OKUBALA
1 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’okubiri, mu mwaka ogw’okubiri nga bavudde mu nsi ya Misiri,+ Yakuwa yayogera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi+ mu weema ey’okusisinkaniramu,+ n’amugamba nti: 2 “Mubale+ ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri* okusinziira ku mpya zaabwe, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe, nga muwandiika amannya g’abasajja bonna omu ku omu. 3 Ggwe ne Alooni muwandiike abo bonna abasobola okuweereza mu ggye mu Isirayiri, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu,+ okusinziira ku bibinja byabwe.*
4 “Mu buli kika ggyamu omusajja omu; buli omu ku basajja abo alina okuba nga y’akulira ennyumba ya bakitaabe.+ 5 Gano ge mannya g’abasajja abanaakuyambako: mu kika kya Lewubeeni, Erizuuli+ mutabani wa Sedewuli; 6 mu kika kya Simiyoni, Serumiyeeri+ mutabani wa Zulisadaayi; 7 mu kika kya Yuda, Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu; 8 mu kika kya Isakaali, Nesaneeri+ mutabani wa Zuwaali; 9 mu kika kya Zebbulooni, Eriyaabu+ mutabani wa Keroni. 10 Ku batabani ba Yusufu: okuva mu kika kya Efulayimu,+ Erisaama mutabani wa Ammikudi, n’okuva mu kika kya Manase, Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 11 Mu kika kya Benyamini, Abidaani+ mutabani wa Gidiyooni; 12 mu kika kya Ddaani, Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi; 13 mu kika kya Aseri, Pagiyeeri+ mutabani wa Okulaani; 14 mu kika kya Gaadi, Eriyasaafu+ mutabani wa Deweri; 15 mu kika kya Nafutaali, Akira+ mutabani wa Enani. 16 Abo be baayitibwa okuva mu kibiina. Be baali abakulu+ b’ebika bya bakitaabwe, abaakuliranga enkumi mu Isirayiri.”+
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaali bamenyeddwa amannya. 18 Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’okubiri ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna, Abayisirayiri basobole okuwandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu,+ 19 nga Yakuwa bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’abawandiika nga bali mu ddungu lya Sinaayi.+
20 Abaana ba Lewubeeni, bazzukulu ba mutabani wa Isirayiri omubereberye,+ baawandiikibwa amannya gaabwe, okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa kinnoomu, 21 era ab’omu kika kya Lewubeeni abaawandiikibwa baali 46,500.
22 Bazzukulu ba Simiyoni+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa kinnoomu. 23 Ab’omu kika kya Simiyoni abaawandiikibwa baali 59,300.
24 Bazzukulu ba Gaadi+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 25 Ab’omu kika kya Gaadi abaawandiikibwa baali 45,650.
26 Bazzukulu ba Yuda+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 27 Ab’omu kika kya Yuda abaawandiikibwa baali 74,600.
28 Bazzukulu ba Isakaali+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 29 Ab’omu kika kya Isakaali abaawandiikibwa baali 54,400.
30 Bazzukulu ba Zebbulooni+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 31 Ab’omu kika kya Zebbulooni abaawandiikibwa baali 57,400.
32 Bazzukulu ba Yusufu abaasibuka mu Efulayimu+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 33 Ab’omu kika kya Efulayimu abaawandiikibwa baali 40,500.
34 Bazzukulu ba Manase+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 35 Ab’omu kika kya Manase abaawandiikibwa baali 32,200.
36 Bazzukulu ba Benyamini+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 37 Ab’omu kika kya Benyamini abaawandiikibwa baali 35,400.
38 Bazzukulu ba Ddaani+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 39 Ab’omu kika kya Ddaani abaawandiikibwa baali 62,700.
40 Bazzukulu ba Aseri+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 41 Ab’omu kika kya Aseri abaawandiikibwa baali 41,500.
42 Bazzukulu ba Nafutaali+ baawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. Abasajja bonna abaali basobola okuweereza mu magye, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 43 Ab’omu kika kya Nafutaali abaawandiikibwa baali 53,400.
44 Abo be baawandiikibwa Musa ng’ali wamu ne Alooni n’abaami ba Isirayiri 12. Buli omu ku baami abo yali akiikirira ennyumba ya bakitaabe. 45 Abayisirayiri bonna okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, abaali basobola okuweereza mu ggye lya Isirayiri, baawandiikibwa okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe. 46 Abo bonna abaawandiikibwa baali 603,550.+
47 Naye bo Abaleevi,+ okusinziira ku kika kya bakitaabwe,+ tebaawandiikibwa wamu na bika birala. 48 Yakuwa n’agamba Musa nti: 49 “Ab’ekika kya Leevi bo tobawandiika, era omuwendo gwabwe togugatta ku gw’Abayisirayiri+ abalala. 50 Abaleevi bawe obuvunaanyizibwa ku weema ey’Obujulirwa+ ne ku bintu byayo byonna era ne ku byonna ebigenderako.+ Bajja kusitulanga weema n’ebintu byayo byonna,+ era bajja kukolanga emirimu gy’oku weema;+ bajja kusiisiranga okugyetooloola.+ 51 Buli weema lw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagipangululanga;+ era buli lw’eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga. Omuntu omulala yenna* bw’anaagisembereranga, anattibwanga.+
52 “Buli Muyisirayiri ajja kusimbanga weema ye mu kifo ekyamuweebwa, buli muntu mu kibinja kye eky’ebika ebisatu+ ng’ebibinja byabwe bwe biri.* 53 Abaleevi bajja kusiisiranga okwetooloola weema ey’Obujulirwa, ekibiina ky’Abayisirayiri kireme kusunguwalirwa;+ era Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira* weema ey’Obujulirwa.”+
54 Abantu ba Isirayiri baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa. Baakolera ddala nga bwe yalagira.
2 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti: 2 “Abayisirayiri bajja kusiisira ebibinja byabwe eby’ebika ebisatu+ we byaweebwa okubeera, buli muntu ng’ali kumpi n’akabonero k’ennyumba ya bakitaabe. Bajja kusiisira ku njuyi zonna eza weema ey’okusisinkaniramu nga batunudde gy’eri.
3 “Abo abanaasiisira ku luuyi olw’ebuvanjuba bajja kuba ab’ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Yuda, ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Yuda ye Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu. 4 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 74,600.+ 5 Abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Isakaali, era omwami w’abaana ba Isakaali ye Nesaneeri+ mutabani wa Zuwaali. 6 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa bali 54,400.+ 7 Ekika kya Zebbulooni kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Zebbulooni ye Eriyaabu+ mutabani wa Keroni. 8 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 57,400.+
9 “Abo bonna abaawandiikibwa mu ggye ly’olusiisira lwa Yuda baali 186,400. Bano be banaasookanga okusimbula.+
10 “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebukiikaddyo bajja kuba ab’ekibinja ky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Lewubeeni+ ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Lewubeeni ye Erizuuli+ mutabani wa Sedewuli. 11 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 46,500.+ 12 Abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Simiyoni, era omwami w’abaana ba Simiyoni ye Serumiyeeri+ mutabani wa Zulisadaayi. 13 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 59,300.+ 14 Ekika kya Gaadi kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Gaadi ye Eriyasaafu+ mutabani wa Leweri. 15 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 45,650.+
16 “Abo bonna abaawandiikibwa mu ggye ly’olusiisira lwa Lewubeeni baali 151,450. Bano be banaabanga ab’okubiri okusimbula.+
17 “Weema ey’okusisinkaniramu bw’eneebanga eggibwa mu kifo,+ olusiisira lw’Abaleevi lujja kubeeranga wakati w’ensiisira endala.
“Bajja kutambulanga nga bwe baddiriŋŋana mu kusiisira,+ buli omu mu kifo kye, ng’ebibinja byabwe eby’ebika ebisatu ebisatu bwe biri.
18 “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebugwanjuba bajja kuba ab’ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Efulayimu ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Efulayimu ye Erisaama+ mutabani wa Ammikudi. 19 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 40,500.+ 20 Abo abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Manase,+ era omwami w’abaana ba Manase ye Gamalyeri+ mutabani wa Pedazuuli. 21 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 32,200.+ 22 Ekika kya Benyamini kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Benyamini ye Abidaani+ mutabani wa Gidiyooni. 23 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 35,400.+
24 “Abo bonna abaawandiikibwa mu bibinja by’eggye ly’olusiisira lwa Efulayimu baali 108,100. Bano be banaabanga ab’okusatu okusimbula.+
25 “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebukiikakkono bajja kuba ab’ekibinja ky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Ddaani ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Ddaani ye Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi. 26 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 62,700.+ 27 Abo abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Aseri, era omwami w’abaana ba Aseri ye Pagiyeeri+ mutabani wa Okulaani. 28 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 41,500.+ 29 Ekika kya Nafutaali kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Nafutaali ye Akira+ mutabani wa Enani. 30 Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 53,400.+
31 “Abo bonna abaawandiikibwa mu lusiisira lwa Ddaani baali 157,600. Bano be banaasembangayo okusimbula+ ku bibinja bya Isirayiri eby’ebika ebisatu ebisatu.”
32 Abo be Bayisirayiri abaawandiikibwa okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe; abo bonna abaali mu nsiisira abaawandiikibwa okuweereza mu magye baali 603,550.+ 33 Naye bo Abaleevi tebaawandiikibwa+ wamu n’Abayisirayiri abalala,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 34 Abayisirayiri baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga okusinziira ku bibinja byabwe eby’ebika ebisatu ebisatu,+ era bwe batyo bwe baasitulanga okugenda,+ buli omu okusinziira ku luggya lwe era ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
3 Bano be baana* ba Alooni ne Musa mu kiseera Yakuwa we yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.+ 2 Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu omubereberye, Abiku,+ Eriyazaali,+ ne Isamaali.+ 3 Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, bakabona abaafukibwako amafuta ne bateekebwawo* okuweereza nga bakabona.+ 4 Naye Nadabu ne Abiku baafiira mu maaso ga Yakuwa bwe baawaayo omuliro ogutakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa+ mu ddungu lya Sinaayi, era baafa tebazadde baana. Kyokka Eriyazaali+ ne Isamaali+ bo beeyongera okuweereza nga bakabona ne Alooni kitaabwe.
5 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 6 “Leeta ab’ekika kya Leevi+ obasse mu maaso ga Alooni kabona, era bajja kumuweerezanga.+ 7 Bajja kutuukirizanga obuvunaanyizibwa bwabwe eri Alooni n’eri ekibiina kyonna mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu nga bakola emirimu gya weema entukuvu. 8 Bajja kulabiriranga ebintu+ byonna ebya weema ey’okusisinkaniramu, era batuukirize n’obuvunaanyizibwa bwabwe eri Abayisirayiri nga bakola emirimu egy’oku weema entukuvu.+ 9 Alooni ne batabani be ojja kubawa Abaleevi. Bamuweereddwa ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri.+ 10 Ojja kulonda Alooni ne batabani be, era bajja kukolanga emirimu gyabwe egy’obwakabona;+ omuntu omulala yenna* anaasembereranga ekifo ekitukuvu anattibwanga.”+
11 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 12 “Laba! Ntwala Abaleevi okuva mu Bayisirayiri mu kifo ky’abaana abaggulanda bonna ab’Abayisirayiri;+ Abaleevi bajja kuba bange. 13 Kubanga buli mubereberye wange.+ Ku lunaku lwe nnatta ababereberye bonna mu nsi ya Misiri+ nneeyawulirawo buli mubereberye mu Isirayiri okuba omutukuvu gye ndi, ababereberye bonna ab’abantu n’ab’ensolo.+ Abo banaabeeranga bange; nze Yakuwa.”
14 Era Yakuwa n’ayogera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi+ n’amugamba nti: 15 “Wandiika abaana ba Leevi okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe ne ku mpya zaabwe. Wandiika buli musajja okuva ku w’omwezi ogumu n’okudda waggulu.”+ 16 Awo Musa n’abawandiika nga Yakuwa bwe yamulagira. 17 Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni, Kokasi ne Merali.+
18 Gano ge mannya g’abaana ba Gerusoni okusinziira ku mpya zaabwe: Libuni ne Simeeyi.+
19 Abaana ba Kokasi okusinziira ku mpya zaabwe baali, Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri.+
20 Abaana ba Merali okusinziira ku mpya zaabwe baali, Makuli+ ne Musi.+
Ezo ze mpya z’Abaleevi okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe.
21 Mu Gerusoni mwe mwava ab’oluggya lw’Abalibuni+ n’ab’oluggya lw’Abasimeeyi. Ezo ze mpya z’Abagerusoni. 22 Abasajja baabwe bonna abaawandiikibwa okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 7,500.+ 23 Ab’empya z’Abagerusoni baasiisiranga mabega wa weema entukuvu+ ku luuyi olw’ebugwanjuba. 24 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laweri. 25 Mu weema ey’okusisinkaniramu, abaana ba Gerusoni+ be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira weema,+ n’eky’okubikkako kyayo,+ n’olutimbe+ olw’omu mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu, 26 n’entimbe+ ez’oluggya, n’olutimbe+ olw’omu mulyango gw’oluggya olwetoolodde weema entukuvu n’ekyoto, n’emiguwa gya weema, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo.
27 Mu Kokasi mwe mwava ab’oluggya lw’Abamulaamu, n’ab’oluggya lw’Abayizukali, n’ab’oluggya lw’Abakebbulooni, n’ab’oluggya lw’Abawuziyeeri. Ezo ze mpya z’Abakokasi.+ 28 Abasajja bonna okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 8,600. Abo be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekifo ekitukuvu.+ 29 Ab’empya z’abaana ba Kokasi baasiisiranga ku luuyi lwa weema+ entukuvu olw’ebukiikaddyo. 30 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’empya z’Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.+ 31 Baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Essanduuko,+ n’emmeeza,+ n’ekikondo ky’ettaala,+ n’ebyoto,+ n’ebintu+ ebikozesebwa mu kuweereza mu kifo ekitukuvu, n’olutimbe,+ n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo.+
32 Omwami omukulu ow’Abaleevi yali Eriyazaali+ mutabani wa Alooni kabona, eyakuliranga abo abaakolanga emirimu egy’omu kifo ekitukuvu.
33 Mu Merali mwe mwava ab’oluggya lw’Abamakuli n’ab’oluggya lw’Abamusi. Ezo ze mpya za Merali.+ 34 Abasajja baabwe bonna abaawandiikibwa okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 6,200.+ 35 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’empya z’Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri. Baasiisiranga ku luuyi lwa weema entukuvu olw’ebukiikakkono.+ 36 Abaana ba Merali be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira fuleemu+ za weema entukuvu, n’emiti+ gyayo, n’empagi+ zaayo, n’obutoffaali bwayo obulimu ebituli, n’ebintu+ byayo byonna, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo,+ 37 n’empagi ezaali zeetooloola oluggya lwonna, n’obutoffaali bwazo obulimu ebituli,+ n’enninga zaazo, n’emiguwa gyazo.
