabaka ow’ekitiibwa.+ (Seera)
Zabbuli ya Dawudi.
א [Alefu]
25 Ai Yakuwa, ggwe gwe nneeyuna.
ב [Besu]
Toleka balabe bange kusanyukira nnaku yange.+
ג [Gimeri]
3 Mazima ddala tewali n’omu assa essuubi lye mu ggwe aliswala,+
Naye abo abasala enkwe awatali nsonga baliswala.+
ד [Dalesi]
ה [Ke]
5 Nsobozesa okutambulira mu mazima go era njigiriza,+
Kubanga ggwe Katonda ow’obulokozi bwange.
ו [Wawu]
Essuubi lyange liba mu ggwe okuzibya obudde.
ז [Zayini]
ח [Kesu]
7 Tojjukira bibi bya mu buvubuka bwange na byonoono byange.
ט [Tesu]
8 Yakuwa mulungi era mutuukirivu.+
Eyo ye nsonga lwaki ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye balina okutambuliramu.+
י [Yodi]
9 Ajja kuluŋŋamya abawombeefu basobole okukola ekituufu,+
Era ajja kuyigiriza abawombeefu amakubo ge.+
כ [Kafu]
10 Eri abo abakuuma endagaano ya Yakuwa+ era abakola by’abalagira,+
Amakubo ge gonna ga kwagala okutajjulukuka era ga bwesigwa.
ל [Lamedi]
11 Olw’erinnya lyo, Ai Yakuwa,+
Nsonyiwa ensobi yange, wadde nga nnene nnyo.
מ [Memu]
12 Ani atya Yakuwa?+
Ajja kumuyigiriza ekkubo ly’anaalonda.+
נ [Nuni]
ס [Sameki]
ע [Ayini]
פ [Pe]
16 Tunula gye ndi ondage ekisa,
Kubanga ndi bw’omu era sirina bwe ndi.
צ [Sade]
17 Ennaku y’omutima gwange yeeyongedde;+
Nzigya mu bulumi bwe ndimu.
ר [Lesu]
19 Laba abalabe bange bwe bali abangi,
Era olw’obukyayi bwabwe obungi baagala okunkolako eby’obukambwe.
ש [Sini]
20 Kuuma obulamu bwange era ndokola.+
Tondeka kuswala, kubanga nzirukidde gy’oli.
ת [Tawu]
22 Ai Katonda, nunula Isirayiri mu bizibu bye byonna.
Zabbuli ya Dawudi.
6 Nja kunaaba mu ngalo okulaga nti siriiko musango,
Era nja kwetooloola ekyoto kyo, Ai Yakuwa,
7 Eddoboozi lyange ery’okwebaza liwulirwe,+
Era nnangirire ebikolwa byo byonna eby’ekitalo.
9 Tonsaanyaawo wamu n’aboonoonyi,+
Era obulamu bwange tobuzikiririza wamu n’abo abakola ebikolwa eby’obukambwe,*
10 Abo abalina emikono egikola ebintu ebiswaza,
Era abalina omukono ogwa ddyo ogujjudde enguzi.
11 Naye nze nja kutambulira mu bugolokofu bwange.
Nnunula era ndaga ekisa.
Zabbuli ya Dawudi.
27 Yakuwa kye kitangaala kyange+ era bwe bulokozi bwange.
Ani gwe nnaatya?+
Yakuwa kye kigo ky’obulamu bwange.+
Ani anankankanya?
Ne bwe nnumbibwa mu lutalo,
Nja kusigala nga ndi mugumu.
4 Waliwo ekintu kimu kye nsaba Yakuwa
—Era kye nnaanoonyanga—
Okubeeranga mu nnyumba ya Yakuwa obulamu bwange bwonna,+
Ntunulenga ku bulungi bwa Yakuwa
5 Ku lunaku olw’obuyinike alinkweka mu kifo kye eky’okwekwekamu;+
Alinkweka mu kifo eky’ekyama eky’omu weema ye;+
Alinteeka waggulu ku lwazi.+
6 Omutwe gwange guyiseemu waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde;
Nja kuwaayo ssaddaaka ku weema ye nga njaguza;
Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa.
8 Omutima gwange gwogedde kye watulagira nti:
“Munnoonye.”
Ai Yakuwa, nja kukunoonya.”+
9 Tonneekweka.+
Togoba muweereza wo ng’osunguwadde.
Ggwe annyamba;+
Tonjabulira era tondeka, Ai Katonda ow’obulokozi bwange.
Essuubi lyo lisse mu Yakuwa.
Zabbuli ya Dawudi.
28 Ggwe gwe nkoowoola, Ai Yakuwa Olwazi lwange;+
Toziba matu go nga nkukoowoola.
2 Wulira okuwanjaga kwange nga nkusaba onnyambe,
Nga nnyimusa emikono gyange eri ekisenge ekisingayo okuba munda mu kifo kyo ekitukuvu.+
3 Tonzigyaawo wamu n’ababi, wamu n’abo abakola ebirumya,+
Abo aboogera ebigambo eby’emirembe ne bannaabwe, so nga mu mitima gyabwe mulimu bintu bibi.+
4 Basasule olw’ebikolwa byabwe,+
Okusinziira ku bikolwa byabwe ebibi.
Basasule olw’emirimu gy’emikono gyabwe,
Okusinziira ku bye bakoze.+
Ajja kubamenyaamenya era tajja kubazimba.
6 Yakuwa atenderezebwe,
Kubanga awulidde okuwanjaga kwange.
Annyambye, era omutima gwange gujaguza,
Nja kumuyimbira oluyimba lwange nga mmutendereza.
8 Yakuwa ge maanyi g’abantu be;
Alinga ekigo, era alokola gwe yafukako amafuta.+
9 Lokola abantu bo era wa obusika bwo omukisa.+
Beera musumba waabwe era basitulire mu mikono gyo emirembe gyonna.+
Zabbuli ya Dawudi.
29 Mutendereze Yakuwa, mmwe abaana b’ab’amaanyi,
Mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.+
2 Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.
Muvunnamire* Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu.*
3 Eddoboozi lya Yakuwa liwulirwa waggulu w’amazzi;
Katonda ow’ekitiibwa awuluguma.+
Yakuwa ali waggulu w’amazzi amangi.+
4 Eddoboozi lya Yakuwa lya maanyi;+
Eddoboozi lya Yakuwa lya kitiibwa.
5 Eddoboozi lya Yakuwa limenya emiti gy’entolokyo.
Yakuwa amenyaamenya emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni.+
6 Aleetera Lebanooni* okuligita ng’ennyana,
7 Eddoboozi lya Yakuwa limansula ennimi z’omuliro;+
8 Eddoboozi lya Yakuwa likankanya eddungu;+
Yakuwa akankanya eddungu ly’e Kadesi.+
9 Eddoboozi lya Yakuwa likankanya empeewo ne zizaala,
Era likunkumula ebikoola by’emiti gyonna egiri mu kibira.+
N’abo abali mu yeekaalu ye bonna bagamba nti: “Katonda aweebwe ekitiibwa!”
10 Yakuwa atudde ku ntebe ye waggulu w’amazzi aganjaala;*+
Yakuwa atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka emirembe n’emirembe.+
11 Yakuwa ajja kuwa abantu be amaanyi.+
Yakuwa ajja kuwa abantu be emirembe.+
Oluyimba olw’okutongoza ennyumba. Zabbuli ya Dawudi.
30 Nnaakugulumizanga Ai Yakuwa, kubanga onnyimusizza;
Tolese balabe bange kusanyukira nnaku yange.+
2 Ai Yakuwa Katonda wange, nnakukaabirira onnyambe era n’omponya.+
3 Ai Yakuwa, onzigye emagombe.*+
Onkuumye nga ndi mulamu; omponyezza okukka mu kinnya.*+
4 Muyimbire Yakuwa ennyimba ez’okutendereza mmwe abeesigwa gy’ali,+
Akawungeezi wayinza okubaawo okukaaba, naye ku makya wabaawo okujaguza.+
6 Bwe nnali nga sirina kintawaanya nnagamba nti:
“Sirisagaasagana.”*
7 Ai Yakuwa, wanfuula munywevu ng’olusozi bwe wandaga ekisa.+
Naye bwe wanneekweka nnatandika okutya.+
8 Ai Yakuwa, nnakukoowoolanga.+
Era nneegayirira Yakuwa andage ekisa.
9 Kigasa ki bwe nfa, bwe nzika mu kinnya?*+
Enfuufu eneekutendereza?+ Eneeyogera ku bwesigwa bwo?+
10 Ai Yakuwa, mpuliriza ondage ekisa.+
Ai Yakuwa nnyamba.+
11 Okukaaba kwange okufudde mazina;
Onzigyeemu ebibukutu n’onnyambaza essanyu,
12 Ndyoke nnyimbe* nga nkutendereza era nneme kusirika.
Ai Yakuwa Katonda wange nnaakutenderezanga emirembe gyonna.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
31 Ai Yakuwa nzirukidde gy’oli.+
Tondeka kuswala.+
Nnunula olw’obutuukirivu bwo.+
2 Tega okutu ompulirize.*
Jjangu mangu omponye.+
Beera gye ndi ng’ekigo ku lusozi,
Ng’ekifo ekiriko bbugwe, ondokole.+
5 Nteeka omwoyo gwange mu mukono gwo.+
Ai Yakuwa Katonda omwesigwa* onnunudde.+
6 Nkyawa abo abasinza ebifaananyi ebitalina mugaso,
Naye nneesiga Yakuwa.
7 Nja kusanyuka nnyo olw’okwagala kwo okutajjulukuka,
Kubanga olabye obuyinike bwange;+
Omanyi obulumi obw’amaanyi bwe ndimu.
8 Tompaddeeyo eri abalabe bange,
Wabula onnyimiriza mu kifo omutali kabi.*
9 Nkwatirwa ekisa Ai Yakuwa, kubanga ndi mu nnaku.
Obulumi bunafuyizza amaaso gange+ n’omubiri gwange gwonna.+
Amaanyi gange gakendedde olw’ensobi yange;
Amagumba gange ganafuye.+
11 Abalabe bange bonna bannyooma,+
Naddala baliraanwa bange.
Bannange bantya;
Bwe bandaba ebweru banziruka.+
12 Banzigya mu birowoozo byabwe* ne banneerabira, nga gy’obeera nnafa;
Nninga ensumbi eyayatika.
13 Mpulidde eŋŋambo ez’akabi nnyingi;
Entiisa enneetoolodde.+
Bakuŋŋaana wamu,
Ne bakola enkwe okunzita.+
14 Naye nneesiga ggwe, Ai Yakuwa.+
Nnangirira nti: “Ggwe Katonda wange.”+
15 Ennaku zange ziri* mu mukono gwo.
Mponya mu mukono gw’abalabe bange era n’abo abanjigganya.+
16 Omuweereza wo mukwatirwe ekisa.+
Ndokola olw’okwagala kwo okutajjulukuka.
17 Ai Yakuwa, bwe nkukoowoola tondeka kuswala.+
18 Emimwa emirimba ka gibunire;+
Emimwa egyogeza amalala n’obunyoomi nga giduulira abatuukirivu.
19 Obulungi bwo nga bungi nnyo!+
21 Yakuwa atenderezebwe,
Kubanga mu ngeri ey’ekitalo, andaze okwagala okutajjulukuka+ nga ndi mu kibuga ekizingiziddwa.+
22 Nnatya ne ŋŋamba nti:
“Nja kusaanawo nve mu maaso go.”+
Naye bwe nnakukaabirira onnyambe wawulira okuwanjaga kwange.+
23 Mwagale Yakuwa mmwe mmwenna abeesigwa gy’ali!+
Zabbuli ya Dawudi. Masukiri.*
32 Alina essanyu oyo asonyiyiddwa ensobi ye, oyo asonyiyiddwa ekibi kye.*+
3 Bwe nnasirika, amagumba gange gaggwerera olw’okuba nnali nsinda okuzibya obudde.+
4 Kubanga emisana n’ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga.+
Amaanyi gange gaakalira ng’amazzi bwe gakalira mu bbugumu eribaawo mu kiseera eky’omusana. (Seera)
Nnagamba nti: “Nja kwatulira Yakuwa ebyonoono byange.”+
Era wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.+ (Seera)
Olwo n’amazzi aganjaala tegalimutuukako.
Ojja kunneetoolooza amaloboozi ag’essanyu ag’okulokolebwa.+ (Seera)
8 Wagamba nti: “Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu.+
Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.+
9 Tobeera ng’embalaasi oba ennyumbu etalina magezi,+
Gy’olina okusooka okuteeka ekyuma mu kamwa n’enkoba mu kifuba okugikkakkanya
N’eryoka ejja w’oli.”
10 Ababi baba n’ebibaleetera obulumi bingi;
Naye oyo eyeesiga Yakuwa okwagala kwe okutajjulukuka kumwetooloola.+
11 Mmwe abatuukirivu musanyuke olw’ebyo Yakuwa by’akoze, era mujaganye;
Mwogerere waggulu n’essanyu, mmwe mmwenna abalina omutima omugolokofu.
33 Mmwe abatuukirivu mwogerere waggulu n’essanyu olw’ebyo Yakuwa by’akoze.+
Abagolokofu bagwanidde okumutendereza.
2 Mwebaze Yakuwa nga mumusunira entongooli;
Mumuyimbire ennyimba ezitendereza nga bwe musuna ekivuga eky’enkoba ekkumi.
3 Mumuyimbire oluyimba olupya;+
Musune bulungi ebivuga eby’enkoba nga bwe mwogerera waggulu n’essanyu.
4 Kubanga ekigambo kya Yakuwa kya mazima,+
Era buli ky’akola kyesigika.
5 Ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.+
Ensi ejjudde okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka.+
6 Olw’ekigambo kya Yakuwa eggulu lyakolebwa,+
N’olw’omukka gw’omu kamwa ke byonna ebiririmu byakolebwa.*
7 Akuŋŋaanya amazzi g’ennyanja ne gaba ng’ebbibiro;+
Ateeka mu materekero amazzi aganjaala.
8 Ensi yonna k’etye Yakuwa.+
Abantu ababeera mu nsi ka bamuwe ekitiibwa.
11 Naye ebyo Yakuwa by’ateekateeka bijja kubeerawo emirembe gyonna;+
Ebirowoozo by’omu mutima gwe bibeerawo emirembe n’emirembe.
13 Yakuwa ayima mu ggulu n’atunula wansi;
N’alaba abaana b’abantu bonna.+
14 Ayima mu kifo gy’abeera
N’atunuulira ababeera ku nsi.
15 Y’akola emitima gyabwe bonna;
Akebera byonna bye bakola.+
16 Tewali kabaka awonawo olw’okuba alina eggye ddene;+
Omusajja ow’amaanyi tawonawo olw’okuba alina amaanyi mangi.+
17 Okussa obwesige mu mbalaasi ng’osuubira nti esobola okukulokola* kuba kwerimba;+
Amaanyi gaayo amangi tegasobola kukulokola.
18 Laba! Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya,+
Abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka,
19 Okubanunula mu kufa,
N’okubakuuma nga balamu mu kiseera eky’enjala.+
20 Tulindirira Yakuwa.
Y’atuyamba era ye ngabo yaffe.+
21 Emitima gyaffe gisanyukira mu ye,
Olw’okuba obwesige bwaffe tubutadde mu linnya lye ettukuvu.+
Zabbuli ya Dawudi; bwe yeefuula ng’omulalu+ ng’ali mu maaso ga Abimereki eyamugoba n’agenda.
א [Alefu]
34 Nnaatenderezanga Yakuwa ekiseera kyonna;
Ettendo lye linaabanga ku mimwa gyange buli kaseera.
ב [Besu]
ג [Gimeri]
ד [Dalesi]
4 Nnasaba Yakuwa n’addamu okusaba kwange.+
Yamponya byonna ebyali bintiisa.+
ה [Ke]
5 Abo abaali bamwesiga baasanyuka;
Tebaaswala.
ז [Zayini]
6 Omunaku ono yakoowoola, Yakuwa n’amuwulira.
Yamuwonya ennaku ye yonna.+
ח [Kesu]
ט [Tesu]
י [Yodi]
כ [Kafu]
10 Empologoma envubuka ez’amaanyi oluusi zirumwa enjala;
Naye abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.+
ל [Lamedi]
מ [Memu]
נ [Nuni]
13 Kale ziyiza olulimi lwo luleme okwogera ebintu ebibi,+
Ziyiza emimwa gyo gireme kwogera bya bulimba.+
ס [Sameki]
ע [Ayini]
פ [Pe]
16 Naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebibi,
Ajja kubazikiriza waleme kubaawo abajjukira ku nsi.+
צ [Sade]
ק [Kofu]
ר [Lesu]
ש [Sini]
ת [Tawu]
21 Akabi kalitta ababi;
Abo abakyawa abatuukirivu balibaako omusango.
22 Yakuwa anunula obulamu bw’abaweereza be;
Tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibaako omusango.+
Zabbuli ya Dawudi.
3 Abo abankijjanya+ bagalulire effumu lyo n’embazzi yo.*
Ŋŋamba nti: “Nze bulokozi bwo.”+
4 Abo abaagala okusaanyaawo obulamu bwange ka baswale era bafeebezebwe.+
Abo abasala enkwe okunzikiriza ka baddeyo emabega nga baswadde.
5 Ka babeere ng’ebisusunku ebitwalibwa embuyaga;
Malayika wa Yakuwa k’abagobe.+
6 Ekkubo lyabwe ka libeemu enzikiza n’obuseerezi,
Nga malayika wa Yakuwa abagoba.
7 Kubanga banteze ekitimba awatali nsonga;
Bansimidde ekinnya awatali nsonga.
9 Naye nze nja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’akoze;
Nja kujaganya olw’ebikolwa bye eby’obulokozi.
10 Amagumba gange gonna gajja kugamba nti:
“Ai Yakuwa, ani alinga ggwe?
12 Mu birungi bansasulamu bibi,+
Bandeetera okuwulira ng’afiiriddwa.
13 Naye bwe baali abalwadde, nnayambala ebibukutu;
Nneerumya ne nsiiba,
Era essaala zange bwe zitaddibwangamu,*
14 Nnatambulatambulanga nga nkungubaga ng’akungubagira mukwano gwange oba muganda wange;
Nnakutama olw’ennaku ng’omuntu akungubagira nnyina.
15 Naye bwe nneesittala, baasanyuka ne bakuŋŋaana;
Baakuŋŋaana wamu banteege bankube;
Banjuzaayuza era tebaasirika.
16 Abatatya Katonda banduulira,
Bannumira obugigi.+
17 Ai Yakuwa, olituusa wa okutunula obutunuzi?+
Bwe bannumba, ntaasa.+
Obulamu bwange obw’omuwendo* butaase empologoma envubuka.+
18 Kale nnaakwebazanga nga ndi mu kibiina ekinene;+
Nnaakutenderezanga nga ndi mu bantu abangi.
19 Abo abankyawa awatali nsonga tobakkiriza kusanyukira nnaku yange;
Abo abankyawa awatali nsonga+ tobakkiriza kuntunuuliza bunyoomi.+
20 Kubanga teboogera bigambo bya mirembe;
Naye bateesa eby’obulimba ku bantu ab’emirembe abali mu nsi.+
21 Baasamya akamwa kaabwe okunvunaana,
Nga bagamba nti: “Otyo! Amaaso gaffe gakirabye.”
22 Ai Yakuwa, okirabye. Tosirika.+
Ai Yakuwa, tombeera wala.+
23 Golokoka; situka ontaase.
Yakuwa Katonda wange, mpolereza mu musango gwe mpoza.
24 Ai Yakuwa Katonda wange, nnamula okusinziira ku butuukirivu bwo,+
Tobakkiriza kusanyukira nnaku yange.
25 Ka baleme kugamba nti: “Otyo! Ekyo kye twali twagala.”
Ka baleme kugamba nti: “Tumumize.”+
26 Ka bonna baswale era bakwatibwe ensonyi,
Abo abasanyukira obuyinike bwange.
Abo abanneeguluumirizaako ka bambale obuswavu n’okufeebezebwa.
27 Naye abo abasanyuka olw’obutuukirivu bwange ka boogerere waggulu n’essanyu;
Buli kiseera ka bagambe nti:
“Yakuwa, oyo asanyuka okulaba ng’omuweereza we ali mu mirembe, agulumizibwe.”+
28 Olwo olulimi lwange lunaayogeranga* ku butuukirivu bwo,+
Era lunaakutenderezanga okuzibya obudde.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi omuweereza wa Yakuwa.
3 Ebigambo by’omu kamwa ke birumya era bya bulimba;
Akiraga nti talina magezi ga kukola birungi.
4 Ne bw’aba ku kitanda kye abaako ebintu ebibi by’ateekateeka okukola.
Akwata ekkubo eritali ddungi;
Teyeesamba bintu bibi.
5 Ai Yakuwa, okwagala kwo okutajjulukuka kutuuka ku ggulu,+
Obwesigwa bwo butuuka ku bire.
7 Ai Katonda, okwagala kwo okutajjulukuka nga kwa muwendo nnyo!+
Abaana b’abantu baddukira
wansi w’ebiwaawaatiro byo.+
8 Banywa ebintu ebisingayo obulungi eby’omu* nnyumba yo ne bamatira,+
Era obanywesa ku bintu byo ebirungi ebikulukuta ng’omugga.+
10 Weeyongere okulaga okwagala kwo okutajjulukuka eri abo abakumanyi,+
N’obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima omugolokofu.+
11 Ekigere ky’abo abeekulumbaza tokikkiriza kunninnyako,
Wadde omukono gw’ababi okungoba we ndi.
12 Laba, aboonoonyi bagudde;
Bameggeddwa era tebasobola kusituka.+
Zabbuli ya Dawudi.
א [Alefu]
ב [Besu]
ג [Gimeri]
6 Ajja kuleetera obutuukirivu bwo okwakaayakana ng’ekitangaala eky’oku makya ennyo,
N’obwenkanya bwo okwakaayakana ng’omusana ogw’omu ttuntu.
ד [Dalesi]
Tokwatibwa busungu olw’oyo
Atuukiriza ebintu ebibi by’aba ateeseteese.+
ה [Ke]
ו [Wawu]
ז [Zayini]
12 Omubi asalira omutuukirivu enkwe;+
Amulumira obugigi.
13 Naye Yakuwa amusekerera,
Kubanga amanyi nti olunaku lwe lujja kutuuka.+
ח [Kesu]
14 Ababi basowolayo ebitala byabwe era baweta emitego gyabwe egy’obusaale
Okusuula abanyigirizibwa n’abaavu,
Okutta abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 Naye ekitala kyabwe kijja kufumita emitima gyabwe;+
Emitego gyabwe gijja kumenyeka.
ט [Tesu]
16 Akatono omutuukirivu k’alina
Kasinga ebingi ababi abangi bye balina.+
17 Kubanga emikono gy’ababi gijja kumenyebwa,
Naye Yakuwa ajja kuwanirira abatuukirivu.
י [Yodi]
18 Yakuwa amanyi ebituuka ku abo* abataliiko kya kunenyezebwa,
Era obusika bwabwe buliba bwa mirembe na mirembe.+
19 Mu kiseera eky’akabi tebaliswala;
Mu kiseera eky’enjala baliba na bingi.
כ [Kafu]
ל [Lamedi]
21 Omubi yeewola naye tasasula,
Naye omutuukirivu musaasizi era mugabi.+
22 Abo Katonda b’awa omukisa balisikira ensi,
Naye abo b’akolimira baliggibwawo.+
מ [Memu]
נ [Nuni]
25 Nnali muto, naye kati nkaddiye,
Kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa,+
Wadde abaana be nga basabiriza emmere.+
26 Bulijjo alaga abalala ekisa n’abawola,+
Era abaana be balifuna omukisa.
ס [Sameki]
27 Leka ebibi okole ebirungi,+
Obeerewo emirembe gyonna.
ע [Ayini]
פ [Pe]
צ [Sade]
32 Omubi atunuulira omutuukirivu,
Ng’ayagala okumutta.
ק [Kofu]
34 Essuubi lyo liteekenga mu Yakuwa era otambulire mu kkubo lye,
Naye alikugulumiza n’osikira ensi.
Ababi bwe baliggibwawo,+ olikiraba.+
ר [Lesu]
35 Nnalaba omuntu omukambwe era omubi ennyo,
Ng’ayagaagadde ng’omuti ogulina ebikoola ebingi oguli ku ttaka lyagwo.+
ש [Sini]
37 Weetegereze oyo ataliiko kya kunenyezebwa,*
Era tunuulira omugolokofu,+
Kubanga ebiseera bye eby’omu maaso biriba bya mirembe.+
38 Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
Abantu ababi balizikirira.+
ת [Tawu]
40 Yakuwa ajja kubayamba era abanunule.+
Ajja kubanunula okuva mu mukono gw’ababi era abalokole.
Kubanga baddukira gy’ali.+
Zabbuli ya Dawudi; ya kujjukiza.
38 Ai Yakuwa, tonnenya ng’oli musunguwavu,
Era tongolola ng’oliko ekiruyi.+
2 Obusaale bwo bunfumitidde ddala munda,
Era omukono gwo gunnyigiriza.+
3 Omubiri gwange gwonna gulwadde* olw’obusungu bwo.
Mu magumba gange temuli mirembe olw’ekibi kyange.+
4 Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange;+
Ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.
5 Ebiwundu byange biwunya era bitanye
Olw’obusirusiru bwange.
6 Nnina ennyiike era ndi mwennyamivu nnyo;
Mbeera munakuwavu okuzibya obudde.
8 Nsannyaladde era mmenyesemenyese;
Nsinda* olw’obulumi obw’omu mutima gwange.
9 Ai Yakuwa, byonna bye njagala biri mu maaso go,
Era okusinda kwange tekukukwekeddwa.
10 Omutima gwange gukuba nnyo era amaanyi gampeddemu.
Ekitangaala ky’amaaso gange kiweddewo.+
11 Bannange ne mikwano gyange banneewala olw’ekirwadde kye nnina,
Era banywanyi bange tebasembera we ndi.
12 Abo abanoonya obulamu bwange bantega emitego,
Abo abaagala okunkola ekikyamu boogera eby’akabi;+
Boogera eby’obulimba okuzibya obudde.
14 Nfuuse ng’omuntu atawulira,
Atalina ky’asobola kwogera okwewozaako.
16 Kubanga nnagamba nti: “Ka baleme kusanyukira nnaku yange
Wadde okunneekulumbalizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.”
17 Nnabulako katono okugwa,
Era nnalinga mu bulumi ekiseera kyonna.+
19 Abalabe bange balamu era ba maanyi,*
Abo abankyawa awatali nsonga beeyongedde obungi.
20 Mu birungi bansasulamu bibi;
Bafuuse balabe bange olw’okuba nkola ebirungi.
21 Tonjabulira Ai Yakuwa.
Ai Katonda, tombeera wala.+
22 Yanguwa onnyambe,
Ai Yakuwa, obulokozi bwange.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Yedusuni.*+ Zabbuli ya Dawudi.
Nja kusibanga emimwa gyange+
Ng’omubi ali we ndi.”
2 Nnasirika ne soogera;+
Nnabunira n’ekirungi ne sikyogerako,
Naye obulumi bwange bwali bwa maanyi nnyo.*
3 Omutima gwange gwayaka mu nda yange.
Bwe nnali ndowoolereza,* omuliro gweyongera okwaka.
Awo olulimi lwange ne lwogera nti:
4 “Ai Yakuwa, nnyamba mmanye enkomerero yange bw’eriba,
N’omuwendo gw’ennaku zange bwe guli,+
Ndyoke mmanye obulamu bwange bwe buli obumpi.*
Mazima ddala buli muntu mukka bukka ne bw’aba wa maanyi atya.+ (Seera)
6 Obulamu bw’omuntu bulinga kisiikirize.
Ateganira bwereere.*
Atuuma obugagga nga tamanyi ani alibweyagaliramu.+
7 Ai Yakuwa, kati nsuubire ki?
Ggwe wekka ggwe ssuubi lyange.
8 Ndokola okuva mu kwonoona kwange kwonna.+
Tokkiriza musirusiru kunfuula kya kusekererwa.
10 Nzigyaako ekibonyoobonyo ky’ontaddeko.
Nnyenjebuse olw’omukono gwo okunkuba.
11 Omuntu omugolola ng’omubonereza olw’ensobi ye;+
Ng’ekiwuka bwe kisaanyaawo ebintu, naawe bw’osaanyaawo ebintu by’atwala ng’eby’omuwendo.
Mazima ddala buli muntu mukka bukka.+ (Seera)
12 Wulira okusaba kwange Ai Yakuwa,
Wuliriza okuwanjaga kwange.+
Tobuusa maaso maziga ge nkaaba.
13 Lekera awo okuntunuulira n’obusungu, nsobole okusanyuka
Nga sinnafa ne mba nga sikyaliwo.”
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
2 Yanzigya mu kinnya omwali amazzi agayira,
Yanzigya mu bitosi.
Ebigere byange yabiteeka ku lwazi;
Yantambuliza awagumu.
3 Era yateeka oluyimba olupya mu kamwa kange,+
Oluyimba olw’okutendereza Katonda waffe.
Bangi baliraba ne bawuniikirira
Era baliteeka obwesige bwabwe mu Yakuwa.
4 Alina essanyu omuntu eyeesiga Yakuwa
Era ateesiga abo abawaganyavu oba abatali ba mazima.*
Tewasaba biweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi.+
7 Awo ne ŋŋamba nti: “Laba, nzize.
Kyampandiikibwako mu muzingo.*+
9 Nnangirira amawulire amalungi ag’obutuukirivu mu kibiina ekinene.+
Nga bw’okimanyi Ai Yakuwa,+
Emimwa gyange sigikomako.
10 Obutuukirivu bwo sibubikkira mu mutima gwange.
Nnangirira obwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Sikweka kwagala kwo okutajjulukuka n’amazima go nga ndi mu kibiina ekinene.”+
11 Ai Yakuwa togaana kunsaasira.
Okwagala kwo okutajjulukuka n’amazima go ka binkuumenga buli kiseera.+
12 Ebizibu ebinneetoolodde biyitiridde obungi, n’okubalika tebibalika.+
Ensobi zange ennyingi zinsukkiriddeko, tezikyaŋŋanya kulaba gye ŋŋenda;+
Zisinga enviiri z’oku mutwe gwange obungi,
Era mpeddemu amaanyi.
13 Ai Yakuwa, ndokola.+
Ai Yakuwa, yanguwa onnyambe.+
14 Abo bonna abaagala okunzita
Ka bakwatibwe ensonyi era baswale.
Abo abasanyukira ennaku yange
Ka baddeyo emabega nga bafeebezeddwa.
15 Abo abagamba nti: “Otyo!”
Ka batye olw’okuswala.