38 Musa ne Alooni ne batabani be, be baasiisiranga mu maaso ga weema entukuvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, kwe kugamba, mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu ku ludda enjuba gy’eva. Baalina okulabirira ekifo ekitukuvu, nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku lw’Abayisirayiri. Omuntu omulala yenna* eyasembereranga ekifo ekitukuvu yabanga wa kuttibwa.+
39 Abaleevi bonna abasajja okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu, Musa ne Alooni be baawandiika okusinziira ku mpya zaabwe, nga Yakuwa bwe yalagira, baali 22,000.
40 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Wandiika abaana bonna ab’obulenzi ababereberye ab’Abayisirayiri, okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu,+ obabale era okole olukalala lw’amannya gaabwe. 41 Era ojja kumpa Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna ab’Abayisirayiri,+ era n’ensolo z’Abaleevi mu kifo ky’ensolo zonna embereberye ez’Abayisirayiri.+ Nze Yakuwa.” 42 Bw’atyo Musa n’awandiika ababereberye bonna ab’Abayisirayiri nga Yakuwa bwe yamulagira. 43 Ababereberye bonna abasajja okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu abaawandiikibwa amannya, baali 22,273.
44 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 45 “Twala Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna mu Bayisirayiri, n’ensolo zonna ez’Abaleevi mu kifo ky’ensolo z’Abayisirayiri; Abaleevi banaabanga bange. Nze Yakuwa. 46 Okusobola okununula+ abaana b’Abayisirayiri ababereberye 273 abasukka ku muwendo gw’Abaleevi,+ 47 ojja kusolooza sekeri* ttaano ku lwa buli omu,+ okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu.* Sekeri emu ze gera*+ 20. 48 Ssente ezo ojja kuziwa Alooni ne batabani be zinunule abo abasukka ku muwendo gw’Abaleevi.” 49 Bw’atyo Musa n’aggya ssente ezinunula ku abo abaali basukka ku muwendo gw’Abaleevi. 50 Ssente ze yaggya ku babereberye b’Abayisirayiri zaali sekeri 1,365, nga sekeri ey’omu kifo ekitukuvu bw’eri. 51 Musa n’awa Alooni ne batabani be ssente ezinunula ng’ekigambo* kya Yakuwa bwe kyali, nga Yakuwa bwe yamulagira.
4 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti: 2 “Mubale abaana ba Kokasi+ mu baana ba Leevi okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe, 3 bonna okuva ku b’emyaka 30+ okutuuka ku b’emyaka 50,+ abali mu kibinja ekiweereddwa okukola emirimu mu weema ey’okusisinkaniramu.+
4 “Gino gye mirimu abaana ba Kokasi gye banaakolanga mu weema ey’okusisinkaniramu,+ era gikwata ku bintu ebitukuvu ennyo: 5 Abantu bwe banaabanga basitula okugenda, Alooni ne batabani be bajja kujjanga bawanuleyo olutimbe+ balubikke ku ssanduuko+ ey’Obujulirwa. 6 Bajja kugibikkangako eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu* era kungulu babikkeko olugoye olwa bbulu, era bagiyingizeemu emisituliro+ gyayo.
7 “Era bajja kwaliriranga olugoye olwa bbulu ku mmeeza ey’emigaati egy’okulaga+ era ku mmeeza eyo bateekeko ebibya n’ebikopo n’ebbakuli n’ensumbi eby’ekiweebwayo eky’eby’okunywa;+ emigaati+ egiweebwayo obutayosa ginaasigalangako. 8 Bajja kubibikkangako olugoye olumyufu, kungulu babikkeko eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu, era bagiyingizeemu emisituliro+ gyayo. 9 Era bajja kubikkanga olugoye olwa bbulu ku kikondo ky’ettaala,+ ku ttaala+ zaakyo, ku magalo zaakyo, ku by’okuteekamu evvu ly’entambi,+ ne ku bibya byakyo byonna eby’amafuta ge bakozesa mu ttaala. 10 Bajja kukizinganga mu maliba amagonvu awamu n’ebintu byakyo byonna bakisse ku musituliro. 11 Ku kyoto+ ekya zzaabu bajja kubikkangako olugoye olwa bbulu era babikkeko n’eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu era bakiyingizeemu emisituliro+ gyakyo. 12 Ebintu+ byonna ebikozesebwa mu kuweereza mu kifo ekitukuvu bajja kubiteekanga mu lugoye olwa bbulu era babibikkeko eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu, babisse ku musituliro.
13 “Bajja kuyoolanga evvu* mu kyoto,+ era ekyoto bakibikkeko olugoye olwa kakobe. 14 Bajja kukissangako ebintu byakyo byonna bye bakozesa bulijjo nga bakiweererezaako: ebiyoolerwamu olunyata, amakabi, ebitiiyo, n’ebbakuli, ebintu byonna ebikozesebwa ku kyoto;+ era bajja kukibikkangako eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu, bakiyingizeemu emisituliro+ gyakyo.
15 “Alooni ne batabani be bajja kumalirizanga okubikka ku kifo ekitukuvu+ ne ku bintu byonna eby’omu kifo ekitukuvu ng’abantu basitula okugenda, era oluvannyuma abaana ba Kokasi bajja kujjanga babisitule,+ naye tebakwatanga ku kifo ekitukuvu baleme okufa.+ Abaana ba Kokasi be balina obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo ebya weema ey’okusisinkaniramu.
16 “Eriyazaali+ mutabani wa Alooni kabona y’anaabanga n’omulimu gw’okulabirira amafuta g’ettaala,+ obubaani obw’akaloosa,+ ekiweebwayo ky’emmere ey’empeke ekya buli lunaku, n’amafuta amatukuvu.+ Y’anaalabiriranga weema entukuvu yonna ne byonna ebigirimu, nga mw’otwalidde ekifo ekitukuvu n’ebintu byakyo.”
17 Yakuwa era n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti: 18 “Temuleeteranga ab’olulyo lw’abo abasibuka mu mpya z’Abakokasi+ okusaanawo mu Baleevi. 19 Naye kino kye munaabakoleranga basobole okusigala nga balamu, baleme okufa olw’okusemberera ebintu ebitukuvu ennyo.+ Alooni ne batabani be bajja kuyingiranga bawe buli omu omulimu gw’alina okukola ne ky’alina okusitula. 20 Tebayingiranga okutunuulira ebintu ebitukuvu wadde akaseera akatono, baleme okufa.”+
21 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 22 Ojja kubala abaana ba Gerusoni+ okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe ne ku mpya zaabwe. 23 Ojja kubawandiika bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50, abali mu kibinja ekiweereddwa okuweereza mu weema ey’okusisinkaniramu. 24 Bino ab’omu mpya z’Abagerusoni bye baweereddwa okulabirira n’okusitula:+ 25 Bajja kusitulanga emitanda gya weema entukuvu,+ weema ey’okusisinkaniramu, eky’okubikkako kyayo n’eky’okubikkako eky’okungulu+ eky’amaliba amagonvu, n’olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu,+ 26 n’entimbe z’oluggya,+ n’olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya+ olwetoolodde weema entukuvu n’ekyoto, n’emiguwa gyazo, n’ebintu byonna ebikozesebwa mu kuweereza ku weema. Egyo gye mirimu gyabwe. 27 Alooni ne batabani be be bajja okulabirira emirimu gy’Abagerusoni+ gyonna ne bye balina okusitula byonna; ojja kubawa obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo byonna. 28 Egyo gye mirimu ab’empya z’Abagerusoni gye banaakolanga mu weema ey’okusisinkaniramu,+ era banaagikolanga nga balabirirwa Isamaali+ mutabani wa Alooni kabona.
29 “N’abaana ba Merali+ ojja kubawandiika okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. 30 Ojja kuwandiika okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50, abo bonna abali mu kibinja ekiweereddwa okukola emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu. 31 Bino bye balinanga okusitula+ mu buweereza bwabwe obukwata ku weema ey’okusisinkaniramu: fuleemu+ za weema entukuvu, emiti+ gyayo, empagi+ zaayo, obutoffaali bwayo obulimu ebituli,+ 32 empagi+ ez’oluggya olwetooloddewo, obutoffaali+ bwazo obulimu ebituli, enninga+ zaazo, emiguwa gyazo, ne byonna ebikozesebwa ku bintu bino, ne byonna ebikwata ku buweereza buno. Buli omu ojja kumuwanga ebintu by’alina okusitula. 33 Bwe batyo ab’empya z’abaana ba Merali+ bwe banaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”+
34 Awo Musa ne Alooni n’abaami+ b’ekibiina ne bawandiika abaana ba Kokasi+ okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe, 35 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu.+ 36 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe baali 2,750.+ 37 Abo be b’omu mpya z’Abakokasi abaawandiikibwa, abo bonna abaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu, Musa ne Alooni be baabawandiika nga Yakuwa bwe yalagira ng’ayitira mu Musa.+
38 Abaana ba Gerusoni+ baawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe, 39 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu ku weema ey’okusisinkaniramu. 40 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe baali 2,630.+ 41 Bwe batyo ab’empya z’abaana ba Gerusoni bwe baawandiikibwa, abo bonna abaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu, Musa ne Alooni be baabawandiika nga Yakuwa+ bwe yalagira.
42 Abaana ba Merali baawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe, 43 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu ku weema ey’okusisinkaniramu.+ 44 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe baali 3,200.+ 45 Okuwandiikibwa kw’ab’empya z’abaana ba Merali bwe kutyo bwe kwali. Musa ne Alooni baabawandiika nga Yakuwa bwe yalagira ng’ayitira mu Musa.+
46 Musa ne Alooni n’abaami ba Isirayiri baawandiika Abaleevi abo bonna okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe. 47 Baali bava ku myaka 30 okutuuka ku myaka 50, era bonna baaweebwa okuweereza n’okusitula ebintu bya weema ey’okusisinkaniramu.+ 48 Bonna abaawandiikibwa baali 8,580.+ 49 Baawandiikibwa nga Yakuwa bwe yalagira Musa, buli omu ng’obuweereza bwe bwe bwali era nga n’ebyo bye yalina okusitula bwe byali; baawandiikibwa nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
5 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Lagira Abayisirayiri baggye mu lusiisira buli muntu alina ebigenge,+ na buli muntu alina ekikulukuto,+ na buli muntu atali mulongoofu olw’okukwata ku mulambo.+ 3 K’abeere musajja oba mukazi, mumuggyeemu. Mubafulumye ebweru w’olusiisira, baleme okwonoona+ ensiisira z’abantu bange be mbeeramu.”+ 4 Awo Abayisirayiri ne bakola bwe batyo, ne bafulumya abantu abo ebweru w’olusiisira. Abayisirayiri baakolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
5 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 6 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Omusajja oba omukazi yenna bw’anaakolanga ekimu ku bibi abantu bye batera okukola, n’ayonoona mu maaso ga Yakuwa, anaabangako omusango.+ 7 Anaayatulanga*+ ekibi ky’anaabanga akoze,* n’aliwa mu bujjuvu olw’omusango gw’anaabanga azzizza, era n’ayongerako ekitundu kimu kya kutaano+ n’abiwa oyo gw’anaabanga azzizzaako omusango. 8 Naye singa oyo gwe yazzaako omusango aba yafa, era nga tewali wa luganda lwe wa kumpi gw’ayinza kuwa ebyo by’aliwa, binaaweebwanga Yakuwa era binaabanga bya kabona, okuggyako endiga ennume ey’okutangirira, kabona gy’anaakozesanga okutangirira oyo anaabanga azzizza omusango.+
9 “‘Buli kintu ekitukuvu Abayisirayiri kye banaawangayo+ ne bakireeta eri kabona kinaabanga kikye.+ 10 Ebintu ebitukuvu buli omu by’anaaleetanga binaabanga bibye. Ekintu kyonna omuntu ky’anaawanga kabona, kinaabanga kikye.’”
11 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 12 “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Kino kye kinaakolebwanga singa muka omusajja anaabanga awabye n’ataba mwesigwa eri bba, 13 omusajja omulala ne yeegatta naye,+ kyokka bba n’atakitegeera era ne kitamanyika; n’aba nga yeeyonoona, naye nga tewali amulumiriza era nga tewali yamukwatiriza: 14 Singa bba akwatibwa obuggya era n’aba nga yeekengera nti mukazi we yandiba nga si mwesigwa, era nga ddala omukazi yeeyonoona; oba singa omusajja akwatibwa obuggya era n’aba nga yeekengera nti mukazi we yandiba nga si mwesigwa, naye ng’omukazi teyeeyonoona, 15 omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona awamu n’ekiweebwayo kya mukazi we, kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga bwa ssayiri. Takifukangako mafuta wadde okukiteekako obubaani obweru, kubanga kiba kiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’obuggya, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekijjukiza omusango ogwazzibwa.
16 “‘Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuyimiriza mu maaso ga Yakuwa.+ 17 Kabona anaayoolanga ku nfuufu eri wansi mu weema entukuvu n’agissa mu mazzi amatukuvu nga gali mu kibya eky’ebbumba. 18 Kabona anaayimirizanga omukazi oyo mu maaso ga Yakuwa, n’aggyako ekisibye enviiri z’omukazi era n’assa mu bibatu by’omukazi ekiweebwayo eky’ekijjukizo eky’emmere ey’empeke, kwe kugamba, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’obuggya;+ era kabona anaabanga akutte mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.+
19 “‘Kabona anaalayizanga omukazi n’amugamba nti: “Bwe kiba nti tewali musajja yenna yeegatta naawe ng’oli wansi w’obuyinza bwa balo,+ era nga towabangako n’oyonoonebwa, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo ka galeme kukukolako kabi. 20 Naye bwe kiba nti wawaba ng’oli wansi w’obuyinza bwa balo ne weeyonoona, era ng’omusajja omulala+ atali balo yeegatta naawe,—” 21 Kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro ekirimu okukolimirwa, era anaagambanga omukazi nti: “Yakuwa akufuule ekyo abantu bo kye banaajulizanga nga bakolima era nga balayira, nga Yakuwa akoozimbya* ekisambi* kyo era ng’atumbiiza olubuto lwo. 22 Amazzi gano agaleeta ekikolimo gajja kugenda mu byenda byo gatumbiize olubuto lwo era gakoozimbye* ekisambi* kyo.” Awo omukazi anaddangamu nti: “Amiina! Amiina!”*
23 “‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo era n’abyozaamu ng’akozesa amazzi agakaawa. 24 Era anaanywesanga omukazi amazzi ago agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaamuyingirangamu ne gamuleetera obulumi. 25 Kabona anaggyanga mu mukono gw’omukazi ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’obuggya+ n’akiwuubawuuba mu maaso ga Yakuwa, era n’akireeta okumpi n’ekyoto. 26 Kabona anaayoolanga olubatu lw’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’akyokera ku kyoto+ ng’ekiweebwayo ekikiikirira ekiweebwayo ekiramba, era oluvannyuma anaanywesanga omukazi amazzi. 27 Awo bw’anaamalanga okumunywesa amazzi, omukazi oyo bw’anaabanga yeeyonoonye, nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi agaleeta ekikolimo ganaamuyingirangamu ne gamuleetera obulumi, era olubuto lwe lunaatumbiiranga era n’akoozimba* ekisambi,* era omukazi anaabeeranga ekintu abantu be kye bajuliza nga bakolima. 28 Kyokka omukazi bw’anaabanga omulongoofu, nga teyeeyonoona, taafunenga kibonerezo ekyo, era anaasobolanga okufuna olubuto n’azaala.