16 Naye abo abakunoonya+
Ka basanyuke era bajagulize mu ggwe,+
Abo abaagala ebikolwa eby’obulokozi ka bulijjo bagambenga nti:
“Yakuwa agulumizibwe.”+
17 Naye nze ndi mwavu era seesobola;
Yakuwa andowoozeeko.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
2 Yakuwa anaamukuumanga era n’amubeesaawo nga mulamu.
4 Nnagamba nti: “Ai Yakuwa, nkwatirwa ekisa.+
Mponya,+ kubanga nnyonoonye mu maaso go.”+
5 Naye abalabe bange banjogerako bubi nga bagamba nti:
“Anaafa ddi yeerabirwe?”
6 Omu ku balabe bange bw’ajja okundaba, omutima gwe gwogera eby’obulimba.
Anoonya ekintu ekibi eky’okwogera;
Era n’agenda n’akisaasaanya.
7 Abo bonna abatanjagala boogera obwama;
Bankolera olukwe ne bagamba nti:
10 Naye ggwe, Ai Yakuwa, nkwatirwa ekisa onnyimuse,
Ndyoke mbeesasuze.
11 Ku kino kwe nnaategeerera nti onsiima:
Abalabe bange bwe banaaba nga tebasobola kumpangula ne bajaganya.+
Amiina, era Amiina.
EKITABO EKY’OKUBIRI
(Zabbuli 42-72)
Eri akubiriza eby’okuyimba. Masukiri* y’abaana ba Koola.+
42 Ng’empeewo bw’eyaayaanira amazzi,
Nange bwe ntyo bwe nkuyaayaanira, Ai Katonda.
2 Omwoyo gunnumira Katonda, Katonda omulamu.+
Ndijja ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?+
3 Amaziga gange ye mmere yange emisana n’ekiro;
Abantu bankudaalira okuzibya obudde nga bagamba nti “Katonda wo ali ludda wa?”+
4 Bwe nzijukira ebintu bino, muli mpulira nga nsaanuuka nzigwaawo:
Nnatambulanga n’ekibiina;
Nnatambulanga mpolampola nga mbakulembeddemu okugenda mu nnyumba ya Katonda,
Nga twogerera waggulu n’amaloboozi ag’essanyu era ag’okwebaza
Ng’ag’ekibiina ky’abantu abali ku mbaga.+
Lwaki ndi mweraliikirivu bwe nti?
6 Ai Katonda wange, mpeddemu essuubi.+
Eyo ye nsonga lwaki nkujjukirira+
Mu nsi ya Yoludaani ne ku ntikko za Kerumooni,
Ne ku Lusozi Mizali.*
7 Obuziba bukoowoola obuziba
Ebiyiriro byo bwe biyira.
Amayengo go gonna ageefuukuula gambuutikidde.+
8 Emisana Yakuwa ajja kundaganga okwagala kwe okutajjulukuka,
Ate ekiro nja kuyimba ebimukwatako, era nja kusaba Katonda ampa obulamu.+
9 Nja kugamba Katonda olwazi lwange nti:
“Lwaki onneerabidde?+
Lwaki ntambula nga ndi munakuwavu olw’okubonyaabonyezebwa omulabe wange?”+
10 Nga balina obukyayi obw’ekitalo* abalabe bange bankudaalira;
Bankudaalira okuzibya obudde nga bagamba nti: “Katonda wo ali ludda wa?”+
11 Lwaki mpeddemu essuubi?
Lwaki ndi mweraliikirivu bwe nti?
Ntaasa omuntu omulimba era atali mutuukirivu.
2 Kubanga ggwe Katonda wange, ekigo kyange.+
Lwaki onsudde eri?
Lwaki ntambula nga ndi munakuwavu olw’omulabe okumbonyaabonya?+
3 Sindika ekitangaala kyo n’amazima go.+
4 Awo nja kutuuka ku kyoto kya Katonda,+
Eri Katonda, essanyu lyange ery’ensusso.
Era nja kukutendereza nga nsuna entongooli,+ Ai Katonda, Katonda wange.
5 Lwaki mpeddemu essuubi?
Lwaki ndi mweraliikirivu bwe nti?
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Masukiri.*
44 Ai Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
Bajjajjaffe baatubuulira+
Bye wakola mu kiseera kyabwe,
Mu biseera eby’edda.
Wafufuggaza amawanga era n’ogagoba.+
3 Ekitala kyabwe si kye kyabasobozesa okutwala ensi,+
Era omukono gwabwe si gwe gwabatuusa ku buwanguzi.+
Wabula gwali mukono gwo ogwa ddyo, n’amaanyi go,+ n’ekisa kyo.*
Kubanga wali obaagala.+
4 Ggwe Kabaka wange, Ai Katonda;+
Sobozesa Yakobo okuwangulira ddala.
5 Olw’amaanyi go abalabe baffe tujja kubazza emabega;+
Mu linnya lyo tujja kulinnyirira abo abatulumba.+
6 Omutego gwange ogw’obusaale si gwe nneesiga,
Era ekitala kyange tekiyinza kundokola.+
7 Ggwe watuwonya abalabe baffe,+
Ggwe wafeebya abo abatatwagala.
8 Tujja kutendereza Katonda okuzibya obudde,
Era tujja kutendereza erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
9 Naye kaakano otusudde eri era n’otufeebya,
Era togenda naffe mu lutalo.
10 Otuleetera okudduka abalabe baffe;+
Abo abatatwagala batwala buli kye baagala.
11 Otuwaayo okuliibwa ng’endiga;
Otusaasaanyizza mu mawanga.+
12 Abantu bo obatunda omuwendo mutono nnyo;+
Tobafunamu magoba.
13 Otufuula kivume eri baliraanwa baffe,
Eky’okuyeeya era eky’okusekererwa eri abo bonna abatwetoolodde.
15 Olunaku lwonna mpulira nga mpeebuuse,
Era obuswavu bumpitirirako,
16 Olw’eddoboozi ly’abo abanjeeya era abanvuma,
Olw’omulabe waffe awoolera eggwanga.
17 Bino byonna bitutuuseeko, kyokka tetukwerabidde,
Era tetumenye ndagaano yo.+
18 Omutima gwaffe tegukyamye;
Ebigere byaffe tebiwaba kuva mu kkubo lyo.
19 Naye otubetentedde mu kifo ebibe we bibeera;
Otubisse ekizikiza ekikutte.
20 Bwe tuba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe,
Oba nga tuyimusa emikono gyaffe ne tusaba katonda omulala,
21 Katonda taakitegeere?
Amanyi ebyama ebiri mu mutima.+
22 Ku lulwo tuttibwa okuzibya obudde;
Tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.+
23 Golokoka. Lwaki weebaka, Ai Yakuwa?+
Zuukuka! Totusuula eri emirembe n’emirembe.+
24 Lwaki weekweka?
Lwaki weerabira obuyinike bwaffe n’okubonaabona kwaffe?
25 Tussiddwa mu nfuufu;
Emibiri gyaffe ginyigirizibwa ku ttaka.+
26 Situka otuyambe!+
Tununule olw’okwagala kwo okutajjulukuka.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Malanga.” Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Masukiri.* Oluyimba olw’okwagala.
45 Omutima gwange gubuguumiridde olw’ekintu ekirungi.
Ŋŋamba nti: “Oluyimba lwange lukwata* ku kabaka.”+
Olulimi lwange ka lubeere ng’ekkalaamu+ y’omukoppolozi* omukugu.+
2 Ggwe asinga abaana b’abantu bonna okulabika obulungi.
Ebigambo eby’ekisa bikulukuta okuva ku mimwa gyo.+
Eyo ye nsonga lwaki Katonda akuwadde omukisa ogw’emirembe n’emirembe.+
4 Mu kitiibwa kyo genda owangule;+
Weebagale embalaasi yo olw’amazima n’obwetoowaze n’obutuukirivu,+
Omukono gwo ogwa ddyo gujja kukola* ebintu ebiwuniikiriza.
7 Wayagala obutuukirivu+ n’okyawa ebintu ebibi.+
Eyo ye nsonga lwaki Katonda, Katonda wo, yakufukako amafuta+ ag’okusanyuka+ okusinga banno.
8 Ebyambalo byo byonna biwunya obuloosa bwa miira ne alowe ne kasiya;
Ebivuga eby’enkoba ebivugira mu lubiri olunene oluyooyooteddwa n’amasanga bikusanyusa.
9 Bawala ba bakabaka be bamu ku bakyala b’owa ekitiibwa mu lubiri lwo.
Nnaabakyala ayimiridde ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zzaabu ow’e Ofiri.+
10 Wulira, ggwe omuwala; ssaayo omwoyo era otege okutu;
Weerabire abantu bo n’ennyumba ya kitaawo.
12 Muwala wa Ttuulo alijja n’ekirabo;
Abantu abasingayo obugagga balyagala okusiimibwa mu maaso go.
13 Munda mu lubiri,* muwala wa kabaka alina ekitiibwa kya maanyi;
Ebyambalo bye bitonaatoneddwako zzaabu.
14 Ajja kuleetebwa eri kabaka ng’ayambadde ebyambalo ebirukiddwa obulungi.
Banne embeerera abamugoberera bajja kuleetebwa mu maaso go.
15 Bajja kubaleetera mu ssanyu ne mu kujaganya;
Bajja kuyingira mu lubiri lwa kabaka.
16 Batabani bo be bajja okudda mu kifo kya bajjajjaabo.
Ojja kubafuula baami mu nsi yonna.+
17 Emirembe gyonna eginaddawo nja kugimanyisa erinnya lyo.+
Eyo ye nsonga lwaki amawanga gajja kukutendereza emirembe n’emirembe.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Mu ngeri ya Alamosi.* Oluyimba.
2 Eyo ye nsonga lwaki tetujja kutya, ensi ne bw’eneekyuka,
Ensozi ne bwe zinaagwa mu buziba bw’ennyanja,+
3 Amazzi gaayo ne bwe ganaayira ne gabimba,+
Ensozi ne bwe zinaayuuguuma olw’okwesiikuula kwayo. (Seera)
4 Waliwo omugga ogulina emikutu egisanyusa abantu b’omu kibuga kya Katonda,+
Weema ey’ekitiibwa entukuvu ey’oyo Asingayo Okuba Waggulu.
5 Katonda ali mu kibuga;+ tekiyinza kuwambibwa.
Katonda ajja kujja akiyambe ng’obudde busaasaana.+
6 Amawanga gaali mu luyoogaano, obwakabaka bwawangulwa;
Yayogera mu ddoboozi erya waggulu ensi n’esaanuuka.+
7 Yakuwa ow’eggye ali naffe;+
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)
8 Mujje mulabe ebikolwa bya Yakuwa,
Mulabe engeri gy’akoze ebyewuunyisa mu nsi.
9 Amalawo entalo mu nsi yonna.+
Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu;
Ayokya amagaali ag’olutalo.*
10 “Mujeemulukuke mumanye nti nze Katonda.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+
47 Mmwe amawanga gonna, mukube mu ngalo.
Mwogerere waggulu era muyimbire Katonda n’eddoboozi ery’essanyu.
3 Assa amawanga wansi waffe;
Ateeka amawanga wansi w’ebigere byaffe.+
5 Katonda alinnye waggulu ng’abantu bwe bakuba emizira;
Yakuwa alinnye waggulu ng’abantu bwe bafuuwa eŋŋombe.*
6 Muyimbe ennyimba ezitendereza Katonda, muyimbe ennyimba ezitendereza.
Muyimbe ennyimba ezitendereza Kabaka waffe, muyimbe ennyimba ezitendereza.
7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna;+
Muyimbe ennyimba ezitendereza era mwoleke amagezi.
8 Katonda afuuse Kabaka w’amawanga.+
Katonda atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka entukuvu.
9 Abakulembeze b’amawanga bakuŋŋaanye wamu
N’abantu ba Katonda wa Ibulayimu.
Abafuzi b’ensi ba* Katonda.
Agulumiziddwa nnyo.+
Oluyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+
48 Yakuwa mukulu era agwanira nnyo okutenderezebwa
Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 Olusozi Sayuuni oluli ebukiikakkono
Lulabika bulungi mu bugulumivu bwalwo, era lye ssanyu ly’ensi yonna,+
Kye kibuga kya Kabaka ow’Ekitiibwa.+
3 Mu bigo byakyo,
Katonda alaze nga bw’ali ekiddukiro.+
4 Laba! bakabaka bakuŋŋaanye;
Bagendera wamu.
5 Bwe baakiraba ne bawuniikirira.
Baakubwa encukwe ne badduka.
6 Baakankanira eyo,
Baafuna obulumi ng’obw’omukazi azaala.
7 Omenyaamenya ebyombo by’e Talusiisi ng’okozesa embuyaga ey’ebuvanjuba.
8 Bye twawulira kaakano tubirabye
Mu kibuga kya Yakuwa ow’eggye, mu kibuga kya Katonda waffe.
Katonda talikkiriza kibuga ekyo kusagaasagana emirembe gyonna.+ (Seera)
9 Ai Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutajjulukuka,+
Nga tuli mu yeekaalu yo.
10 Ai Katonda, erinnya lyo n’ettendo lyo
Bituukira ddala ensi gy’ekoma.+
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.+
13 Mulowooze ku bigo byakyo.*+
Mulambule eminaala gyakyo,
Musobole okubibuulirako emirembe egiriddawo.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+
49 Muwulire kino mmwe amawanga gonna.
Musseeyo omwoyo mmwe mmwenna abali mu nsi,*
2 Ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,*
Abagagga n’abaavu.
3 Akamwa kange kajja kwogera eby’amagezi,
N’okufumiitiriza kw’omutima gwange+ kujja kwoleka okutegeera.
4 Nja kwekkaanya olugero;
Nja kunnyonnyola ekikokyo kyange nga bwe nsuna entongooli.
5 Lwaki nnanditidde mu biseera ebizibu,+
Nga nneetooloddwa ensobi z’abo abagezaako okunsuula?
6 Abo abeesiga obugagga bwabwe,+
Era abeewaana olw’eby’obugagga byabwe ebingi,+
7 Tewali n’omu ku bo ayinza kununula muganda we
Wadde okumuweerayo eri Katonda ekinunulo,+
8 (Omuwendo ogusobola okununula obulamu bwabwe munene nnyo
Ne kiba nti tebasobola kugwesasulira);
10 Buli omu akiraba nti n’ab’amagezi bafa;
Abasirusiru n’abatalina magezi bazikiririra wamu,+
Obugagga bwabwe ne babulekera abalala.+
11 Emitima gyabwe gyagala ennyumba zaabwe zibeerewo emirembe n’emirembe,
Weema zaabwe zibeerewo emirembe gyonna.
Amataka gaabwe bagatuumye amannya gaabwe.
13 Eryo lye kkubo ly’abasirusiru,+
N’abo ababagoberera, abasanyukira ebigambo byabwe ebitaliimu. (Seera)
14 Basindikiddwa emagombe* ng’endiga ezigenda okuttibwa.
Okufa kwe kunaabeeranga omusumba waabwe;
Abagolokofu be bajja okubafuga+ ku makya.
16 Totya omuntu bw’agaggawala,
Oba ekitiibwa ky’ennyumba ye bwe kyeyongera.
18 Ng’akyali mulamu yeewaana.+
(Abantu bakutendereza bw’ogaggawala.)+
19 Naye alwaddaaki ne yeegatta ku mulembe gwa bajjajjaabe.
Tebaliddamu kulaba kitangaala.
20 Omuntu atategeera kino, ne bw’aba wa kitiibwa,+
Tasinga nsolo ezisaanawo.
Zabbuli ya Asafu.+
2 Katonda ayakaayakanira mu Sayuuni, awaatuukirira mu kulabika obulungi.+
3 Katonda waffe ajja kujja, era tajja kusirika.+
5 “Nkuŋŋaanyiza abeesigwa gye ndi,
Abo abakola nange endagaano okuyitira mu ssaddaaka.”+
6 Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe,
Kubanga Katonda ye Mulamuzi.+ (Seera)
7 “Muwulirize mmwe abantu bange, nange nnaayogera;
Isirayiri nja kukulumiriza.+
Nze Katonda, Katonda wo.+
8 Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
Wadde olw’ebiweebwayo byo ebyokebwa ebibeera mu maaso gange bulijjo.+
10 Kubanga ensolo zonna ez’omu nsiko zange,+
Ensolo zonna eziri ku nsozi olukumi.
11 Mmanyi ebinyonyi byonna ebibeera mu nsozi;+
Ensolo ez’oku ttale ezitabalika zange.
12 Ne bwe nnandibadde nnumwa enjala, sandikubuulidde,
Kubanga ensi ne byonna ebigiriko byange.+
13 Nnaalya ennyama y’ente
Ne nnywa n’omusaayi gw’embuzi?+
14 Weebaze Katonda ekyo kibeere nga ssaddaaka gy’owaayo gy’ali,+
Sasula oyo Asingayo Okuba Waggulu ebyo bye weeyama;+
15 Onkoowoolanga ng’oli mu buzibu.+
Nnaakununulanga, naawe onongulumizanga.”+
16 Naye Katonda ajja kugamba omubi nti:
19 Akamwa ko okakozesa okusaasaanya ebibi.
Olulimi lwo olukozesa okwogera eby’obulimba.+
21 Bwe wakola ebintu ebyo nnasirika,
N’olowooza nti nja kuba nga ggwe.
Naye kaakano nja kukunenya,
Era nja kukulaga ensobi zo.+
22 Mulowooze ku ekyo mmwe abeerabira Katonda,+
Nneme kubayuzaayuza nga tewali abataasa.
23 Oyo awaayo gye ndi okwebaza nga ssaddaaka, angulumiza;+
Oyo amalirira okutambulira mu kkubo ettuufu,
Ajja kulaba obulokozi obuva gye ndi.”+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja gy’ali, Dawudi bwe yali ng’amaze okwegatta ne Basuseba.+
51 Ai Katonda, nkwatirwa ekisa ng’okwagala kwo okutajjulukuka bwe kuli.+
Sangula okwonoona kwange ng’okusaasira kwo okungi bwe kuli.+
N’olwekyo obeera mutuukirivu bw’oyogera,
Era osala omusango mu ngeri entuufu.+
7 Nnaazaako ekibi kyange ng’okozesa ezobu, mbeere mulongoofu;+
Nnaaza mbeere mweru okusinga omuzira.+
11 Tongoba mu maaso go;
Era tonzigyaako mwoyo gwo omutukuvu.
14 Ai Katonda, Katonda ow’obulokozi bwange,+ mponya omusango gw’okuyiwa omusaayi,+
Olulimi lwange lulyoke lulangirire n’essanyu obutuukirivu bwo.+
17 Ssaddaaka ezisanyusa Katonda gwe mwoyo oguboneredde;
Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga,+ Ai Katonda.
18 Olw’obulungi bwo, kolera Sayuuni ebirungi;
Zimba bbugwe wa Yerusaalemi.
19 Awo lw’ojja okusanyukira ssaddaaka eziweebwayo mu butuukirivu,
Ssaddaaka ezookebwa era n’ebiweebwayo;
Awo ente ennume lwe zijja okuweebwayo ku kyoto kyo.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi; Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti Dawudi yali agenze mu nnyumba ya Akimereki.+
52 Ggwe ow’amaanyi, lwaki weenyumiririza mu bikolwa byo ebibi?+
Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kubaawo okuzibya obudde.+
3 Oyagala ebibi okusinga ebirungi,
Oyagala okulimba okusinga okwogera ebituufu. (Seera)
4 Oyagala buli kigambo eky’akabi,
Ai ggwe olulimi olulimba!
5 Katonda kyanaava akusika n’akusuulira ddala wansi;+
Ajja kukukwakkula era akusikambule mu weema yo;+
Ajja kukusimbula mu nsi y’abalamu.+ (Seera)
7 “Omuntu ono teyafuula Katonda kiddukiro kye,*+
Naye yeesiga obugagga bwe obungi,+
Era yeesiga enkwe z’asala.”*
8 Naye nze nja kuba ng’omuzeyituuni ogunyirira oguli mu nnyumba ya Katonda;
Obwesige bwange buli mu kwagala kwa Katonda okutajjulukuka,+ emirembe n’emirembe.
9 Nnaakutenderezanga emirembe n’emirembe olw’ebyo by’okoze;+
Mu maaso g’abantu bo abeesigwa,
Nnaasuubiriranga mu linnya lyo,+ kubanga ky’okoze kirungi.
Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Makalasi.* Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi.
53 Omusirusiru agamba mu mutima gwe nti:
“Yakuwa taliiyo.”+
Ebitali bya butuukirivu bye bakola bibi nnyo era bya muzizo.
Tewali n’omu akola birungi.+
2 Naye Katonda ayima mu ggulu n’atunuulira abaana b’abantu,+
Okulaba obanga waliwo ategeera, okulaba obanga waliwo anoonya Yakuwa.+
3 Bonna bawabye,
Bonna boonoonefu;
Tewali akola birungi.
Tewali n’omu bw’ati.+
4 Tewali n’omu ku boonoonyi ategeera?
Balya abantu bange ng’abalya emmere.
Tebakoowoola Yakuwa.+
5 Naye balifuna entiisa ey’amaanyi,
Entiisa gye batafunangako,*
Kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abo abakulumba.
Olibaleetera okuswala, kubanga Yakuwa abeesambye.
6 Singa nno Isirayiri afuna obulokozi okuva mu Sayuuni!+
Yakuwa ng’akomezzaawo abantu be abaawambibwa,
Yakobo k’asanyuke, Isirayiri k’ajaguze.
Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi. Abaziifu bwe baagenda ne bagamba Sawulo nti: “Dawudi yeekwese mu ffe.”+
2 Ai Katonda, wulira okusaba kwange;+
Wuliriza ebigambo ebiva mu kamwa kange.
Tebawa Katonda kitiibwa.*+ (Seera)
4 Laba! Katonda ye muyambi wange;+
Yakuwa ali n’abo abannyamba.
5 Abalabe bange ajja kubasasula+ ng’abaddiza ebibi bye bakola abalala.
Olw’obwesigwa bwo bazikirize.*+
6 Nja kuwaayo ssaddaaka gy’oli+ kyeyagalire.
Ai Yakuwa, nja kutendereza erinnya lyo, olw’okuba ddungi.+
7 Kubanga ondokola mu buzibu bwonna bwe mbaamu.+
Nja kutunuulira abalabe bange nga njaganya.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi.
2 Nzisaako ebirowoozo onziremu.+
Ebinneeraliikiriza bimmazeeko emirembe,+
Era nsobeddwa
3 Olw’ebyo omulabe by’ayogera
N’olw’omubi okunkijjanya.
Bansombera emitawaana,
Bansunguwalidde era bampalana.+
5 Okutya n’okukankana bintuuseeko,
N’okujugumira kunnywezezza.
6 Buli kiseera mba ŋŋamba nti: “Singa nnalina ebiwaawaatiro ng’ejjiba!
Nnandibuuse ne ŋŋenda mbeera mu kifo omutali kabi.
7 Nnandiddukidde wala nnyo.+
Nnandigenze ne mbeera mu ddungu.+ (Seera)
8 Nnandyanguye ne ŋŋenda mu kifo eky’okwewogomamu
Ne nva awali empewo ekunta, ne nva awali omuyaga.”
9 Batabuletabule, Ai Yakuwa, era gootaanya enteekateeka zaabwe,*+
Kubanga ndabye ebikolwa eby’obukambwe n’obukuubagano mu kibuga.
10 Emisana n’ekiro bitambulira ku bbugwe waakyo;
Kirimu ettima n’emitawaana.+
11 Akabi kali wakati mu kyo;
Okubonyaabonya abalala n’obulimba tebiva mu kibangirizi kyakyo.+
12 Omulabe wange si y’anvuma;+
Singa bwe kiri, nnandibadde nkigumira.
Oyo ampalana si y’annumbye;
Singa bwe kibadde, nnandibadde mmwekweka.
14 Twali ba mukwano nnyo;
Twatambulanga n’ekibinja ky’abantu nga tugenda mu nnyumba ya Katonda.
15 Okuzikirira ka kubatuukeko!+
Ka bakke emagombe* nga balamu;
Kubanga ebintu ebibi bibeera wamu nabo, era bibeera munda mu bo.
16 Naye nze, nja kukoowoola Yakuwa Katonda,
Era ajja kundokola.+
17 Akawungeezi ne ku makya ne mu ttuntu mba mweraliikirivu era nga nsinda,+
Era awulira eddoboozi lyange.+
19 Katonda ajja kuwulira era abeeko ky’abakola,+
Oyo atuula ku ntebe y’obwakabaka okuva edda.+ (Seera)
Abo abatatya Katonda,+
Bajja kugaana okukyuka.
20 Yalumba* abo abaali bakolagana naye obulungi.+
Yamenya endagaano ye.+
21 Ebigambo bye bigonvu okusinga omuzigo,+
Naye mu mutima gwe mulimu olutalo.
Ebigambo bye biweweevu okusinga amafuta,
Naye biringa ebitala ebisowoddwayo.+
23 Naye ggwe, Ai Katonda, olissa ababi mu kinnya ekisingayo obuwanvu.+
Abantu abo abatemu era abalimba balifa ng’ekiseera kye bandiwangadde tebannakituuka na wakati.+
Naye nze nneesiganga ggwe.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Jjiba Essirifu Eriri Ewala Ennyo.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.* Abafirisuuti bwe baamukwatira e Gaasi.+
56 Ai Katonda, nkwatirwa ekisa kubanga abantu bannumba.
Bannwanyisa era bambonyaabonya okuzibya obudde.
2 Abalabe bange bannumba okuzibya obudde;
Bangi abannwanyisa n’amalala.
3 Bwe mba nga ntidde,+ nneesiga ggwe.+
4 Katonda—nnannyini kigambo kye ntendereza—
Gwe nneesiga, era sitya.
Omuntu obuntu ayinza kunkola ki?+
5 Waliwo ebintu bye bakola okuzibya obudde nga bagenderera okunnumya.
Kye balowoozaako kyokka kwe kuntuusaako akabi.+
7 Beesambe olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Saanyaawo amawanga mu busungu bwo, Ai Katonda.+
8 Okubundabunda kwange kwonna okumanyi.+
Amaziga gange gakuŋŋaanyize mu nsawo yo ey’eddiba.+
Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?+
9 Abalabe bange balikyusa ne baddayo ku lunaku lwe ndikukoowoola onnyambe.+
Ndi mukakafu nti Katonda ali ku ludda lwange.+
10 Katonda—nnannyini kigambo kye ntendereza—
Yakuwa—nnannyini kigambo kye ntendereza—
11 Katonda gwe nneesiga, era sitya.+
Omuntu obuntu ayinza kunkola ki?+
13 Kubanga onnunudde mu kufa+
Era ebigere byange tobiganyizza kwesittala,+
Nsobole okutambulira mu maaso ga Katonda mu kitangaala ky’abalamu.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.* Bwe yali mu mpuku+ ng’adduse Sawulo.
57 Nkwatirwa ekisa, Ai Katonda, nkwatirwa ekisa,
Kubanga nzirukira gy’oli;+
Nzirukira mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa ng’akabi kavuddewo.+
2 Nkoowoola Katonda Asingayo Okuba Waggulu,
Nkoowoola Katonda ow’amazima anzigya mu mitawaana.
3 Ajja kuweereza obuyambi okuva mu ggulu, andokole.+
Ajja kulemesa oyo annumba. (Seera)
Katonda ajja kulaga okwagala kwe okutajjulukuka awamu n’obwesigwa bwe.+
4 Nneetooloddwa empologoma;+
Ngalamidde mu bantu abaagala okundya,
Abalina amannyo agalinga amafumu n’obusaale,
Era abalina olulimi olulinga ekitala ekyogi.+
5 Ogulumizibwe okusinga eggulu, Ai Katonda;
Ekitiibwa kyo ka kibeere ku nsi yonna.+
Baasima ekinnya mu kkubo lyange;
Naye bo bennyini baakigwamu.+ (Seera)
7 Omutima gwange munywevu, Ai Katonda,+
Omutima gwange munywevu.
Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza.
8 Zuukuka ggwe ekitiibwa kyange.
Zuukuka ggwe ekivuga eky’enkoba; naawe entongooli.
Nja kuzuukusa emmambya.+
10 Kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kungi nnyo, kuli waggulu nnyo ng’eggulu,+
N’obwesigwa bwo butuukira ddala ku bire.
11 Ogulumizibwe okusinga eggulu, Ai Katonda;
Ekitiibwa kyo ka kibeere ku nsi yonna.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.*
58 Musobola okwogera ku butuukirivu nga musirise?+
Musobola okulamula mu bwenkanya, mmwe abaana b’abantu?+
2 Mu kifo ky’okukola bwe mutyo, mugunja ebitali bya butuukirivu mu mitima gyammwe,+
Era emikono gyammwe gibunyisa ebintu eby’akabi mu nsi.+
3 Ababi bakwata ekkubo ekkyamu* okuva lwe bazaalibwa;*
Baba bajeemu era balimba okuva lwe bazaalibwa.
5 Tewulira ddoboozi ly’abalogo,
Ne bwe baba bakugu batya mu by’obulogo.
6 Ai Katonda, wangula amannyo mu kamwa kaabwe!
Ai Yakuwa, menya emba z’empologoma zino!
7 Ka baggweewo ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
Katonda k’awete omutego gwe abakube obusaale bagwe.
8 Ka babeere ng’ekkovu eritambula nga bwe lisaanuuka;
Ka babeere ng’omwana azaalibwa ng’afudde n’atalaba ku njuba.
9 Ng’entamu zo tezinnayitamu muliro gw’akati ak’amaggwa,
Katonda ajja kuggyawo ettabi ebbisi n’eryo eryaka, bibe ng’ebitwalibwa omuyaga.+
10 Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’okulaba okuwoolera eggwanga okwo.+
Ebigere bye bijja kutotobala omusaayi gw’ababi.+
11 Abantu bajja kugamba nti: “Mazima ddala, omutuukirivu aweebwa empeera.+
Ddala waliwo Katonda asala omusango mu nsi.”+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.* Sawulo bwe yatuma abasajja okugenda okuketta ennyumba ya Dawudi bamutte.+
2 Mponya abo abakola ebitali bya butuukirivu,
Mponya abasajja abatemu.
3 Laba! Banteega;+
Abasajja ab’amaanyi bannumba,
Naye si lwa kuba nti njeemye oba nti nnyonoonye,+ Ai Yakuwa.
4 Wadde nga sirina kikyamu kye nnakola, badduka ne bateekateeka okunnumba.
Bwe nkukoowoola, golokoka olabe.
5 Kubanga ggwe, Ai Yakuwa Katonda ow’eggye, ggwe Katonda wa Isirayiri.+
Golokoka okebere amawanga gonna.
Ab’enkwe era ab’ettima tobasaasira.+ (Seera)
10 Katonda andaga okwagala okutajjulukuka ajja kunnyamba;+
Katonda ajja kundeetera okulaba okugwa kw’abalabe bange.+
11 Tobatta, abantu bange baleme kwerabira.
Kozesa amaanyi go obaleetere okubundabunda;
Ai Yakuwa engabo yaffe, baleetere okugwa.+
12 Olw’okwonoona kw’akamwa kaabwe, olw’ebigambo by’emimwa gyabwe,
Amalala gaabwe ka gabasuule mu mutego,+
Olw’okukolima n’okulimba olutatadde.