29 “‘Lino lye tteeka erikwata ku buggya,+ omukazi bw’anaawabanga ne yeeyonoona ng’ali wansi w’obuyinza bwa bba, 30 oba omusajja bw’anaakwatibwanga obuggya ne yeekengera nti mukazi we yandiba nga si mwesigwa; omusajja anaayimirizanga mukazi we mu maaso ga Yakuwa, era kabona anaamukolangako byonna ebiragirwa mu tteeka lino. 31 Omusajja taabengako musango, naye omukazi oyo anaavunaanibwanga olw’ekibi kye.’”
6 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Omusajja oba omukazi bw’aneeyamanga okubeera Omunaziri*+ eri Yakuwa, 3 aneewalanga envinnyo n’ebitamiiza ebirala. Tanywanga envinnyo enkaatuufu oba omwenge omukaatuufu,+ era tanywanga eky’okunywa kyonna ekiva mu zzabbibu, wadde okulya ezzabbibu, k’ebe mbisi oba nkalu. 4 Ennaku zonna z’anaamalanga nga Munaziri talyanga ku kintu kyonna ekiva ku muzabbibu, okuviira ddala ku zzabbibu embisi okutuuka ku bikuta.
5 “‘Ennaku zonna z’aneeyamanga okuba Omunaziri akamweso tekaayitenga ku mutwe gwe;+ anaabanga mutukuvu ng’aleka enviiri z’oku mutwe gwe okukula, okutuusa ennaku zonna z’alina okuba ng’ayawuliddwawo eri Yakuwa lwe zinaggwangako. 6 Ennaku zonna z’anaamalanga ng’ayawuliddwawo eri Yakuwa tasembereranga mulambo. 7 Ne bwe kiba nti kitaawe oba nnyina oba muganda we oba mwannyina y’afudde, teyeeyonoonanga,+ kubanga akabonero akalaga nti Munaziri eri Katonda we kali ku mutwe gwe.
8 “‘Ennaku zonna z’anaamalanga nga Munaziri anaabanga mutukuvu eri Yakuwa. 9 Naye omuntu bw’afanga embagirawo ng’ali naye,+ Omunaziri n’ayonoona enviiri ze, akabonero akalaga nti ayawuliddwawo eri Katonda,* anaamwanga+ enviiri ez’oku mutwe gwe ku lunaku lw’anaatukuzibwanga. Anaazimwanga ku lunaku olw’omusanvu. 10 Ku lunaku olw’omunaana anaatwalanga eri kabona amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 11 Kabona anaateekateekanga erimu okuba ekiweebwayo olw’ekibi n’eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa, amutangirire, kubanga anaaba ayonoonye+ olw’okukoona ku mulambo. Awo anaatukuzanga omutwe gwe ku lunaku olwo. 12 Anaddangamu buto ennaku ze yeeyama okuba Omunaziri eri Yakuwa, era anaaleetanga endiga ento ennume etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo olw’omusango; ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yayonoona Obunaziri bwe.
13 “‘Lino lye tteeka erikwata ku Munaziri: Bw’anaamalangako ennaku ze ez’okuba Omunaziri,+ anaaleetebwanga ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 14 Era anaaleetanga eri Yakuwa ekiweebwayo kino: endiga ennume emu ento ennamu obulungi etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa,+ endiga ento enkazi ennamu obulungi etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo olw’ekibi,+ endiga ennume emu ennamu obulungi, okuba ssaddaaka ey’emirembe,+ 15 n’ekibbo eky’obugaati obwetooloovu* obutali buzimbulukuse obukoleddwa mu buwunga obutaliimu mpulunguse nga buteekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni, n’obugaati obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta g’ezzeyituuni, n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke+ n’eky’eby’okunywa.+ 16 Kabona anaabireetanga mu maaso ga Yakuwa n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa. 17 Era anaawangayo eri Yakuwa endiga ennume okuba ssaddaaka ey’emirembe, awamu n’ekibbo ky’obugaati obutali buzimbulukuse; kabona anaawangayo ebiweebwayo ebigenderako, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke+ n’eky’eby’okunywa.
18 “‘Omunaziri anaamweranga enviiri z’oku mutwe gwe*+ ku mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu. Era anaddiranga enviiri ze yakuza mu kiseera we yabeerera Omunaziri, n’aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’emirembe. 19 Kabona anaatoolanga omukono gw’endiga ennume omufumbe+ era n’aggya mu kibbo akagaati akeetooloovu akatali kazimbulukuse kamu, n’akagaati ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abiteeka mu bibatu by’Omunaziri ng’amaze okumwako akabonero akalaga nti Munaziri. 20 Kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ Ebyo awamu n’ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’okugulu okw’omugabo omutukuvu,+ bitukuvu era bya kabona. Oluvannyuma Omunaziri anaabanga asobola okunywa omwenge.
21 “‘Lino lye tteeka erikwata ku Munaziri+ aneeyamanga: Bw’aneeyamanga era ng’asobola okuwaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebisukka ku ebyo by’alina okuwaayo ng’Omunaziri, anaatuukirizanga obweyamo bwe ng’agondera etteeka erikwata ku kuba Omunaziri.’”
22 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 23 “Gamba Alooni ne batabani be nti, ‘Bwe munaabanga musabira abantu ba Isirayiri omukisa,+ munaabagambanga nti:
24 “Yakuwa akuwe omukisa+ era akukuume.
25 Yakuwa akwakize obwenyi bwe+ era akulage ekisa.
26 Yakuwa akutunuulire n’ekisa* era akuwe emirembe.”’+
27 Era banaakozesanga erinnya lyange okuwa abantu ba Isirayiri+ omukisa, ndyoke mbawe omukisa.”+
7 Ku lunaku Musa lwe yamaliriza okusimba weema,+ yagifukako amafuta+ era n’agitukuza n’ebintu byayo byonna n’ekyoto n’ebintu+ byakyo byonna. Bwe yamala okufuka amafuta ku bintu ebyo n’okubitukuza,+ 2 abaami ba Isirayiri,+ abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, ne bawaayo ebiweebwayo. Abakulu b’ebika abo abaakuliranga ogw’okuwandiika abantu 3 baaleeta ebiweebwayo byabwe bino mu maaso ga Yakuwa: ebigaali mukaaga ebibikkeko n’ente ennume 12; abaami babiri babiri ekigaali kimu, ate buli mwami ente ennume emu; baabireeta mu maaso ga weema entukuvu. 4 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 5 “Kkiriza ebintu ebyo bye baleese kubanga bijja kukozesebwa mu buweereza bw’oku weema ey’okusisinkaniramu era ojja kubiwa Abaleevi, buli omu okusinziira ku bye yeetaga ku mulimu gwe.”
6 Awo Musa n’akkiriza ebigaali n’ente, n’abiwa Abaleevi. 7 Abaana ba Gerusoni yabawa ebigaali bibiri n’ente ennume nnya okusinziira ku bwetaavu bw’emirimu gyabwe,+ 8 ate abaana ba Merali yabawa ebigaali bina n’ente ennume munaana okusinziira ku bwetaavu bw’emirimu gyabwe, nga byonna Isamaali mutabani wa Alooni kabona y’abirinako obuvunaanyizibwa.+ 9 Naye bo abaana ba Kokasi talina kye yabawa, kubanga be baasitulanga ebintu ebikozesebwa mu kifo ekitukuvu+ era baabisituliranga ku bibegaabega byabwe.+
10 Ku lunaku ekyoto lwe kyafukibwako amafuta nga kitongozebwa,*+ abaami baaleeta ebiweebwayo byabwe. Abaami bwe baaleeta ebiweebwayo byabwe mu maaso g’ekyoto, 11 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Abaami bajja kuleeta ebiweebwayo byabwe eby’okutongoza ekyoto ku nnaku eziddiriŋŋana, nga buli mwami ekiweebwayo kye akireeta ku lunaku lwa njawulo.”
12 Eyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu, ow’omu kika kya Yuda. 13 Kino kye kyali ekiweebwayo kye: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri* 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,*+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 14 ekikopo* kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 15 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 16 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 17 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.+
18 Ku lunaku olw’okubiri Nesaneeri+ mutabani wa Zuwaali, omwami wa Isakaali, ye yaleeta ekiweebwayo. 19 Kino kye kiweebwayo kye yaleeta: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 20 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 21 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 22 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 23 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Nesaneeri mutabani wa Zuwaali.
24 Ku lunaku olw’okusatu Eriyaabu+ mutabani wa Keroni, omwami w’abaana ba Zebbulooni, 25 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 26 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 27 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 28 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 29 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Eriyaabu+ mutabani wa Keroni.
30 Ku lunaku olw’okuna Erizuuli+ mutabani wa Sedewuli, omwami w’abaana ba Lewubeeni, 31 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 32 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 33 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 34 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 35 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Erizuuli+ mutabani wa Sedewuli.
36 Ku lunaku olw’okutaano Serumiyeeri+ mutabani wa Zulisadaayi, omwami w’abaana ba Simiyoni, 37 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 38 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 39 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ennume ento emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 40 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 41 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Serumiyeeri+ mutabani wa Zulisadaayi.
42 Ku lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu+ mutabani wa Deweri, omwami w’abaana ba Gaadi, 43 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 44 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 45 ente ennume ento emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 46 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 47 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Eriyasaafu+ mutabani wa Deweri.
48 Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama+ mutabani wa Ammikudi, omwami w’abaana ba Efulayimu, 49 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 50 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 51 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 52 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 53 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Erisaama+ mutabani wa Ammikudi.
54 Ku lunaku olw’omunaana Gamalyeri+ mutabani wa Pedazuuli, omwami w’abaana ba Manase, 55 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 56 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 57 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 58 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 59 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Gamalyeri+ mutabani wa Pedazuuli.
60 Ku lunaku olw’omwenda Abidaani+ mutabani wa Gidiyooni, omwami+ w’abaana ba Benyamini, 61 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 62 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 63 ente ennume ento emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 64 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 65 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Abidaani+ mutabani wa Gidiyooni.
66 Ku lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi, omwami w’abaana ba Ddaani, 67 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 68 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 69 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 70 omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi.+ 71 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi.
72 Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri+ mutabani wa Okulaani, omwami w’abaana ba Aseri, 73 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 74 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 75 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 76 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 77 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Pagiyeeri+ mutabani wa Okulaani.
78 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri Akira+ mutabani wa Enani, omwami w’abaana ba Nafutaali, 79 yaleeta ekiweebwayo kye kino: Ekibya ekya ffeeza kimu ekizitowa sekeri 130, ebbakuli eya ffeeza emu ezitowa sekeri 70 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu,+ era byombi byali bijjudde obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ 80 ekikopo kimu ekya zzaabu ekizitowa sekeri 10 nga kijjudde obubaani; 81 ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu etasussa mwaka gumu, nga za kiweebwayo ekyokebwa;+ 82 omwana gw’embuzi gumu, nga gwa kiweebwayo olw’ekibi.+ 83 Ate ebya ssaddaaka ey’emirembe+ byali: Ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, endiga ento ennume ttaano nga buli emu ya mwaka gumu. Kino kye kyali ekiweebwayo kya Akira+ mutabani wa Enani.
84 Kino kye kiweebwayo eky’okutongoza+ ekyoto, abaami ba Isirayiri kye baaleeta ku lunaku ekyoto lwe kyafukibwako amafuta: ebibya ebya ffeeza 12, ebbakuli eza ffeeza 12, ebikopo ebya zzaabu 12;+ 85 buli kibya ekya ffeeza kyali kizitowa sekeri 130, ate buli bbakuli yali ezitowa sekeri 70. Ffeeza yenna ow’ebibya n’ow’ebbakuli yali azitowa sekeri 2,400 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu;+ 86 ebikopo 12 ebya zzaabu ebyali bijjudde obubaani buli kimu kyali kizitowa sekeri 10 okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu. Zzaabu yenna ow’ebikopo yali azitowa sekeri 120. 87 Ensolo zonna ez’ekiweebwayo ekyokebwa zaali ente ennume 12, endiga ennume 12, endiga ento ennume 12 nga buli emu ya mwaka gumu, n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke ebigenderako; embuzi ento ez’ekiweebwayo olw’ekibi zaali 12, 88 ate ensolo zonna eza ssaddaaka ey’emirembe zaali ente ennume 24, endiga ennume 60, embuzi ennume 60, endiga ento ennume 60 nga buli emu ya mwaka gumu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eky’okutongoza+ ekyoto oluvannyuma lw’okufukibwako amafuta.+
89 Buli Musa lwe yayingiranga mu weema ey’okusisinkaniramu okwogera ne Katonda,*+ yawuliranga eddoboozi eryogera naye nga liva waggulu w’eky’okubikkako+ ekyali ku ssanduuko ey’Obujulirwa, wakati wa bakerubi ababiri,+ bw’atyo Katonda n’ayogeranga naye.
8 Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Gamba Alooni nti, ‘Bw’onookoleezanga ettaala omusanvu eziri ku kikondo ky’ettaala, ettaala ezo zinaamulisanga ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’”+ 3 Awo Alooni n’akola bw’ati: N’akoleeza ettaala zaakyo okumulisa ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 4 Bwe kiti ekikondo ky’ettaala bwe kyakolebwa: Kyaweesebwa mu zzaabu nga bakozesa nnyondo.+ Okuva ku nduli yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo kyaweesebwa na nnyondo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa nga Yakuwa bwe yalaga Musa mu kwolesebwa.+
5 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 6 “Ggya Abaleevi mu Bayisirayiri obatukuze.+ 7 Bw’oti bw’onoobatukuza: Ojja kubamansirako amazzi aganaazaako ekibi, era bajja kumwa omubiri gwabwe gwonna n’akamweso, booze ebyambalo byabwe, era beetukuze.+ 8 Bajja kuleeta ente ennume ento+ n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke,+ nga buwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, era ojja kuleeta ente endala ennume ento ey’ekiweebwayo olw’ekibi.+ 9 Ojja kuleeta Abaleevi mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu era okuŋŋaanye ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri.+ 10 Bw’onooleeta Abaleevi mu maaso ga Yakuwa, Abayisirayiri bajja kubassaako emikono gyabwe.+ 11 Alooni ajja kuwaayo* Abaleevi mu maaso ga Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa+ ekiweereddwayo Abayisirayiri, era bajja kukola emirimu gya Yakuwa.+
12 “Abaleevi bajja kussa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente ennume.+ Oluvannyuma bajja kuziwaayo eri Yakuwa, emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi ate endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa, okusobola okutangirira+ Abaleevi. 13 Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be obaweeyo* eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 14 Ojja kwawula Abaleevi ku Bayisirayiri abalala, era Abaleevi bajja kuba bange.+ 15 Oluvannyuma Abaleevi bajja kujja baweereze ku weema ey’okusisinkaniramu. Bw’otyo bw’onoobatukuza n’obawaayo* ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 16 Bampeereddwa ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri. Nja kubatwala mu kifo ky’ababereberye bonna* ab’Abayisirayiri.+ 17 Kubanga buli mubereberye mu Bayisirayiri wange, mu bantu ne mu nsolo.+ Nnabeetukuliza ku lunaku lwe nnatta ababereberye bonna mu nsi ya Misiri.+ 18 Nja kutwala Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna mu Bayisirayiri. 19 Alooni ne batabani be nja kubawa Abaleevi ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri, bakole emirimu ku lw’Abayisirayiri ku weema ey’okusisinkaniramu+ era babatangirire, akabi kaleme okutuuka ku Bayisirayiri+ olw’okusemberera ekifo ekitukuvu.”
20 Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe baakola Abaleevi. Abayisirayiri baakola byonna ebikwata ku Baleevi nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 21 Awo Abaleevi ne beetukuza ne booza ebyambalo byabwe,+ oluvannyuma Alooni n’abawaayo* ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ Ebyo bwe byaggwa, Alooni n’abatangirira okubatukuza.+ 22 Oluvannyuma Abaleevi ne bajja okukola emirimu gyabwe mu maaso ga Alooni ne batabani be ku weema ey’okusisinkaniramu. Abantu baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa okukola ku Baleevi.
23 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 24 “Bino bikwata ku Baleevi: Anaabanga awezezza emyaka 25 n’okudda waggulu, aneegattanga ku kibinja ky’abo abaweereza ku weema ey’okusisinkaniramu. 25 Naye bw’anaawezanga emyaka 50 anaawummulanga n’alekera awo okuweereza mu kibinja ekiweereza. 26 Anaayambanga ku baganda be nga bakola emirimu gyabwe ku weema ey’okusisinkaniramu, naye ye taaweerezenga. Bw’otyo bw’onookolanga ku bikwata ku Baleevi n’emirimu gyabwe.”+
9 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogusooka+ ogw’omwaka ogw’okubiri nga bavudde mu nsi ya Misiri, n’amugamba nti: 2 “Abayisirayiri bajja kukwatanga Okuyitako+ mu kiseera kyakwo ekigereke.+ 3 Mujja kukukwatiranga mu kiseera kyakwo ekigereke ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno akawungeezi.* Mujja kukukwatanga nga mugoberera amateeka gaakwo gonna n’enkola erina okugobererwa.”+
4 Awo Musa n’agamba Abayisirayiri okukwata Okuyitako. 5 Ne bakwata Okuyitako mu ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogusooka ku lunaku olw’ekkumi n’ennya akawungeezi.* Abayisirayiri baakola byonna nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
6 Waaliwo abasajja abaali bafuuse abatali balongoofu olw’okukwata ku mulambo,+ bwe batyo ne batasobola kukwata Kuyitako ku lunaku olwo. Awo ne bagenda eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo,+ 7 ne bamugamba nti: “Tetuli balongoofu olw’okukwata ku mulambo. Naye ekyo kitugaane okuweerayo awamu n’Abayisirayiri ekiweebwayo eri Yakuwa mu kiseera kyakyo ekigereke?”+ 8 Musa n’abagamba nti: “Musooke mulindeko mmale okuwulira Yakuwa ky’anaalagira ku nsonga yammwe.”+
9 Yakuwa n’agamba Musa nti: 10 “Gamba Abayisirayiri nti: ‘Omuntu yenna mu mmwe oba mu bazzukulu bammwe abaliddawo ne bw’ataabenga mulongoofu olw’okukwata ku mulambo,+ oba ne bw’anaabanga ku lugendo ewala, anaakwatanga Okuyitako eri Yakuwa. 11 Bajja kukukwatanga mu mwezi ogw’okubiri+ ku lunaku olw’ekkumi n’ennya akawungeezi.* Banaaliirangako emigaati egitali mizimbulukuse n’enva endiirwa ezikaawa.+ 12 Era ensolo gye banattanga ku Kuyitako, tebalekangawo nnyama yaayo n’etuusa ku makya+ era tebamenyanga ggumba lyayo lyonna.+ Bajja kukwatanga Okuyitako nga bagoberera amateeka gaakwo gonna. 13 Naye singa omuntu yenna anaabanga mulongoofu oba singa anaabanga tali ku lugendo, n’atakwata Kuyitako, anattibwanga n’aggibwa+ mu bantu be kubanga teyawaayo kiweebwayo kya Yakuwa mu kiseera kyakyo ekigereke. Omuntu oyo anaavunanyizibwanga ekibi kye.
14 “‘N’omugwira bw’anaabanga abeera mu mmwe, naye alina okukwata Okuyitako eri Yakuwa.+ Ajja kukukwatanga ng’agoberera amateeka gaakwo gonna n’enkola erina okugobererwa.+ Etteeka limu linaakwatibwanga abagwira n’Abayisirayiri.’”+
15 Ku lunaku lwe baasimba weema entukuvu,+ ekire kyabikka weema entukuvu, weema ey’Obujulirwa, ate okuva akawungeezi okutuukira ddala ku makya yaliko ekyali kifaanana ng’omuliro.+ 16 Bwe kityo bwe kyabanga bulijjo: Emisana ekire kyagibikkanga, ate ekiro n’ebaako ekyali kifaanana ng’omuliro.+ 17 Buli ekire lwe kyavanga ku weema, ng’amangu ago Abayisirayiri basitula okugenda,+ era mu kifo we kyayimiriranga Abayisirayiri we baasiisiranga.+ 18 Abayisirayiri baasitulanga nga Yakuwa amaze kubalagira era baasiisiranga nga Yakuwa amaze kubalagira.+ Ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku weema entukuvu Abayisirayiri baasigalanga basiisidde. 19 Ekire bwe kyamalanga ennaku nnyingi nga kiri ku weema entukuvu, Abayisirayiri baagonderanga Yakuwa ne batasitula kuva mu kifo ekyo.+ 20 Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku weema entukuvu. Baasitulanga nga Yakuwa amaze kubalagira era baasiisiranga nga Yakuwa amaze kubalagira. 21 Oluusi ekire kyabeeranga ku weema okuva akawungeezi okutuuka ku makya; ku makya bwe kyasitukangako nga nabo basitula okugenda. Ekire wonna we kyasitukirangako, oba misana oba kiro, nga nabo basitula okugenda.+ 22 Ekire ne bwe kyamalanga ku weema entukuvu ennaku bbiri oba omwezi oba n’okusingawo, Abayisirayiri baasigalanga basiisidde, nga tebasitula kugenda. Naye bwe kyasitukanga nabo nga basitula okugenda. 23 Baasitulanga okugenda nga Yakuwa amaze kubalagira era baasiisiranga nga Yakuwa amaze kubalagira. Baagonderanga ekiragiro kya Yakuwa, nga Yakuwa bwe yalagira ng’ayitira mu Musa.
10 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Weekolere amakondeere abiri.+ Ojja kugaweesa mu ffeeza ng’okozesa ennyondo, era ojja kugakozesanga okuyita abantu okukuŋŋaana n’okulagira ebibinja okusimbula. 3 Gombi bwe ganaafuuyibwanga, ng’ekibiina kyonna kikuŋŋaanira w’oli ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 4 Bwe banaafuuwanga erimu lyokka, ng’abaami b’enkumi za Isirayiri bokka be bakuŋŋaanira w’oli.+
5 “Bwe munaagafuuwanga nga mukyusakyusa mu nvuga yaago ng’ab’ebibinja ebiri ku luuyi olw’ebuvanjuba+ basimbula. 6 Bwe munaagafuuwanga omulundi ogw’okubiri nga mukyusakyusa mu nvuga yaago, ng’ab’ebibinja ebiri ku luuyi olw’ebukiikaddyo+ basimbula. Bwe batyo bwe banaagafuuwanga buli ekibinja lwe kinaabanga kisimbula.
7 “Bwe munaabanga muyita ekibiina okukuŋŋaana awamu, mujja kufuuwanga amakondeere,+ naye nga temugafuuwa nga mukyusakyusa mu nvuga yaago. 8 Abaana ba Alooni, bakabona be banaafuuwanga amakondeere;+ era okukozesa amakondeere lijja kuba tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna.
9 “Bwe munaabanga mugenda okulwana olutalo mu nsi yammwe nga mulwanyisa omulabe abayigganya, munaafuuwanga amakondeere agayita abalwanyi,+ era Yakuwa Katonda wammwe anaabajjukiranga n’abawonya abalabe bammwe.
10 “Ne mu biseera byammwe eby’okujaguza,+ ebiseera eby’okukwata embaga zammwe+ ne ku ntandikwa ya buli mwezi, mujja kufuuyiranga amakondeere ku biweebwayo byammwe ebyokebwa+ ne ku ssaddaaka zammwe ez’emirembe;+ ekyo kinaabaviirangako okujjukirwa mu maaso ga Katonda wammwe. Nze Yakuwa Katonda wammwe.”+
11 Awo ku lunaku olw’abiri olw’omwezi ogw’okubiri mu mwaka ogw’okubiri,+ ekire ne kiva ku weema entukuvu+ ey’Obujulirwa. 12 Abayisirayiri ne basimbula okuva mu ddungu lya Sinaayi nga bagoberera enteekateeka yaabwe ey’okusimbula,+ era ekire ne kiyimirira mu ddungu ly’e Palani.+ 13 Guno gwe mulundi gwe baasookera ddala okusimbula okugenda nga Yakuwa bwe yalagira ng’ayitira mu Musa.+
14 Ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lw’abaana ba Yuda kye kyasooka okusimbula okusinziira ku bibinja by’eggye lyakyo, era Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu ye yali akulira eggye lyakyo. 15 Nesaneeri+ mutabani wa Zuwaali ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Isakaali. 16 Eriyaabu+ mutabani wa Keroni ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Zebbulooni.
17 Weema entukuvu bwe yamala okupangululwa,+ abaana ba Gerusoni+ n’abaana ba Merali+ abaagisitulanga ne basimbula.
18 Ekibinja eky’ebika ebisatu ekya Lewubeeni ne kisimbula okusinziira ku bibinja by’eggye lyakyo, era Erizuuli+ mutabani wa Sedewuli ye yali akulira eggye lyakyo. 19 Serumiyeeri+ mutabani wa Zulisadaayi ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Simiyoni. 20 Eriyasaafu+ mutabani wa Deweri ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Gaadi.
21 Awo Abakokasi abaasitulanga ebintu by’omu kifo ekitukuvu+ ne basimbula. Baalina okutuuka nga weema emaze okusimbibwa.
22 Ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lw’abaana ba Efulayimu ne kisimbula okusinziira ku bibinja by’eggye lyakyo, era Erisaama+ mutabani wa Ammikudi ye yali akulira eggye lyakyo. 23 Gamalyeri+ mutabani wa Pedazuuli ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Manase. 24 Abidaani+ mutabani wa Gidiyooni ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Benyamini.
25 Awo ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lw’abaana ba Ddaani ne kisimbula okusinziira ku bibinja by’eggye lyakyo, ne kiba nga kye kikuuma ensiisira zonna ku luuyi olw’emabega. Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi ye yali akulira eggye lyakyo. 26 Pagiyeeri+ mutabani wa Okulaani ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Aseri. 27 Akira+ mutabani wa Enani ye yali akulira eggye ly’ekika ky’abaana ba Nafutaali. 28 Eyo ye nteekateeka Abayisirayiri n’ebibinja by’eggye lyabwe gye baagobereranga nga basimbula okugenda.+
29 Musa n’agamba Kobabu mutabani wa Leweri*+ Omumidiyaani kitaawe wa mukazi we nti: “Tusimbula okugenda mu kifo Yakuwa kye yagamba nti, ‘Ndikibawa.’+ Jjangu ogende naffe.+ Tujja kukuyisa bulungi kubanga Yakuwa asuubizza okuwa Isirayiri ebintu ebirungi.”+ 30 Naye n’amuddamu nti: “Sijja kugenda nammwe. Nja kuddayo mu nsi yange eri ab’eŋŋanda zange.” 31 N’amugamba nti: “Tukwegayiridde totuleka kubanga omanyi bulungi we tuyinza okusiisira mu ddungu, era ggwe ojja okutulagirira.* 32 Bw’onoogenda naffe,+ ebirungi byonna Yakuwa by’anaatukolera naffe bye tujja okukukolera.”
33 Awo ne batambula okuva ku lusozi lwa Yakuwa+ olugendo lwa nnaku ssatu, era essanduuko+ y’endagaano ya Yakuwa yabakulemberamu ku lugendo olwo olw’ennaku essatu okubanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu.+ 34 Ekire+ kya Yakuwa kyabakulemberamu emisana nga batambula okuva we baali basiisidde.
35 Essanduuko bwe yasitulibwanga okutwalibwa nga Musa agamba nti: “Situka Ai Yakuwa,+ era abalabe bo ka basaasaane, n’abatakwagala ka badduke okuva mu maaso go.” 36 Bwe yateekebwanga wansi ng’agamba nti: “Komawo Ai Yakuwa eri enkumi n’enkumi za Isirayiri ezitabalika.”+
11 Awo abantu ne beemulugunya nnyo mu maaso ga Yakuwa. Yakuwa bwe yawulira n’asunguwala nnyo, era omuliro ne guva eri Yakuwa ne gutandika okubookya ne gusaanyaawo abamu ku bantu abaali ku nkomerero y’olusiisira. 2 Abantu bwe baakaabirira Musa, Musa ne yeegayirira Yakuwa+ omuliro ne guzikira. 3 Ekifo ekyo ne kituumibwa Tabera* kubanga omuliro gwava eri Yakuwa ne gubookya.+
4 Abagwira+ abaali mu bo ne booleka omululu,+ era Abayisirayiri nabo ne baddamu okukaaba nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye?+ 5 Kale tujjukira ebyennyanja eby’obwereere bye twalyanga e Misiri, ne ccukamba ne wootameroni n’obutungulu ne katunguluccumu!+ 6 Naye kaakano tukenenye. Amaaso gaffe tegalina kirala kye galaba okuggyako emmaanu.”+
7 Emmaanu+ yali ng’obusigo obutono obweru,*+ era ng’efaanana nga bedola.* 8 Abantu baasaasaananga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu kinu, era baagifumbanga mu ntamu oba ne bagikolamu obugaati obwetooloovu.+ Yali ewooma ng’obugaati obuwoomerera obulimu amafuta. 9 Omusulo bwe gwagwanga ku lusiisira ekiro, nga n’emmaanu egwa.+
10 Awo Musa n’awulira abantu nga bakaaba, nga buli maka gakaaba, buli muntu ku mulyango gwa weema ye. Yakuwa n’asunguwala nnyo,+ era ne Musa n’anyiiga nnyo. 11 Awo Musa n’agamba Yakuwa nti: “Lwaki obonyaabonya omuweereza wo? Lwaki nfuuse atasiimibwa mu maaso go, n’ontikka omugugu gw’abantu bano bonna?+ 12 Nze nnyina w’abantu bano bonna? Nze nnabazaala olyoke oŋŋambe nti, ‘Basitule mu kifuba kyo ng’omuweereza* bw’asitula omwana ayonka,’ okubatwala mu nsi gye walayira okuwa bajjajjaabwe?+ 13 Nnaggya wa ennyama gye nnaawa abantu bano bonna? Kubanga bankaabirira nga bagamba nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 14 Abantu bano bonna sisobola kubasitula nzekka; kino kinsukiriddeko.+ 15 Oba nga bw’oti bw’ompisa, nkwegayiridde nzita kati.+ Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, tondeka kweyongera kulaba kabi.”