13 Basaanyeewo mu busungu bwo;+
Basaanyeewo baggweerewo ddala;
Baleetere okukimanya nti Katonda y’afuga mu Yakobo n’okutuuka ensi gy’ekoma.+ (Seera)
14 Ka bakomewo akawungeezi;
Ka baboggole ng’embwa era batambuletambule mu kibuga.+
15 Ka babungeete nga banoonya eky’okulya;+
Tobakkiriza kukkuta wadde okufuna aw’okusula.
16 Naye nze nja kuyimba ku maanyi go;+
Ku makya nja kwogera n’essanyu ku kwagala kwo okutajjulukuka.
17 Ai Amaanyi gange, nja kukuyimbira ennyimba ezikutendereza,+
Kubanga Katonda kye kiddukiro kyange, Katonda andaga okwagala okutajjulukuka.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Malanga ag’Okujjukiza.” Mikutamu.* Zabbuli ya Dawudi. Ya kuyigiriza. Bwe yalwana ne Alamu-nakalayimu ne Alamu-Zoba, Yowaabu n’agenda n’atta Abeedomu 12,000 mu Kiwonvu ky’Omunnyo.+
60 Ai Katonda, watwesamba; watusaasaanya.+
Watusunguwalira, naye kati tukkirize tukomewo gy’oli!
2 Wakankanya ensi; wagyasaamu.
Ziba ebituli byayo, kubanga egwa.
3 Abantu bo wabaleetera okulaba ennaku.
Watunywesa omwenge ogututagaza.+
5 Tulokole n’omukono gwo ogwa ddyo era otuddemu,+
Abo b’oyagala basobole okununulibwa.
6 Katonda omutukuvu agambye* nti:
“Nja kujaguza, Sekemu nja kumuwa abantu bange okuba obusika;+
Ekiwonvu ky’e Sukkosi+ nja kukiwa abantu bange.
8 Mowaabu ye bbenseni mwe nnaabira.+
Nja kusuula engatto yange ku Edomu.+
Nja kujaganya olw’okuwangula Bufirisuuti.”+
9 Ani anantwala mu kibuga ekizingiziddwa?
Ani anankulembera okuntuusa mu Edomu?+
10 Si ye ggwe, Ai Katonda eyatwesamba,
Katonda waffe atakyagenda naffe mu lutalo?+
11 Tuyambe mu buzibu bwe tulimu,
Kubanga obulokozi bw’abantu tebugasa.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 Ai Katonda, wulira okuwanjaga kwange.
Wuliriza okusaba kwange.+
Ntwala ku lwazi olugulumivu ennyo.+
3 Kubanga oli kiddukiro kyange,
Oli munaala oguntaasa abalabe.+
5 Kubanga owulidde obweyamo bwange Ai Katonda.
Ompadde obusika bw’owa abo abatya erinnya lyo.+
6 Ojja kuwangaaza kabaka,+
Era anaabeerawo emyaka n’emyaka okuva ku mulembe ogumu okutuuka ku mulembe omulala.
7 Ajja kutuula ku ntebe y’obwakabaka* mu maaso ga Katonda emirembe n’emirembe;+
Mulage okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa, bimukuume.+
8 Olwo nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe+
Nga bwe nsasula obweyamo bwange buli lunaku.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Yedusuni.* Zabbuli ya Dawudi.
62 Nnindirira Katonda.
Obulokozi bwange buva gy’ali.+
3 Mulituusa wa okulumba omuntu nga mwagala okumutta?+
Mmwenna muli ba bulabe ng’ekisenge ekyewunzise, ekisenge eky’amayinja ekyagala okugwa.
4 Kubanga bateesaganya okumuggya mu kifo kye ekya waggulu;*
Banyumirwa okulimba.
Akamwa kaabwe kaagaliza abalala emikisa, naye nga munda bakolima.+ (Seera)
6 Lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ekiddukiro kyange;
Sirisagaasagana.+
7 Obulokozi bwange n’ekitiibwa kyange biva eri Katonda.
Katonda lwe lwazi lwange olugumu, era kye kiddukiro kyange.+
8 Mumwesigenga bulijjo, mmwe abantu.
Mumubuulire ebibali ku mitima.+
Katonda kye kiddukiro kyaffe.+ (Seera)
9 Abaana b’abantu mukka bukka,
Abaana b’abantu bulimba.+
Bw’obateeka bonna ku minzaani bawewuka okusinga omukka.+
10 Teweesiganga kunyaga,
Era tolowoozanga nti oyinza okuganyulwa mu kubba.
Obugagga bwo bwe bweyongeranga, tobussangako mutima.+
11 Emirundi ebiri nnawulira nti Katonda yagamba nti:
Katonda ye nnannyini maanyi.+
12 Okwagala okutajjulukuka nakwo kukwo, Ai Yakuwa,+
Kubanga buli omu omusasula okusinziira ku bikolwa bye.+
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.+
63 Ai Katonda, ggwe Katonda wange, nkunoonya.+
Nnina ennyonta gy’oli.+
Omwoyo gukunnumira,
Mu nsi enkalu era erakaasidde, etaliimu mazzi.+
2 Kyenvudde nkulaba mu kifo ekitukuvu;
Ndabye amaanyi go n’ekitiibwa kyo.+
4 Kale nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
Nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 Mmatidde ng’omuntu alidde n’akkuta emmere esingayo obulungi,
Kyennaava nkutendereza mu ddoboozi ery’essanyu.+
8 Nkunywereddeko;
Omukono gwo ogwa ddyo gunnyweza.+
9 Naye abo abaagala okuzikiriza obulamu bwange*
Bajja kukka mu kinnya eky’okufa.
10 Bajja kuttibwa n’ekitala;
Bajja kufuuka mmere ya bibe.
11 Naye kabaka ajja kusanyuka olw’ebyo Katonda by’anaamukolera.
Buli alayirira mu linnya lya Katonda ajja kujaguza,*
Kubanga akamwa k’abo aboogera eby’obulimba kajja kusirisibwa.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
64 Ai Katonda, wulira eddoboozi lyange nga nkwegayirira.+
Kuuma obulamu bwange nneme okutya omulabe.
2 Mponya enkwe ababi ze basala mu kyama,+
Mponya ekibinja ky’abakozi b’ebibi.
3 Olulimi lwabwe baluwagala ng’ekitala;
Ebigambo byabwe eby’obukambwe babireega ng’obusaale,
4 Okulasa ataliiko musango nga basinziira mu bifo gye beekweka;
Bamulasa mangu ddala awatali kutya.
5 Banywerera ku bigendererwa byabwe ebibi;*
Bateesa ku ngeri gye bayinza okukweka emitego gyabwe.
Bagamba nti: “Ani anaagiraba?”+
6 Banoonyayo engeri endala ez’okukolamu ebibi;
Basala enkwe mu kyama,+
Ebirowoozo ebiri mu mutima gwa buli omu ku bo tebitegeerekeka.
7 Naye Katonda ajja kubalasa;+
Mangu ddala akasaale kajja kubafumita.
8 Olulimi lwabwe lujja kubaleetera okugwa;+
Abo bonna abanaakiraba bajja kunyeenya emitwe.
10 Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukoledde era ajja kuddukira gy’ali;+
Abo bonna abalina omutima omugolokofu bajja kujaganya.*
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Luyimba.
2 Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli.+
4 Alina essanyu oyo gw’olonda era n’omusembeza
Okubeera mu mpya zo.+
5 Ojja kutwanukula ng’okola ebintu ebiwuniikiriza+ eby’obutuukirivu,
Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe;
Ggwe Bwesige bw’abantu mu nsi yonna,+
N’abo abali ewala emitala w’ennyanja.
7 Okkakkanya* ennyanja ezeefuukuula,+
Okkakkanya* okuyira kw’amayengo gaazo n’oluyoogaano lw’amawanga.+
8 Ababeera mu bitundu eby’ewala bajja kuwuniikirira olw’obubonero bwo;+
Ojja kuleetera abantu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba okwogerera waggulu n’essanyu.
9 Olabirira ensi,
Ogisobozesa okubala ennyo era n’okubaamu eby’obugagga bingi nnyo.+
10 Onnyikiza embibiro zaayo era otereeza ettaka lyayo erikabaddwa;
Otonnyesa enkuba n’oligonza; owa ebimera byayo omukisa.+
13 Amalundiro gajjudde ebisibo,
Ebiwonvu bijjudde emmere ey’empeke.+
Bijaguza era biyimba.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Luyimba. Zabbuli.
66 Kubira Katonda emizira, ggwe ensi yonna.+
2 Yimba ennyimba ezitendereza erinnya lye ery’ekitiibwa.
Muwe ekitiibwa era mutendereze.+
3 Gamba Katonda nti: “Bye wakola nga biwuniikiriza!+
Olw’amaanyi go amangi,
Abalabe bo balikankanira mu maaso go.+
4 Ensi yonna erikuvunnamira;+
Baliyimba ennyimba ezikutendereza;
Baliyimba ennyimba ezitendereza erinnya lyo.”+ (Seera)
5 Mujje mulabe Katonda by’akola.
Ebyo by’akolera abaana b’abantu biwuniikiriza.+
Twasanyukira eyo olw’ebyo byonna bye yakola.+
7 Afuga n’amaanyi ge emirembe n’emirembe.+
Amaaso ge gatunuulira amawanga.+
Abawaganyavu tebasaanidde kwegulumiza.+ (Seera)
8 Mutendereze Katonda waffe mmwe amawanga,+
Era amaloboozi agamutendereza ka gawulirwe.
10 Otwekenneenyezza Ai Katonda;+
Otulongoosezza nga ffeeza bw’alongoosebwa.
11 Watusuula mu kitimba;
Watutikka omugugu omuzito.
12 Waleka abantu okutambulira ku mitwe gyaffe;
Twayita mu muliro ne mu mazzi,
Awo n’otuleeta mu kifo mwe twafunira obuweerero.
13 Nja kujja mu nnyumba yo n’ebiweebwayo ebyokebwa;+
Nja kusasula bye nneeyama gy’oli+
14 Emimwa gyange bye gyasuubiza+
Era akamwa kange bye kaayogera nga ndi mu nnaku.
15 Nja kuwaayo gy’oli ebiweebwayo ebyokebwa eby’ensolo ensava,
N’omukka gwa ssaddaaka z’endiga ennume.
Nja kuwaayo ente ennume awamu n’embuzi ennume. (Seera)
16 Mmwe mmwenna abatya Katonda mujje muwulire,
Nja kubabuulira by’ankoledde.+
17 Nnamukoowoola n’akamwa kange,
Era nnamugulumiza n’olulimi lwange.
18 Singa waliwo ekintu kyonna ekibi kye nnatereka mu mutima gwange,
Yakuwa teyandimpulirizza.+
20 Katonda atenderezebwe, oyo ataagaana kuwulira kusaba kwange,
Era ataagaana kundaga kwagala kwe okutajjulukuka.
Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 Katonda ajja kutukwatirwa ekisa atuwe omukisa;
Ajja kukiraga nti atusiima+ (Seera)
2 Ekkubo lyo liryoke limanyike mu nsi yonna,+
Ebikolwa byo eby’obulokozi bimanyike mu mawanga gonna.+
3 Abantu ka bakutendereze, Ai Katonda;
Abantu bonna ka bakutendereze.
4 Amawanga ka gasanyuke era googerere waggulu n’essanyu,+
Kubanga ojja kulamula abantu mu bwenkanya.+
Ojja kuluŋŋamya amawanga ag’omu nsi. (Seera)
5 Abantu ka bakutendereze, Ai Katonda;
Abantu bonna ka bakutendereze.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Oluyimba.
68 Katonda k’asituke, abalabe be basaasaane,
Abo abatamwagala badduke okuva mu maaso ge.+
2 Ng’omukka bwe gufuumuulibwa embuyaga, naawe bw’otyo bw’oba obafuumuula;
Ng’envumbo bw’esaanuuka ng’eri kumpi n’omuliro,
N’ababi bwe batyo bwe baba basaanawo mu maaso ga Katonda.+
4 Muyimbire Katonda; muyimbe ennyimba ezitendereza erinnya lye.+
Muyimbire Oyo ayita mu ddungu.*
Ya* lye linnya lye!+ Mujagulize mu maaso ge!
5 Kitaawe w’abatalina bakitaabwe era omukuumi* wa bannamwandu+
Ye Katonda ali mu kifo kye ekitukuvu.+
Naye abawaganyavu* bajja kubeera mu nsi enkalu.+
7 Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo,+
Bwe wayita mu ddungu, (Seera)
8 Ensi yakankana;+
Eggulu lyatonnyesa enkuba mu maaso ga Katonda;
Olusozi Sinaayi lwakankana mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isirayiri.+
9 Ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi;
Abantu bo* abaali bakooye wabazzaamu amaanyi.
10 Baabeeranga mu weema zo;+
Ai Katonda, olw’obulungi bwo wawa abaavu bye beetaaga.
12 Bakabaka n’amagye gaabwe badduka!+
Omukazi asigala eka agabana ku munyago.+
13 Wadde nga mwagalamiranga okumpi n’ebyoto,*
Mujja kuba n’ebiwaawaatiro by’ejjiba ebibikkiddwako ffeeza,
Ng’ebyoya byabyo bya zzaabu omulungi.
15 Olusozi lw’e Basani+ lusozi lwa Katonda;
Ensozi ez’omu kitundu ky’e Basani mpanvu.
16 Mmwe ensozi empanvu, lwaki mutunuza nsaalwa,
Yakuwa ajja kubeera okwo emirembe n’emirembe.+
17 Amagaali ga Katonda ag’olutalo gali mitwalo na mitwalo.+
Yakuwa avudde ku Lusozi Sinaayi n’ajja mu kifo ekitukuvu.+
Watwala abawambe;
Watwala ebirabo, ng’ebirabo ebyo bantu,+
Nga muno mwe mwali n’abawaganyavu,+ obeere mu bo, Ai Ya Katonda.
19 Yakuwa asitula emigugu gyaffe+ buli lunaku atenderezebwe,
Katonda ow’amazima ow’obulokozi bwaffe. (Seera)
22 Yakuwa agambye nti: “Nja kubakomyawo okuva e Basani;+
Nja kubaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 Ekigere kyo kiryoke kisaabaane omusaayi,+
N’olulimi lw’embwa zo lukombe omusaayi gw’abalabe.”
24 Balaba abantu bo nga bayisa ebivvulu, Ai Katonda,
Abantu ba Katonda wange, Kabaka wange, abayisa ebivvulu nga bagenda mu kifo ekitukuvu.+
25 Abayimbi bakulembeddemu, abakuba ebivuga eby’enkoba babavaako emabega;+
Wakati waliwo abawala abakuba obugoma obutono.+
26 Mutendereze Katonda nga muli mu nkuŋŋaana ennene;
Mutendereze Yakuwa mmwe abava mu Nsibuko ya Isirayiri.+
27 Benyamini+ asembayo obuto awangulira* eyo abantu,
Abaami ba Yuda n’ekibinja kyabwe eky’abantu aboogerera waggulu,
Abaami ba Zebbulooni, n’abaami ba Nafutaali.
28 Katonda wo alagidde nti ojja kuba wa maanyi.
Laga amaanyi go, Ai Katonda, nga bw’otukoledde.+
30 Koma ku nsolo ez’omu nsiko ezibeera mu lusaalu,
Eggana ly’ente ennume+ n’ennyana zaazo,
Okutuusa amawanga lwe ganaavunnama nga galeeta* ffeeza.
Saasaanya amawanga agaagala entalo.
31 Ebintu eby’ekikomo bijja kuleetebwa okuva* e Misiri;+
Kkuusi ajja kwanguwa okuwaayo ebirabo eri Katonda.
32 Mmwe obwakabaka bw’ensi muyimbire Katonda,+
Muyimbire Yakuwa ennyimba ezimutendereza, (Seera)
33 Muyimbire oyo eyeebagala eggulu ery’edda ennyo erisingayo okuba waggulu.+
Laba! Awuluguma n’eddoboozi lye, eddoboozi lye ery’amaanyi.
34 Mutegeere amaanyi ga Katonda.+
Ekitiibwa kye kiri ku Isirayiri,
N’amaanyi ge gali mu bire.
35 Katonda awuniikiriza ng’ava mu kifo kye* ekitukuvu eky’ekitiibwa.+
Ye Katonda wa Isirayiri,
Awa abantu amaanyi n’obuyinza.+
Katonda atenderezebwe.
Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Malanga.” Zabbuli ya Dawudi.
69 Ndokola, Ai Katonda, kubanga amazzi gaagala kusaanyaawo obulamu bwange.+
2 Ntubidde mu bitosi ebingi awatali ttaka ggumu.+
Ndi mu mazzi amawanvu,
Amazzi g’omugga agakulugguka gantutte.+
3 Okukoowoola kunkooyezza;+
Obulago bunsaakadde.
Amaaso gange gakooye okutunula nga nnindirira Katonda wange.+
Abaagala okunzita,
Abalabe bange abakuusa, beeyongedde obungi.
Nnawalirizibwa okuwaayo bye sabba.
5 Ai Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
Era okwonoona kwange tekukukisiddwa.
6 Ai Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye,
Abo abateeka essuubi lyabwe mu ggwe ka nneme kubaviirako kuswala.
Ai Katonda wa Isirayiri,
Abo abakunoonya ka nneme kubaviirako kufeebezebwa.
8 Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange,
Nfuuse mugwira eri abaana ba mmange.+
10 Bwe nneetoowaza ne nsiiba,*
Ekyo kyanvumya.
11 Bwe nnayambala ebibukutu,
Nnafuuka ekinyoomebwa* gye bali.
12 Abatuula ku mulyango gw’ekibuga boogera ku nze,
N’abatamiivu bannyimbako mu nnyimba zaabwe.
13 Naye essaala yange k’etuuke gy’oli,
Ai Yakuwa, mu kiseera eky’okugikkiririzaamu.+
Ai Katonda, mu kwagala kwo okungi okutajjulukuka
Nnyanukula ng’onkolera ebikolwa byo eby’obulokozi ebyesigika.+
14 Nzigya mu bitosi;
Tondeka kutubira.
Ntaasa abo abatanjagala,
Era nzigya mu mazzi amawanvu.+
15 Amazzi aganjadde agakulugguka togakkiriza kuntwala,+
Tokkiriza buziba kummira,
16 Nnyanukula, Ai Yakuwa, kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kulungi.+
Yanguwa okunnyanukula, kubanga ndi mu nnaku.+
18 Sembera we ndi onnyambe;
Nnunula mu balabe bange.
19 Omanyi engeri gye nvumibwa, gye mpeebuulwa, ne gye nfeebezebwa.+
Abalabe bange bonna obalaba.
20 Okuvumibwa kumenye omutima gwange, era ekiwundu tekisobola kuwona.
Mbadde ndowooza nti wanaabaawo ansaasira, naye tewali n’omu,+
Era nti wanaabaawo abambudaabuda, naye sifunyeeyo n’omu.+
22 Emmeeza yaabwe k’ebafuukire omutego,
N’obugagga bwabwe ka bubafuukire ekyambika.+
23 Amaaso gaabwe ka gajjeko ekifu baleme kulaba,
Era kankanyanga bbunwe waabwe.
25 We babeera ka wafuuke matongo;
Weema zaabwe ka zireme kubaamu bantu.+
26 Kubanga bayigganya oyo gwe wakuba,
Era boogera ku bulumi bw’abo be watuusaako ebisago.
27 Ku musango gwabwe yongerako emisango emirala,
Era ka baleme kubeera na mugabo gwonna mu butuukirivu bwo.
29 Naye nze ndi mu nnaku era ndi mu bulumi.+
Amaanyi go agalokola ka gankuume, Ai Katonda.
30 Nja kuyimba ennyimba ezitendereza erinnya lya Katonda,
Nja kumugulumiza nga mmwebaza.
31 Ekyo kijja kusanyusa Yakuwa okusinga ssaddaaka z’ente ennume,
Okusinga ssaddaaka z’ente ento ennume ezirina amayembe n’ebinuulo.+
32 Abawombeefu bajja kukiraba basanyuke.
Mmwe abanoonya Katonda, emitima gyammwe ka giddemu amaanyi.
34 Eggulu n’ensi ka bimutendereze,+
N’ennyanja ne byonna ebizitambuliramu.
35 Kubanga Katonda ajja kulokola Sayuuni+
Era ajja kuddamu azimbe ebibuga by’omu Yuda;
Bajja kubeera eyo, ensi ebeere yaabwe.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi, ya kujjukiza.
70 Ai Katonda, ndokola,
Ai Yakuwa, yanguwa onnyambe.+
2 Abo abaagala okunzita
Ka bakwatibwe ensonyi era baswale.
Abo abasanyukira ennaku yange
Ka baddeyo emabega nga bafeebezeddwa.
3 Abo abagamba nti: “Otyo!”
Ka bazzibwe ennyuma nga baswadde.
4 Naye abo abakunoonya
Ka basanyuke era bajagulize mu ggwe,+
Abo abaagala ebikolwa byo eby’obulokozi ka bulijjo bagambenga nti:
“Katonda agulumizibwe.”
71 Ai Yakuwa nzirukidde gy’oli.
Ka nneme kuswala.+
2 Nnyamba era ndokola kubanga oli mutuukirivu.
3 Beera gye ndi ekigo eky’oku lwazi
Mwe nnyinza okuyingira bulijjo.
Lagira ndokolebwe,
Kubanga ggwe lwazi lwange era ekigo kyange.+
4 Ai Katonda wange, nnunula mu mukono gw’omubi,+
Nnunula mu mukono gw’oyo ambonyaabonya.
5 Kubanga ggwe ssuubi lyange, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna;
Nneesiga ggwe okuviira ddala mu buvubuka bwange.+
6 Ggwe gwe nneesigamyeko okuva lwe nnazaalibwa;
Ggwe wanzigya mu lubuto lwa mmange.+
Nkutendereza buli kiseera.
7 Eri abantu bangi nfuuse ng’ekyamagero,
Naye ggwe kiddukiro kyange.
8 Akamwa kange kajja kwogera+
Ku ttendo lyo n’ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
10 Abalabe bange banjogerako bubi,
Era abo abaagala okunzita beekobaana,+
11 Nga bagamba nti: “Katonda amwabulidde.
Mumugobe mumukwate, kubanga tewali ayinza kumutaasa.”+
12 Ai Katonda, tombeera wala.
Ai Katonda wange, yanguwa onnyambe.+
13 Abo abampalana
Ka bakwatibwe ensonyi era bazikirire.+
Abo abaagala ngwe mu kabi
Ka baswale era bafeebezebwe.+
14 Naye nze nja kweyongera okukulindirira;
Nja kwongera okukutendereza.
15 Akamwa kange kajja kwogera ku butuukirivu bwo,+
Kajja kwogera ku bikolwa byo eby’obulokozi okuzibya obudde,
16 Nja kujja njogere ku bikolwa byo eby’ekitalo,
Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna;
Nja kwogera ku butuukirivu bwo, obubwo bwokka.
17 Ai Katonda, wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange,+
N’okutuusa kati nkyalangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.+
18 Ai Katonda, ne mu kiseera nga nkaddiye era nga mmeze envi, tonjabulira,+
Nsobole okubuulira omulembe oguliddawo ebikwata ku buyinza bwo,*
N’abo bonna abaliddawo mbabuulire amaanyi go.+
19 Ai Katonda, obutuukirivu bwo butuuka waggulu nnyo;+
Okoze ebintu eby’ekitalo;
Ai Katonda, ani alinga ggwe?+
20 Wadde ng’ondeetedde okulaba ennaku nnyingi n’obuyinike obw’amaanyi,+
Nzizaamu amaanyi;
Nzigya mu buziba bw’ensi.+
21 Ekitiibwa kye nnina kyongereko,
Onneetooloole era ombudeebude.
22 Olwo nnaakutendereza nga nkuba ekivuga eky’enkoba
Olw’obwesigwa bwo, Ai Katonda wange.+
Nja kukuyimbira ennyimba ezikutendereza nga bwe nkuba entongooli,
Ai Ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 Emimwa gyange gijja kwogerera waggulu+ n’essanyu nga nnyimba ennyimba ezikutendereza,
24 Olulimi lwange lujja kwogera* ku butuukirivu bwo okuzibya obudde,+
Kubanga abo abaagala okunzikiriza bajja kuswala era baweebuuke.+
Ekwata ku Sulemaani.
72 Ai Katonda, yigiriza kabaka okulamula,
N’omwana wa kabaka muwe obutuukirivu bwo.+
3 Ensozi ka zireeterenga abantu emirembe,
N’obusozi buleetenga obutuukirivu.
5 Banaakutyanga ebbanga lyonna enjuba ly’eneemala nga weeri
N’ebbanga lyonna omwezi lye gunaamala nga weeguli,
Emirembe n’emirembe.+
7 Mu nnaku ze abatuukirivu bajja kumeruka,+
Era emirembe ginaabanga mingi nnyo+ okutuusa omwezi lwe guliba nga tegukyaliwo.
10 Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga banaaleetanga amakula.+
Bakabaka b’e Seba n’ab’e Seeba banaaleetanga ebirabo.+
11 Bakabaka bonna banaamuvunnamiranga,
N’amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaanunulanga abaavu abawanjaga,
N’abanaku era na buli atalina amuyamba.
13 Anaasaasiranga abanaku n’abaavu,
Era anaawonyanga obulamu bw’abaavu.
14 Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe,
Era omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo nnyo mu maaso ge.
15 K’awangaale era aweebwenga zzaabu ow’e Seba.+
Ka bamusabirenga buli kiseera.
Era ka bamwagalizenga emikisa okuzibya obudde.
Ebirime bye binaatintanga ng’emiti gy’omu Lebanooni,+
Era mu bibuga abantu banaabangamu bangi ng’ebimera eby’omu nsi.+
17 Erinnya lye ka libeerewo emirembe n’emirembe;+
Ka litutumuke ebbanga lyonna enjuba ly’eneemala nga weeri.
Abantu ka bafunenga omukisa okuyitira mu ye;+
Amawanga gonna ka gamuyitenga musanyufu.
19 Erinnya lye ery’ekitiibwa ka litenderezebwenga emirembe n’emirembe,+
Era ekitiibwa kye ka kijjule ensi yonna.+
Amiina era Amiina.
20 Wano essaala za Dawudi, mutabani wa Yese, we zikoma.+
EKITABO EKY’OKUSATU
(Zabbuli 73-89)
Zabbuli ya Asafu.+
73 Mazima ddala Katonda mulungi eri Isirayiri, mulungi eri abo abalina emitima emirongoofu.+
2 Naye nze ebigere byange byabulako katono okuwaba;
Ebigere byange byali binaatera okuseerera.+
6 Amalala kyegava gaba ng’omukuufu gwabwe;+
Ebikolwa eby’obukambwe ne biba ng’ekyambalo kyabwe.
7 Obugagga bwabwe* bubaleetera okukanuka amaaso;
Bafunye bingi okusinga ebyo omutima gwabwe bye gwali gulowooza.
8 Baduula era ne boogera ebintu ebibi.+
Boogeza malala nga batiisatiisa okunyigiriza abalala.+
9 Boogera nga gy’obeera bagulumidde ng’eggulu,
Batambulatambula mu nsi ng’olulimi lwabwe lwogera kyonna kye baagala.
10 Abantu be kyebava badda gye bali,
Era banywa ku mazzi gaabwe amangi.
11 Bagamba nti: “Katonda amanya atya?+
Ddala Oyo Asingayo Okuba Waggulu bino abimanyi?”
12 Abo be babi abatafuna kizibu kyonna.+
Bongera kutuuma bugagga.+
13 Mazima nteganidde bwereere okukuuma omutima gwange nga mulongoofu,
Era ne nnaaba engalo zange okulaga nti siriiko musango.+
16 Bwe nnagezaako okukitegeera,
Kyannakuwaza,
17 Okutuusa lwe nnayingira mu kifo kya Katonda ekitukuvu eky’ekitiibwa,
Ne ntegeera ebiseera byabwe eby’omu maaso bwe biriba.
18 Mazima ddala, obateeka awali obuseerezi.+
Obasuula ne bazikirira.+
19 Nga basaanawo mu bwangu!+
Nga baggwaawo mu bwangu, mu ngeri ey’entiisa!
20 Ai Yakuwa, bw’oligolokoka, olibeerabira*
Okufaananako ekirooto omuntu kye yeerabira ng’azuukuse.
22 Nnali musirusiru era nga sitegeera;
Mu maaso go nnali ng’ensolo etalina magezi.
25 Ani gwe nnina mu ggulu?
Tewali kirala kyonna kye njagala ku nsi okuggyako ggwe.+
26 Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okunafuwa,
Naye Katonda lwe lwazi lw’omutima gwange era ye gwe mugabo gwange emirembe n’emirembe.+
27 Abo abakwewala balizikirira.
Olizikiriza* abo bonna abataba beesigwa ne bakuleka.*+
28 Naye nze, okusemberera Katonda kirungi gye ndi.+
Yakuwa Mukama Afuga Byonna mmufudde kiddukiro kyange,
Nsobole okulangirira ebikolwa bye byonna.+
74 Ai Katonda, lwaki watwesamba emirembe gyonna?+
Lwaki obusungu bwo bubuubuukira* endiga z’omu ddundiro lyo?+
Jjukira Olusozi Sayuuni kwe wabeeranga.+
3 Genda mu kifo ekifuukidde ddala amatongo.+
Omulabe ayonoonye buli kintu eky’omu kifo ekitukuvu.+
4 Abalabe bo baawogganira mu kifo kyo awakuŋŋaanirwa.+
Baasimbamu bbendera zaabwe ng’obubonero.
5 Baali ng’abasajja abagalula embazzi okutema ekibira.
6 Baakozesa embazzi n’emitayimbwa okumenya ebintu byakyo ebyayolebwa.+
7 Baayokya ekifo kyo ekitukuvu.+
Baajolonga weema entukuvu eriko erinnya lyo, ne bagisuula wansi.
8 Bo n’ezzadde lyabwe baagamba mu mitima gyabwe nti:
“Ebifo bya Katonda byonna ebikuŋŋaanirwamu* ebiri mu nsi birina okwokebwa.”
9 Tewakyali bubonero bwe tulaba;
Tewakyali nnabbi n’omu,
Era kino tewali n’omu ku ffe amanyi bbanga lye kinaamala.
10 Ai Katonda, omulabe alituusa wa okukuvuma?+
Omulabe alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?+
11 Lwaki olemezzaayo omukono gwo, omukono gwo ogwa ddyo?+
Guggye mu kifuba* kyo obasaanyeewo.