16 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abasajja 70 mu bakadde ba Isirayiri, b’omanyi nti bakadde b’abantu era bakulu baabwe,+ obatwale ku weema ey’okusisinkaniramu bayimirire eyo naawe. 17 Nja kukka+ njogerere eyo naawe,+ era nja kukuggyako ogumu ku mwoyo+ ogukuliko ngubateekeko, bakuyambengako okwetikka omugugu gw’abantu, oleme kugwetikka wekka.+ 18 Era gamba abantu nti: ‘Mwetukulize olunaku lw’enkya;+ mujja kulya ennyama kubanga mukaabye nga Yakuwa awulira+ ne mugamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye? E Misiri+ twali bulungi.” Yakuwa ajja kubawa ennyama mulye.+ 19 Temujja kugiriira lunaku lumu oba bbiri oba ttaano oba kkumi oba abiri, 20 wabula mujja kugiriira omwezi mulamba, okutuusa lw’eneefulumira mu nnyindo zammwe ne mugyetamwa,+ kubanga mwesambye Yakuwa ali wakati mu mmwe, ne mukaabira mu maaso ge nga mugamba nti: “Twaviira ki e Misiri?”’”+
21 Awo Musa n’agamba nti: “Abantu be ndimu bali abalwanyi 600,000,+ kyokka ggwe ogambye nti, ‘Nja kubawa ennyama bagiriire omwezi mulamba’! 22 Ebisibo byonna n’amagana ne bwe bisalibwa, bisobola okubamala? Oba ebyennyanja byonna ebiri mu nnyanja ne bwe bikwatibwa, bisobola okubamala?”
23 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Omukono gwa Yakuwa mumpi?+ Kaakano ojja kulaba obanga kye njogera tekiituukirire.”
24 Awo Musa n’afuluma n’agamba abantu ebigambo bya Yakuwa. N’akuŋŋaanya abasajja 70 okuva mu bakadde b’abantu n’abayimiriza okwetooloola weema.+ 25 Awo Yakuwa n’akkira mu kire+ n’ayogera naye,+ era n’amuggyako ogumu ku mwoyo+ ogwamuliko n’aguteeka ku buli omu ku bakadde 70. Omwoyo olwali okubakkako ne batandika okweyisa nga bannabbi;*+ naye kino tebaddamu kukikola nate.
26 Waaliwo abasajja babiri abaasigala mu lusiisira. Omu yali ayitibwa Erudaadi, ate omulala Medadi. Omwoyo ne gubakkako kubanga nabo baali ku abo abaawandiikibwa, naye bo baali tebagenze ku weema. Awo ne batandika okweyisa nga bannabbi mu lusiisira. 27 Ne wabaawo omuvubuka eyadduka n’agamba Musa nti: “Erudaadi ne Medadi bali eri mu lusiisira beeyisa nga bannabbi!” 28 Awo Yoswa+ mutabani wa Nuuni, eyali omuweereza wa Musa okuva mu buvubuka bwe n’agamba nti: “Mukama wange Musa, bagaane!”+ 29 Kyokka Musa n’amugamba nti: “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Tokwatibwa buggya ku lwange; nnandyagadde abantu ba Yakuwa bonna babeere bannabbi era Yakuwa abawe omwoyo gwe!” 30 Oluvannyuma Musa n’addayo mu lusiisira awamu n’abakadde ba Isirayiri.
31 Embuyaga n’eva eri Yakuwa n’ereeta obugubi okuva ku nnyanja ne bugwa okwetooloola olusiisira+ ne bubuna ku buli ludda lw’olusiisira ekitundu kya lugendo lwa lunaku lumu, ne bwetuuma, obugulumivu bwa mikono* ng’ebiri okuva ku ttaka. 32 Abantu ne bamala olunaku olwo lwonna, n’ekiro ekyo kyonna, n’olunaku olwaddako lwonna nga bakuŋŋaanya obugubi. Tewali n’omu yakuŋŋaanya bukka wansi wa komeri* kkumi; ne babwanika wonna wonna okwetooloola olusiisira. 33 Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannagigaaya, obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira abantu, Yakuwa n’abasuulamu ekirwadde eky’amaanyi ne bafa bangi nnyo.+
34 Ekifo ekyo ne kituumibwa Kiberosu-kataava,*+ kubanga eyo gye baaziika abantu abaayoleka omululu.+ 35 Bwe baava e Kiberosu-kataava ne bagenda e Kazerosi ne babeera e Kazerosi.+
12 Miriyamu ne Alooni ne batandika okwogera obubi ku Musa olw’omukazi Omukuusi+ gwe yali awasizza. 2 Ne bagamba nti: “Yakuwa ayogera ng’ayitira mu Musa yekka? Tayogera ng’ayitira ne mu ffe?”+ Yakuwa yali awulira.+ 3 Musa ye yali asingayo okuba omuwombeefu mu bantu bonna*+ abaali ku nsi.
4 Amangu ago Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni ne Miriyamu nti: “Mufulume mwensatule mugende ku weema ey’okusisinkaniramu.” Awo bonsatule ne bafuluma ne bagenda. 5 Yakuwa n’akkira mu mpagi y’ekire+ n’ayimirira ku mulyango gwa weema n’ayita Alooni ne Miriyamu. Bombi ne bagenda. 6 N’abagamba nti: “Muwulirize ebigambo byange. Singa wabaawo nnabbi wa Yakuwa mu mmwe, nneemanyisa gy’ali mu kwolesebwa,+ era njogera naye mu kirooto.+ 7 Naye si bwe kiri eri omuweereza wange Musa! Akwasiddwa ennyumba yange yonna.*+ 8 Njogera naye maaso ku maaso,*+ mu ngeri etegeerekeka obulungi so si mu ngero; era Yakuwa yeeyoleka mu maaso ge. Kati lwaki temutidde kwogera bubi ku muweereza wange Musa?”
9 Awo Yakuwa n’abasunguwalira nnyo, era n’avaawo. 10 Ekire ne kiva ku weema, era laba! Miriyamu yali akubiddwa ebigenge ebyali ebyeru ng’omuzira.+ Alooni n’akyuka n’atunuulira Miriyamu n’alaba ng’akubiddwa ebigenge.+ 11 Amangu ago Alooni n’agamba Musa nti: “Nkwegayiridde Mukama wange! Totuvunaana kibi kino! Kye tukoze kibadde kya busirusiru. 12 Nkwegayiridde tomuleka kubeera ng’omwana azaalibwa ng’afudde, azaalibwa ng’omubiri gwe guliiriddwako ekitundu!” 13 Awo Musa n’akaabirira Yakuwa n’amugamba nti: “Ai Katonda, nkwegayiridde muwonye!”+
14 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Singa kitaawe amuwandulidde amalusu mu maaso, teyandibadde na buswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggibwe mu lusiisira abeere ebweru waalwo+ okumala ennaku musanvu, oluvannyuma alyoke akomezebwewo.” 15 Bw’atyo Miriyamu n’aggibwa mu lusiisira n’abeera ebweru waalwo okumala ennaku musanvu,+ era abantu tebaava mu kifo ekyo okutuusa Miriyamu lwe yakomezebwawo. 16 Oluvannyuma abantu baava e Kazerosi+ ne basiisira mu ddungu ly’e Palani.+
13 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Tuma abasajja bagende bakette ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri. Ojja kutuma omusajja omu okuva mu buli kika kya bajjajjaabe, era buli omu ku bo alina okuba nga mwami+ mu kika kye.”+
3 Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu ly’e Palani+ nga Yakuwa bwe yalagira. Abasajja abo bonna baali bakulu b’Abayisirayiri. 4 Gano ge mannya gaabwe: mu kika kya Lewubeeni, Sammuwa mutabani wa Zakkuli; 5 mu kika kya Simiyoni, Safati mutabani wa Koli; 6 mu kika kya Yuda, Kalebu+ mutabani wa Yefune; 7 mu kika kya Isakaali, Igali mutabani wa Yusufu; 8 mu kika kya Efulayimu, Koseya+ mutabani wa Nuuni; 9 mukika kya Benyamini, Paluti mutabani wa Lafu; 10 mu kika kya Zebbulooni, Gadyeri mutabani wa Sodi; 11 mu kika kya Yusufu,+ Gadi mutabani wa Susi ow’omu kika kya Manase;+ 12 mu kika kya Ddaani, Ammiyeri mutabani wa Gemali; 13 mu kika kya Aseri, Sesula mutabani wa Mikayiri; 14 mu kika kya Nafutaali, Nakabi mutabani wa Vofesi; 15 mu kika kya Gaadi, Geweri mutabani wa Maki. 16 Ago ge mannya g’abasajja Musa be yatuma okuketta ensi. Koseya mutabani wa Nuuni, Musa yamutuuma Yoswa.*+
17 Musa bwe yali abatuma okuketta ensi ya Kanani yabagamba nti: “Mwambuke e Negebu, oluvannyuma mugende mu kitundu eky’ensozi.+ 18 Mulabe ensi bw’eri,+ n’abantu abagirimu, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono, 19 era obanga ensi nnungi oba mbi, era obanga babeera mu bibuga ebiriko bbugwe oba ebitaliiko bbugwe. 20 Era mulabe obanga ensi ngimu* oba ya lunnyo,*+ obanga mulimu emiti oba temuli. Mube bavumu+ muleeteyo ku bibala by’omu nsi eyo.” Ekiseera ekyo kyali kiseera ezzabbibu+ we litandikira okwengera.
21 Bwe batyo ne bagenda ne baketta ensi okuviira ddala mu ddungu lya Zini+ okutuuka e Lekobu+ okumpi n’e Lebo-kamasi.*+ 22 Ne bagenda mu Negebu, ne batuuka e Kebbulooni,+ era eyo waaliyo Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi,+ Abaanaki.+ Kebbulooni kyali kimaze emyaka musanvu nga kizimbiddwa, ne Zowani eky’e Misiri ne kiryoka kizimbibwa. 23 Bwe baatuuka mu Kiwonvu Esukoli+ ne batemayo ettabi nga liriko ekirimba kimu eky’ezzabbibu, nga kyetaagisa abasajja babiri okukisitulira ku muti. Baaleeta ne ku nkomamawanga ne ku bibala by’omutiini.+ 24 Ekifo ekyo baakituuma Ekiwonvu Esukoli*+ olw’ekirimba Abayisirayiri kye baatemayo.
25 Oluvannyuma lw’ennaku 40+ baakomawo nga bava okuketta ensi. 26 Bwe baakomawo ne bagenda eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri e Kadesi+ mu ddungu ly’e Palani. Ne bategeeza ekibiina kyonna bye baalaba era ne babalaga n’ebibala eby’omu nsi. 27 Ne bagamba Musa nti: “Twayingira mu nsi gye watutuma okugendamu, era mazima ddala ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ era bino bye bibala byayo.+ 28 Naye abantu ababeera mu nsi eyo ba maanyi, n’ebibuga ebiriko bbugwe binene nnyo; era twalabayo n’Abaanaki.+ 29 Abamaleki+ babeera mu kitundu ky’e Negebu,+ Abakiiti n’Abayebusi+ n’Abaamoli+ babeera mu kitundu eky’ensozi, ate Abakanani+ babeera ku lubalama lw’ennyanja+ n’olw’Omugga Yoludaani.”
30 Kalebu n’agezaako okukkakkanya abantu nga bayimiridde mu maaso ga Musa, n’abagamba nti: “Tugende awatali kulwa; mu buli ngeri ensi tujja kugitwala kubanga tusobolera ddala okugiwangula.”+ 31 Naye abasajja abaagenda naye ne bagamba nti: “Tetusobola kulwanyisa bantu abo kubanga ba maanyi okutusinga.”+ 32 Ne beeyongera okwogera obubi+ ku nsi gye baali bava okuketta, nga bagamba Abayisirayiri nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta erya abantu baayo, era abantu bonna be twalabayo bawagguufu nnyo.+ 33 Era twalabayo n’Abanefuli, abaana ba Anaki,+ abaasibuka mu* Banefuli. Tweraba nga tulinga amayanzi gye bali era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”
14 Awo ekibiina kyonna ne kireekaana, abantu ne bakuba ebiwoobe era ne bakaaba ekiro ekyo kyonna.+ 2 Abayisirayiri bonna ne batandika okwemulugunya ku Musa ne Alooni,+ era ekibiina kyonna ne kibagamba nti: “Kale singa twafiira mu nsi ya Misiri, oba singa twafiira mu ddungu lino! 3 Lwaki Yakuwa atutwala mu nsi eyo okuttibwa n’ekitala?+ Bakazi baffe n’abaana baffe bagenda kufuuka munyago.+ Okuddayo e Misiri si kye kisinga obulungi?”+ 4 Era baagambagana nti: “Tulonde omukulembeze tuddeyo e Misiri!”+
5 Awo Musa ne Alooni ne bavunnama mu maaso g’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ekyali kikuŋŋaanye. 6 Awo Yoswa+ mutabani wa Nuuni ne Kalebu+ mutabani wa Yefune, abaali ku abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuza ebyambalo byabwe, 7 ne bagamba ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta nnungi nnyo ddala.+ 8 Yakuwa bw’aba ng’atusanyukira, ajja kututwala mu nsi eyo agituwe; ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 9 Naye temujeemera Yakuwa era temutya bantu ba mu nsi+ kubanga tujja kubasaanyaawo.* Tebakyalina bukuumi, naye ffe Yakuwa ali naffe.+ Temubatya.”