12 Naye Katonda ye Kabaka wange okuva edda,
Y’oyo akola ebikolwa eby’obulokozi ku nsi.+
13 Wasiikuula ennyanja n’amaanyi go;+
Emitwe gy’agasolo aganene ag’omu nnyanja wagibetentera mu nnyanja.
18 Ai Yakuwa, jjukira ebivumo by’omulabe,
Jjukira engeri eggwanga essirusiru gye livvoola erinnya lyo.+
19 Obulamu bw’ejjiba lyo tobuwaayo eri ensolo ez’omu nsiko.
Obulamu bw’abantu bo abanyigirizibwa tobwerabira mirembe na mirembe.
20 Jjukira endagaano,
Kubanga ebitundu by’ensi eby’ekizikiza bijjudde ebifo omuli ebikolwa eby’obukambwe.
22 Ai Katonda, situka weewozeeko.
Jjukira engeri abasirusiru gye bakuvumamu okuzibya obudde.+
23 Teweerabira balabe bo bye boogera.
Okuleekaana kw’abo abatakuwa kitiibwa kwambuka obutasalako.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku luyimba “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu.+
75 Tukwebaza, Ai Katonda; tukwebaza;
Erinnya lyo liri wamu naffe,+
Era abantu balangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.
2 Ogamba nti: “Bwe nteekawo ekiseera,
Nnamula mu bwenkanya.
3 Ensi bwe yayuuguuma* awamu n’abagibeeramu bonna,
Nze nnanyweza empagi zaayo.” (Seera)
4 Ŋŋamba abeewaana nti, “Temwewaana,”
N’ababi nti, “Temwegulumiza olw’okuba muli ba maanyi.*
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva
Buvanjuba oba bugwanjuba oba bukiikaddyo.
7 Katonda ye Mulamuzi.+
Atoowaza omuntu omu ate n’agulumiza omulala.+
8 Yakuwa akutte ekikopo mu mukono gwe;+
Omwenge gubimbye ejjovu era gutabuddwa bulungi.
Ajja kugufuka,
Era ababi bonna ab’oku nsi bajja kugunywa, awamu n’ebikanja byagwo.”+
9 Naye nze nja kukirangiriranga emirembe gyonna;
Nja kuyimbiranga Katonda wa Yakobo ennyimba ezimutendereza.
10 Kubanga agamba nti: “Nja kutemako amayembe g’ababi gonna,
Naye amayembe g’abatuukirivu gajja kugulumizibwa.”
Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.+ Oluyimba.
3 Eyo gye yamenyera obusaale obwaka,
Engabo n’ekitala n’eby’okulwanyisa ebirala.+ (Seera)
4 Omasamasa nnyo;*
Oli wa kitiibwa okusinga ensozi ezijjudde ensolo eziyiggibwa.
5 Abazira baanyagibwako ebyabwe.+
Beebase otulo,
Abalwanyi bonna tebaasobola kwerwanako.+
6 Ai Katonda wa Yakobo, bwe wakangamu oti,
Embalaasi n’omuvuzi w’eggaali ne beebaka otulo.+
7 Ggwe wekka ow’entiisa.+
Ani ayinza okugumira obusungu bwo obungi?+
8 Wayima mu ggulu n’olangirira omusango gwe wasala;+
Ensi yatya era n’esirika+
9 Katonda bwe yasituka okutuukiriza omusango gwe yasala,
Okulokola abawombeefu bonna ab’omu nsi.+ (Seera)
11 Mweyame eri Yakuwa Katonda wammwe, era musasule bye mweyamye,+
Abo bonna abamwetoolodde ka baleete ekirabo kyabwe nga batya.+
12 Alikkakkanya amalala g’abakulembeze;*
Aleetera bakabaka b’ensi entiisa.
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Yedusuni.* Zabbuli ya Asafu.+ Oluyimba.
77 Nja kukoowoola Katonda n’eddoboozi lyange;
Nja kukoowoola Katonda, era ajja kumpulira.+
2 Olunaku lwe mbeera mu buyinike nnoonya Yakuwa.+
Ekiro nnyimusa emikono gyange gy’ali awatali kugissa.
Sisobola kubudaabudibwa.
4 Toganya maaso gange kuzibirira;
Nnina ennaku era sisobola kwogera.
5 Ndowooza ku nnaku ez’edda,+
Ndowooza ku myaka egy’edda ennyo.
6 Ekiro nzijukira oluyimba lwange;+
Nfumiitiriza mu mutima gwange,+
Nnoonyereza* n’obwegendereza nsobole okutegeera.
7 Yakuwa alitusuula eri emirembe n’emirembe?+
Taliddamu kutulaga kisa?+
8 Okwagala kwe okutajjulukuka kuggwereddewo ddala?
Kye yasuubiza tekirituukirira emirembe n’emirembe?
9 Katonda yeerabidde okulaga ekisa,+
Oba obusungu bwe bumuleetedde okulekera awo okulaga obusaasizi? (Seera)
10 Ŋŋambenga nti: “Kino kye kinnakuwaza:*+
Oyo Asingayo Okuba Waggulu agaanye okutuyamba?”
11 Nja kujjukiranga ebikolwa bya Ya;
Nja kujjukiranga ebintu ebyewuunyisa bye wakolanga edda.
12 Nja kulowoozanga ku bikolwa byo byonna,
Era nja kufumiitirizanga ku bye wakola.+
13 Ai Katonda, amakubo go matukuvu.
Ai Katonda, eriyo katonda omukulu nga ggwe?+
14 Ggwe Katonda ow’amazima akola ebyewuunyisa.+
Oyolesezza amaanyi go eri amawanga.+
16 Ai Katonda, ennyanja yakulaba;
Ennyanja yakulaba n’esiikuuka.+
Obuziba bw’ennyanja bwafuukuuka.
17 Ebire byafukumula amazzi.
Eggulu eryali likutte ebire lyabwatuka,
Obusaale bwo ne buyitiŋŋana.+
18 Okubwatuka kwo+ kwali ng’omusinde gwa nnamuziga z’eggaali;
Okumyansa kw’eggulu kwamulisa ensi;+
Ensi yajugumira n’ekankana.+
78 Abantu bange muwulirize amateeka gange;*
Mutege amatu muwulire ebigambo ebiva mu kamwa kange.
2 Nja kwogera mu ngero.
Nja kwogera ebintu ebikusike eby’edda.+
3 Ebintu bye twawulira era bye tumanyi,
Bakitaffe bye baatubuulira,+
4 Tetujja kubikweka bazzukulu baabwe;
Tujja kubuulira omulembe ogunaddawo+
Ebikolwa bya Yakuwa eby’ettendo n’amaanyi ge,+
Ebintu eby’ekitalo by’akoze.+
5 Yassaawo eky’okujjukiza mu Yakobo,
Era yassaawo etteeka mu Isirayiri;
Yalagira bajjajjaffe
Okutegeeza abaana baabwe ebintu bino,+
6 Omulembe ogwandizzeewo,
Abaana abandizaaliddwa, babimanye.+
Nabo babibuulire abaana baabwe.+
7 Olwo abo bandyesize Katonda.
8 Bwe batyo tebandibadde nga bajjajjaabwe,
Omulembe ogw’emputtu era omujeemu,+
Omulembe ogwalina omutima ogutateredde,*+
Era omulembe ogutaali mwesigwa eri Katonda.
9 Abeefulayimu baalina emitego egy’obusaale,
Naye baakyuka ne badduka ku lunaku olw’olutalo.
13 Yayawulamu ennyanja basobole okuyitamu,
Era yayimiriza amazzi ne gaba ng’ekisenge.+
14 Emisana yabakulembera ng’akozesa ekire
Ate ekiro kyonna ng’akozesa ekitangaala eky’omuliro.+
15 Yayasaamu enjazi mu ddungu,
Yabanywesa amazzi mangi ng’agava mu buziba.+
16 Yakulukusa amazzi okuva mu lwazi
Era yaleetera amazzi okukulukuta ng’emigga.+
17 Naye ne beeyongera okwonoona
Bwe baajeemera oyo Asingayo Okuba Waggulu nga bali mu ddungu;+
18 Baagezesa Katonda mu mitima gyabwe+
Nga basaba eby’okulya bye baali baagala.
19 Baayogera bubi ku Katonda,
Nga bagamba nti: “Katonda asobola okutufunira emmere mu ddungu?”+
20 Laba! Yakuba ku lwazi
Amazzi ne gafukumuka ne ganjaala.+
“Asobola n’okutuwa emmere,
Era asobola okuwa abantu be ennyama?”+
21 Yakuwa bwe yabawulira n’asunguwala;+
Omuliro+ ne gubuubuukira Yakobo,
Era obusungu bwe ne bubuubuukira Isirayiri+
22 Olw’okuba tebaalina kukkiriza;+
Tebeesiga Katonda nti yali asobola okubalokola.
23 Kyeyava alagira ebire waggulu,
N’aggulawo emiryango gy’eggulu.
26 Yafuukuula mu bbanga empewo ey’ebuvanjuba
Era n’akunsa empewo ey’ebukiikaddyo ng’akozesa amaanyi ge.+
27 Yabatonnyeseza ennyama, nga nnyingi ng’enfuufu,
Ebinyonyi bingi ng’omusenyu gw’ennyanja.
28 Yabireetera okugwa wakati mu lusiisira lwe,
Okwetooloola weema ze.
29 Baalya era baavaabira;
Yabawa kye baali baagala.+
30 Naye bwe baali tebannaggwa maddu,
Ng’emmere ekyabali mu kamwa,
31 Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukira.+
N’atta abasajja baabwe ab’amaanyi ennyo;+
N’azikiriza abavubuka ba Isirayiri.
33 Ennaku zaabwe kyeyava azikomya ne ziba ng’omukka obukka,+
Era n’emyaka gyabwe n’agikomya ng’akozesa ebintu eby’entiisa.
34 Naye buli lwe yabattanga, nga baddamu okumunoonya;+
Baakomangawo ne banoonya Katonda,
35 Nga bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe,+
Era nti Katonda Asingayo Okuba Waggulu ye Mununuzi waabwe.*+
36 Baagezaako okumubuzaabuza nga bakozesa akamwa kaabwe
N’okumulimbalimba nga bakozesa olulimi lwabwe.
Yafuganga obusungu bwe+
N’atabamalirako kiruyi kye kyonna.
42 Beerabira amaanyi ge;*
Beerabira olunaku lwe yabanunula mu mukono gw’omulabe,+
43 Bwe yakola obubonero bwe mu Misiri,+
N’ebyamagero bye mu Zowani,
44 Ne bwe yafuula obugga obuva ku Kiyira omusaayi,+
Ne baba nga tebasobola kunywa mu bugga bwabwe.
46 Ebirime byabwe yabiwaayo eri enzige ezirya ennyo,
Ebibala by’okutegana kwabwe yabiwaayo eri enzige ennyingi ennyo.+
47 Yasaanyaawo emizabbibu gyabwe
N’emisukamooli gyabwe ng’akozesa omuzira.+
48 Ebisolo byabwe yabikubisa omuzira,+
Era ensolo zaabwe yazikubisa laddu.
49 Yaboolekeza obusungu bwe obungi,
Ekiruyi, obukambwe, n’obuyinike;
Ebibinja bya bamalayika byaleeta obutyabaga.
50 Obusungu bwe yabukubira ekkubo.
Yabawaayo eri okufa;
Yabawaayo* eri endwadde.
51 Ku nkomerero yatta abaana ababereberye bonna ab’e Misiri,+
Abaggulanda abaazaalibwa mu weema za Kaamu.
52 Awo n’aggyayo abantu be ng’ekisibo,+
N’abakulembera ng’ekisibo n’abayisa mu ddungu.
55 Yagoba amawanga mu maaso gaabwe,+
Ensi yagipima n’omuguwa n’agigabanyaamu n’agibawa ng’obusika;+
Ebika bya Isirayiri yabiteeka mu maka gaabyo.+
56 Naye beeyongera okugezesa Katonda Asingayo Okuba Waggulu era ne bamujeemera;+
Tebassaayo mwoyo ku bye yabajjukizanga.+
57 Baamuvaako era baali bakuusa nga bajjajjaabwe.+
Baali tebeesigika nga balinga omutego gw’obusaale ogutali munywevu.+
58 Olw’ebifo byabwe ebigulumivu+ beeyongera okumunyiiza,
59 Ekyo Katonda yakiraba n’asunguwala nnyo,+
Kyeyava yeesambira ddala Isirayiri.
61 Akabonero akalaga amaanyi ge yakaleka ne katwalibwa mu buwambe;
Ekitiibwa kye yakireka ne kigenda mu mikono gy’abalabe.+
62 Yawaayo abantu be ne battibwa n’ekitala,+
Era yasunguwalira obusika bwe.
63 Omuliro gwayokya abavubuka be,
Era bawala be tebaabayimbira nnyimba za mbaga.*
65 Awo Yakuwa n’azuukuka ng’alinga ava mu tulo,+
Ng’omusajja ow’amaanyi+ bw’azuukuka ng’omwenge gumuweddeko.
66 N’azzaayo abalabe be ennyuma,+
N’abaleetako obuswavu obw’olubeerera.
67 Yeesamba weema ya Yusufu;
Teyalonda kika kya Efulayimu.
69 Ekifo kye ekitukuvu yakikola nga kya lubeerera ng’eggulu,+
Ng’ensi gye yanyweza okubaawo emirembe gyonna.+
71 Yamuggya ku kulabirira endiga eziyonsa,
N’amufuula omusumba wa Yakobo, abantu be,+
Omusumba wa Isirayiri, obusika bwe.+
Zabbuli ya Asafu.+
79 Ai Katonda, amawanga galumbye obusika bwo;+
Boonoonye yeekaalu yo entukuvu;+
Bafudde Yerusaalemi entuumu y’ebifunfungu.+
2 Emirambo gy’abaweereza bo bagiwadde ebinyonyi bigirye.
Emibiri gy’abantu bo abeesigwa bagiwadde ensolo enkambwe ez’omu nsi.+
3 Bayiye omusaayi gwabwe buli wamu mu Yerusaalemi ng’abayiwa amazzi,
Era tewali n’omu asigaddewo agenda okubaziika.+
4 Tufuuse kivume eri baliraanwa baffe;+
Abo abatwetoolodde batusekerera era batuduulira.
5 Ai Yakuwa, onoomala bbanga ki ng’oli musunguwavu? Mirembe gyonna?+
Obusungu bwo bunaakoma ddi okubuubuuka ng’omuliro?+
6 Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.+
7 Kubanga balidde Yakobo,
Era ensi ye bagifudde matongo.+
8 Totuvunaana nsobi za bajjajjaffe.+
Tolwawo kutusaasira,+
Kubanga tufeebezeddwa nnyo.
10 Lwaki amawanga gandibuuzizza nti: “Katonda waabwe ali ludda wa?”+
Nga tukirabako n’amaaso gaffe, amawanga ka gakitegeere
Nti wabaddewo okuwoolera eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiibwa.+
11 Wulira okusinda kw’omusibe.+
Kozesa amaanyi go amangi* owonye* abo abasaliddwa ogw’okufa.*+
13 Olwo ffe abantu bo era endiga z’omu ddundiro lyo,+
Tunaakwebazanga emirembe gyonna;
Era tunaalangiriranga ettendo lyo emirembe n’emirembe.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Malanga.” Kujjukiza. Zabbuli ya Asafu.+ Oluyimba.
80 Ai Omusumba wa Isirayiri, wulira,
Ggwe akulembera Yusufu ng’ekisibo ky’endiga.+
4 Yakuwa Katonda ow’eggye, onootuusa wa okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?+
5 Obagabula amaziga okuba emmere yaabwe,
Era obanywesa amaziga mu bungi.
6 Oleka baliraanwa baffe okutukaayanira;
Abalabe baffe batusekerera nga bwe baagala.+
7 Ai Katonda ow’eggye, tuzzeewo;
Tukwatirwe ekisa, tulokolebwe.+
8 Waggya omuzabbibu+ e Misiri.
Wagoba amawanga mu nsi yaago n’ogusimbamu.+
9 Wayerula aw’okugusimba,
Ne gusimba emirandira ne gujjula mu nsi yonna.+
10 Ekisiikirize kyagwo kyabikka ensozi,
Era amatabi gaagwo gaabikka emiti gya Katonda egy’entolokyo.
12 Lwaki wamenya ekikomera ky’ennimiro y’omuzabbibu eky’amayinja,+
Abayitawo bonna ne banoga ebibala byagwo?+
13 Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
N’ensolo ez’omu nsiko zigulya.+
14 Ai Katonda ow’eggye, tukwegayiridde komawo.
Tunula wansi ng’oyima mu ggulu, olabe!
Labirira omuzabbibu guno,+
15 Endokwa omukono gwo ogwa ddyo gye gwasimba,+
Tunuulira omwana gwe wafuula ow’amaanyi* asobole okukuweesa ekitiibwa.+
16 Etemeddwa era eyokeddwa omuliro.+
Abantu bazikirira bw’obanenya.
17 Omukono gwo ka guwanirire omuntu ali ku mukono gwo ogwa ddyo,
Omwana w’omuntu gwe wafuula ow’amaanyi asobole okukuweesa ekitiibwa.+
18 Olwo nno tetujja kukuvaako.
Tukuume nga tuli balamu tusobole okukoowoola erinnya lyo.
19 Ai Yakuwa Katonda ow’eggye, tuzzeewo;
Tukwatirwe ekisa, tulokolebwe.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Gittisu.* Zabbuli ya Asafu.+
81 Mwogerere waggulu n’essanyu mu maaso ga Katonda amaanyi gaffe.+
Mukubire Katonda wa Yakobo emizira.
2 Mutandike okukuba oluyimba era mukwate obugoma,
Entongooli evuga obulungi awamu n’ekivuga eky’enkoba.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,+
Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwa ggabogabo, ku lunaku lwe tukwata embaga yaffe.+
4 Kubanga eryo tteeka eri Isirayiri,
Kiragiro kya Katonda wa Yakobo.+
Nnawulira eddoboozi lye* saategeera nga ligamba nti:
6 “Nnaggya omugugu ku kibegaabega kye;+
Emikono gye gyaggibwa ku kisero.
Nnakugezeseza ku mazzi g’e Meriba.*+ (Seera)
8 Muwulire mmwe abantu bange, nja kubabuulirira.
Ggwe Isirayiri, singa kale ompuliriza!+
9 Mu mmwe temulibaamu katonda mulala,
Era temulivunnamira katonda mulala.+
10 Nze Yakuwa, nze Katonda wo
Eyakuggya mu nsi ya Misiri.+
Yasamya akamwa ko nkajjuze.+
11 Naye abantu bange tebaawuliriza ddoboozi lyange;
Isirayiri teyaŋŋondera.+
12 Kyennava mbaleka ne bagoberera emitima gyabwe emikakanyavu;
Baakola bo kye baalowooza nti kye kituufu.+
14 Nnandyanguye okuwangula abalabe baabwe;
Nnandirwanyisizza abo abatabaagala.+
15 Abo abatayagala Yakuwa balikankanira mu maaso ge olw’okutya,
Era ekibonerezo kyabwe kiriba kya* mirembe na mirembe.
16 Naye ggwe alikuliisa* eŋŋaano esingayo obulungi,*+
Era alikukkusa omubisi gw’enjuki ogw’omu lwazi.”+
Zabbuli ya Asafu.+
3 Mulamulenga omunaku n’atalina kitaawe.+
Mubenga benkanya eri ateesobola era omwavu.+
4 Mununulenga omunaku n’omwavu;
Mubalokolenga mu mukono gw’omubi.”
7 Kyokka mulifa ng’abantu bwe bafa;+
Ng’abaami abalala bwe basaanawo nammwe bwe mutyo bwe mulisaanawo!’”+
8 Yimuka Ai Katonda olamule ensi,+
Kubanga amawanga gonna gago.
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.+
3 Mu lukujjukujju basalira abantu bo enkwe;
Beekobaana okukola akabi ku bantu bo ab’omuwendo.*
4 Bagamba nti: “Mujje tubazikirize bonna ng’eggwanga,+
Erinnya lya Isirayiri lireme kujjukirwa nate.”
5 Bateesa ne bakkaanya;
Beegasse wamu* okukulwanyisa+—
6 Weema za Edomu n’ez’Abayisimayiri, Mowaabu+ n’Abakaguli,+
10 Baazikirizibwa mu Eni-doli;+
Baafuuka bigimusa bya ttaka.
11 Abaami baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,+
Abakulembeze baabwe bafuule nga Zeba ne Zalumunna,+
12 Kubanga bagambye nti: “Ka tutwale ensi Katonda mw’abeera.”
13 Ai Katonda wange, bafuule ng’amatovu agatwalibwa empewo,+
Bafuule ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga.
14 Ng’omuliro ogwokya ekibira,
Era ng’ennimi z’omuliro ezibabula ensozi,+
15 Bawondere ng’okozesa omuyaga gwo,+
Era batiise ne kibuyaga wo.+
17 Ka baswalenga era batyenga emirembe gyonna,
Ka bafeebezebwe era bazikirire;
18 Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa,+
Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.+
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Gittisu.* Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Oluyimba.
84 Weema yo ey’ekitiibwa nga njaagala nnyo,+
Ai Yakuwa ow’eggye!
Omutima gwange n’omubiri gwange byogerera waggulu n’essanyu eri Katonda omulamu.
3 N’ekinyonyi kifunayo aw’okubeera,
Era n’akataayi kazimbayo ekisu
Mwe kalabiririra obwana bwako,
Okumpi n’ekyoto kyo eky’ekitalo, Ai Yakuwa ow’eggye,
Kabaka wange era Katonda wange!
4 Balina essanyu abo ababeera mu nnyumba yo!+
Beeyongera okukutendereza.+ (Seera)
5 Balina essanyu abo abafuna amaanyi okuva gy’oli,+
Abatadde emitima gyabwe ku makubo agagenda ku nnyumba yo.
7 Amaanyi gajja kubeeyongera bweyongezi+ nga batambula;
Buli omu ku bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Ai Yakuwa Katonda ow’eggye, wulira okusaba kwange;
Wuliriza, Ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
10 Olunaku olumu mu mpya zo lusinga ennaku olukumi mu kifo ekirala kyonna!+
Nnondawo okuyimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Katonda wange
Okusinga okubeera mu weema z’ababi.
Yakuwa talina kirungi kyonna ky’amma
Abo abatambulira mu bugolokofu.+
12 Ai Yakuwa ow’eggye,
Alina essanyu oyo akwesiga.+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Oluyimba.
3 Wafuga obusungu bwo bwonna;
Waleka obusungu bwo obungi.+
5 Onootusunguwalira mirembe gyonna?+
Obusungu bwo bunaabanga ku buli mulembe ogunaddawo?
6 Toddemu kutuzzaamu maanyi,
Abantu bo basanyuke olw’okubeera ggwe?+
7 Ai Yakuwa, tulage okwagala kwo okutajjulukuka,+
Otulokole.
8 Nja kuwuliriza Yakuwa Katonda ow’amazima ky’anaagamba,
Kubanga ajja kulangirira emirembe eri abantu be+ abeesigwa,
Naye tebaddamu okwekakasa ekisukkiridde.+
9 Mazima ddala obulokozi bwe buli kumpi n’abo abamutya,+
Ekitiibwa kye kiryoke kibeerenga mu nsi yaffe.
10 Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa bijja kusisinkana;
Obutuukirivu n’emirembe bijja kunywegeragana.+
11 Obwesigwa bujja kumeruka mu nsi,
N’obutuukirivu bujja kuyima mu ggulu butunule wansi.+
13 Obutuukirivu bujja kutambulira mu maaso ge,+
Bukolere ebigere bye ekkubo.
Essaala ya Dawudi.
2 Kuuma obulamu bwange, kubanga ndi mwesigwa.+
Lokola omuweereza wo akwesiga,
Kubanga ggwe Katonda wange.+
4 Sanyusa omuweereza wo,
Kubanga ggwe gwe nneeyuna, Ai Yakuwa.
5 Kubanga ggwe, Ai Yakuwa, oli mulungi+ era oli mwetegefu okusonyiwa;+
Abo bonna abakukoowoola obalaga okwagala okutajjulukuka kungi.+
9 Amawanga gonna ge wakola
Galijja ne gavunnama mu maaso go, Ai Yakuwa,+
Era galigulumiza erinnya lyo.+
11 Ai Yakuwa, njigiriza amakubo go.+
Nja kutambulira mu mazima go.+
Gatta wamu omutima gwange* nsobole okutya erinnya lyo.+
12 Ai Yakuwa Katonda wange, nkutendereza n’omutima gwange gwonna.+
Nja kugulumizanga erinnya lyo emirembe n’emirembe,
13 Kubanga okwagala okutajjulukuka kw’ondaga kungi nnyo.
Obulamu bwange obuwonyezza okukka emagombe.*+
14 Ai Katonda, abantu abeetulinkiriza bannumba,+
Ekibinja ky’abantu abakambwe kyagala okusaanyaawo obulamu bwange,
15 Naye ggwe, Ai Yakuwa, oli Katonda omusaasizi era ow’ekisa,
Alwawo okusunguwala, alina okwagala kungi okutajjulukuka, era omwesigwa ennyo.*+
16 Kyuka gye ndi onkwatirwe ekisa.+
Omuweereza wo muwe amaanyi go,+
Era lokola omwana w’omuzaana wo.
Kubanga, Ai Yakuwa, ggwe annyamba era ggwe ambudaabuda.
Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Oluyimba.
87 Omusingi gw’ekibuga kya Katonda guli mu nsozi entukuvu.+
2 Yakuwa ayagala emiryango gya Sayuuni+
Okusinga weema za Yakobo zonna.
3 Ggwe ekibuga kya Katonda ow’amazima, oyogerwako ebintu ebyewuunyisa.+ (Seera)
4 Nja kubalira Lakabu+ ne Babulooni mu abo abammanyi;
Laba Bufirisuuti ne Ttuulo awamu ne Kkuusi.
Ndyogera ku buli kimu ku byo nti: “Ono yazaalibwa eyo.”
5 Era kiryogerwa ku Sayuuni nti:
“Bonna baazaalibwa mu kyo.”
Era oyo Asingayo Okuba Waggulu alikinyweza.
6 Abantu bwe baliba bawandiikibwa, Yakuwa alyogera ku buli omu ku bo nti:
“Ono yazaalibwa eyo.” (Seera)
7 Abayimbi+ n’abazinyi+ baligamba nti:
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”*+
Oluyimba, Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Makalasi.* Ya kuyimbibwa ng’ebirimu biyimbibwa mu mpalo. Masukiri* ya Kemani+ Omwezera.
4 Mbaliddwa mu abo abakka mu kinnya;*+
5 Alekeddwa mu bafu
Ng’abantu abattiddwa abagalamidde mu ntaana,
B’otakyajjukira
Era b’otakyafaako.
6 Ontadde mu kinnya ekisingayo obuwanvu,
Mu bifo ebikutte ekizikiza, mu bunnya obunene.
7 Obusungu bwo bunzitooweredde nnyo,+
Ombuutikiza amayengo go ag’amaanyi. (Seera)
8 Ogobedde mikwano gyange wala okuva we ndi;
Onfudde ekyenyinyaza gye bali.+
Omutego gunkutte era sisobola kuguvaamu.
9 Amaaso gange tegakyalaba bulungi olw’ennaku gye nnina.+
Ai Yakuwa, nkukoowoola okuzibya obudde;+
Ngolola emikono gyange gy’oli.
10 Abafu b’onookolera ebyamagero?
Abaafa basobola okusituka ne bakutendereza?+ (Seera)
11 Okwagala kwo okutajjulukuka kunaayogerwako emagombe?
Obwesigwa bwo bunaayogerwako mu kifo eky’okuzikiririramu?*
12 Ebikolwa byo eby’ekitalo binaamanyibwa mu kizikiza?
Oba obutuukirivu bwo bunaamanyibwa mu nsi y’abo abeerabirwa?+
14 Ai Yakuwa, lwaki onjabulira?+
Lwaki onkweka obwenyi bwo?+
15 Okuviira ddala mu buvubuka bwange
Mbadde mu nnaku era nga mbulako katono okusaanawo;+
Ndi mwennyamivu nnyo olw’ebintu ebibi by’oleka okuntuukako.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunsukkiriddeko;+
Entiisa zo zinsaanyaawo.
17 Zinneetooloola ng’amazzi okuzibya obudde;
Zinzingiza ku njuyi zonna.*
18 Mikwano gyange ne banywanyi bange obagobedde wala okuva we ndi;+
Ekizikiza kye kifuuse munywanyi wange.
Masukiri.* Zabbuli ya Esani+ Omwezera.
89 Nnaayimbanga emirembe n’emirembe ku ngeri Yakuwa gy’alagamu okwagala okutajjulukuka.
Akamwa kange kanaamanyisanga obwesigwa bwo eri abantu b’emirembe gyonna.
2 Kubanga ŋŋambye nti: “Okwagala okutajjulukuka kujja kuzimbibwa* emirembe gyonna;+
Onywezezza obwesigwa bwo mu ggulu.”
4 ‘Nja kunyweza ezzadde+ lyo emirembe n’emirembe,
Era nja kunyweza entebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.’”+ (Seera)
5 Eggulu litendereza ebyamagero byo, Ai Yakuwa,
Ekibiina ky’abatukuvu kitendereza obwesigwa bwo.
6 Ani mu ggulu ayinza okugeraageranyizibwa ku Yakuwa?+
Ani mu baana ba Katonda+ alinga Yakuwa?
7 Katonda atiibwa mu lukiiko* lw’abatukuvu;+
Wa kitiibwa era wa ntiisa eri abo bonna abamwetoolodde.+
8 Ai Yakuwa Katonda ow’eggye,
Ani akwenkana amaanyi, Ai Ya?+
Obwesigwa bwo bukwetoolodde.+
10 Ofufuggazza Lakabu+ n’aba ng’omuntu attiddwa.+
Osaasaanyizza abalabe bo n’omukono gwo ogw’amaanyi.+
12 Ggwe watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
14 Obutuukirivu n’obwenkanya gye misingi gy’entebe yo ey’obwakabaka;+
Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa biyimirira mu maaso go.+
15 Balina essanyu abo abamanyi okukuba emizira.+
Ai Yakuwa, batambulira mu kitangaala ky’amaaso go.
16 Basanyuka okuzibya obudde olw’erinnya lyo,
Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.
18 Yakuwa ye nnannyini ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri ye nnannyini kabaka waffe.+
19 Mu kiseera ekyo, ng’oyitira mu kwolesebwa, wagamba abo abeesigwa gy’oli nti:
21 Engalo zange zijja kumuwanirira,+
Era omukono gwange gujja kumuwa amaanyi.
22 Tewali mulabe anaamuggyako musolo,
Era tewali muntu atali mutuukirivu anaamubonyaabonya.+
24 Obwesigwa bwange n’okwagala kwange okutajjulukuka biri naye,+
Era amaanyi ge gajja* kugulumizibwa mu linnya lyange.