10 Kyokka ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja.+ Naye ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabikira Abayisirayiri bonna ku weema ey’okusisinkaniramu.+
11 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa obutanzisaamu kitiibwa,+ era balituusa wa obutanneesiga wadde nga nkoze obubonero bungi mu bo?+ 12 Ka mbaleetere endwadde mbasaanyeewo, ggwe nkufuule eggwanga eddene era ery’amaanyi okubasinga.”+
13 Naye Musa n’agamba Yakuwa nti: “Abamisiri mwe waggya abantu bano ng’okozesa amaanyi go bajja kuwulira ekintu kino,+ 14 bakibuulire abantu b’omu nsi eno abawulidde nti ggwe Yakuwa oli mu bantu bano+ era obalabikidde maaso ku maaso.+ Ggwe Yakuwa, era ekire kyo kiyimirira waggulu waabwe; emisana obakulemberamu ng’oli mu mpagi ey’ekire ate ekiro obakulemberamu ng’oli mu mpagi ey’omuliro.+ 15 Singa otta abantu bano bonna omulundi gumu,* amawanga agawulidde ku ttutumu lyo gajja kugamba nti: 16 ‘Yakuwa yattira abantu bano mu ddungu olw’okuba yali tasobola kubatwala mu nsi gye yabalayirira.’+ 17 Kale kaakano Ai Yakuwa, amaanyi go amangi ka geeyoleke nga bwe wasuubiza, bwe wagamba nti: 18 ‘Yakuwa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ asonyiwa ensobi n’okwonoona, naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango, abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.’+ 19 Nkwegayiridde, abantu bano basonyiwe ensobi zaabwe ng’okwagala kwo okungi okutajjulukuka bwe kuli, era nga bw’obadde obasonyiwa okuviira ddala e Misiri okutuusa kati.”+
20 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Mbasonyiye nga bw’ogambye.+ 21 Kyokka, nga bwe ndi omulamu, ensi yonna ejja kujjula ekitiibwa kya Yakuwa.+ 22 Naye abantu bonna abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero+ bwe nnakola e Misiri ne mu ddungu kyokka ne bangezesa+ emirundi gino ekkumi, era ne batawuliriza ddoboozi lyange,+ 23 tebaliraba nsi gye nnalayirira bakitaabwe. Abo bonna abatanzisaamu kitiibwa tebaligiraba.+ 24 Naye olw’okuba omuweereza wange Kalebu+ abadde n’omwoyo ogw’enjawulo n’angoberera n’omutima gwe gwonna, nja kumutwala mu nsi gye yagendamu era ezzadde lye lirigitwala.+ 25 Okuva Abamaleki n’Abakanani+ bwe babeera mu kiwonvu, enkya mukyuse mugende mu ddungu nga muyita mu kkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu.”+
26 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 27 “Ekibiina kino ekibi kirituusa wa okunneemulugunyaako?+ Mpulidde okwemulugunya Abayisirayiri kwe banneemulugunyaako.+ 28 Bagambe nti, ‘“Nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa bw’agamba, “nja kubakolera ddala nga bwe mpulidde mwogera!+ 29 Emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino,+ abo bonna mu mmwe abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, mmwe mmwenna abanneemulugunyizzaako.+ 30 Tewali n’omu ku mmwe ajja kuyingira mu nsi gye nnalayira* okubawa okubeeramu,+ okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.+
31 “‘“Abaana bammwe be mugambye nti bajja kufuuka munyago,+ abo be nja okuyingiza mu nsi, era bajja kumanya ensi gye munyoomye.+ 32 Naye mmwe, emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino. 33 Batabani bammwe baliba basumba mu ddungu okumala emyaka 40,+ era balisasulira ebikolwa byammwe eby’obutali bwesigwa,* okutuusa omulambo gwa buli omu ku mmwe lwe guligwa mu ddungu.+ 34 Ng’omuwendo gw’ennaku ze mwamala nga muketta ensi bwe guli, ze nnaku 40,+ nga buli lunaku lubalwamu mwaka, mujja kumala emyaka 40+ nga musasulira ensobi zammwe, mulyoke mutegeere kye kitegeeza okumpakanya.*
35 “‘“Nze Yakuwa nze njogedde, era bw’entyo bwe nja okukola ekibiina kino kyonna ekibi, abo abakuŋŋaanye okumpakanya: Bajja kuzikiririra mu ddungu lino era muno mwe bajja okufiira.+ 36 Abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta ensi, abaakomawo ne boogera obubi ku nsi ne baleetera ekibiina kyonna okumwemulugunyaako,+ 37 abasajja abo abaayogera obubi ku nsi, bajja kubonerezebwa bafiire mu maaso ga Yakuwa.+ 38 Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, be bokka abajja okusigalawo nga balamu ku abo abaagenda okuketta ensi.”’”+
39 Musa bwe yagamba Abayisirayiri bonna ebigambo ebyo, abantu ne banakuwala nnyo. 40 Awo ne bagolokoka ku makya ennyo ne bagezaako okwambuka ku ntikko y’olusozi nga bagamba nti: “Tuutuno twetegese okugenda mu kifo Yakuwa kye yayogerako, kubanga twonoonye.”+ 41 Naye Musa n’agamba nti: “Lwaki mujeemera ekiragiro kya Yakuwa? Temujja kuwangula. 42 Temwambuka kubanga Yakuwa tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubawangula.+ 43 Abamaleki n’Abakanani abali eyo bajja kubalwanyisa;+ mujja kuttibwa n’ekitala. Olw’okuba mwalekera awo okugoberera Yakuwa, Yakuwa tajja kuba nammwe.”+
44 Kyokka beetulinkiriza ne bambuka ku ntikko y’olusozi,+ naye essanduuko y’endagaano ya Yakuwa teyava wakati mu lusiisira era ne Musa naye bw’atyo.+ 45 Awo Abamaleki n’Abakanani abaali babeera ku lusozi olwo ne bakka ne babakuba ne babasaasaanya okutuukira ddala e Koluma.+
15 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mulituuka mu nsi gye mbawa okubeeramu,+ 3 ne mubaako ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro kye muwaayo eri Yakuwa, okuva mu ggana oba mu kisibo, ka kibe ekiweebwayo ekyokebwa+ nga kiramba oba ssaddaaka gye muwaayo nga muliko obweyamo obw’enjawulo bwe mukola, oba ekiweebwayo ekya kyeyagalire,+ oba ekiweebwayo kye muwaayo nga mukwata embaga zammwe,+ musobole okunyookerereza Yakuwa+ evvumbe eddungi,* 4 oyo anaaleetanga ekiweebwayo kye, era anaaleetanga eri Yakuwa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse+ obutabuddwamu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta g’ezzeyituuni. 5 Bw’onoowangayo ekiweebwayo ekyokebwa+ oba ssaddaaka ey’endiga ento ennume, onoowangayo n’omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, kimu kya kuna ekya yini. 6 Bw’onoowangayo endiga enkulu ennume, onoowangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, bibiri bya kkumi ebya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu kimu kya kusatu ekya yini y’amafuta g’ezzeyituuni. 7 Era onooleetanga omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, kimu kya kusatu ekya yini, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.
8 “‘Naye bw’onoowangayo ente ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa+ oba nga ssaddaaka ng’oliko obweyamo obw’enjawulo+ bw’okola, oba nga ssaddaaka ez’emirembe eri Yakuwa,+ 9 ente eyo ennume onoogiweerangayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ bisatu bya kkumi ebya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu kimu kya kubiri ekya yini y’amafuta g’ezzeyituuni. 10 Era onoowangayo n’omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa,+ kimu kya kubiri ekya yini, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa. 11 Bw’otyo bw’onookolanga ng’owaayo buli nte ennume oba buli ndiga enkulu ennume oba buli ndiga ento ennume oba buli mbuzi. 12 Ng’omuwendo gw’ensolo ze munaawangayo bwe gunaabanga, n’ebigenderako bwe binaabanga. 13 Buli Muyisirayiri bw’atyo bw’anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.
14 “‘Era n’omugwira atuula mu mmwe oba oyo abadde mu mmwe okumala ekiseera ekiwanvu, bw’anaabanga awaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa, anaakoleranga ddala nga nammwe bwe mukola.+ 15 Mmwe ab’omu kibiina n’omugwira atuula mu mmwe mujja kuba n’etteeka limu. Lijja kuba tteeka lya lubeerera eri emirembe gyammwe gyonna. Mmwe n’omugwira mujja kuba mwenkanankana mu maaso ga Yakuwa.+ 16 Wanaabangawo etteeka limu n’ekiragiro kimu gye muli n’eri omugwira atuula mu mmwe.’”
17 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 18 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mutuukanga mu nsi gye mbatwala, 19 ne mulya ku mmere ey’omu nsi eyo,+ mubangako kye muwaayo eri Yakuwa. 20 Munaawangayo ku buwunga obulimu empulunguse bwe munaasookanga+ okusekula, nga mubukozeemu obugaati obwetooloovu.* Munaabuwangayo nga bwe muwaayo eby’omu gguuliro. 21 Mu mirembe gyammwe gyonna munaawangayo eri Yakuwa ku buwunga bwammwe obulimu empulunguse obw’emmere eneesookanga okukungulwa.
22 “‘Bwe munaakolanga ensobi ne mutakwata biragiro bino byonna Yakuwa by’agambye Musa, 23 ebyo byonna Yakuwa by’abalagidde ng’ayitira mu Musa, okuviira ddala ku lunaku Yakuwa lw’abibalagidde n’okweyongerayo mu mirembe gyammwe gyonna, 24 ensobi eyo bw’eneebanga ekoleddwa mu butali bugenderevu era ekibiina ne kitamanya, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu ento ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa eky’evvumbe eddungi* eri Yakuwa, n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri,+ era kinaawangayo n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi.+ 25 Kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri era ensobi eyo eneebasonyiyibwanga,+ kubanga ensobi eyo yakolebwa mu butali bugenderevu, ate nga banaabanga bawaddeyo ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro n’ekiweebwayo olw’ekibi mu maaso ga Yakuwa olw’ensobi yaabwe. 26 Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri era n’omugwira atuula mu bo banaasonyiyibwanga ensobi eyo, kubanga abantu bonna banaabanga bagikoze mu butali bugenderevu.
27 “‘Omuntu yenna bw’anaayonoonanga mu butali bugenderevu, anaaleetanga embuzi enkazi etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo olw’ekibi.+ 28 Kabona anaatangiriranga omuntu eyakola ensobi n’ayonoona mu butali bugenderevu mu maaso ga Yakuwa, ekibi kye kisobole okutangirirwa era kinaamusonyiyibwanga.+ 29 Eri Omuyisirayiri n’eri omugwira atuula mu bo, wanaabangawo etteeka limu gye muli ku bikwata ku kwonoona mu butali bugenderevu.+
30 “‘Naye omuntu anaayonoonanga mu bugenderevu,+ k’abe Muyisirayiri oba mugwira, anaabanga avvodde Yakuwa, era anattibwanga n’aggibwa mu bantu be. 31 Olw’okuba anaabanga anyoomye ekigambo kya Yakuwa era ng’amenye ekiragiro kye, omuntu oyo anattibwanga.+ Ensobi ye eneebanga ku ye.’”+
32 Lwali lumu ng’Abayisirayiri bali mu ddungu, ne wabaawo abaasanga omusajja ng’alonderera obuku ku lunaku lwa Ssabbiiti.+ 33 Abo abaamusanga ng’alonderera obuku baamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna. 34 Ne babaako we bamukuumira+ kubanga eky’okumukolera kyali tekirambikiddwa mu mateeka.
35 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Omusajja oyo attibwe.+ Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.”+ 36 Awo ekibiina kyonna ne kimutwala ebweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
37 Yakuwa n’ayongera n’agamba Musa nti: 38 “Gamba Abayisirayiri bateekenga ebijwenge ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekenga akaguwa aka bbulu waggulu w’olukugiro oluliko ebijwenge.+ 39 ‘Munaabanga n’enkugiro ezo eziriko ebijwenge, musobole okuzirabanga mujjukire ebiragiro bya Yakuwa byonna era mubikwate.+ Temugobereranga mitima gyammwe na maaso gammwe ebibaleetera okwenda mu by’omwoyo.+ 40 Kino kijja kubayamba okujjukira ebiragiro byange byonna era mubikwate, mubeere batukuvu eri Katonda wammwe.+ 41 Nze Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri nkirage nti nze Katonda wammwe.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”+
16 Awo Koola+ mutabani wa Izukali,+ mutabani wa Kokasi,+ mutabani wa Leevi,+ ne yeegatta wamu ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu,+ ne Oni mutabani wa Peresi, ab’oku baana ba Lewubeeni.+ 2 Beegatta ne bawakanya Musa nga bali wamu n’abasajja Abayisirayiri abalala 250, abaali abakulu mu kibiina era abaali abalonde mu kibiina, era nga basajja batutumufu. 3 Bwe batyo ne beekuŋŋaanyiza+ awaali Musa ne Alooni ne babagamba nti: “Tubeetamiddwa. Ab’omu kibiina bonna batukuvu+ era Yakuwa ali mu bo.+ Kale lwaki mwegulumiza ku kibiina kya Yakuwa?”
4 Musa bwe yakiwulira, amangu ago n’avunnama wansi. 5 N’agamba Koola n’abawagizi be bonna nti: “Ku makya Yakuwa ajja kutumanyisa owuwe,+ era omutukuvu, era asaanidde okusembera w’ali;+ oyo yenna gw’anaalonda+ y’anaasembera w’ali. 6 Mukole bwe muti: Koola n’abawagizi+ bo bonna mufune ebyoterezo+ 7 mubiteekemu omuliro era mubiteekeko obubaani nga muli mu maaso ga Yakuwa enkya, olwo oyo Yakuwa gw’anaalonda+ nga ye mutukuvu. Mutuyitiriddeko mmwe abaana ba Leevi!”+
8 Musa era n’agamba Koola nti: “Mumpulirize mmwe abaana ba Leevi. 9 Kintu kitono nnyo gye muli Katonda wa Isirayiri okubaawula mmwe ku kibiina kya Isirayiri+ n’abakkiriza okusembera w’ali okuweereza ku weema ya Yakuwa entukuvu n’okuyimirira mu maaso g’ekibiina okukiweereza,+ 10 era n’okukusembeza ggwe ne baganda bo bonna abaana ba Leevi? Ate era mwagala mutwale n’obwakabona?+ 11 Mu butuufu, ggwe n’ab’omu kibiina kyo abakuŋŋaanye muwakanya Yakuwa. Kale Alooni y’ani mmwe mulyoke mumwemulugunyeeko?”+
12 Oluvannyuma Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu+ batabani ba Eriyaabu, naye ne bagamba nti: “Tetugenda kujja! 13 Kintu kitono nnyo ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okutuleeta otuttire eno mu ddungu?+ Ate kati oyagala na kwefuula mufuzi waffe?* 14 N’ekirala, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ era totuwadde bibanja na nnimiro za mizabbibu ng’obusika bwaffe. Amaaso g’abasajja abo g’onoggyamu? Tetugenda kujja!”
15 Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Yakuwa nti: “Tokyuka kutunuulira kiweebwayo kyabwe eky’emmere ey’empeke. Sibatwalangako ndogoyi yaabwe n’emu, era tewali n’omu ku bo gwe nnali nkozeeko kabi.”+
16 Awo Musa n’agamba Koola nti: “Ggwe n’abawagizi bo bonna mujje mu maaso ga Yakuwa enkya; ggwe, nabo, ne Alooni. 17 Buli omu ku mmwe akwate ekyoterezo kye akiteekeko obubaani, era buli omu atwale ekyoterezo kye mu maaso ga Yakuwa, ebyoterezo 250; era naawe ne Alooni buli omu n’ekyoterezo kye.” 18 Awo buli omu n’akwata ekyoterezo kye, n’akiteekako omuliro n’obubaani ne bayimirira wamu ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 19 Koola bwe yakuŋŋaanyiza abawagizi+ be we baali ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabika eri ekibiina kyonna.+
20 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 21 “Muve mu kibinja kino nkizikirize mu bwangu.”+ 22 Awo ne bavunnama wansi ne bagamba nti: “Ai Katonda, ggwe awa abantu bonna obulamu,+ omuntu omu yekka y’ayonoona n’osunguwalira ekibiina kyonna?”+
23 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 24 “Gamba ekibiina nti, ‘Muve awali weema ya Koola, n’eya Dasani, n’eya Abiraamu!’”+
25 Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu ng’ali wamu n’abakadde+ ba Isirayiri. 26 N’agamba ekibiina nti: “Mbeegayiridde muve awali weema z’abantu bano ababi, era temukwata ku kintu kyabwe kyonna muleme kuzikirizibwa olw’ekibi kyabwe.” 27 Amangu ago ne bava awaali weema ya Koola, n’eya Dasani, n’eya Abiraamu, era Dasani ne Abiraamu ne bafuluma ne bayimirira ku miryango gya weema zaabwe nga bali wamu ne bakazi baabwe n’abaana baabwe.
28 Musa n’agamba nti: “Ku kino kwe munaamanyira nti Yakuwa ye yantuma okukola ebintu bino byonna era nti sibikola ku bwange: 29 Abantu bano bwe banaafa ng’abantu abalala bonna bwe bafa, era bwe banaabonerezebwa ng’abantu abalala bonna bwe babonerezebwa, nga Yakuwa si ye yantuma.+ 30 Naye Yakuwa bw’anaabakola ekintu ekitali kya bulijjo, ettaka ne lyasama* ne libamira bo n’ebyabwe byonna ne bakkirira emagombe* nga balamu, mujja kukimanya nti abasajja bano tebawadde Yakuwa kitiibwa.”
31 Olwamala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka kwe baali ne lyeyasaamu.+ 32 Ettaka ne lyasama ne libamira awamu n’ab’ennyumba zaabwe n’abantu ba Koola+ bonna n’ebintu byabwe byonna. 33 Bwe batyo ne bakkirira emagombe* n’abantu baabwe bonna nga balamu, ettaka ne libabikka ne bazikirira.*+ 34 Abayisirayiri bonna abaali babeetoolodde bwe baawulira nga baleekaana ne badduka nga bagamba nti: “Lekooti, si kulwa nga naffe ettaka litumira!” 35 Awo omuliro ne guva eri Yakuwa+ ne gwokya abasajja 250 abaali bootereza obubaani.+
36 Yakuwa n’agamba Musa nti: 37 “Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo+ mu muliro kubanga bitukuvu. Era mugambe omuliro agusaasaanyize walako; 38 ebyoterezo by’abasajja abo abafudde olw’okwonoona bikolebwemu obubaati bubikke ku kyoto,+ kubanga baabireese mu maaso ga Yakuwa ne bifuuka bitukuvu; era bijja kuba ng’akabonero eri Abayisirayiri.”+ 39 Awo Eriyazaali kabona n’atwala ebyoterezo eby’ekikomo ebyali bireeteddwa abo abaayokebwa, ne babiweesaamu eby’okubikka ku kyoto, 40 nga Yakuwa bwe yamugamba ng’ayitira mu Musa. Ekyo kyali kya kujjukizanga Abayisirayiri nti tewali muntu mulala yenna atali wa mu zzadde lya Alooni alina kujja kwotereza bubaani mu maaso ga Yakuwa,+ era nti tewalina kubaawo muntu aba nga Koola n’abawagizi be.+
41 Ku lunaku olwaddako ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ne kyemulugunya ku Musa ne Alooni+ nga kigamba nti: “Mmwe mwasse abantu ba Yakuwa.” 42 Awo ekibiina bwe kyali nga kikuŋŋaanidde awaali Musa ne Alooni, bonna ne bakyuka ne batunula awaali weema ey’okusisinkaniramu; era ekire kyali kigibisse, era ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabika.+
43 Awo Musa ne Alooni ne bagenda mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu,+ 44 Yakuwa n’agamba Musa nti: 45 “Muve mu kibiina kino nkizikirize mu bwangu.”+ Awo ne bavunnama wansi.+ 46 Oluvannyuma Musa n’agamba Alooni nti: “Twala ekyoterezo oggye omuliro ku kyoto+ oguteekemu era okiteekeko n’obubaani ogende mangu eri ekibiina okitangirire,+ kubanga Yakuwa asunguwadde. Ekirwadde kitandise!” 47 Amangu ago Alooni n’atwala ekyoterezo nga Musa bwe yali amugambye, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina, era laba! ekirwadde kyali kitandise mu bantu. Bw’atyo n’akiteekako obubaani n’atangirira abantu. 48 N’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, era ekirwadde kyalwaddaaki ne kirekera awo. 49 Abaafa ekirwadde baali 14,700, nga tobaliddeeko abo abaafa olwa Koola. 50 Alooni we yaddira eri Musa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, ekirwadde kyali kirekedde awo.
17 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri era oggye ku baami b’ennyumba za bakitaabwe omuggo gumu gumu ku lwa buli nnyumba ya bakitaabwe,+ gye miggo 12. Ojja kuwandiika erinnya lya buli omu ku muggo gwe. 3 Erinnya lya Alooni ojja kuliwandiika ku muggo gwa Leevi, kubanga buli mukulu w’ennyumba ya bakitaabwe alinako omuggo gumu. 4 Ojja kuteeka emiggo mu weema ey’okusisinkaniramu mu maaso g’Essanduuko ey’Obujulirwa+ we mbalabikira bulijjo.+ 5 Era omuggo gw’omuntu gwe nnaalonda+ gujja kuloka, ndyoke mmalewo okwemulugunya Abayisirayiri kwe banneemulugunyaako,+ era nammwe kwe babeemulugunyaako.”+
6 Awo Musa n’ayogera n’Abayisirayiri, era abaami baabwe bonna ne bamuwa buli omu omuggo gumu, buli mwami wa nnyumba ya bakitaabwe omuggo gumu, gye miggo 12; n’omuggo gwa Alooni gwali wamu n’emiggo gyabwe. 7 Awo Musa n’ateeka emiggo mu maaso ga Yakuwa mu weema ey’Obujulirwa.
8 Ku lunaku olwaddako Musa bwe yagenda mu weema ey’Obujulirwa, laba! omuggo gwa Alooni ogw’ennyumba ya Leevi gwali gulose, nga guleese emitunsi, nga gumulisizza, era nga guliko ebibala by’omuloozi ebyengevu. 9 Musa n’aggya emiggo gyonna mu maaso ga Yakuwa n’agireeta eri Abayisirayiri bonna, ne bagiraba era buli omu n’atwala omuggo gwe.
10 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Omuggo+ gwa Alooni guzzeeyo mu maaso g’Essanduuko ey’Obujulirwa guterekebwe okuba akabonero+ eri abaana ab’obujeemu,+ balekere awo okunneemulugunyaako, era baleme okufa.” 11 Amangu ago Musa n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira. Yakolera ddala bw’atyo.
12 Awo Abayisirayiri ne bagamba Musa nti: “Kaakano tugenda kufa, tugenda kusaanawo, ffenna tugenda kusaanawo! 13 Omuntu yenna anaasemberera weema ya Yakuwa ajja kufa!+ Ffenna tugenda kufa?”+
18 Awo Yakuwa n’agamba Alooni nti: “Ggwe ne batabani bo n’ab’ennyumba ya kitaawo mujja kuvunaanibwanga nga waliwo etteeka lyonna erikwata ku kifo ekitukuvu erimenyeddwa,+ era ggwe ne batabani bo mujja kuvunaanibwanga nga waliwo etteeka lyonna erikwata ku bwakabona erimenyeddwa.+ 2 Sembeza baganda bo ab’ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, bakwegatteko era bakuweerezenga+ ggwe ne batabani bo, mu maaso ga weema ey’Obujulirwa.+ 3 Banaatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe balina gy’oli era n’obwo obukwata ku weema yonna.+ Kyokka tebasembereranga ebintu by’omu kifo ekitukuvu n’ekyoto baleme okufa era nammwe muleme okufa.+ 4 Banaakwegattangako ne batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’oku weema ey’okusisinkaniramu era ne bakola emirimu gyonna egy’oku weema; era omuntu omulala yenna* tabasembereranga mmwe.+ 5 Mulina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe obw’omu kifo ekitukuvu+ n’obuvunaanyizibwa bwammwe obw’ekyoto,+ Abayisirayiri baleme kusunguwalirwa nate.+ 6 Nze kennyini nzigye baganda bammwe Abaleevi mu Bayisirayiri okuba ekirabo gye muli.+ Baweereddwa Yakuwa okukola emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu.+ 7 Ggwe ne batabani bo mmwe muvunaanyizibwa ku mirimu gyammwe egy’obwakabona egikwataganyizibwa n’ekyoto n’ebyo ebiri munda w’olutimbe,+ era mmwe mujja okukolanga emirimu egyo.+ Mbawadde obuweereza bw’obwakabona ng’ekirabo, era omuntu omulala yenna* anaasembereranga ekifo ekitukuvu anattibwanga.”+
8 Yakuwa era n’agamba Alooni nti: “Nkukwasizza ebintu ebinaabanga bimpeereddwa.+ Ggwe ne batabani bo mbawadde ku bintu byonna ebitukuvu Abayisirayiri bye bawaayo, bibenga omugabo gwammwe ogw’olubeerera.+ 9 Bino bye binaabanga ebibyo ku bintu ebitukuvu ennyo ebyokebwa n’omuliro: buli kiweebwayo kye banaawangayo nga muno mmwe muli ebiweebwayo byabwe eby’emmere ey’empeke+ n’ebiweebwayo olw’ekibi+ n’ebiweebwayo olw’omusango+ bye banaaleetanga gye ndi. Binaabanga bitukuvu gy’oli n’eri batabani bo. 10 Onoobiriiranga mu kifo ekitukuvu ennyo+ era buli musajja anaabiryangako. Binaabanga bitukuvu gy’oli.+ 11 Na bino binaabanga bibyo: ebirabo bye banaawangayo+ awamu n’ebiweebwayo ebiwuubibwa byonna+ eby’Abayisirayiri. Mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, bibenga omugabo gwammwe ogw’olubeerera.+ Buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo ayinza okubiryako.+
12 “Amafuta agasingayo obulungi gonna n’omwenge omusu ogusingayo obulungi gwonna, n’emmere ey’empeke, ebibala byabwe ebibereberye+ bye banaawanga Yakuwa, mbikuwadde.+ 13 Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleetanga eri Yakuwa, binaabanga bibyo.+ Buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo anaabiryangako.
14 “Buli kintu ekinaayawulibwangawo okuba ekitukuvu mu Isirayiri kinaabanga kikyo.+
15 “Buli kiggulanda mu bintu ebiramu byonna+ kye banaaleetanga eri Yakuwa, k’abe omuntu oba ensolo, kinaabanga kikyo. Kyokka omubereberye mu bantu onoomununulanga,+ era n’ebisolo ebibereberye mu nsolo ezitali nnongoofu onoobinunulanga.+ 16 Onoobinunulanga n’omuwendo ogununula, nga bya mwezi gumu n’okudda waggulu, okusinziira ku muwendo omugereke, ze sekeri za ffeeza ttaano,+ nga sekeri* ey’omu kifo ekitukuvu bw’eri.* Sekeri emu ze gera* 20. 17 Ente ennume n’endiga ento ennume n’embuzi ebibereberye byokka by’otaanunulenga.+ Byo bitukuvu. Omusaayi gwabyo onoogumansiranga ku kyoto,+ era amasavu gaabyo onoogookyanga ng’ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.+ 18 Ennyama yaabyo eneebanga yiyo. Eneebanga yiyo ng’ekifuba ky’ekiweebwayo ekiwuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe biri ebibyo.+ 19 Ebintu byonna ebitukuvu Abayisirayiri bye banaawanga Yakuwa+ mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, bibenga omugabo gwammwe ogw’olubeerera.+ Eyo ndagaano ey’omunnyo ey’olubeerera* eri wakati wa Yakuwa naawe n’ezzadde lyo.”
20 Yakuwa n’ayongera n’agamba Alooni nti: “Tojja kuba na busika mu nsi yaabwe era tojja kuba na ttaka mu bo.+ Nze mugabo gwo era nze busika bwo mu Bayisirayiri.+
21 “Era laba, abaana ba Leevi mbawadde buli kimu eky’ekkumi+ mu Isirayiri ng’obusika olw’emirimu gye bakola ku weema ey’okusisinkaniramu. 22 Abayisirayiri tebaddamu okusemberera weema ey’okusisinkaniramu, baleme okwonoona ne bafa. 23 Abaleevi be banaakolanga emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu, era be banaavunaanibwanga ng’abantu bamenye amateeka agakwata ku kifo ekitukuvu.+ Tebajja kufuna busika mu Bayisirayiri;+ eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna. 24 Ekimu eky’ekkumi Abayisirayiri kye banaawangayo eri Yakuwa nkiwadde Abaleevi okuba obusika. Kyenvudde mbagamba nti, ‘Tebalina kufuna busika mu Bayisirayiri.’”+
25 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 26 “Ojja kugamba Abaleevi nti, ‘Mujja kufuna okuva eri Abayisirayiri ekimu eky’ekkumi kye mbawadde ng’obusika+ okuva gye bali, era ku kimu eky’ekkumi ekyo munaggyangako kimu kya kkumi ne mukiwaayo eri Yakuwa.+ 27 Era ekyo kijja kutwalibwanga ng’ekiweereddwayo mmwe; kijja kuba ng’emmere ey’empeke evudde mu gguuliro+ lyammwe era ng’omwenge omungi oba amafuta amangi ebivudde mu masogolero gammwe. 28 Mu ngeri eyo nammwe munaawangayo eri Yakuwa okuva ku bitundu byonna eby’ekkumi bye munaafunanga okuva eri Abayisirayiri, era ku ebyo kwe munaggyanga eky’okuwa Yakuwa, ne mukiwa Alooni kabona. 29 Ku birabo byonna ebisingayo obulungi bye munaaweebwanga,+ kwe munaggyanga ebintu ebya buli ngeri ne mubiwa Yakuwa ng’ekintu ekitukuvu.’
30 “Era ojja kubagamba nti, ‘Bwe munaawangayo ebisinga obulungi ku ebyo bye munaaweebwanga, ebinaabanga bisigaddewo binaabanga byammwe Abaleevi, bijja kuba ng’emmere ey’empeke evudde mu gguuliro lyammwe era n’omwenge oba amafuta ebivudde mu masogolero gammwe. 31 Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe musobola okubiriira mu kifo kyonna, kubanga ye mpeera yammwe olw’okuweereza kwe muweereza ku weema ey’okusisinkaniramu.+ 32 Era temuubengako kibi mu nsonga eno kasita munaawangayo ebisinga obulungi ku byo; temujaajaamyanga bintu bitukuvu eby’Abayisirayiri muleme okufa.’”+
19 Yakuwa era n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti: 2 “Lino lye tteeka Yakuwa ly’alagidde, ‘Gamba Abayisirayiri bakufunire ente eya lukunyu ennamu obulungi, etaliiko bulema,+ era etateekebwangako kikoligo. 3 Mujja kugiwa Eriyazaali kabona; ajja kugitwala ebweru w’olusiisira era bajja kugittira mu maaso ge. 4 Eriyazaali kabona ajja kunnyika olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu.+ 5 Era ente ejja kwokebwa ng’alaba. Eddiba lyayo n’ennyama yaayo n’omusaayi gwayo awamu n’obusa bwayo bijja kwokebwa.+ 6 Kabona ajja kuddira ettabi ly’omuti gw’entolokyo n’obutabi bwa ezobu+ n’olugoye olumyufu abisuule mu muliro ente eyo mw’eyokerwa. 7 Era kabona ajja kwoza ebyambalo bye era anaabe n’amazzi. Oluvannyuma ajja kuba asobola okuyingira mu lusiisira, naye tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 “‘Oyo anaaba agyokezza ajja kwoza ebyambalo bye n’amazzi era anaabe n’amazzi; tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 “‘Omuntu omulongoofu ajja kuyoola evvu ly’ente+ aliteeke wabweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu; ekibiina ky’Abayisirayiri kijja kulitereka likozesebwenga mu kuteekateeka amazzi ag’okutukuza.+ Ekyo kye kiweebwayo olw’ekibi. 10 Oyo anaaba ayodde evvu ly’ente ajja kwoza ebyambalo bye era tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.