26 Ajja kunkoowoolanga nti: ‘Ggwe Kitange,
Katonda wange, Olwazi olw’obulokozi bwange.’+
28 Nja kumulaga okwagala kwange okutajjulukuka emirembe n’emirembe,+
N’endagaano gye nnakola naye terigwa butaka.+
29 Nja kunyweza ezzadde lye emirembe n’emirembe,
Era entebe ye ey’obwakabaka nja kugiwangaaza ng’eggulu.+
30 Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange
Era ne batatambula nga bwe mbalagira,
31 Bwe banaamenyanga amateeka gange
Era ne batakwata biragiro byange,
32 Obujeemu bwabwe nja kububonerezanga n’omuggo+
Era nja kubonerezanga ensobi zaabwe nga nzikuba emiggo.
33 Naye sirirekayo kumulaga kwagala kwange okutajjulukuka,+
Era sirirema kutuukiriza kye nnasuubiza.
35 Mu butukuvu bwange ndayidde lumu ne mmala,
Dawudi sirimulimba.+
36 Ezzadde lye linaabeerawo emirembe n’emirembe;+
Entebe ye ey’obwakabaka enaawangaala ng’enjuba mu maaso gange.+
37 Ejja kunywezebwa emirembe n’emirembe ng’omwezi,
Ng’omujulirwa omwesigwa ali ku ggulu.” (Seera)
38 Naye omusudde eri era omwesambye;+
Osunguwalidde oyo gwe wafukako amafuta.
39 Olese endagaano gye wakola n’omuweereza wo;
Ojolonze engule ye n’ogisuula ku ttaka.
40 Omenye bbugwe we yenna ow’amayinja;
Ebigo bye obifudde bifunfugu.
41 Abayitawo bonna bamunyaga;
Afuuse kivume eri baliraanwa be.+
43 Ozzizza emabega ekitala kye,
Tomuganyizza kuwangula lutalo.
44 Ekitiibwa kye okikomezza,
Era entebe ye ey’obwakabaka ogisudde wansi.
45 Okendeezezza ennaku z’obuvubuka bwe;
Omwambazza obuswavu. (Seera)
46 Ai Yakuwa, onootuusa wa okwekweka? Oneekweka mirembe na mirembe?+
Obusungu bwo buneeyongera okubuubuuka ng’omuliro?
47 Jjukira nti obulamu bwange bumpi!+
Abantu bonna wabatondera bwereere?
48 Waliwo omuntu omulamu ataliraba kufa?+
Asobola okwetaasa amaanyi g’amagombe?* (Seera)
49 Ebikolwa byo eby’edda eby’okwagala okutajjulukuka biruwa, Ai Yakuwa,
Bye walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?+
50 Jjukira, Ai Yakuwa, ebivumo bye bavuma abaweereza bo;
Jjukira engeri gye ngumira* ebivumo by’amawanga gonna;
51 Engeri abalabe bo gye boogedde obubi ku oyo gwe wafukako amafuta, Ai Yakuwa;
Engeri gye boogedde obubi ku ebyo byonna by’akoze.
52 Yakuwa atenderezebwe emirembe n’emirembe. Amiina era Amiina.+
EKITABO EKY’OKUNA
(Zabbuli 90-106)
Essaala ya Musa, omusajja wa Katonda ow’amazima.+
90 Ai Yakuwa, obadde kigo kyaffe*+ mu mirembe gyonna.
2 Ensozi nga tezinnazaalibwa,
Era nga tonnakola nsi n’ebigirimu,+
Okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna, ggwe Katonda.+
N’ekiruyi kyo kitutiisa.
9 Ennaku zaffe zigenda zikendeera* olw’obusungu bwo;
Emyaka gyaffe giggwaawo mangu ng’okussa ekikkowe.
Naye giba gijjudde ebizibu n’ennaku;
Giyita mangu ne tubulawo.+
11 Ani ayinza okumanya amaanyi g’obusungu bwo?
Obusungu bwo bwa maanyi ng’okutya kw’ogwanidde okutiibwa.+
13 Komawo, Ai Yakuwa!+ Embeera eno eneemala bbanga ki?+
Saasira abaweereza bo.+
14 Ku makya tukkuse okwagala kwo okutajjulukuka,+
Tusobole okwogerera waggulu n’essanyu era tujaganye+ ennaku zaffe zonna.
15 Tuwe essanyu erituukana n’ennaku z’omaze ng’otulabya ennaku,+
Erituukana n’emyaka gye tumaze nga tubonaabona.+
Weewaawo, emirimu gy’emikono gyaffe giwe omukisa.*+
91 Buli ali mu kifo eky’ekyama eky’oyo Asingayo Okuba Waggulu+
Alibeera mu kisiikirize ky’Omuyinza w’Ebintu Byonna.+
3 Kubanga alikuggya mu mutego gw’omutezi w’ebinyonyi,
Alikuwonya endwadde ezikiriza.
Obwesigwa bwe+ buliba ng’engabo ennene+ era nga bbugwe.
5 Tolitya bitiisa mu budde obw’ekiro,+
Wadde akasaale akayita emisana,+
6 Oba endwadde entambulira mu kizikiza,
Oba okuzikiriza okubaawo mu ttuntu.
7 Lukumi baligwa ku lusegere lwo
N’omutwalo ku mukono gwo ogwa ddyo,
Naye ggwe ebintu ebyo ebibi tebirikutuukako.+
8 Olitunula ne weerolera
N’olaba ababi nga babonerezebwa.
9 Olw’okuba wagamba nti: “Yakuwa kye kiddukiro kyange,”
Oyo Asingayo Okuba Waggulu omufudde ekifo mw’obeera;*+
10 Tewali kabi kalikutuukako,+
Era tewali kibonyoobonyo kirisemberera weema yo.
14 Katonda yagamba nti: “Olw’okuba anjagala,* ndimununula.+
Ndimukuuma kubanga amanyi erinnya lyange.+
15 Alinkoowoola, nange ndimwanukula.+
Ndibeera naye ng’ali mu nnaku.+
Ndimununula era ndimugulumiza.
Zabbuli. Oluyimba olw’oku lunaku lwa Ssabbiiti.
92 Kirungi okukwebazanga ggwe Yakuwa+
N’okuyimbanga ennyimba ezitendereza erinnya lyo, Ai ggwe Asingayo Okuba Waggulu;
2 Kirungi okulangiriranga okwagala kwo okutajjulukuka+ ku makya
N’obwesigwa bwo ekiro,
3 Nga bwe nkuba ekivuga eky’enkoba ekkumi n’endongo,
N’entongooli ezivuga obulungi.+
4 Kubanga onsanyusizza, Ai Yakuwa, olw’ebikolwa byo;
Njogerera waggulu n’essanyu olw’ebyo emikono gyo bye gyakola.
5 Bye wakola nga bya kitalo nnyo, Ai Yakuwa!+
Ebirowoozo byo nga bya buziba nnyo!+
6 Omuntu atalina magezi tasobola kubimanya;
Era omusirusiru tasobola kutegeera kino:+
7 Ababi bwe bameruka ng’omuddo,
Era abakozi b’ebibi bonna ne baala,
Ekyo kiba bwe kityo balyoke bazikirizibwe.+
8 Naye ggwe ogulumizibwa emirembe gyonna, Ai Yakuwa.
9 Tunuulira okuwangulwa kw’abalabe bo, Ai Yakuwa;
Laba engeri abalabe bo gye banaasaanawo;
Abakozi b’ebibi bonna bajja kusaasaanyizibwa.+
10 Naye ojja kunnyongera amaanyi* gabeere nga aga sseddume ey’omu nsiko;
Nja kwesiiga amafuta amaggya.+
11 Nja kutunuulira abalabe bange n’amaaso agooleka obuwanguzi;+
Amatu gange gajja kuwulira ebikwata ku kugwa kw’abantu ababi abannumba.
13 Basimbibwa mu nnyumba ya Yakuwa;
Banyiririra mu mpya za Katonda waffe.+
14 Ne mu myaka egy’obukadde* baliba bakyabala ebibala;+
Balisigala nga balina amaanyi* era nga banyirira,+
15 Nga balangirira nti Yakuwa mwesigwa.
Lwe Lwazi lwange,+ era mu ye temuli butali butuukirivu.
93 Yakuwa afuuse Kabaka!+
Ayambadde ekitiibwa;
Yakuwa ayambadde amaanyi;
Ageesibye ng’omusipi.
Ensi nnywevu;
Tesobola kuggibwa mu kifo.*
3 Emigga gibimbye, Ai Yakuwa,
Emigga gibimbye era giwulugumye;
Emigga gibimba era giyira.
4 Naye ggwe Ai Yakuwa ow’ekitiibwa ennyo mu ggulu,
Oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;+
Oli wa maanyi okusinga amayengo ag’amaanyi ag’oku nnyanja.+
5 Ebyo by’otujjukiza byesigika nnyo.+
Ai Yakuwa, obutukuvu bulabisa bulungi* ennyumba yo+ ebbanga lyonna.
94 Ai Yakuwa, Katonda awoolera eggwanga,+
Ai Katonda awoolera eggwanga, yakaayakana!
2 Yimuka, Ai ggwe Omulamuzi w’ensi.+
Sasula ab’amalala ekibagwanira.+
3 Ai Yakuwa, ababi balituusa wa,
Ababi balituusa wa okweyagala?+
4 Bamala googera era baduula;
Abakozi b’ebibi bonna beewaana.
5 Babetenta abantu bo, Ai Yakuwa,+
Era babonyaabonya obusika bwo.
6 Batta nnamwandu n’omugwira,
Era batemula abaana abatalina bakitaabwe.
8 Mumanye kino mmwe abatategeera;
Mmwe abasirusiru, muliba ddi n’amagezi?+
9 Oyo eyakola* okutu, tasobola kuwulira?
Oyo eyakola eriiso, tasobola kulaba?+
10 Oyo agolola amawanga, tasobola kukangavvula?+
Oyo y’awa abantu amagezi!+
11 Yakuwa amanyi abantu bye balowooza;
Akimanyi nti bye balowooza mukka bukka.+
12 Ai Ya, alina essanyu omuntu gw’ogolola,+
Oyo gw’oyigiriza ng’okozesa amateeka go,+
13 Okumuwa emirembe mu biseera ebizibu,
Okutuusa ababi lwe basimirwa ekinnya.+
15 Ensala y’emisango eriddamu okuba ey’obutuukirivu,
Era abo bonna abalina omutima omugolokofu baligoberera ensala eyo.
16 Ani anantaasa ababi?
Ani anamponya abakozi b’ebibi?
18 Bwe nnagamba nti: “Ekigere kyange kiseerera,”
Okwagala kwo okutajjulukuka kwampanirira, Ai Yakuwa.+
22 Naye Yakuwa ajja kuba kiddukiro kyange,
Katonda wange lwe lwazi lwange mwe nzirukira.+
23 Ajja kuleetera ebikolwa byabwe ebibi okubaddira.+
Ajja kubazikiriza* ng’akozesa ebintu ebibi bye bakola.
Yakuwa Katonda waffe ajja kubazikiriza.*+
95 Mujje twogerere waggulu n’essanyu mu maaso ga Yakuwa!
Ka tukubire Olwazi lwaffe olw’obulokozi emizira.+
2 Ka tugende mu maaso ge tumwebaze;+
Ka tumuyimbire oluyimba olw’obuwanguzi.
3 Kubanga Yakuwa ye Katonda omukulu,
Ye Kabaka omukulu asinga bakatonda abalala bonna.+
4 Ebitundu by’ensi ebya wansi biri mu mukono gwe;
Entikko z’ensozi ye nnannyini zo.+
6 Mujje tusinze era tuvunname;
Ka tufukamire mu maaso ga Yakuwa Omutonzi waffe.+
Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,+
8 Temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe baakola e Meriba,*+
Nga bwe baakola ku lunaku lw’e Massa* mu ddungu,+
9 Bwe bangezesa;+
Bangezesa, wadde nga baali balabye bye nnali nkoze.+
10 Okumala emyaka 40 nneetamwa omulembe ogwo, era nnagamba nti:
“Be bantu abawaba buli kiseera mu mitima gyabwe;
Tebamanyi makubo gange.”
11 Kyennava nsunguwala ne ndayira nti:
“Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”+
96 Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya.+
Muyimbire Yakuwa mmwe ensi yonna!+
2 Muyimbire Yakuwa; mutendereze erinnya lye.
Mulangirire amawulire amalungi ag’obulokozi bwe buli lunaku.+
4 Yakuwa mukulu era agwanidde okutenderezebwa.
Atiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.
7 Mutendereze Yakuwa, mmwe ebika eby’amawanga;
Mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.+
10 Mulangirire mu mawanga nti: “Yakuwa afuuse Kabaka!+
Ensi yanywezebwa, teyinza kusagaasagana.
Ajja kulamula abantu mu bwenkanya.”+
11 Eggulu ka lisanyuke, n’ensi k’ejaganye;
Ennyanja n’ebigirimu byonna ka biwulugume;+
12 Olukalu ne byonna ebiruliko ka bijaganye.+
N’emiti gyonna egy’omu kibira ka gireekaane olw’essanyu+
13 Mu maaso ga Yakuwa, kubanga ajja;*
Kubanga ajja okulamula ensi.
97 Yakuwa afuuse Kabaka!+
Ensi k’esanyuke.+
Ebizinga ebingi ka bijaganye.+
2 Ebire n’ekizikiza ekikutte bimwetoolodde ku njuyi zonna;+
Obutuukirivu n’obwenkanya gye misingi gy’entebe ye ey’obwakabaka.+
4 Ebimyanso bye bimulisa ensi;
Ensi ebiraba n’ekankana.+
5 Ensozi zisaanuuka ng’envumbo mu maaso ga Yakuwa,+
Mu maaso ga Mukama w’ensi yonna.
6 Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe,
Era amawanga gonna galaba ekitiibwa kye.+
7 Abo bonna abasinza ekifaananyi kyonna ekyole ka baswale,+
Abo abeenyumiririza mu bakatonda baabwe abatalina mugaso.+
Mumuvunnamire* mmwe mmwenna bakatonda.+
9 Kubanga Ai Yakuwa, ggwe Asingayo Okuba Waggulu ng’ofuga ensi yonna;
Ogulumizibwa okusinga bakatonda abalala bonna.+
10 Mmwe abaagala Yakuwa, mukyawe ebibi.+
11 Ekitangaala kyakidde abatuukirivu,+
N’essanyu lizze eri abo abalina omutima omugolokofu.
12 Musanyukire mu Yakuwa mmwe abatuukirivu,
Era mutendereze erinnya lye ettukuvu.*
Zabbuli.
Omukono gwe ogwa ddyo, omukono gwe omutukuvu, gulokodde.*+
3 Ajjukidde okwagala kwe okutajjulukuka n’obwesigwa bwe bye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri.+
Ensi yonna erabye obulokozi* bwa Katonda waffe.+
4 Mukubire Yakuwa emizira mmwe ensi yonna.
Musanyuke, mwogerere waggulu n’essanyu, era muyimbe ennyimba ezitendereza.+
5 Muyimbe ennyimba ezitendereza Yakuwa nga bwe mukuba entongooli,
Nga bwe mukuba entongooli era nga bwe muyimba mu ddoboozi eddungi.
6 Mukube emizira mu maaso ga Yakuwa Kabaka,
Nga bwe mufuuwa amakondeere n’eŋŋombe.+
7 Ennyanja n’ebigirimu byonna ka biwulugume,
N’ensi n’abo abagibeerako.
8 Emigga ka gikube mu ngalo;
Ensozi zonna ka zoogerere waggulu n’essanyu+
9 Mu maaso ga Yakuwa, kubanga ajja* okulamula ensi.
99 Yakuwa afuuse Kabaka.+ Amawanga ka gakankane.
Atudde ku ntebe y’obwakabaka waggulu* wa bakerubi.+ Ensi k’ekankane.
2 Yakuwa mukulu mu Sayuuni,
Era afuga amawanga gonna.+
3 Ka batendereze erinnya lyo ekkulu+
Kubanga lya ntiisa era ttukuvu.
4 Ye kabaka ow’amaanyi ayagala obwenkanya.+
Onywezezza obugolokofu.
Oleese obwenkanya n’obutuukirivu+ mu Yakobo.
6 Musa ne Alooni be bamu ku abo abaali bakabona be,+
Samwiri y’omu ku abo abaakoowoolanga erinnya lye.+
Baakoowoolanga Yakuwa,
N’abaanukula.+
7 Yayogeranga nabo ng’ayima mu mpagi ey’ekire.+
Baakwatanga amateeka ge n’ekiragiro kye yabawa.+
8 Ai Yakuwa Katonda waffe wabaanukula.+
Kubanga Yakuwa Katonda waffe mutukuvu.+
Zabbuli ey’okwebaza.
100 Mukubire Yakuwa emizira mmwe ensi yonna.+
2 Muweereze Yakuwa n’essanyu.+
Mujje mu maaso ge nga mwogerera waggulu mu ddoboozi ery’essanyu.
3 Mumanye nti Yakuwa ye Katonda.+
Tuli bantu be era tuli ndiga ez’omu ddundiro lye.+
Mumwebaze; mutendereze erinnya lye.+
Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
N’obwesigwa bwe bwa mirembe na mirembe.+
Zabbuli ya Dawudi. Oluyimba.
101 Nja kuyimba ku kwagala okutajjulukuka n’obwenkanya.
Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza, Ai Yakuwa.
2 Nja kwoleka amagezi mu bye nkola era nfube okulaba nti sibaako kya kunenyezebwa.*
Onojja ddi gye ndi?
Nja kutambula n’omutima omugolokofu+ munda mu nnyumba yange.
3 Sijja kussa mu maaso gange kintu kyonna ekitalina mugaso.
4 Omuntu ow’omutima ogwakyama amba wala.
Sijja kukkiriza* kintu kyonna kibi.
Omuntu yenna ow’amaaso ag’amalala era ow’omutima ogwekulumbaza
Sijja kumugumiikiriza.
6 Nja kweyuna abeesigwa abali mu nsi,
Babeere nange.
Oyo ataliiko kya kunenyezebwa* y’anampeerezanga.
7 Omuntu yenna omukuusa taabeerenga mu nnyumba yange,
Era omuntu yenna omulimba taayimirirenga mu maaso gange.
8 Buli ku makya nja kusirisa* ababi bonna abali mu nsi.
Nja kusaanyaawo abakozi b’ebibi bonna mu kibuga kya Yakuwa.+
Essaala y’omuntu abonaabona era ali mu buyinike,* n’ategeeza Yakuwa ebimweraliikiriza.+
2 Tonkweka bwenyi bwo nga ndi mu nnaku.+
3 Kubanga obulamu bwange buggwaawo ng’omukka,
N’amagumba gange gengereredde ng’amanda agaaka.+
4 Omutima gwange gulinga omuddo ogwokeddwa akasana ne gukala,+
Kubanga nneerabira n’okulya emmere yange.
6 Nfaanana nga kimbala ow’omu lukoola;
Nninga ekiwuugulu mu matongo.
8 Abalabe bange banvuma okuzibya obudde.+
Abo abansekerera* bakozesa erinnya lyange bwe baba bakolima.
9 Evvu lye ndya ng’emmere,+
Era bye nnywa bitabuddwamu amaziga,+
10 Olw’obusungu bwo n’ekiruyi kyo,
Wansitula n’onkasuka eri.
13 Mazima ddala ojja kuyimuka osaasire Sayuuni,+
Kubanga kye kiseera okumulaga ekisa;+
Ekiseera ekigereke kituuse.+
15 Amawanga gajja kutya erinnya lya Yakuwa,
Era bakabaka bonna ab’omu nsi bajja kutya ekitiibwa kyo.+
19 Yakuwa atunula wansi ng’ayima mu watukuvu we waggulu,+
Atunuulira ensi ng’ayima mu ggulu,
20 Okuwulira okusinda kw’omusibe,+
Okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa,+
21 Erinnya lya Yakuwa lisobole okulangirirwa mu Sayuuni+
N’ettendo lye mu Yerusaalemi,
22 Ng’amawanga n’obwakabaka bikuŋŋaanye wamu
Okuweereza Yakuwa.+
23 Yanzigyako amaanyi gange nga nkyali muto;
Yasala ku nnaku zange.
25 Edda ennyo wassaawo emisingi gy’ensi,
N’eggulu nalyo mulimu gwa mikono gyo.+
26 Birisaanawo naye ggwe olisigalawo;
Byonna birikaddiwa ng’olugoye.
Olibikyusa ng’ekyambalo, era biriggwaawo.
27 Naye ggwe tokyuka, era emyaka gyo tegirikoma.+
28 Abaana b’abaweereza bo bajja kubeera mu mirembe,
N’abaana baabwe balibeera mu maaso go olubeerera.”+
Zabbuli ya Dawudi.
103 Ka ntendereze Yakuwa;
Ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.
2 Ka ntendereze Yakuwa;
Ka nneme kwerabira byonna by’akoze.+
3 Akusonyiwa ensobi zo zonna,+
Era akuwonya endwadde zo zonna;+
4 Aggya obulamu bwo mu kinnya,*+
Akulaga okwagala okutajjulukuka era akusaasira.+
5 Akuwa ebintu ebirungi+ obulamu bwo bwonna,
N’osigala ng’oli muvubuka era ng’oli wa maanyi ng’empungu.+
10 Tatubonerezza nga bwe tugwanidde okubonerezebwa olw’ebibi byaffe,+
Era tatusasudde ekyo kye tugwanira olw’ensobi zaffe.+
11 Kubanga ng’eggulu bwe liri ewala ennyo okuva ku nsi,
Bwe kutyo n’okwagala kwe okutajjulukuka bwe kuli okungi ennyo eri abo abamutya.+
12 Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba,
Bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.+
16 Naye empewo bw’ekunta, nga kiggwaawo,
Nga kiba ng’ekitabangawo.*
17 Kyokka emirembe n’emirembe* Yakuwa alaga okwagala kwe okutajjulukuka
Eri abo abamutya,+
Era alaga obutuukirivu bwe eri abaana b’abaana baabwe,+
18 Eri abo abakuuma endagaano ye,+
N’eri abo abafuba okukwata ebiragiro bye.
22 Mutendereze Yakuwa mmwe mmwenna ebitonde bye,
Mu bifo byonna by’afuga.*
Obulamu bwange bwonna ka butendereze Yakuwa.
Ai Yakuwa Katonda wange, oli wa kitalo nnyo.+
Oyambadde ekitiibwa n’obulungi.+
3 Ye ggwe azimba ebisenge byo ebya waggulu mu mazzi agali waggulu,*+
Ofuula ebire eggaali lyo,+
Otambulira ku biwaawaatiro by’empewo.+
4 Bamalayika bo obafuula myoyo,
Abaweereza bo obafuula muliro ogusaanyaawo.+
6 Wagibikka amazzi amangi ng’agibikkako olugoye.+
Amazzi gaabuutikira ensozi.
7 Waboggola ne gadduka;+
Gaawulira okubwatuka kwo ne gaduma
8 —Ensozi zaayambuka+ ate ebiwonvu ne bikka—
Mu bifo bye wabiteerawo.
9 Wagateerawo ensalo gye gatalina kusukka,+
Galeme okuddamu okubikka ensi nate.
10 Osindika ensulo mu biwonvu;
Zikulukutira wakati w’ensozi.
11 Ziwa ensolo zonna ez’omu nsiko amazzi;
Endogoyi ez’omu nsiko zinywa ne ziwona ennyonta.
12 Ebinyonyi bizimba ebisu mu miti egiri okumpi n’amazzi ago;
Biyimbira mu matabi gaagyo.
13 Ofukirira ensozi ng’oyima mu bisenge byo ebya waggulu.+
Ensi ejjudde ebibala by’emirimu gyo.+
14 Ente ozimereza omuddo,
N’abantu obamereza ebimera bye beetaaga,+
Okola bw’otyo emmere esobole okukula okuva mu ttaka,
15 Awamu n’omwenge ogusanyusa emitima gy’abantu,+
N’amafuta aganyiriza mu maaso,
N’emmere ebeesaawo omutima gw’abantu.+
16 Emiti gya Yakuwa gifuna amazzi mangi,
Emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni gye yasimba,
17 Ebinyonyi mwe bizimba ebisu.
Mu miti egy’emiberosi enkoonamasonko+ mwe zibeera.
19 Wakola omwezi okulaga ebiseera;
Enjuba emanyi bulungi ddi lw’erina okugwa.+
20 Oleeta enzikiza obudde ne buziba,+
Ensolo zonna ez’omu bibira ne zitandika okutambulatambula.
21 Empologoma envubuka ziwuluguma nga ziyigga eky’okulya,+
Era zinoonya eky’okulya Katonda ky’anaaziwa.+
22 Enjuba bw’evaayo,
Nga zigenda zigalamira mu bisulo byazo.
23 Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
Ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa!+
Byonna wabikola n’amagezi.+
Ensi ejjudde ebintu bye wakola.
25 Waliwo ennyanja ennene ennyo,
Erimu ebiramu ebitabalika, ebinene n’ebitono.+
27 Byonna birindirira ggwe,
Obiwe emmere mu kiseera ekituufu.+
28 Gy’obiwa gye birya.+
Bw’oyanjuluza engalo zo, nga bifuna ebintu ebirungi bingi.+
29 Bw’okweka obwenyi bwo, nga bisoberwa.
Bw’obiggyako omwoyo gwabyo, nga bifa nga biddayo mu nfuufu.+
30 Bw’osindika omwoyo gwo, nga bitondebwa,+
Era ensi n’ogizza buggya.
31 Ekitiibwa kya Yakuwa kya kubaawo emirembe n’emirembe.
Yakuwa ajja kusanyukira emirimu gye.+
32 Atunuulira ensi n’ekankana;
Akwata ku nsozi ne zinyooka.+
33 Nja kuyimbira Yakuwa+ obulamu bwange bwonna;
Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Katonda wange ekiseera kyonna kye nnaamala nga ndi mulamu.+
34 Ebirowoozo byange ka bimusanyusenga.*
Nja kusanyukiranga mu Yakuwa.
35 Aboonoonyi bajja kuggwaawo mu nsi,
Era ababi bajja kuba tebakyaliwo.+
Ka ntendereze Yakuwa. Mutendereze Ya!*
3 Mwenyumiririze mu linnya lye ettukuvu.+
Omutima gw’abo abanoonya Yakuwa ka gusanyuke.+
4 Munoonye Yakuwa+ n’amaanyi ge.
Mumunoonyenga bulijjo.
5 Mujjukire ebikolwa eby’ekitalo bye yakola,
Ebyamagero bye n’emisango gye yalangirira,+
6 Mmwe ezzadde lya* Ibulayimu omuweereza we,+
Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.+
7 Ye Yakuwa Katonda waffe.+
Alamula ensi yonna.+
8 Ajjukira endagaano ye emirembe n’emirembe,+
Ajjukira kye yasuubiza,* okutuusa emirembe olukumi,+
9 Endagaano gye yakola ne Ibulayimu,+
N’ekirayiro kye yalayirira Isaaka,+
10 Ekirayiro kye yanyweza kibeere ng’etteeka eri Yakobo;
Kibeere ng’endagaano ey’olubeerera eri Isirayiri,
11 Ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani+
Okuba omugabo gw’obusika bwo.”+
13 Baatambulanga okuva mu ggwanga erimu okudda mu ddala,
N’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala.+
14 Teyakkiriza muntu n’omu kubabonyaabonya,+
Naye yanenya bakabaka ku lwabwe,+
15 Ng’agamba nti, “Temukwata ku bantu bange abaafukibwako amafuta,
Era bannabbi bange temubakolako kabi.”+
17 Yatuma omuntu n’abasookayo
Eyatundibwa okuba omuddu, ng’oyo ye Yusufu.+
18 Ebigere bye baabisiba enjegere,*+
Era baamusiba ebyuma mu bulago
19 Okutuusa kye yayogera lwe kyatuukirira,+
Ekigambo kya Yakuwa kye kyamulongoosa.
20 Kabaka yalagira asumululwe,+
Omufuzi w’amawanga yamusumulula.
21 Yamuwa obukulu ku nnyumba ye
Ne ku bintu bye byonna,+
22 Okuba n’obuyinza ku baami* be nga bw’ayagala
N’okuwa abantu be abakadde amagezi.+
23 Awo Isirayiri n’agenda e Misiri,+
Yakobo n’abeera mugwira mu nsi ya Kaamu.
25 Yaleetera emitima gy’abalabe abo okukyuka ne bakyawa abantu be,
Ne basalira abaweereza be enkwe.+
27 Baakola obubonero bwe mu Bamisiri,
Ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.+
28 Yasindika ekizikiza ensi n’ekwata enzikiza;+
Tebaajeemera bigambo bye.
29 Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
N’atta ebyennyanja byabwe.+
30 Ensi yaabwe yajjula ebikere,+
Ne bituuka ne mu bisenge bya kabaka.
31 Yalagira kawawa okubalumba,
N’obutugu mu bitundu byabwe byonna.+
33 Yakuba emizabbibu gyabwe n’emitiini gyabwe
N’amenyaamenya emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 Yagamba enzige zibalumbe,
Enzige ento ezitabalika.+
35 Zaalya ebimera byonna mu nsi eyo;
Zaalya ebibala by’ettaka.
36 Awo n’atta ababereberye bonna mu nsi yaabwe,+
Abaggulanda baabwe.
37 Yaggyayo abantu be nga balina ffeeza ne zzaabu;+
Mu bika byabwe temwali muntu n’omu munafu.
38 Misiri yasanyuka nga bavuddeyo,
Kubanga baali bafunye entiisa ya Isirayiri.+
42 Kubanga yajjukira ebintu ebitukuvu bye yali yasuubiza Ibulayimu omuweereza we.+
43 Yaggyayo abantu be nga bajaganya,+
Abalonde be nga boogerera waggulu n’essanyu.
44 Yabawa ensi z’amawanga;+
Baasikira ebyo amawanga amalala bye gaateganira,+
45 Yakola bw’atyo basobole okukwata ebiragiro bye,+
Era bakwatenga amateeka ge.
Mutendereze Ya!*
106 Mutendereze Ya!*
2 Ani ayinza okulangirira ebikolwa bya Yakuwa byonna eby’amaanyi
Oba okulangirira ebikolwa bye byonna eby’ettendo?+
3 Balina essanyu abo abakola eby’obwenkanya,
Abo abakola ebituufu bulijjo.+
4 Nzijukira, Ai Yakuwa, bw’onooba olaga abantu bo ekisa.+
Nfaako era ndokola,
5 Nsobole okweyagalira mu birungi by’okolera abalonde bo,
Nsobole okusanyukira awamu n’eggwanga lyo,+
Nsobole okukutendereza* nga ndi wamu n’obusika bwo.
7 Bajjajjaffe mu Misiri tebaasiima bintu* eby’ekitalo bye wakola.
Tebajjukira kwagala kwo okungi okutajjulukuka,
Naye baajeema nga bali ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu.+
9 Yalagira Ennyanja Emmyufu n’ekalira;
Yabayisa ku ntobo yaayo nga balinga abayita mu ddungu.+
13 Naye beerabira mangu bye yakola;+
Tebaalindirira bulagirizi obuva gy’ali.
15 Yabawa kye baasaba,
Naye n’abaleetera obulwadde obwabakenenya.+
17 Awo ensi n’eyasama n’emira Dasani,
Era n’eziika abo abaali bakuŋŋaanye awamu ne Abiraamu.+
18 Omuliro gwabuubuukira mu kibinja kyabwe;
Ennimi z’omuliro zaayokya ababi.+
19 Baakola ennyana mu Kolebu
Era baavunnamira ekifaananyi eky’ekyuma;*+
20 Ekitiibwa kyange
Baakiwa ekifaananyi ky’ente erya omuddo.+
23 Yali anaatera okulagira bazikirizibwe,
Naye Musa gwe yalonda n’amwegayirira
Aziyize obusungu bwe obuzikiriza.+
26 Kyeyava ayimusa omukono gwe n’alayira
Nti yandibattidde mu ddungu;+
27 Yandittidde abaana baabwe mu mawanga,
Yandibasaasaanyizza mu nsi endala.+
30 Naye Fenekaasi bwe yasituka n’abaako ky’akolawo,
Ekirwadde ne kikoma.+
31 Era ekyo kye yakola ne kitwalibwa okuba eky’obutuukirivu
Emirembe gyonna.+
37 Baawangayo batabani baabwe
Ne bawala baabwe nga ssaddaaka eri badayimooni.+
38 Baayiwa omusaayi ogutaliiko musango,+
Omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
Be baawaayo nga ssaddaaka eri ebifaananyi by’omu Kanani;+
Ensi yafuuka etali nnongoofu olw’okuyiwa omusaayi.
39 Bye baakola byabafuula abatali balongoofu;
Baayenda mu by’omwoyo.+
40 Obusungu bwa Yakuwa kyebwava bubuubuukira abantu be,
Ne yeetamwa obusika bwe.
42 Abalabe baabwe baababonyaabonyanga,
Era baalinga wansi wa buyinza bwabwe.*
43 Emirundi mingi yabanunula,+
Naye beewaggulanga era baajeemanga,+
Baafeebezebwanga olw’ensobi zaabwe.+
45 Ku lwabwe yajjukiranga endagaano gye yakola nabo,
Era yabakwatirwanga ekisa,* olw’okuba alina okwagala okutajjulukuka kungi.+
46 Abo bonna abaabanga babawambye+
Yabaleeteranga okubakwatirwa ekisa.
47 Ai Yakuwa Katonda waffe, tulokole,+
Era tukuŋŋaanye otuggye mu mawanga,+
Tusobole okutendereza erinnya lyo ettukuvu,
Era abantu bonna ka bagambe nti, “Amiina!”*
Mutendereze Ya!*
EKITABO EKY’OKUTAANO
(Zabbuli 107-150)
2 Abo Yakuwa be yanunula ka boogere bwe batyo,
Abo be yanunula mu mukono* gw’omulabe,+
3 Abo be yakuŋŋaanya ng’abaggya mu nsi ez’enjawulo,+
Ng’abaggya mu buvanjuba ne mu bugwanjuba,
Ng’abaggya mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo.+
4 Baabundabundira mu lukoola, mu ddungu;
Tebaalaba kkubo libatuusa mu kibuga mwe baali basobola okubeera.
5 Baalumwa enjala n’ennyonta;
Baazirika olw’okukoowa ennyo.
8 Abantu ka beebaze Yakuwa+ olw’okwagala kwe okutajjulukuka
N’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.+
9 Kubanga abalumwa ennyonta agibamazeeko;
N’abayala abakkusizza ebirungi.+
10 Abamu baali babeera mu kizikiza eky’amaanyi ennyo,
Nga basibe abali ku njegere era abali mu nnaku.
11 Olw’okuba baajeemera ekigambo kya Katonda;
Baanyooma obulagirizi bw’oyo Asingayo Okuba Waggulu.+
12 Kyeyava atoowaza emitima gyabwe okuyitira mu bizibu bye baafuna;+
Beesittala ne bagwa ne babulwa abayamba.
13 Baakoowoola Yakuwa abayambe nga bali mu nnaku,
N’abalokola mu buzibu bwe baalimu.
14 Yabaggya mu kizikiza eky’amaanyi ennyo,
Era yabaggyako enjegere.+
15 Abantu ka beebaze Yakuwa olw’okwagala kwe okutajjulukuka+
N’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.
16 Kubanga amenye enzigi ez’ekikomo
N’akutulamu ebisiba eby’ekyuma.+
18 Beetamwa eby’okulya byonna;
Baakoma ku mugo gw’entaana.
19 Baakoowoolanga Yakuwa abayambe nga bali mu nnaku;
Yabalokola mu buzibu bwe baalimu.
20 Yalagiranga ne bawona+
Era n’abaggyanga mu binnya mwe baabanga bagudde.
21 Abantu ka beebaze Yakuwa olw’okwagala kwe okutajjulukuka
N’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.
22 Ka baweeyo ssaddaaka ez’okwebaza+
Era balangirire ebikolwa bye mu ddoboozi ery’essanyu.
23 Abo abasaabalira mu byombo ku nnyanja,
Abakolera emirimu gyabwe ku mazzi amangi,+
24 Balabye ebikolwa bya Yakuwa
Era balabye ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba;+
25 Omuyaga bwe gusituka olw’ekigambo kye,+
Ne gusitula amayengo g’ennyanja.
26 Batumbiira waggulu mu bbanga,
Ate ne bakka wansi mu ddubi.
Obuvumu bubaggwaamu olw’akabi akaba kabasemberedde.
28 Bakoowoola Yakuwa nga bali mu buzibu,+
N’abalokola mu kabi ke baba balimu.
29 Akkakkanya omuyaga;
Amayengo g’ennyanja ne gateeka.+
30 Basanyuka bwe bikkakkana,
Era abatuusa ku mwalo gye baba baagala okugenda.
31 Abantu ka beebaze Yakuwa olw’okwagala kwe okutajjulukuka
N’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.+
32 Ka bamugulumize mu kibiina ky’abantu;+
Ka bamutendereze mu lukiiko lw’abakadde.
33 Emigga agifuula ddungu,
N’ensulo z’amazzi azifuula ettaka ekkalu.+
34 Ensi engimu agifuula ya lunnyo,+
Olw’ebikolwa ebibi eby’abo abagibeeramu.
35 Eddungu alifuula bidiba bya mazzi,
N’ensi enkalu agifuula nsulo z’amazzi.+
38 Abawa omukisa ne baala nnyo;
Ente zaabwe tazireka kukendeera.+
39 Kyokka baddamu ne baba batono era ne batoowazibwa
Olw’okunyigirizibwa, n’olw’emitawaana, n’olw’ennaku.
40 Ab’ebitiibwa abaleetera okunyoomebwa,
Era abaleetera okubundabundira mu malungu omutali makubo.+
41 Naye abaavu abakuuma* ne batanyigirizibwa,+
Era n’ayaza ab’omu maka gaabwe ne baba bangi ng’ebisolo mu kisibo.
43 Ebintu bino buli alina amagezi ajja kubissaako omwoyo,+
Era ajja kufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa ebiraga okwagala kwe okutajjulukuka.+
Zabbuli ya Dawudi. Oluyimba.
108 Omutima gwange munywevu, Ai Katonda.
Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza n’obusobozi bwange bwonna.*+
2 Zuukuka ggwe ekivuga eky’enkoba; naawe entongooli.+
Nja kuzuukusa emmambya.
3 Ai Yakuwa, nja kukutenderereza mu bantu;
Nja kukuyimbira mu mawanga ennyimba ezikutendereza.
4 Kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kungi nnyo, kuli waggulu nnyo ng’eggulu,+
N’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5 Ogulumizibwe okusinga eggulu, Ai Katonda;
Ekitiibwa kyo ka kibeere ku nsi yonna.+
6 Tulokole n’omukono gwo ogwa ddyo era onziremu,
Abo b’oyagala basobole okununulibwa.+
7 Katonda omutukuvu agambye nti:*
“Nja kujaguza; Sekemu+ nja kumuwa abantu bange okuba obusika;
Ekiwonvu ky’e Sukkosi+ nja kukiwa abantu bange.
9 Mowaabu ye bbenseni mwe nnaabira.+
Nja kusuula engatto yange ku Edomu.+
Nja kujaganya olw’okuwangula Bufirisuuti.”+
10 Ani anantwala mu kibuga ekiriko bbugwe?
Ani anankulembera okuntuusa mu Edomu?+
11 Si ye ggwe, Ai Katonda eyatwesamba,
Katonda waffe atakyagenda naffe mu lutalo?+
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Luyimba.
109 Ai Katonda gwe ntendereza,+ tosirika.
2 Kubanga ababi n’abalimba banjogerako ebibi.
4 Wadde mbaagala, bo bankyawa;+
Naye nze nneeyongera kusaba.
6 Omuntu omubi k’amulamule;
Omulabe* k’ayimirire ku mukono gwe ogwa ddyo.
7 Omusango ka gumusinge ng’awozesebwa,
N’okusaba kwe ka kutwalibwe ng’ekibi.+
9 Abaana* be ka bafuuke bamulekwa,
Ne mukazi we k’afuuke nnamwandu.
10 Abaana* be ka babeere bakireereesi abasabiriza,
Banoonyenga emmere nga bava mu bifulukwa mwe babeera.
11 Amubanja k’amutwaleko byonna by’alina,
Era n’abantu b’atamanyi ka banyage ebintu bye.
12 Ka waleme kubaawo amulaga ekisa,*
Era ka waleme kubaawo asaasira abaana b’alese nga bamulekwa.
13 Bazzukulu be ka bazikirizibwe;+
Erinnya lyabwe ka lisangulibwewo mu mulembe ogumu.
14 Yakuwa k’ajjukire ensobi za bajjajjaabe,+
Era ekibi kya nnyina ka kireme kusangulwawo.
15 Yakuwa k’ajjukirenga bye bakoze;
K’aggirewo ddala mu nsi kye bayinza okujjuukirirwako.+
16 Kubanga omuntu oyo teyajjukira kulaga kisa,*+
Naye yanoonya omuntu anyigirizibwa,+ omwavu, era amenyese omutima,
Amutte.+
17 Yayagalanga nnyo okukolimira abalala naye ebikolimo ne bimuddira;
Teyayagalizanga balala mikisa era naye teyagifuna.
18 Yayambala ebikolimo ng’ayambala olugoye.
Era byayiibwa mu mubiri gwe ng’amazzi,
Ne mu magumba ge ng’amafuta.
19 Ebikolimo bye ka bibeere ng’olugoye lwe yeezingirira+
Era ka bibeere ng’omusipi gwe yeesiba bulijjo.
20 Ekyo Yakuwa ky’asasula omulabe wange,+
N’abo abanjogerako ebibi.
21 Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna,
Nnyamba olw’erinnya lyo.+
Nnunula, kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kulungi.+
23 Nzigwaawo ng’ekisiikirize ekigenda kivaawo;
Nsammuddwa eri ng’enzige.
24 Amaviivi gange gatendewaliddwa olw’okusiiba,
Omubiri gwange gunyaaluse, era nkozze mpeddewo.
25 Banvuma.+
Bwe bandaba, banyeenya emitwe.+
26 Nnyamba, Ai Yakuwa Katonda wange;
Ndokola olw’okwagala kwo okutajjulukuka.
27 Ka bamanye nti omukono gwo gwe gukikoze;
Nti ggwe, Ai Yakuwa, ggwe akikoze.
28 Ka bakolime, naye ggwe k’ompe omukisa.
Bwe basituka okunnwanyisa ka baswale,
Naye omuweereza wo k’ajaganye.
30 Akamwa kange kajja kutendereza nnyo Yakuwa;
Nja kumutenderereza mu maaso g’abantu abangi.+
31 Kubanga ajja kuyimirira ku mukono gw’omunaku ogwa ddyo
Okumuwonya abo abamusalira omusango.
Zabbuli ya Dawudi. Oluyimba.
110 Yakuwa yagamba Mukama wange nti:
2 Yakuwa alisindika ddamula y’obuyinza bwo okuva mu Sayuuni ng’agamba nti:
“Genda ng’owangula wakati mu balabe bo.”+
3 Abantu bo balyewaayo kyeyagalire ku lunaku lw’olikulemberamu eggye lyo* okulwana.
Mu butukuvu obw’ekitalo
Olina ekibinja ky’abavubuka abalinga amatondo g’omusulo ogw’oku makya ennyo.
4 Yakuwa alayidde era talikyusa kirowoozo:*
Alisaanyaawo omukulembeze* w’ensi ennene.*
7 Alinywa* amazzi mu kagga ak’oku kkubo;
Kyaliva ayimusa omutwe gwe waggulu.
א [Alefu]
Nja kutendereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna+
ב [Besu]
Nga ndi mu kibinja ky’abagolokofu abakuŋŋaanye, era nga ndi ne mu kibiina.
ג [Gimeri]
Byekenneenyezebwa abo bonna be bisanyusa.+
ה [Ke]
3 By’akola bya kitiibwa era birungi nnyo;
ו [Wawu]
Obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.+
ז [Zayini]
4 Aleetera ebikolwa bye eby’ekitalo okujjukirwa.+
ח [Kesu]
Yakuwa wa kisa era musaasizi.+
ט [Tesu]
י [Yodi]
Ajjukira endagaano ye emirembe n’emirembe.+
כ [Kafu]
6 Abantu be abalaze ebikolwa bye eby’amaanyi
ל [Lamedi]
Ng’abawa obusika bw’amawanga.+
מ [Memu]
Ebiragiro bye byonna byesigika.+
ס [Sameki]
8 Byesigika buli kiseera; byesigika kaakano era n’emirembe n’emirembe,
ע [Ayini]
Byakolebwa mu mazima n’obutuukirivu.+
פ [Pe]
צ [Sade]
Yalagira nti endagaano ye ebeewo emirembe n’emirembe.
ק [Kofu]
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa.+
ר [Lesu]
10 Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi.+
ש [Sini]
Abo bonna abakwata ebiragiro bye* booleka okutegeera.+
ת [Tawu]
Ettendo lye lya mirembe na mirembe.
א [Alefu]
Alina essanyu omuntu atya Yakuwa,+
ב [Besu]
Asanyukira ennyo ebiragiro bye.+
ג [Gimeri]
2 Bazzukulu be baliba ba maanyi mu nsi,
ד [Dalesi]
Era omulembe gw’abagolokofu guliweebwa omukisa.+
ה [Ke]
3 Ebintu eby’omuwendo n’eby’obugagga biri mu nnyumba ye,
ו [Wawu]
Era obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.
ז [Zayini]
4 Eri abagolokofu alinga ekitangaala ekyaka mu nzikiza.+
ת [Kesu]
Wa kisa, musaasizi,+ era mutuukirivu.
ט [Tesu]
5 Omuntu ow’ekisa era awola abalala afuna ebirungi.+
י [Yodi]
Ebintu bye abikola mu bwenkanya.
כ [Kafu]
ל [Lamedi]
Omutuukirivu alijjukirwa emirembe n’emirembe.+
מ [Memu]
נ [Nuni]
Omutima gwe munywevu olw’okuba yeesiga Yakuwa.+
ס [Sameki]
Era ku nkomerero aliraba okuwangulwa kw’abalabe be.+
פ [Pe]
9 Agabye nnyo;* awadde abaavu.+
צ [Sade]
Obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.+
ק [Kofu]
Amaanyi ge* galigulumizibwa mu kitiibwa.
ר [Lesu]
10 Omubi aliraba n’asunguwala.
ש [Sini]
Aliruma obugigi n’asaanawo.
ת [Tawu]
Okwegomba kw’omubi kulisaanawo.+
Mmwe abaweereza ba Yakuwa mumutendereze,
Mutendereze erinnya lya Yakuwa.
Ayimusa omwavu n’amuggya mu ntuumu y’evvu,*+
8 Okumutuuza n’ab’ebitiibwa,
N’ab’ebitiibwa mu bantu be.
Mutendereze Ya!*
114 Isirayiri bwe yava e Misiri,+
Ennyumba ya Yakobo bwe yava mu bantu aboogera olulimi olulala,
2 Yuda yafuuka kifo kye ekitukuvu,
Isirayiri yafuuka matwale ge.+
5 Kiki ekyakuddusa, ggwe ennyanja?+
Lwaki waddayo emabega, ggwe Yoludaani?+
6 Lwaki mwabuukabuuka ng’endiga ennume, mmwe ensozi?
Lwaki mwabuukabuuka ng’obuliga obuto, mmwe obusozi?
7 Kankana ggwe ensi olwa Mukama,
Olwa Katonda wa Yakobo,+
8 Oyo afuula olwazi ekidiba ky’amazzi,
Afuula olwazi olugumu ensulo z’amazzi.+
115 Si ffe, Ai Yakuwa, si ffe,*
Wabula erinnya lyo ly’oba owa ekitiibwa+
Olw’okwagala kwo okutajjulukuka n’olw’obwesigwa bwo.+
2 Lwaki amawanga gandibuuzizza nti:
“Katonda waabwe ali ludda wa?”+
3 Katonda waffe ali mu ggulu;
Akola byonna by’ayagala.
4 Ebifaananyi byabwe bya ffeeza ne zzaabu,
Byakolebwa na mikono gya bantu.+
5 Birina emimwa naye tebyogera;+
Birina amaaso naye tebiraba;
6 Birina amatu naye tebiwulira;
Birina ennyindo naye tebiwunyiriza;
7 Birina engalo naye tebikwata;
Birina ebigere naye tebitambula;+
Obulago bwabyo tebuvaamu ddoboozi.+
10 Ggwe ennyumba ya Alooni,+ weesige Yakuwa
—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.
12 Yakuwa atujjukira era ajja kutuwa emikisa,
Ajja kuwa ennyumba ya Isirayiri emikisa;+
Ajja kuwa ennyumba ya Alooni emikisa.
13 Yakuwa ajja kuwa emikisa abo abamutya,
Abato n’abakulu.*
18 Naye ffe tujja kutenderezanga Ya
Okuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.
Mutendereze Ya!*
Ennaku n’obuyinike byansukkirirako.+
4 Naye nnakoowoola erinnya lya Yakuwa ne ŋŋamba nti:+
“Ai Yakuwa mponya!”
6 Yakuwa akuuma abatalina bumanyirivu.+
Amaanyi bwe gaali gampedde, yandokola.
7 Sijja kuddamu kweraliikirira,
Kubanga Yakuwa ankoledde eby’ekisa.
8 Omponyezza okufa.
Owonyezza amaaso gange okukaaba, n’ekigere kyange okwesittala.+
9 Nja kutambulira mu maaso ga Yakuwa nga nkyali mulamu.
10 Nnalina okukkiriza, kyennava njogera+
Wadde nga nnali mbonaabona nnyo.
11 Nnatya ne ŋŋamba nti:
“Buli muntu mulimba.”+
12 Yakuwa nnaamusasula ki
Olw’ebirungi byonna by’ankoledde?
13 Nja kutoola ekikopo eky’obulokozi,*
Era nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa.
16 Ai Yakuwa nkwegayirira,
Kubanga ndi muweereza wo.
Ndi muweereza wo, omwana w’omuzaana wo.
Onsumuludde enjegere.+
17 Nja kuwaayo gy’oli ssaddaaka ey’okwebaza;+
Nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa.
18 Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa,+
Mu maaso g’abantu be bonna,+
19 Mu mpya z’ennyumba ya Yakuwa,+
Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi.
2 Kubanga okwagala okutajjulukuka kw’atulaga kungi nnyo;+
118 Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi;+
Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
2 Isirayiri kaakano k’egambe nti:
“Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”
3 Ab’ennyumba ya Alooni kaakano ka bagambe nti:
“Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”
4 Abo abatya Yakuwa kaakano ka bagambe nti:
“Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”
6 Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga.+
Omuntu ayinza kunkola ki?+
7 Yakuwa ali ku ludda lwange era annyamba;*+
Abo abatanjagala nja kubatunuulira n’amaaso agooleka obuwanguzi.+
8 Kirungi okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe
Okusinga okwesiga abantu.+
9 Kirungi okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffe
Okusinga okwesiga abafuzi.+
11 Ganneetooloola, weewaawo ganneetooloolera ddala.
Naye mu linnya lya Yakuwa,
Nnagasindika eri.
12 Ganneetooloola ng’enjuki,
Naye gaazikizibwa mangu ng’omuliro ogukoleezeddwa mu maggwa.
Mu linnya lya Yakuwa,
Nnagasindika eri.+
13 Bansindika* n’amaanyi ngwe wansi,
Naye Yakuwa n’annyamba.
14 Ya kye kiddukiro kyange era ge maanyi gange,
Era afuuse obulokozi bwange.+
15 Eddoboozi ly’okusanyuka n’ery’obulokozi*
Liri mu weema z’abatuukirivu.
Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwoleka amaanyi gaagwo.+
16 Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwegulumiza;
Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwoleka amaanyi gaagwo.+
17 Sijja kufa, nja kusigala nga ndi mulamu,
Nsobole okulangirira ebyo Ya by’akola.+
19 Munzigulirewo enzigi ez’obutuukirivu;+
Nja kuyingira ntendereze Ya.
20 Guno gwe mulyango gwa Yakuwa.
Omutuukirivu ajja kuyita omwo ayingire.+
21 Nja kukutendereza kubanga wannyanukula+
Era n’ofuuka obulokozi bwange.
24 Luno lwe lunaku Yakuwa lw’ataddewo;
Era ku lunaku luno tujja kusanyuka era tujaguze.
25 Ai Yakuwa, tukwegayiridde tulokole!
Ai Yakuwa tuyambe tuwangule!
26 Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa;+
Tubawa omukisa nga tusinziira mu nnyumba ya Yakuwa.
27 Yakuwa ye Katonda;
Atuwa ekitangaala.+
Mwegatte ku kibinja ky’abo abagenda okukwata embaga nga mukutte amatabi g’emiti,+
Okutuukira ddala ku mayembe g’ekyoto.+
28 Ggwe Katonda wange, nja kukutenderezanga;
Katonda wange, nja kukugulumizanga.+
א [Alefu]
119 Balina essanyu abo abataliiko kya kunenyezebwa* mu bulamu bwabwe,
Abatambulira mu mateeka ga Yakuwa.+
3 Tebakola bitali bya butuukirivu;
Batambulira mu makubo ge.+
4 Walagira nti
Ebiragiro byo birina okugobererwa n’obwegendereza.+
6 Awo mba sijja kuswala+
Nga ndowoozezza ku biragiro byo byonna.
7 Nja kukutendereza n’omutima omugolokofu
Bwe nnaategeera ennamula yo ey’obutuukirivu.
8 Nja kukwata amateeka go.
Tonjabuliranga.
ב [Besu]
9 Omuvubuka ayinza atya okukuuma ekkubo lye nga ddongoofu?
Ng’agondera ekigambo kyo.+
10 Nkunoonya n’omutima gwange gwonna.
Tondeka kuwaba kuva ku biragiro byo.+
12 Otenderezebwe, Ai Yakuwa;
Njigiriza amateeka go.
13 Nnangirira n’akamwa kange
Ebiragiro byonna bye wayogera.
16 Njagala nnyo amateeka go.
Sijja kwerabira kigambo kyo.+
ג [Gimeri]
17 Laga omuweereza wo ekisa,
Nsobole okusigala nga ndi mulamu nkwate ekigambo kyo.+
18 Zibula amaaso gange nsobole okulaba obulungi
Ebintu eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 Ndi mugwira mu nsi.+
Tonkweka biragiro byo.
20 Nzenna mpeddewo olw’okuyaayanira
Ennamula yo buli kiseera.
21 Onenya abeetulinkiriza,
Abo abaakolimirwa abawaba ne bava ku biragiro byo.+
22 Nzigyaako okunyoomebwa awamu n’okuyisibwamu amaaso,
Kubanga nkoledde ku ebyo by’otujjukiza.
23 Abakungu ne bwe batuula awamu ne banjogerako ebibi,
Omuweereza wo afumiitiriza ku mateeka go.*
ד [Dalesi]
25 Nneeyaze mu nfuufu.+
Nkuuma nga ndi mulamu nga bwe wasuubiza.+
26 Nnakutegeeza amakubo gange, n’onnyanukula;
Njigiriza amateeka go.+
27 Nnyamba ntegeere amakulu g’ebiragiro byo,*
28 Mbadde seebaka olw’ennaku.
Nzizaamu amaanyi nga bwe wagamba.
29 Nnyamba nneme kutambulira mu bulimba,+
Ndaga ekisa onjigirize amateeka go.
30 Mmaliridde okuba omwesigwa.+
Nkiraba nti ennamula yo eba ntuufu.
31 Nnywerera ku ebyo by’otujjukiza.+
Ai Yakuwa, tondeka kuswala.+
32 Nja kugondera ebiragiro byo,
Kubanga obiwa ekifo mu mutima gwange.
ה [Ke]
33 Ai Yakuwa, njigiriza+ okutambulira mu mateeka go,
Nja kugagoberera okutuukira ddala ku nkomerero.+
34 Mpa okutegeera,
Nsobole okugondera amateeka go,
Era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Nnuŋŋamya ntambulire mu kkubo ly’ebiragiro byo+
Kubanga mu byo mwe nsanyukira.
36 Omutima gwange gwagazise ebyo by’otujjukiza,
Mu kifo ky’okwagala okwefunira amagoba.+
38 Tuukiriza kye wasuubiza* omuweereza wo,
Osobole okutiibwa.
39 Ggyawo obuswavu obunneeraliikiriza ennyo,
Kubanga ennamula yo nnungi.+
40 Laba nga bwe njaayaanira ebiragiro byo.
Nkuuma nga ndi mulamu mu butuukirivu bwo.
ו [Wawu]
41 Ndaga okwagala kwo okutajjulukuka, Ai Yakuwa,+
Ndaga obulokozi nga bwe wasuubiza,*+
42 Ndyoke nnyanukule oyo anvuma,
Kubanga ntadde obwesige bwange mu kigambo kyo.
43 Toggya kigambo kya mazima mu kamwa kange,
Kubanga essuubi lyange nditadde mu* nnamula yo.
44 Nja kukwatanga amateeka go buli kiseera,
Emirembe n’emirembe.+
47 Nsanyukira ebiragiro byo,
Mazima mbyagala nnyo.+
ז [Zayini]
49 Jjukira ekigambo kye wagamba* omuweereza wo,
Ky’oyitiramu okumpa essuubi.
50 Ekyo kye kimbudaabuda mu kubonaabona kwange,+
Kubanga ekigambo kyo kinkuumye nga ndi mulamu.
53 Ababi abava ku mateeka go,
Bannyiiza nnyo.+
54 Amateeka go ge nnyimba
Buli we mbeera.*
55 Nzijukira erinnya lyo ekiro, Ai Yakuwa,+
Nsobole okukwata amateeka go.
56 Bwe ntyo bwe nkola bulijjo
Kubanga nkwata ebiragiro byo.
ח [Kesu]
59 Nneekenneenyezza amakubo gange,
Nsobole okuddamu okugoberera by’otujjukiza.+
60 Nnyanguwa, era sironzalonza
Kukwata biragiro byo.+
62 Ekiro mu ttumbi nzuukuka okukwebaza+
Olw’ennamula yo ey’obutuukirivu.
64 Ai Yakuwa, okwagala kwo okutajjulukuka kujjudde mu nsi.+
Njigiriza amateeka go.
ט [Tesu]
65 Omuweereza wo omukoledde ebirungi
Nga bwe wagamba, Ai Yakuwa.
68 Oli mulungi,+ ne by’okola birungi.
Njigiriza amateeka go.+
69 Abeetulinkiriza banjogerako eby’obulimba bingi,
Naye nkwata ebiragiro byo n’omutima gwange gwonna.
י [Yodi]
73 Emikono gyo gye gyankola era gye gyammumba.
Mpa okutegeera,
Nsobole okuyiga ebiragiro byo.+
75 Ai Yakuwa, nkimanyi nti ennamula yo ya butuukirivu,+
Era nti onkangavudde olw’okuba oli mwesigwa.+
78 Abeetulinkiriza ka baswale,
Kubanga bankola ebintu ebibi awatali nsonga.
Naye nze njanga kufumiitiriza ku* biragiro byo.+
79 Abakutya ka bakomewo gye ndi,
Abo abamanyi by’otujjukiza.
כ [Kafu]
84 Omuweereza wo anaalindirira kutuusa ddi?
Abo abanjigganya onoobasalira ddi omusango?+
85 Abeetulinkiriza bansimira obunnya,
Abo abatakwata mateeka go.
86 Ebiragiro byo byonna byesigika.
Abantu banjigganya awatali nsonga; nnyamba!+
87 Kaabula kata bansaanyeewo ku nsi,
Naye saava ku biragiro byo.
88 Nkuuma nga ndi mulamu olw’okuba olina okwagala okutajjulukuka,
Nsobole okukolera ku ebyo by’otujjukiza bye wayogera.
ל [Lamedi]
90 Obwesigwa bwo bubaawo emirembe gyonna.+
Wanyweza ensi esobole okubeerangawo.+
91 Byonna* weebiri n’okutuusa leero, olw’ebiragiro byo,
Kubanga byonna bikuweereza.
93 Siryerabira biragiro byo,
Kubanga okuyitira mu byo, onkuumye nga ndi mulamu.+
95 Ababi bannindiridde okunsaanyaawo,
Naye nze nzisaayo omwoyo ku ebyo by’otujjukiza.
מ [Memu]
97 Amateeka go nga ngaagala nnyo!+
Ngafumiitirizaako* okuzibya obudde.+
98 Ebiragiro byo bingeziwaza okusinga abalabe bange,+
Kubanga biri wamu nange emirembe n’emirembe.
100 Nneeyisa mu ngeri ey’amagezi okusinga abasajja abakadde,
Kubanga nkwata ebiragiro byo.
101 Sikkiriza kutambulira mu kkubo lyonna ebbi,+
Nsobole okukolera ku kigambo kyo.
102 Siva ku nnamula yo,
Kubanga onjigirizza.
104 Olw’ebiragiro byo, nneeyisa mu ngeri ey’amagezi.+
Eyo ye nsonga lwaki nkyawa amakubo gonna ag’obulimba.+
נ [Nuni]
106 Ndayidde ekirayiro, era nja kukituukiriza,
Okukoleranga ku nnamula yo ey’obutuukirivu.
107 Mbonyeebonye nnyo.+
Nkuuma nga ndi mulamu nga bwe wagamba, Ai Yakuwa.+
108 Ai Yakuwa, siima ebiweebwayo eby’okutendereza bye mpaayo kyeyagalire,*+
Era njigiriza ennamula yo.+
109 Obulamu bwange buba mu kabi buli kiseera,
Naye seerabidde mateeka go.+
111 By’otujjukiza mbitwala okuba obusika bwange obw’olubeerera,
Kubanga bye bisanyusa omutima gwange.+
112 Mmaliridde okukwata amateeka go
Okutuukira ddala ku lisembayo, ekiseera kyonna.
ס [Sameki]
115 Temujja we ndi mmwe abantu ababi,+
Nsobole okukwata ebiragiro bya Katonda wange.
116 Mpanirira nga bwe wasuubiza,*+
Nsobole okusigala nga ndi mulamu;
Essuubi lyange tolireka kunviirako kuswala.+
118 Weesamba abo bonna abava ku mateeka go,+
Kubanga balimba era bakuusa.
119 Ababi bonna abali mu nsi obasuula eri ng’asuula amasengere agatalina mugaso.+
Kyenva njagala by’otujjukiza.
120 Omubiri gwange gukankana olw’okukutya;
Ntya ennamula yo.
ע [Ayini]
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu.
Tondeka kugwa mu mikono gy’abo abambonyaabonya.
122 Kakasa nti omuweereza wo aba bulungi.
Abeetulinkiriza ka baleme kumbonyaabonya.
125 Ndi muweereza wo; mpa okutegeera,+
Nsobole okumanya by’otujjukiza.
126 Ekiseera kituuse obeeko ky’okolawo,+ Ai Yakuwa,
Kubanga bamenye amateeka go.
פ [Pe]
129 By’otujjukiza birungi nnyo.
Kyenva mbikolerako.
131 Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja,
Olw’okuyaayaanira ebiragiro byo.+
133 Luŋŋamya ebigere byange ng’okozesa ekigambo kyo;
Ka waleme kubaawo kintu kibi kyonna kinfuga.+
134 Nnunula mu mukono gw’abo abambonyaabonya,
Nkwate ebiragiro byo.
135 Laga omuweereza wo ekisa,+
Era onjigirize amateeka go.
136 Amaaso gange gakulukusa amaziga
Olw’okuba abantu tebakwata mateeka go.+
צ [Sade]
138 By’otujjukiza bya butuukirivu,
Era byesigikira ddala.
139 Okwagala okungi kwe nnina gy’oli kummalawo,+
Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
143 Ne bwe mba mu nnaku oba mu buzibu,
Nsigala njagala nnyo ebiragiro byo.
144 Obutuukirivu bw’ebyo by’otujjukiza bwa mirembe na mirembe.
Mpa okutegeera,+ nsobole okusigala nga ndi mulamu.
ק [Kofu]
145 Nkukoowoola n’omutima gwange gwonna. Nnyanukula, Ai Yakuwa.
Nja kukwata amateeka go.
146 Nkukoowoola; ndokola!
Nja kukolera ku by’otujjukiza.
148 Amaaso gange gazibula ng’ebisisimuka by’ekiro tebinnatandika,
149 Wuliriza eddoboozi lyange olw’okuba olina okwagala okutajjulukuka.+
Ai Yakuwa, nkuuma nga ndi mulamu ng’obwenkanya bwo bwe buli.
150 Abo abakola ebikolwa ebikwasa ensonyi* basembera;
Beesambye amateeka go.
152 Ebyo by’otujjukiza nnabitegeera dda nnyo,
Era ne mmanya nti wabiteekawo bibe bya mirembe na mirembe.+
ר [Lesu]
153 Tunuulira okubonaabona kwange onnunule,+
Kubanga seerabidde mateeka go.
155 Obulokozi buli wala nnyo n’ababi,
Kubanga tebanoonyezza mateeka go.+
156 Okusaasira kwo kungi, Ai Yakuwa.+
Nkuuma nga ndi mulamu ng’obwenkanya bwo bwe buli.
157 Abo abanjigganya n’abalabe bange bangi,+
Kyokka sivudde ku ebyo by’otujjukiza.
158 Ab’enkwe mbatunuuliza bukyayi,
Kubanga tebakolera ku kigambo kyo.+
159 Laba nga bwe njagala ebiragiro byo!
Ai Yakuwa, nkuuma nga ndi mulamu olw’okuba olina okwagala okutajjulukuka.+
160 Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo,+
Era ennamula yo ey’obutuukirivu ya mirembe na mirembe.
ש [Sini] oba [Shini]
162 Nsanyukira nnyo by’oyogera+
Ng’omuntu afuna eby’obugagga.
164 Nkutendereza emirundi musanvu buli lunaku
Olw’ennamula yo ey’obutuukirivu.
166 Essuubi lyange liri mu bikolwa byo eby’obulokozi, Ai Yakuwa,
Era nkwata ebiragiro byo.
168 Nkolera ku biragiro byo ne ku ebyo by’otujjukiza,
Olw’okuba omanyi byonna bye nkola.+
ת [Tawu]
169 Okuwanjaga kwange ka kutuuke gy’oli, Ai Yakuwa.+
Mpa okutegeera,+ okuyitira mu kigambo kyo.
170 Okwegayirira kwange ka kujje mu maaso go.
Ndokola nga bwe wasuubiza.*
171 Emimwa gyange ka gikutenderezenga bulijjo,+
Kubanga onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange ka luyimbe ku kigambo kyo,+
Kubanga ebiragiro byo byonna bya butuukirivu.
174 Njaayaanira obulokozi bwo, Ai Yakuwa,
Era njagala nnyo amateeka go.+
175 Nkuuma nga ndi mulamu nsobole okukutendereza;+
Ennamula yo k’ennyambe.
Oluyimba olw’Okwambuka.*
2 Ai Yakuwa, mponya emimwa egirimba
N’olulimi olukuusa.
4 Ojja kubonerezebwa n’obusaale obusongovu+ obw’abalwanyi,
N’amanda agengereredde+ ag’omuti ogw’omu ddungu.
5 Zinsanze, kubanga mbadde mbeera ng’omugwira mu Meseki!+
Mbadde mbeera mu weema z’e Kedali.+
6 Mmaze ekiseera kiwanvu nnyo nga mbeera
N’abantu abataagala mirembe.+
7 Nze njagala mirembe, naye bwe njogera
Bo baagala kulwana.
Oluyimba olw’Okwambuka.
121 Nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira ensozi.+
Obuyambi bwange bunaava wa?
3 Talikkiriza kigere kyo kuseerera.*+
Oyo akukuuma talisumagira.
5 Yakuwa y’akukuuma.
Yakuwa kye kisiikirize+ ekiri ku mukono gwo ogwa ddyo.+
7 Yakuwa ajja kukukuuma oleme kutuukibwako kabi konna.+
Ajja kukuuma obulamu bwo.+
Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi.
122 Nnasanyuka bwe baŋŋamba nti:
“Tugende mu nnyumba ya Yakuwa.”+
2 Kaakano ebigere byaffe biyimiridde
Mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi.+
4 Ebika bigenze mu kyo,
Ebika bya Ya,*
Ng’etteeka eryaweebwa Isirayiri bwe ligamba,
Okutendereza erinnya lya Yakuwa.+
6 Musabe mu Yerusaalemi mubeemu emirembe.+
Abo abakwagala, ggwe ekibuga, bajja kuba mu mirembe.
7 Emirembe ka gyeyongere okuba mu bbugwe wo,
N’obutebenkevu mu minaala gyo.
8 Ku lwa baganda bange ne bannange nja kugamba nti:
“Emirembe ka gibeere mu ggwe.”
9 Ku lw’ennyumba ya Yakuwa Katonda waffe,+
Nja kukusabira obeere bulungi.
Oluyimba olw’Okwambuka.
123 Nnyimusa amaaso gange ne ntunula gy’oli,+
Ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 Ng’amaaso g’abaweereza bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe,
Era ng’amaaso g’omuzaana bwe gatunuulira omukono gwa mukama we,
N’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Yakuwa Katonda waffe+
Okutuusa lw’anaatulaga ekisa.+
3 Tulage ekisa, Ai Yakuwa, tulage ekisa,
Kubanga tunyoomeddwa nnyo.+
4 Abeekulumbaza batusekeredde nnyo,
N’ab’amalala batunyoomye nnyo.
Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi.
124 “Singa Yakuwa teyali naffe”+
—Isirayiri k’egambe nti—
2 “Singa Yakuwa teyali naffe+
Abantu bwe baasituka okutulumba,+
3 Banditumize nga tukyali balamu+
Obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukira.+
4 Amazzi ganditukuluggusizza,
Mukoka yanditututte.+
5 Amazzi agayira ganditubuutikidde.
6 Yakuwa atenderezebwe
Kubanga tatuwaddeeyo kuliibwa balabe baffe.
8 Obuyambi bwaffe buli mu linnya lya Yakuwa,+
Eyakola eggulu n’ensi.”
Oluyimba olw’Okwambuka.
125 Abo abeesiga Yakuwa+
Balinga Olusozi Sayuuni olutasobola kunyeenyezebwa,
Era olubeerawo emirembe gyonna.+
3 Ddamula y’ababi tejja kweyongera kufuga nsi y’abatuukirivu,+
Abatuukirivu baleme okukola ebintu ebibi.+
5 Abo abakyuka ne badda mu makubo gaabwe amakyamu,
Yakuwa ajja kubaggyawo awamu n’abakola ebibi.+
Emirembe ka gibe ku Isirayiri.
Oluyimba olw’Okwambuka.
126 Yakuwa bwe yakomyawo aba Sayuuni abaali bawambiddwa,+
Twalowooza nti tuloota.
2 Mu kiseera ekyo akamwa kaffe kajjula enseko,
Olulimi lwaffe lwayogerera waggulu n’essanyu.+
Mu kiseera ekyo ab’amawanga amalala baagamba nti:
“Yakuwa abakoledde ebikulu.”+
3 Yakuwa atukoledde ebikulu,+
Era tuli basanyufu nnyo.
4 Ai Yakuwa, komyawo abawambe baffe,
Ng’emigga gy’omu Negebu.
5 Abo abasiga ensigo nga bakaaba,
Balikungula nga boogerera waggulu n’essanyu.
6 Oyo afuluma okugenda, wadde ng’agenda akaaba,
Ng’asitudde ensawo erimu ensigo,
Alikomawo ng’ayogerera waggulu n’essanyu,+
Ng’asitudde by’akungudde.+
Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Sulemaani.
Yakuwa bw’atakuuma kibuga,+
Omukuumi ateganira bwereere okusigala ng’atunula.
2 Mutawaanira bwereere okuzuukuka ku makya ennyo,
Okusigala nga mutunula okutuusa amatumbibudde,
Era n’okutegana okufuna emmere,
Kubanga abo b’ayagala abawa emmere era n’abawa n’otulo.+
5 Alina essanyu oyo ajjuza obusaale obwo mu nsawo ye ey’obusaale.+
Tebaliswala,
Kubanga balyogera n’abalabe mu mulyango gw’ekibuga.
Oluyimba olw’Okwambuka.
2 Onoolyanga ebyo emikono gyo bye giteganira okufuna.
Onoobanga musanyufu era onoobanga bulungi.+
3 Mukazi wo anaaba ng’omuzabbibu ogubala mu nnyumba yo;+
Abaana bo banaaba ng’endokwa z’omuzeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.
4 Laba! Bw’atyo omuntu atya Yakuwa
Bw’anaaweebwa omukisa.+
5 Yakuwa anaakuwa omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
Ennaku zo zonna k’olabe Yerusaalemi nga kikulaakulana,+
6 Era olabe n’abaana b’abaana bo.
Emirembe ka gibe ku Isirayiri.
Oluyimba olw’Okwambuka.
129 “Okuviira ddala mu buvubuka bwange babadde bannwanyisa”+
—kaakano Isirayiri k’agambe nti—
2 “Okuviira ddala mu buvubuka bwange babadde bannwanyisa,+
Naye tebampangudde.+
3 Abakabala bakabadde omugongo gwange;+
Batemye ensalosalo empanvu.”
5 Abo bonna abatayagala Sayuuni,+
Bajja kukwatibwa ensonyi baddeyo emabega nga baswadde.
6 Bajja kuba ng’omuddo ogumera waggulu ku busolya
Ogukala nga tegunnakuulibwa,
7 Ogutasobola kujjuza lubatu lw’oyo akungula,
Wadde okujjula mu mikono gy’oyo akuŋŋaanya ebiganda.
8 Abayitawo tebasobola kugamba nti:
“Omukisa gwa Yakuwa gubeere nammwe;
Tubasabira omukisa mu linnya lya Yakuwa.”
Oluyimba olw’Okwambuka.
130 Ai Yakuwa, nkukoowoola nga ndi mu buziba.+
2 Ai Yakuwa, wulira eddoboozi lyange.
Amatu go ka gawulire okuwanjaga kwange.
5 Essuubi lyange liri mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo byo, Ai Yakuwa.
Nnindirira ekigambo kyo.
6 Nnindirira Yakuwa+
N’okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya,+
Weewaawo, n’okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7 Isirayiri k’erindirire Yakuwa,
Kubanga okwagala kwa Yakuwa tekujjulukuka,+
Era alina amaanyi mangi nnyo; asobola okununula abantu be.
8 Ajja kununula Isirayiri okuva mu nsobi zaabwe zonna.
Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi.
131 Ai Yakuwa, omutima gwange si gwa malala,
N’amaaso gange tegeegulumiza;+
Era siruubirira bintu bikulu,+
Wadde ebintu ebisukkiridde obusobozi bwange.
2 Omutima gwange ngukkakkanyizza era guli mu nteeko.+
Nninga omwana eyaakava ku mabeere ali ne nnyina;
Ndi mumativu ng’omwana eyaakava ku mabeere.
3 Isirayiri k’erindirire Yakuwa+
Okuva leero, n’okutuusa emirembe n’emirembe.
Oluyimba olw’Okwambuka.
132 Ai Yakuwa, jjukira Dawudi
N’okubonaabona kwe kwonna;+
2 Jjukira bwe yalayirira Yakuwa,
Jjukira bwe yeeyama eri Katonda ow’Amaanyi owa Yakobo, ng’agamba nti:+
3 “Sijja kugenda mu weema yange, sijja kugenda mu nnyumba yange.+
Sijja kwebaka ku buliri bwange, ku kitanda kyange,
4 Sijja kuganya maaso gange kwebaka,
Sijja kuganya maaso gange kusumagira,
5 Okutuusa nga nfunidde Yakuwa ekifo,
Ekifo ekirungi eky’okubeeramu ekya Katonda ow’Amaanyi owa Yakobo.”+
6 Laba! Twawulira ebikwata ku ssanduuko y’endagaano* nga tuli mu Efulaasa;+
Twagisanga mu kitundu eky’ebibira.+
9 Bakabona bo ka bambale obutuukirivu,
Abeesigwa gy’oli ka boogerere waggulu n’essanyu.
10 Ku lw’omuweereza wo Dawudi,
Toyabulira oyo gwe wafukako amafuta.+
11 Yakuwa yalayirira Dawudi;
Talirema kutuukiriza kye yayogera nti:
12 Abaana bo bwe balikuuma endagaano yange,
Era ne bakwata ebiragiro bye mbayigiriza,+
Abaana baabwe nabo
Balituula ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe.”+
14 “Kino kifo kyange eky’okuwummuliramu emirembe n’emirembe;
Muno mwe nja okubeera,+ kubanga ekyo kye njagala.
15 Nja kukiwa emmere nnyingi;
Abaavu baakyo nja kubakkusa emmere.+
16 Bakabona baakyo nja kubambaza obulokozi,+
Abantu baamu abeesigwa bajja kwogerera waggulu n’essanyu.+
17 Eyo gye nja okufuulira Dawudi okuba ow’amaanyi.*
Oyo gwe nnafukako amafuta mmuteekeddeteekedde ettaala.+
18 Abalabe be nja kubambaza obuswavu,
Naye engule eri ku mutwe gwe ejja kumasaamasa.”+
Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi.
2 Kiringa amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe+
Agakulukutira ku kirevu,
Ku kirevu kya Alooni,+
Ne gaserengeta ku kitogi ky’ebyambalo bye.
Eyo Yakuwa gye yalagira omukisa gwe okuba
—Obulamu obutaggwaawo.
Oluyimba olw’Okwambuka.
134 Mutendereze Yakuwa,
Mmwe mmwenna abaweereza ba Yakuwa,+
Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Yakuwa ekiro.+
3 Yakuwa eyakola eggulu n’ensi,
K’abawe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
135 Mutendereze Ya!*
Mutendereze erinnya lya Yakuwa;
Mumutendereze mmwe abaweereza ba Yakuwa,+
2 Mmwe abayimiridde mu nnyumba ya Yakuwa,
Mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.+
3 Mutendereze Ya, kubanga Yakuwa mulungi.+
Muyimbe ennyimba ezitendereza erinnya lye, kubanga kirungi.
5 Nkimanyi bulungi nti Yakuwa mukulu;
Mukama waffe mukulu okusinga bakatonda abalala bonna.+
6 Yakuwa akola buli kintu ky’ayagala+
Mu ggulu ne ku nsi, mu nnyanja ne mu buziba bwonna.
7 Aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi;
Akolera enkuba ebimyanso;*
Aggya empewo mu materekero ge,+
8 Yatta ababereberye b’e Misiri,
Abantu n’ensolo.+
10 Yazikiriza amawanga mangi+
N’atta bakabaka ab’amaanyi+
11 —Sikoni kabaka w’Abaamoli,+
Ogi kabaka wa Basani,+
N’asaanyaawo obwakabaka bwonna obw’omu Kanani.
12 Ensi yaabwe yagiwa abantu be okuba obusika,
Obusika bwa Isirayiri abantu be.+
13 Ai Yakuwa, erinnya lyo libeerawo emirembe n’emirembe.
Ai Yakuwa, ettutumu lyo* libeerawo mu mirembe gyonna.+
15 Ebifaananyi by’amawanga bya ffeeza ne zzaabu,
Byakolebwa na mikono gya bantu.+
Mu kamwa kaabyo temuli mukka.+
19 Mmwe ennyumba ya Isirayiri, mutendereze Yakuwa.
Mmwe ennyumba ya Alooni, mutendereze Yakuwa.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi, mutendereze Yakuwa.+
Mmwe abatya Yakuwa, mutendereze Yakuwa.
Mutendereze Ya!+
3 Mwebaze Mukama w’abakama,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
5 Yakozesa bukugu okukola eggulu,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
6 Yayaliirira ensi ku mazzi,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
7 Yakola ebyaka ebinene,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
8 Enjuba okufuganga emisana,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
9 Omwezi n’emmunyeenye okufuganga ekiro,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
10 Yatta ababereberye b’e Misiri,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
11 Yajja Abayisirayiri mu Misiri,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
12 N’omukono ogw’amaanyi+ era ogugoloddwa,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
14 Yayisa Isirayiri wakati mu yo,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
15 Yasuula Falaawo n’amagye ge mu Nnyanja Emmyufu,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
16 Yakulemberamu abantu be n’abayisa mu ddungu,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
17 Yawangula bakabaka ab’amaanyi,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
18 Yatta bakabaka ab’amaanyi,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
19 Sikoni+ kabaka w’Abaamoli,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
20 Ne Ogi+ kabaka wa Basani,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
21 Ensi yaabwe yagiwa abantu be okuba obusika,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
22 Obusika bwa Isirayiri omuweereza we,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
23 Yatujjukira bwe twali nga tufeebezeddwa,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+
24 Yatununulanga okuva mu mukono gw’abalabe baffe,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
25 Awa ebitonde byonna ebiramu emmere,+
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
26 Mwebaze Katonda ow’omu ggulu,
Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.
137 Okumpi n’emigga gy’omu Babulooni+ gye twatuulanga.
Twakaabanga bwe twajjukiranga Sayuuni.+
3 Kubanga bwe twali eyo abaatutwala mu buwambe baatulagira okuyimba,+
Abo abaali batujerega baali baagala tubasese, nga bagamba nti:
“Mutuyimbire olumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tuyinza tutya okuyimba oluyimba lwa Yakuwa
Mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nkwerabira ggwe Yerusaalemi,
6 Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange
Bwe siikujjukirenga,
Bwe siikulembezenga Yerusaalemi
Mu byonna ebisinga okunsanyusa.+
7 Ai Yakuwa, jjukira
Abeedomu bye baayogera ku lunaku Yerusaalemi lwe kyagwa:
“Mukisuule! Mukisuule okutuukira ddala ku misingi gyakyo!”+
8 Ggwe omuwala wa Babulooni, anaatera okuzikirizibwa,+
Oyo anaakuyisa nga bwe watuyisa+
Ajja kuba musanyufu.
9 Oyo anaakwata abaana bo
N’abakkata ku njazi+ ajja kuba musanyufu.
Zabbuli ya Dawudi.
138 Nja kukutendereza n’omutima gwange gwonna.+
Mu maaso ga bakatonda abalala,
Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza.
2 Nja kuvunnama nga ntunudde eri yeekaalu yo entukuvu;*+
Nja kutendereza erinnya lyo,+
Olw’okwagala kwo okutajjulukuka n’olw’obwesigwa bwo.
Kubanga ogulumizza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu ebirala byonna.*
4 Bakabaka b’ensi bonna balikutendereza, Ai Yakuwa,+
Kubanga baliba bawulidde bye wasuubiza.
5 Baliyimba ku makubo ga Yakuwa,
Kubanga ekitiibwa kya Yakuwa kingi nnyo.+
7 Ne bwe ntambulira mu kifo ekirimu akabi, onkuuma ne nsigala nga ndi mulamu.+
Ogolola omukono gwo n’olwanyisa abalabe bange abasunguwadde;
Omukono gwo ogwa ddyo gujja kundokola.
8 Yakuwa ajja kukola ebintu byonna ku lwange.
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
139 Ai Yakuwa onkebedde,* era ommanyi.+
2 Bwe ntuula era bwe nsituka, omanya.+
Ebirowoozo byange obimanyira wala.+
5 Onneetooloola ku njuyi zonna;
Era onteekako omukono gwo.
6 Okumanya ng’okwo kusukkiridde okutegeera kwange.*
Kuli waggulu nnyo sisobola kukutuuka.*+
8 Singa nnali wa kulinnya mu ggulu, wandibaddeyo;
Ne bwe nnandyaze obuliri bwange emagombe,* laba! eyo nayo wandibaddeyo.+
9 Ne bwe nnandibuuse n’ebiwaawaatiro eby’oku makya ennyo
Ne ŋŋenda okubeera ku nnyanja esingayo okuba ewala,
10 Eyo nayo omukono gwo gwandinkulembedde
Era omukono gwo ogwa ddyo gwandimpaniridde.+
11 Bwe nnandigambye nti: “Ekizikiza kijja kunkweka!”
Ekiro ekinneetoolodde kyandibadde ng’ekitangaala.
12 Gy’oli ekizikiza tekyandibadde kikwafu,
Naye ekiro kyandibadde kitangaala ng’emisana;+
Gy’oli ekizikiza kye kimu n’ekitangaala.+
14 Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo.+
Emirimu gyo gya kitalo nnyo,+
Ekyo nkimanyi bulungi.
15 Amagumba gange tegaakukisibwa
Bwe nnali nkolebwa mu kyama,
16 Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange;
Ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo,
Byonna ebikwata ku nnaku lwe byatondebwa,
Wadde nga tewaali na kimu ku byo ekyaliwo.
17 Ebirowoozo byo nga bya muwendo nnyo gye ndi!+
Ai Katonda, nga bingi nnyo!+
18 Bwe ngezaako okubibala, bingi nnyo okusinga omusenyu gw’ennyanja.+
Bwe nzuukuka ku makya, mba nkyali naawe.*+
19 Ai Katonda, singa ozikiriza ababi!+
Abakola ebikolwa eby’obukambwe* bandivudde we ndi,
20 Abo abakwogerako ebintu ebibi nga balina ekigendererwa ekibi;
Abalabe bo abakozesa erinnya lyo mu ngeri etasaana.+
23 Nkebera, Ai Katonda, omanye omutima gwange.+
Ngezesa omanye ebinneeraliikiriza.+
Eri akulira eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 Ai Yakuwa, nnunula mu mikono gy’abantu ababi;
Mponya abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe,+
2 Abo abateekateeka mu mitima gyabwe okukola ebintu ebibi,+
Era abawakula entalo okuzibya obudde.
3 Bawagala olulimi lwabwe ne luba ng’olw’omusota;+
Mu kamwa kaabwe mulimu obusagwa bw’emisota.+ (Seera)
4 Ai Yakuwa, ntaasa mu mikono gy’abantu ababi;+
Mponya abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe,
Abo abasala enkwe okunsuula.
5 Ab’amalala bantega omutego;
Baaliirira ekitimba eky’emiguwa ku mabbali g’ekkubo.+
Banteerawo ebyambika.+ (Seera)
6 Ŋŋamba Yakuwa nti: “Ggwe Katonda wange.
Ai Yakuwa, wulira okuwanjaga kwange.”+
7 Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, Omulokozi wange ow’amaanyi,
Okuuma omutwe gwange ku lunaku olw’olutalo.+
8 Ai Yakuwa, ababi tobawa bye baagala.
Toganya nkwe zaabwe kutuukirira, baleme okwegulumiza.+ (Seera)
9 Emitwe gy’abo abanneetoolodde
Gibikkibwe ebintu ebibi emimwa gyabwe bye gyogera.+
10 Amanda agaaka ka gabatonnyeko.
11 Omuntu awaayiriza k’abulweko ekifo w’abeera mu nsi.+
Ebintu ebibi ka biwondere abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe era bibazikirize.
12 Mmanyi nti Yakuwa ajja kulwanirira abanaku,
Era akakase nti abaavu bayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya.+
13 Abatuukirivu bajja kutendereza erinnya lyo;
Abagolokofu bajja kubeera mu maaso go.+
Zabbuli ya Dawudi.
141 Ai Yakuwa, nkukoowoola.+
Yanguwa ojje onnyambe.+
Mpuliriza nga nkukoowoola.+
2 Okusaba kwange ka kube ng’obubaani+ obuteekeddwateekeddwa mu maaso go,+
Emikono gyange egiyimusiddwa ka gibe ng’ekiweebwayo eky’akawungeezi eky’emmere ey’empeke.+
3 Ai Yakuwa, ssaawo omukuumi ku kamwa kange,
Ssaawo omukuumi ku luggi lw’emimwa gyange.+
4 Tokkiriza mutima gwange kwagala kintu kyonna kibi+
Okwegatta wamu n’ababi mu kukola ebintu ebibi;
Ka nneme kulyanga ku mmere yaabwe ennungi.
5 Omutuukirivu bw’ankuba, kiba kikolwa ekyoleka okwagala okutajjulukuka;+
Bw’annenya, kiba ng’amafuta agafukiddwa ku mutwe gwange,+
Omutwe gwange ge gutayinza kugaana.+
Ne bwe banaaba bali mu buzibu nja kweyongera okusaba.
6 Abalamuzi b’abantu ne bwe basuulibwa okuva waggulu ku kagulungujjo,
Abantu bajja kussaayo omwoyo eri ebigambo byange, kubanga bisanyusa.
7 Ng’omuntu bw’akabala ettaka n’alikubaakuba,
N’amagumba gaffe bwe gatyo bwe gasaasaanyiziddwa ku mumwa gw’amagombe.*
8 Naye amaaso gange gatunuulira ggwe, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+
Nzirukidde gy’oli.
Obulamu bwange tobuggyaawo.
9 Nkuuma nneme kugwa mu mutego gwe banteze,
Nneme kugwa mu byambika by’ababi.
10 Ababi bajja kugwa mu bitimba byabwe,+
Naye nze nja kuyitawo mirembe.
Masukiri. Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu mpuku.+ Essaala.
142 Nkoowoola Yakuwa annyambe;+
Nneegayirira Yakuwa ankwatirwe ekisa.
Otunuulira ekkubo lyange.+
Batega omutego
Mu kkubo lye mpitamu.
4 Tunula ku mukono gwange ogwa ddyo olabe
Nti tewali anfaako.+
Sirina we nnyinza kuddukira;+
Tewali n’omu annumirirwa.
5 Ai Yakuwa, nkuwanjagira.
6 Wuliriza okuwanjaga kwange,
Kubanga ndi mu buyinike bwa maanyi.
Nnunula mu mikono gy’abo abanjigganya,+
Kubanga bansinga amaanyi.
7 Nzigya mu kaduukulu
Nsobole okutendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu ka banneetooloole
Kubanga ondaze ekisa.
Zabbuli ya Dawudi.
Nnyanukula kubanga oli mwesigwa era oli mutuukirivu.
3 Omulabe angoba;
Abetentedde obulamu bwange ku ttaka.
Andeetedde okubeera mu kizikiza ng’abo abaafa edda.
8 Ku makya, ka mpulirenga okwagala kwo okutajjulukuka,
Kubanga ggwe gwe nneesiga.
Ndaga ekkubo lye ŋŋwanidde okutambuliramu,+
Kubanga ggwe gwe nneeyuna.
9 Ai Yakuwa, nnunula mu mikono gy’abalabe bange.
Nkusaba onkuume.+
Omwoyo gwo mulungi;
Ka gunnuŋŋamye mu kifo ekitereevu.*
11 Ai Yakuwa, ku lw’erinnya lyo nkuuma nga ndi mulamu.
Mu butuukirivu bwo, nnunula okuva mu buyinike.+
12 Olw’okuba olina okwagala okutajjulukuka, zikiriza* abalabe bange;+
Saanyaawo abo bonna abambonyaabonya,+
Kubanga ndi muweereza wo.+
Zabbuli ya Dawudi.
144 Yakuwa Olwazi lwange,+ atenderezebwe,
Oyo ayigiriza emikono gyange
N’engalo zange okulwana entalo.+
2 Ye kwe kwagala kwange okutajjulukuka era kye kigo kyange,
Kye kiddukiro kyange era ye mununuzi wange,
Ye ngabo yange era y’Oyo gwe nneekweseemu,+
Oyo assa amawanga wansi w’obuyinza bwange.+
3 Ai Yakuwa, omuntu kye ki ggwe okumulowoozaako,
Omwana w’omuntu kye ki ggwe okumufaako?+
7 Golola emikono gyo ng’oyima waggulu;
Nnunula era mponya amazzi aganjaala,
Nnunula mu mukono gw’abagwira,+
8 Ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
Era abagolola omukono gwabwe ogwa ddyo okulayira eby’obulimba.*
9 Ai Katonda, nja kukuyimbira oluyimba olupya.+
Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza nga nkubirako ekivuga eky’enkoba ekkumi;
10 Nja kuyimbira Oyo awa bakabaka obuwanguzi,*+
Oyo awonya omuweereza we Dawudi ekitala ekizikiriza.+
11 Nnunula era ndokola mu mukono gw’abagwira,
Ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
Era abagolola omukono gwabwe ogwa ddyo okulayira eby’obulimba.
12 Awo batabani baffe bajja kuba ng’ebimera ebito ebikula amangu,
Bawala baffe bajja kuba ng’empagi ez’omu nsonda ezooleddwa okuteekebwa mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajja kujjula gabooge emmere eya buli kika;
Ebisibo mu malundiro gaffe bijja kwala bikubiseemu emirundi nkumi na nkumi, emirundi mitwalo na mitwalo.
14 Ente zaffe eziri amawako tezijja kufuna buzibu bwonna, wadde okusowola;
Mu bibangirizi byaffe ebya lukale temujja kubaamu akaaba olw’ennyiike.
15 Abantu abali bwe batyo balina essanyu!
Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe, balina essanyu!+
Okutendereza, zabbuli ya Dawudi.
א [Alefu]
ב [Besu]
ג [Gimeri]
ד [Dalesi]
4 Abantu ab’omu mirembe gyonna bajja kutendereza emirimu gyo;
Bajja kwogera ku bikolwa byo eby’amaanyi.+
ה [Ke]
ו [Wawu]
ז [Zayini]
7 Ebigambo byabwe eby’okutendereza bijja kukulukuta ng’amazzi bwe banajjukiranga obulungi bwo obungi,+
Bajja kwogereranga waggulu n’essanyu olw’obutuukirivu bwo.+
ח [Kesu]
ט [Tesu]
י [Yodi]
כ [Kafu]
מ [Memu]
13 Obwakabaka bwo bwa mirembe na mirembe,
N’okufuga kwo kubeerawo mu mirembe gyonna.+
ס [Sameki]
ע [Ayini]
פ [Pe]
צ [Sade]
ק [Kofu]
ר [Lesu]
ש [Sini]
ת [Tawu]
21 Akamwa kange kajja kulangirira ettendo lya Yakuwa;+
Ebiramu byonna ka bitendereze erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.+
Obulamu bwange bwonna ka butendereze Yakuwa.+
2 Nja kutendereza Yakuwa obulamu bwange bwonna.
Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
5 Alina essanyu oyo alina Katonda wa Yakobo ng’omuyambi we,+
Oyo asuubirira mu Yakuwa Katonda we,+
6 Eyakola eggulu n’ensi,
N’ennyanja, ne byonna ebibirimu,+
Oyo abeera omwesigwa ekiseera kyonna,+
7 Oyo akakasa nti abakumpanyizibwa balagibwa obwenkanya,
Oyo awa abayala emmere.+
Yakuwa asumulula abasibe.+
9 Yakuwa akuuma abagwira;
Alabirira omwana atalina kitaawe ne nnamwandu,+
10 Yakuwa ajja kubeera Kabaka emirembe n’emirembe;+
Ggwe Sayuuni, Katonda wo ajja kubeera Kabaka emirembe gyonna.
Mutendereze Ya!*
Kirungi okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda waffe;
Kisanyusa nnyo era kisaana okumutendereza!+
3 Awonya abamenyese omutima;
Asiba ebiwundu byabwe.
7 Muyimbire Yakuwa ennyimba ez’okwebaza;
Muyimbire Katonda waffe ennyimba ezimutendereza nga musunirako entongooli;
8 Muyimbire Oyo abikka eggulu ebire,
Awa ensi enkuba,+
Ameza omuddo+ ku nsozi.
12 Gulumiza Yakuwa ggwe Yerusaalemi.
Tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni.
13 Anyweza ebisiba by’enzigi z’ekibuga kyo;
Awa abaana bo omukisa.
15 Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
Ekigambo kye kidduka mbiro.
17 Asuula amayinja g’omuzira ng’obukunkumuka bw’omugaati.+
Ani ayinza okugumira obunnyogovu bwe?+
18 Atuma ekigambo kye ne bisaanuuka.
Akunsa embuyaga ye,+ amazzi ne gakulukuta.
148 Mutendereze Ya!*
Mutendereze Yakuwa mmwe ababeera mu ggulu;+
Mumutendereze mmwe abali eyo waggulu.
2 Mumutendereze mmwe bamalayika be bonna.+
Mumutendereze mmwe eggye lye lyonna.+
3 Mumutendereze mmwe enjuba n’omwezi.
Mumutendereze mmwe mmwenna emmunyeenye ezaaka.+
4 Mutendereze ggwe eggulu erisingayo okuba waggulu,*
Naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 Ka bitendereze erinnya lya Yakuwa,
Kubanga yalagira, ne bitondebwa.+
7 Mutendereze Yakuwa mmwe abali ku nsi,
Mmwe ensolo ennene ez’omu mazzi nammwe amazzi gonna ag’omu buziba,
8 Mmwe okumyansa n’amayinja g’omuzira, omuzira n’ebire ebikutte,
Mmwe embuyaga, ezituukiriza ekigambo kye,+
9 Mmwe ensozi nammwe obusozi mmwenna,+
Mmwe emiti egy’ebibala nammwe emiti gy’entolokyo mmwenna,+
10 Mmwe ensolo ez’omu nsiko+ nammwe ensolo ez’awaka mmwenna,
Mmwe ebyewalula n’ebinyonyi,
11 Mmwe bakabaka b’ensi nammwe amawanga mmwenna,
Mmwe abaami nammwe mmwenna abalamuzi b’omu nsi,+
Abasajja abakadde n’abato mmwenna.*
Ekitiibwa kye kisukkiridde ensi n’eggulu.+
14 Ajja kwongera abantu be amaanyi,*
Ajja kwongera ettendo ly’abeesigwa gy’ali bonna,
Abaana ba Isirayiri, abantu abamuli okumpi.
Mutendereze Ya!*
149 Mutendereze Ya!*
2 Isirayiri k’ajagulize mu Oyo eyamukola;+
Abaana ba Sayuuni ka basanyukire mu Kabaka waabwe.
3 Ka batendereze erinnya lye nga bazina,+
Era bamuyimbire ennyimba ezimutendereza nga bakubirako obugoma n’entongooli.+
4 Kubanga Yakuwa asanyukira abantu be.+
Agulumiza abawombeefu ng’abalokola.+
5 Abeesigwa ka bajaganye olw’ekitiibwa ky’abawa;
Ka baleekaane olw’essanyu nga bali ku bitanda byabwe.+
6 Ennyimba ezitendereza Katonda ka zibeere mu bulago bwabwe,
N’ekitala ekisala eruuyi n’eruuyi ka kibeere mu mukono gwabwe,
7 Okuwoolera eggwanga ku mawanga,
N’okubonereza abantu,
8 Okusiba bakabaka baabwe empingu,
N’abakungu baabwe enjegere,
9 Okutuukiriza omusango ogwabawandiikibwako.+
Ekitiibwa kino ky’abo bonna abeesigwa gy’ali.
Mutendereze Ya!*
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu.+
Mumutendereze mu bbanga eryoleka amaanyi ge.*+
2 Mumutendereze olw’emirimu gye egy’amaanyi.+
Mumutendereze olw’amaanyi ge agatenkanika.+
3 Mumutendereze nga mufuuwa eŋŋombe.+
Mumutendereze nga musuna ekivuga eky’enkoba n’entongooli.+
4 Mumutendereze nga mukuba obugoma obutono+ era nga muzina.*
Mumutendereze nga musuna ebivuga eby’enkoba+ era nga mufuuwa endere.+
5 Mumutendereze nga mukuba ebitaasa ebivuga ennyo.
Mumutendereze nga mukuba ebitaasa ebisaala.+
6 Buli kiramu ekissa—kitendereze Ya.
Oba, “ne bafumiitiriza ku kintu.”
Oba, “bateesezza.”
Oba, “ne Kristo we.”
Oba, “mulabuke.”
Obut., “Munywegere omwana.”
Obut., “bwe mutakola mutyo, ajja kusunguwala.”
Laba Awanny.
Obut., “ngaziyiza ekifo.”
Oba, “ayawulawo oyo omwesigwa gy’ali.”
Laba Awanny.
Oba, “omuntu ayiwa omusaayi era omulimba.”
Oba, “ekifo kyo ekitukuvu.”
Laba Awanny.
Oba, “Nsaasira.”
Oba, “kukujjukira.”
Laba Awanny.
Oba, “Likaddiye.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ate nga saatuusa kabi ku oyo anjigganya awatali nsonga.”
Oba, “agezesa emitima n’ensigo.”
Laba Awanny.
Oba, “ng’abo abalinga Katonda.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ow’omululu yeesabira omukisa.”
Oba, “Siritagala.”
Oba, “mu kisaka kyayo.”
Oba, “mu maala ge amagumu.”
Oba, “mulekwa.”
Obut., “Mudduke ng’ebinyonyi mugende ku lusozi lwammwe.”
Oba, “Emisingi gy’obwenkanya.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “amanda agaaka.”
Laba Awanny.
Obut., “era boogera n’omutima era n’omutima.”
Obut., “kwebaka mu kufa.”
Oba, “Atalina magezi.”
Oba, “taswaza.”
Obut., “ky’alayira.”
Oba, “talitagala.”
Laba Awanny.
Oba, “enneewulira yange ey’omunda ennyo.” Obut., “ensigo zange.”
Oba, “siritagala.”
Obut., “ekitiibwa kyange kisanyufu.”
Oba, “omubiri gwange guli.”
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “kulaba kuvunda.”
Oba, “Kutama owulire.”
Oba, “Babikkiddwa amasavu gaabwe.”
Oba, “b’omu nteekateeka y’ebintu eno.”
Laba Awanny.
Oba, “ye mulokozi wange ow’amaanyi.”
Laba Awanny.
Oba, “ku biwaawaatiro by’embuyaga.”
Oba, “mu kifo ekigazi.”
Obut., “olw’obulongoofu bw’emikono gyange.”
Oba, “ababonaabona.”
Obut., “amaaso ag’amalala.”
Obut., “y’annyambaza amaanyi.”
Oba, “Obukongovule bwange tebujja.”
Oba, “Ojja kumpa emigongo gy’abalabe bange.”
Obut., “kubasirisa.”
Oba, “bajja kuggwaawo mpolampola.”
Oba, “Awa kabaka gwe yalonda obuwanguzi obw’amaanyi.”
Oba, “Ebbanga.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “omuguwa gwabyo ogupima.”
Oba, “alongooseddwa.”
Oba, “gwa kwonoona nnyo.”
Obut., “Ekiweebwayo kyo ekyokebwa akitwale ng’ekisava.”
Oba, “N’amuwanguza.”
Oba, “alongooseddwa.”
Oba, “Talitagala.”
Obut., “Ebibala.”
Obut., “obuguwa bw’omutego gw’obusaale.”
Kiyinza okuba kitegeeza ddoboozi lya luyimba oba ngeri ya kuyimba.
Oba, “Otudde mu (ku) kutendereza.”
Oba, “era tebaaswazibwa.”
Obut., “bansuula ku ggwe.”
Obut., “Emitima gyabwe ka gibeere miramu.”
Obut., “Abanene.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “amazzi amateefu.”
Obut., “mu bukubo.”
Oba, “gumbudaabuda.”
Obulamu obwogerwako wano bwa Yakuwa.
Oba, “N’obwenkanya.”
Oba, “muyimuke.”
Oba, “Ebibaddewo okuva edda n’edda.”
Oba, “enneewulira yange ey’omunda ennyo.” Obut., “ensigo zange.”
Obut., “Situula.”
Oba, “seegatta wamu n’abakuusa.”
Obut., “kutuula.”
Oba, “abayiwa omusaayi.”
Obut., “mu nkuŋŋaana ennene.”
Oba, “ekifo kye ekitukuvu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Mazima ddala nzikiriza nti nja kulaba obulungi bwa Yakuwa mu nsi y’abalamu.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “Musinze.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “olw’ekitiibwa ky’obutukuvu bwe.”
Kirabika ensozi za Lebanooni.
Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
Oba, “w’ennyanja ey’omu ggulu.”
Laba Awanny.
Oba, “ntaana.”
Obut., “ekijjukizo kye.”
Oba, “Siritagala.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “Ekitiibwa kyange kiryoke kiyimbe.”
Oba, “Kutama owulire.”
Oba, “Katonda ow’amazima (Katonda ensibuko y’amazima).”
Oba, “mu kifo ekigazi.”
Obut., “mu mitima gyabwe.”
Obut., “Ebiseera byange biri.”
Laba Awanny.
Obut., “okuyomba kw’ennimi.”
Laba Awanny.
Oba, “oyo ekibi kye ekibikkiddwako.”
Obut., “eggye lyabyo lyonna lyakolebwa.”
Oba, “okuteesa kw’amawanga.”
Oba, “ebirowoozo by’abantu.”
Oba, “okukuwa obuwanguzi.”
Oba, “abo abaweddemu amaanyi.”
Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
Oba, “n’embazzi yo ey’emitwe ebiri.”
Oba, “bwe zaakomangawo mu kifuba kyange.”
Obut., “bwokka bwe nnina.”
Oba, “lunaafumiitirizanga.”
Obut., “ensozi za Katonda.”
Oba, “olokola.”
Obut., “Banywa obugevvu obw’omu.”
Oba, “Funa essanyu erisingayo mu Yakuwa.”
Obut., “Amakubo go gayiringisizenga ku.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Tonyiiganga kubanga kijja kukuviiramu akabi.”
Obut., “amanyi ennaku z’abo.”
Oba, “amuwanirira n’omukono gwe.”
Oba, “koogera eby’amagezi mu kaama.”
Oba, “oyo akuuma obugolokofu.”
Obut., “Tewali kitundu kyonna kiramu mu mubiri gwange.”
Obut., “Ekiwato kyange kyonna kyokerera.”
Oba, “Mpuluguma.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abampalana awatali nsonga bangi.”
Laba Awanny.
Oba, “bweyongera.”
Oba, “nsinda.”
Oba, “nga bwe ndiwo akaseera obuseera.”
Obut., “obulamu obwenkana ng’obugazi bw’ekibatu.”
Obut., “Awogganira bwereere.”
Oba, “Omusenze.”
Oba, “yakutama okuwuliriza.”
Oba, “abalimba.”
Oba, “tewabisanyukira.”
Obut., “mu muzingo gw’ekitabo.”
Oba, “njagala nnyo.”
Obut., “annyimusirizza ekisinziiro.”
Oba, “Okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”
Laba Awanny.
Oba, “lusozi olutono.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nga balinga abamenyaamenya amagumba gange.”
Laba Awanny.
Obut., “n’ekitangaala ky’obwenyi bwo.”
Obut., “lugero eri.”
Laba Awanny.
Obut., “Emirimu gyange gikwata.”
Oba, “y’omuwandiisi.”
Obut., “kukuyigiriza.”
Obut., “munda.”
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “engabo.”
Oba, “ejjembe ly’endiga ensajja; ekkondeere.”
Obut., “Engabo z’ensi za.”
Obut., “Bawala ba.”
Oba, “ku bbugwe waakyo omunywevu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “okutuusa lwe tulifa.”
Oba, “mu nteekateeka y’ebintu eno.”
Obut., “abaana b’abantu n’abaana b’omuntu.”
Oba, “ntaana.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Obut., “mu mukono.”
Laba Awanny.
Obut., “embuzi ennume.”
Oba, “kuyigirizibwa.”
Obut., “obisuula mabega wo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “omwegattako.”
Oba, “Oyonoona erinnya ly’omwana.”
Oba, “mu birowoozo byange.”
Oba, “Era mbadde mwonoonyi okuva mu kiseera mmange lwe yafuna olubuto lwange.”
Oba, “Kweka amaaso go oleme kulaba.”
Laba Awanny.
Oba, “kigo kye.”
Obut., “yeesiga ebizibu by’aleeta.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Balitya nga tewali kibatiisa.”
Laba Awanny.
Obut., “abantu be simanyi.”
Oba, “Tebateeka Katonda mu maaso gaabwe.”
Obut., “basirise.”
Laba Awanny.
Oba, “Era teweekweka bwe nkusaba onnyambe.”
Obut., “yawulamu olulimi lwabwe.”
Oba, “omuntu bwe twenkana.”
Laba Awanny.
Obut., “kundokola okuva eri.”
Ono ye yali mukwano gwe ayogerwako mu lunyiriri 13 ne 14.
Oba, “kutagala; kusagaasagana.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Oba, “baba boonoonefu.”
Obut., “okuva nga bakyali mu lubuto.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “obawadde.”
Obut., “bawone omutego gw’obusaale.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda ayogeredde mu kifo kye ekitukuvu.”
Obut., “kye kigo ky’oku mutwe gwange.”
Ekigambo ky’Olwebbulaniya kitegeeza omuggo omuwanvu ogukiikirira obuyinza omuduumizi bw’aba nabwo okuwa ebiragiro.
Oba, “bwe gunaanafuwa.”
Oba, “Ajja kubeera.”
Laba Awanny.
Oba, “mu kitiibwa kye.”
Oba, “abaagala okunzita.”
Oba, “kwenyumiriza.”
Oba, “Buli omu akubiriza munne okukola ebibi.”
Oba, “kwenyumiriza.”
Oba, “Ekifo kyo ekitukuvu.”
Obut., “Yanyweza.”
Obut., “Ayambadde.”
Obut., “Akkakkanya.”
Obut., “Akkakkanya.”
Obut., “gatonnya amasavu.”
Oba, “kutagala; kusagaasagana.”
Oba, “banaamuwanga ekitiibwa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “eyeebagadde ebire.”
“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Obut., “omulamuzi.”
Oba, “abajeemu.”
Obut., “Obusika bwo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “okumpi n’ebisibo.”
Oba, “Omuzira gwalinga ogugudde mu Zalumoni.”
Oba, “lw’ayagala.”
Obut., “eyeeyongera okubaako omusango.”
Oba, “afugira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “nga galinnyirira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ababaka bajja kuva.”
Obut., “mu kifo kyo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bwe nnakaaba era ne nsiiba.”
Obut., “olugero.”
Oba, “kinnya.”
Oba, “ekimera eky’obutwa.”
Oba, “obusungu bwo.”
Oba, “kitabo ky’obulamu.”
Oba, “Kutama owulire.”
Oba, “kubibala.”
Obut., “ku mukono gwo.”
Oba, “onunudde obulamu bwange.”
Oba, “kufumiitiriza.”
Obut., “K’alamulenga.”
Omugga Fulaati.
Oba, “abeewaana.”
Oba, “Balina embuto nnene.”
Obut., “Amasavu gaabwe.”
Obut., “omulembe gw’abaana bo.”
Obut., “olibanyooma.”
Obut., “Mu nsigo zange.”
Obut., “Olisirisa.”
Obut., “abo abenda ne bakuleka.”
Laba Awanny.
Obut., “bunyookera.”
Obut., “ekibiina kyo kye.”
Oba, “Ebifo byonna Katonda mw’asinzibwa.”
Oba, “mu kikondoolo ky’ekyambalo.”
Laba Awanny.
Oba, “ekyaka.”
Obut., “bwe yasaanuuka.”
Obut., “Temugulumiza jjembe lyammwe.”
Obut., “Temugulumiza jjembe lyammwe.”
Oba, “Obuutikiddwa ekitangaala.”
Obut., “omwoyo gw’abakulembeze.”
Laba Awanny.
Obut., “omwoyo gwange ne guzirika.”
Obut., “Omwoyo gwange gunoonyereza.”
Oba, “kye kinfumita.”
Obut., “omukono gwo.”
Obut., “Ng’okozesa omukono gwa.”
Laba Awanny.
Oba, “obulagirizi bwange.”
Obut., “oguteeteeseteese.”
Oba, “eya bamalayika.”
Oba, “y’abawoolerera eggwanga.”
Obut., “Yabikkanga ku nsobi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Omwoyo gugenda ne gutadda.”
Oba, “Era baalumya.”
Obut., “omukono gwe.”
Obut., “Yawaayo obulamu bwabwe.”
Oba, “baamukwasanga obuggya.”
Obut., “Era bawala be tebaabatendereza.”
Obut., “bikka ku bibi.”
Obut., “omukono gwo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “osumulule.”
Obut., “abaana b’okufa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “wakati.”
Obut., “Obwenyi bwo ka butwakire.”
Omugga Fulaati.
Oba, “ettabi lye wafuula ery’amaanyi.”
Laba Awanny.
Oba, “olulimi lwe.”
Obut., “mu kifo kya laddu ekyekusifu.”
Kitegeeza, “Okuyomba.”
Obut., “ekiseera kyabwe kiriba kya.”
Obut., “Naye alimuliisa.” Wano boogera ku bantu ba Katonda.
Obut., “amasavu g’eŋŋaano.”
Oba, “mu abo abalinga bakatonda.”
Oba, “mulinga bakatonda.”
Oba, “Tosirika.”
Oba, “bayimusa emitwe gyabwe.”
Obut., “bantu bo abakwekeddwa.”
Oba, “Bakoze endagaano.”
Obut., “Bafuuse mukono eri.”
Oba, “gabikke.”
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Era omuyigiriza yeezingirira emikisa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Tunuulira engabo yaffe, Ai Katonda.”
Obut., “Wabikka ku bibi.”
Oba, “Ddamu otukuŋŋaanye.”
Oba, “kutama owulire.”
Oba, “Mpa omutima oguteeyawuddeemu.”
Laba Awanny.
Oba, “tebakutadde mu maaso gaabwe.”
Oba, “alina amazima amangi.”
Oba, “obukakafu obulaga.”
Oba, “Gye ndi, ggwe nsibuko y’ebintu byonna.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Oba, “Kutama owulire.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “ng’omuntu atalina maanyi.”
Oba, “mu Abaddoni.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “zinzingiza omulundi gumu.”
Laba Awanny.
Oba, “kubeerawo.”
Oba, “mu lukuŋŋaana.”
Obut., “Ejjembe lyaffe ligulumizibwa.”
Obut., “Era ejjembe lye lijja.”
Oba, “obuyinza bwe.”
Obut., “Owanise omukono gw’abalabe be ogwa ddyo.”
Laba Awanny.
Obut., “engeri gye nsitulira mu kifuba kyange.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “kiddukiro kyaffe.”
Oba, “Omanyi ensobi zaffe.”
Oba, “Obulamu bwaffe buggwaawo.”
Oba, “bw’aba n’amaanyi ag’enjawulo.”
Oba, “Nyweza emirimu gy’emikono gyaffe.”
Oba, “emirimu gy’emikono gyaffe ginyweze.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekigo kyo; ekiddukiro kyo.”
Obut., “anneegasseeko.”
Oba, “okulaba obulokozi obuva gye ndi.”
Obut., “ojja kugulumiza ejjembe lyange.”
Oba, “Ne mu kiseera nga bameze envi.”
Obut., “nga bagevvu.”
Oba, “Tesobola kusagaasagana.”
Oba, “obutukuvu bugwanira.”
Obut., “eyasimba.”
Obut., “Nnandibadde mbeera mu kusirika.”
Oba, “Ebirowoozo ebyeraliikiriza bwe byannyinga.”
Oba, “n’abalamuzi.”
Obut., “Era omusaayi gw’oyo atalina musango bagusingisa omusango.”
Obut., “Ajja kubasirisa.”
Obut., “ajja kubasirisa.”
Obut., “Endiga z’omukono gwe.”
Kitegeeza, “Okuyomba.”
Kitegeeza, “Okugezesa.”
Oba, “Musinze.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “olw’ekitiibwa ky’obutukuvu bwe.”
Oba, “azze.”
Oba, “Mumusinze.”
Obut., “Bawala ba Yuda bajaganya.”
Oba, “mu buyinza bw’omubi.”
Obut., “ekijjukizo kye.”
Oba, “gumutuusizza ku buwanguzi.”
Oba, “obuwanguzi.”
Oba, “azze.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “wakati.”
Oba, “musinzize.”
Obut., “wabawoolerako eggwanga.”
Oba, “musinzize.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “era si ffe twetonda.”
Oba, “nfube okulaba nti nkuuma obugolokofu.”
Oba, “Ebikolwa byabwe tebinneekwatako.”
Obut., “kumanya.”
Oba, “nja kumuggyawo.”
Oba, “Oyo atambulira mu bugolokofu.”
Oba, “nja kuggyawo.”
Oba, “era anafuye.”
Oba, “Kutama owulire.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nkozze mpeddewo.”
Oba, “abanjerega.”
Oba, “Erinnya.” Obut., “Ekijjukizo.”
Obut., “abalitondebwa.”
Oba, “ntaana.”
Obut., “Era ekifo kyakyo kiba tekikyakimanyi.”
Oba, “okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”
Obut., “abawulira eddoboozi ly’ekigambo kye.”
Oba, “Mu bifo by’obufuzi bwe.”
Obut., “mu mazzi.”
Oba, “Terisagaasagana.”
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ebyo bye mmulowoozaako ka bibeere nga bisanyusa.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Mwogere.”
Oba, “bazzukulu ba.”
Obut., “ekigambo kye yalagira.”
Obut., “N’amenya buli muti gw’omugaati.” Oboolyawo kitegeeza emiti kwe baaterekanga emigaati.
Obut., “Ebigere bye baabibonyaabonya n’enjegere.”
Obut., “Okusiba abaami.”
Oba, “n’ennimi z’omuliro.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Nsobole okukwenyumiririzaamu.”
Oba, “tebaategeera makulu ga bintu.”
Oba, “yasigalawo.”
Oba, “ekisaanuuse.”
Oba, “Beekwata ku.”
Kwe kugamba, ssaddaaka ezaaweebwayo eri abafu oba eri bakatonda abatalina bulamu.
Kitegeeza, “Okuyomba.”
Obut., “mukono gwabwe.”
Oba, “yejjusanga.”
Oba, “tujaganyize mu ttendo lyo.”
Oba, “Okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”
Oba, “Kibeere bwe kityo!”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “mu buyinza.”
Oba, “abateeka waggulu,” kwe kugamba, we batayinza kutuukibwako kabi.
Obut., “n’ekitiibwa kyange.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda ayogeredde mu kifo kye ekitukuvu nti.”
Obut., “kye kigo ky’omutwe gwange.”
Laba obugambo obuli wansi ku Zb 60:7.
Oba, “Amulumiriza.”
Obut., “Batabani.”
Obut., “Batabani.”
Oba, “okwagala okutajjulukuka.”
Oba, “kwagala okutajjulukuka.”
Oba, “ng’ekizibaawo ekitaliiko mikono.”
Oba, “ku lunaku eggye lyo lwe liryeteekateeka.”
Oba, “talyejjusa.”
Obut., “omutwe.”
Oba, “ow’ensi yonna.”
Ono ye “Mukama wange” ayogerwako mu lunyiriri 1.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Obut., “ababikwata.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “mumalirivu.”
Oba, “Agabye bingi.”
Obut., “Ejjembe lye.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Atuula ku ntebe y’obwakabaka.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku kasasiro.”
Obut., “abaana ab’obulenzi.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Ffe tewali kye tulina, Ai Yakuwa, ffe tewali kye tulina.”
Oba, “ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa.”
Obut., “ne batabani.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Njagala kubanga Yakuwa awulira.
Oba, “Akutama n’ampuliriza.”
Obut., “mu nnaku zange.”
Laba Awanny.
Oba, “eky’obulokozi obw’ekitalo.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “ebika byonna.”
Oba, “Aleruuya” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “mu kifo ekigazi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “awamu n’abo abannyamba.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Wansindika.”
Oba, “n’ery’obuwanguzi.”
Obut., “omutwe gw’ensonda.”
Oba, “abakuuma obugolokofu.”
Obut., “Singa nno amakubo gange gaali manywevu.”
Oba, “kwekenneenya.”
Oba, “yeekenneenya amateeka go.”
Obut., “ekkubo ly’ebiragiro byo.”
Oba, “okwekenneenya.”
Oba, “ekigambo kyo eri.”
Oba, “ng’ekigambo kyo bwe kiri.”
Oba, “nnindirira.”
Oba, “mu kifo ekigazi.”
Oba, “kwekenneenya.”
Oba, “kye wasuubiza.”
Oba, “Mu nnyumba mwe mbeera ng’omugwira.”
Oba, “Nnoonya akamwenyumwenyu k’oku maaso go.”
Oba, “ng’ekigambo kyo bwe kiri.”
Oba, “nnayonoonanga mu butanwa.”
Oba, “Nnindirira ekigambo kyo.”
Oba, “ng’ekigambo kyo bwe kiri eri.”
Oba, “kwekenneenya.”
Oba, “Nnindirira ekigambo kyo.”
Kwe kugamba, byonna bye yatonda.
Obut., “bigazi nnyo.”
Oba, “Ngeekenneenya.”
Oba, “nneekenneenya.”
Obut., “ebiweebwayo ebya kyeyagalire eby’akamwa kange.”
Oba, “abantu abalina omutima ogweyawuddemu.”
Oba, “nnindirira ekigambo kyo.”
Oba, “ng’ekigambo kyo bwe kiri.”
Oba, “N’ekigambo kyo eky’obutuukirivu.”
Oba, “alongooseddwa.”
Oba, “nga busaasaana.”
Oba, “nnindirira ebigambo byo.”
Oba, “okwekenneenya.”
Oba, “ebikolwa eby’obugwenyufu.”
Oba, “ng’ekigambo kyo bwe kiri.”
Oba, “ng’ekigambo kyo bwe kiri.”
Laba Awanny.
Obut., “era kiki ky’anaakwongerako.”
Oba, “kusagaasagana.”
Obut., “bw’onooyingiranga era bw’onoofulumanga.”
“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “singa wali ononooza nsobi.”
Obut., “otiibwe.”
Oba, “weema entukuvu.”
Obut., “bibala by’olubuto lwo.”
Obut., “Eyo gye nja okukuliza ejjembe lya Dawudi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “mu kifo ekitukuvu.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “ekintu kye eky’omuwendo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “aw’okuyita.”
Oba, “erinnya lyo.” Obut., “ekijjukizo kyo.”
Obut., “Ennyanja Emmyufu yagyawulamu ebitundutundu.”
Wano boogera ku Babulooni.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ka gukale.”
Oba, “ekifo kyo ekitukuvu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ogulumizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo.”
Obut., “ompimye.”
Obut., “oba ompima.”
Oba, “kwa kitalo nnyo gye ndi.”
Oba, “kunneewuunyisa nnyo.”
Laba Awanny.
Obut., “bwe nnali ndukibwa mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ebya wansi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “mba nkyabibala.”
Oba, “Abaliko omusango gw’okuyiwa omusaayi.”
Oba, “Mu binnya ebirimu amazzi.”
Laba Awanny.
Obut., “Ggwe mugabo gwange.”
Oba, “Nneekenneenya.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “mu nsi ey’obugolokofu.”
Obut., “sirisa.”
Oba, “kutamya.”
Obut., “Era omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw’obulimba.”
Oba, “obulokozi.”
Oba, “buzibu okutegeera.”
Oba, “maanyi go agawuniikiriza.”
Oba, “mu bwesimbu.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “bakungu.”
Oba, “akyamya ekkubo ly’ababi.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Okutegeera kwe. ”
Obut., “amasavu g’eŋŋaano.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Obut., “eggulu ly’eggulu.”
Obut., “n’embeerera.”
Oba, “Abakadde n’abato mmwenna.”
Obut., “Ajja kugulumiza ejjembe ly’abantu be.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “eriwa obujulirwa ku maanyi ge.”
Oba, “nga muzina mwetooloola.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.