“‘Lino linaabanga tteeka lya lubeerera eri Abayisirayiri n’eri omugwira atuula mu bo.+ 11 Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna anaamalanga ennaku musanvu+ nga si mulongoofu. 12 Ku lunaku olw’okusatu aneetukuzanga n’amazzi ago* era ku lunaku olw’omusanvu anaabanga mulongoofu. Naye bw’ateetukuzenga ku lunaku olw’okusatu, ku lunaku olw’omusanvu taabenga mulongoofu. 13 Buli muntu anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna, n’ateetukuza, anaabanga ayonoonye weema+ ya Yakuwa entukuvu era anattibwanga n’aggibwa mu Isirayiri.+ Taabenga mulongoofu olw’okuba anaabanga tamansiddwako mazzi ag’okutukuza.+ Obutali bulongoofu bwe bunaabanga bukyamuliko.
14 “‘Lino lye tteeka erinaagobererwanga ng’omuntu afiiridde mu weema: Buli anaayingiranga mu weema eyo, na buli anaabanga mu weema eyo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. 15 Buli kintu ekinaabanga kyasaamiridde nga tekisibiddwako kisaanikira, tekiibenga kirongoofu.+ 16 Buli muntu anaabanga ku ttale n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.+ 17 Oyo atali mulongoofu banaamutooleranga ku vvu ery’ekiweebwayo olw’ekibi ekyayokebwa ne baliteeka mu kibya ne bayiwamu amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta. 18 Omuntu omulongoofu+ anaddiranga obutabi bwa ezobu+ n’abunnyika mu mazzi n’agamansira ku weema ne ku bintu byonna ebigibaddemu ne ku bantu abagibaddemu ne ku oyo anaabanga akutte ku ggumba ly’omuntu oba ku muntu eyattibwa oba ku mulambo oba ku malaalo. 19 Omuntu omulongoofu anaagamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw’okusatu n’olw’omusanvu era anaamutukuzanga okuva mu kibi ku lunaku olw’omusanvu;+ anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba n’amazzi, era akawungeezi anaabanga mulongoofu.
20 “‘Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateetukuzenga, anattibwanga n’aggibwa mu kibiina,+ kubanga anaabanga ayonoonye ekifo kya Yakuwa ekitukuvu. Amazzi ag’okutukuza ganaabanga tegamumansiddwako. Taabenga mulongoofu.
21 “‘Lino linaabanga tteeka lya lubeerera gye bali: Oyo amansira amazzi ag’okutukuza+ anaayozanga ebyambalo bye, era n’oyo akwata ku mazzi ag’okutukuza taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 Era ekintu kyonna atali mulongoofu ky’anaakwatangako tekiibenga kirongoofu, n’omuntu anaakikwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.’”+
20 Awo ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ne kituuka mu ddungu ly’e Zini mu mwezi ogusooka, abantu ne babeera e Kadesi.+ Eyo Miriyamu+ gye yafiira era gye yaziikibwa.
2 Awo ekibiina ne kitaba na mazzi+ era abantu ne beekuŋŋaanyiza awali Musa ne Alooni. 3 Abantu ne bayombesa Musa+ nga bagamba nti: “Kale singa naffe twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Yakuwa! 4 Lwaki mwaleeta ekibiina kya Yakuwa mu ddungu lino, ffe n’ebisolo byaffe okufiira eno?+ 5 Era lwaki mwatuggya e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi?+ Si kifo kya nsigo, si kya mitiini, si kya mizabbibu, si kya nkomamawanga, era tekiriimu na mazzi ga kunywa.”+ 6 Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ne bagenda ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu ne bavunnama wansi, era ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabika gye bali.+
7 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 8 “Twala omuggo oyite ekibiina, ggwe ne muganda wo Alooni mwogere eri olwazi nga balaba, olwazi luveemu amazzi; ojja kuggya amazzi mu lwazi owe ekibiina kinywe era n’ensolo zaabwe zinywe.”+
9 Awo Musa n’aggya omuggo mu maaso ga Yakuwa,+ nga bwe yamulagira. 10 Oluvannyuma Musa ne Alooni ne bayita ekibiina ne kikuŋŋaanira mu maaso g’olwazi, Musa n’abagamba nti: “Muwulire mmwe abajeemu! Mu lwazi luno mwe tunaabaggira amazzi?”+ 11 Awo Musa n’agolola omukono gwe n’akuba omuggo ku lwazi emirundi ebiri ne muvaamu amazzi mangi, ekibiina ne kinywa era n’ensolo zaabwe ne zinywa.+
12 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: “Olw’okuba temuntaddeemu bwesige okuntukuliza mu maaso g’Abayisirayiri, temujja kutwala kibiina kino mu nsi gye ŋŋenda okubawa.”+ 13 Gano ge mazzi g’e Meriba*+ Abayisirayiri gye baayombeseza Yakuwa, era n’atukuzibwa mu bo.
14 Awo Musa n’atuma ababaka okuva e Kadesi bagende eri kabaka wa Edomu+ bamugambe nti: “Bw’ati muganda wo Isirayiri+ bw’agamba, ‘Omanyi bulungi ebizibu byonna ebitutuuseeko. 15 Bajjajjaffe baagenda e Misiri,+ ne tubeera eyo okumala emyaka* mingi+ era Abamisiri ne batuyisa bubi ffe ne bajjajjaffe.+ 16 Twakaabirira Yakuwa+ n’awulira eddoboozi lyaffe n’atuma malayika+ n’atuggya e Misiri; era tuutuno tuli Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo y’ensi yo. 17 Tukwegayiridde ka tuyite mu nsi yo. Tetujja kuyita mu nnimiro yonna oba mu nnimiro y’emizabbibu, era tetujja kunywa mazzi mu luzzi lwonna. Tujja kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka. Tetujja kukyama ku ddyo oba ku kkono okutuusa nga tuyise mu nsi yo.’”+
18 Kyokka Edomu n’amugamba nti: “Toyita mu nsi yaffe. Bw’onoogiyitamu nja kujja nkwaŋŋange n’ekitala.” 19 Abayisirayiri ne bamugamba nti: “Tujja kuyita mu luguudo olunene, era ffe n’ebisolo byaffe bwe tunaanywa amazzi go, tujja kugasasulira.+ Tetulina kye twagala okuggyako okuyitamu obuyisi n’ebigere.”+ 20 Naye era n’agamba nti: “Toyitamu.”+ Awo kabaka wa Edomu n’afuluma okumwaŋŋanga ng’ali n’ekibiina ekinene era n’eggye ery’amaanyi.* 21 Bw’atyo Edomu n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye; Isirayiri n’amuviira.+
22 Awo ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiva e Kadesi ne kituuka ku Lusozi Kooli.+ 23 Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nga bali ku Lusozi Kooli ku nsalo y’ensi ya Edomu nti: 24 “Alooni ajja kugoberera abantu be.*+ Tajja kuyingira mu nsi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri, olw’okuba mmwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku bikwata ku mazzi g’e Meriba.+ 25 Twala Alooni ne Eriyazaali mutabani we ku Lusozi Kooli, 26 oyambule Alooni ebyambalo+ bye eby’obwakabona obyambaze Eriyazaali+ mutabani we; era Alooni ajja kufiira eyo.”*
27 Awo Musa n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, ne bambuka ku Lusozi Kooli ng’ekibiina kyonna kiraba. 28 Musa n’ayambula Alooni ebyambalo by’obwakabona n’abyambaza Eriyazaali mutabani we, oluvannyuma Alooni n’afiira eyo waggulu ku lusozi.+ Musa ne Eriyazaali ne bakka okuva ku lusozi. 29 Ekibiina kyonna bwe kyategeera nti Alooni afudde, ennyumba ya Isirayiri yonna n’ekaabira Alooni okumala ennaku 30.+
21 Awo kabaka Omukanani ow’e Aladi+ eyali abeera mu Negebu bwe yawulira nti Abayisirayiri baali bazze nga bayitidde mu kkubo ery’e Asalimu, n’abalumba era n’awambako abamu ku bo. 2 Abayisirayiri ne beeyama eri Yakuwa nga bagamba nti: “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, tujja kuzikiririza ddala ebibuga byabwe.” 3 Yakuwa n’awuliriza eddoboozi lyabwe bw’atyo n’awaayo Abakanani, ne babazikiriza era n’ebibuga byabwe ne babizikiriza. Ekifo ekyo ne bakituuma Koluma.*+
4 Bwe baali batambula nga bava ku Lusozi Kooli+ nga bakutte ekkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu baleme okuyita mu nsi ya Edomu,+ abantu ne batandika okukoowa olw’olugendo. 5 Abantu ne beemulugunya ku Katonda ne ku Musa+ nga bagamba nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri tufiire eno mu ddungu? Tewali mmere wadde amazzi,+ era twetamiddwa emmere eno enyoomebwa.”+ 6 Yakuwa n’asindika emisota egy’obusagwa* mu bantu ne gibabojja, era Abayisirayiri bangi ne bafa.+
7 Awo abantu ne bajja eri Musa ne bamugamba nti: “Twonoonye kubanga twogedde bubi ku Yakuwa ne ku ggwe.+ Twegayiririre Yakuwa atuggyeko emisota.” Awo Musa ne yeegayirira ku lw’abantu.+ 8 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana omusota ogw’obusagwa,* oguwanike ku kikondo. Omuntu yenna bw’anaabojjebwa, alina okugutunuulira asobole okusigala nga mulamu.” 9 Amangu ago Musa n’akola omusota ogw’ekikomo+ n’aguwanika ku kikondo;+ era omusota bwe gwabojjanga omuntu, omuntu oyo n’atunula ku musota ogw’ekikomo ng’asigala mulamu.+
10 Oluvannyuma Abayisirayiri ne batambula ne bagenda basiisira mu Obosi.+ 11 Ne bava mu Obosi ne basiisira mu Yiye-abalimu,+ mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12 Ne bava eyo ne basiisira mu Kiwonvu Zeredi.+ 13 Ne bava eyo ne basiisira mu kitundu kya Alunoni,+ ekiri mu ddungu erituuka ku nsalo y’Abaamoli; Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, wakati wa Mowaabu n’Abaamoli. 14 Eno ye nsonga lwaki ekitabo ky’Entalo za Yakuwa kyogera ku “Vakebu ekiri mu Sufa, Ekiwonvu Alunoni; 15 Ekiwonvu ekyo kigendera ddala okwolekera ekibuga Ali era kiyita ne ku nsalo ya Mowaabu.”
16 Ne bava eyo ne bagenda e Beeri. Olwo lwe luzzi Yakuwa lwe yayogerako ng’agamba Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu mbawe amazzi.”
17 Mu kiseera ekyo Isirayiri yayimba oluyimba luno:
“Fubutukayo ggwe oluzzi! Muluyimbire!
18 Oluzzi abaami lwe baasima, abakungu mu bantu lwe baasima,
Baalusimisa muggo gw’oyo afuga era n’emiggo gyabwe gyennyini.”
Awo ne bava mu ddungu ne bagenda e Matana. 19 Ne bava e Matana ne bagenda e Nakaliyeri, ne bava e Nakaliyeri ne bagenda e Bamosi.+ 20 Ne bava e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri mu nsi ya Mowaabu,+ ku ntikko ya Pisuga,+ era entikko eyo etunudde mu Yesimoni.*+
21 Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abaamoli ng’agamba nti:+ 22 “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kukyama mu nnimiro oba mu lusuku lwa mizabbibu. Tetujja kunywa mazzi mu luzzi lwonna. Tujja kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka okutuusa lwe tunaayita mu nsi yo.”+ 23 Naye Sikoni teyakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye, wabula yakuŋŋaanya abantu be bonna n’agenda okwaŋŋanga Isirayiri mu ddungu, n’atuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri.+ 24 Kyokka Isirayiri n’amuwangula ng’akozesa ekitala+ era n’atwala ensi+ ye okuva ku Alunoni+ okutuuka ku Yabboki,+ okuliraana Abaamoni; kubanga Yazeri+ kiri ku nsalo y’ensi y’Abaamoni.+
25 Bw’atyo Isirayiri n’atwala ebibuga bino byonna, era Abayisirayiri ne batandika okubeera mu bibuga byonna eby’Abaamoli,+ mu Kesuboni n’obubuga bwonna obukyetoolodde. 26 Kesuboni kyali kibuga kya Sikoni kabaka w’Abaamoli eyalwana ne kabaka wa Mowaabu n’amutwalako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni. 27 Kino kye kyaviirako enjogera ey’okuyeeya egamba nti:
“Jjangu e Kesuboni.
Ekibuga kya Sikoni ka kizimbibwe era kinywezebwe.
28 Kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, olulimi lw’omuliro luvudde mu kibuga kya Sikoni.
Gwokezza Ali ekya Mowaabu, gwokezza abakulu b’ebifo ebigulumivu eby’omu Alunoni.
29 Zikusanze ggwe Mowaabu! Mujja kuzikirizibwa mmwe abantu ba Kemosi!+
Batabani be abafuula mmomboze ne bawala be abafuula bawambe ba Sikoni, kabaka w’Abaamoli.
30 Ka tubalase.
Kesuboni kijja kuzikirizibwa okutuuka e Diboni;+
Ka tukizikirize okutuuka e Nofa;
Omuliro gujja kusaasaana gutuuke e Medeba.”+
31 Bw’atyo Isirayiri n’atandika okubeera mu nsi y’Abaamoli. 32 Musa n’abaako abasajja b’atuma okuketta Yazeri.+ Ne bawamba obubuga obwali bukyetoolodde, ne bagobamu Abaamoli abaali babeeramu. 33 Oluvannyuma ne baweta ne bakwata ekkubo erigenda e Basani. Awo Ogi+ kabaka wa Basani n’ajja n’abantu be bonna okulwana nabo e Edereyi.+ 34 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Tomutya+ kubanga ŋŋenda kumuwaayo mu mukono gwo,+ ye n’abantu be bonna n’ensi ye; era ojja kumukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni.”+ 35 Awo ne bamutta awamu ne batabani be n’abantu be bonna, ne watasigalawo n’omu ku bantu be+ era ne batwala ensi ye.+
22 Awo Abayisirayiri ne bava eyo ne basiisira mu ddungu lya Mowaabu emitala wa Yoludaani ng’otunudde e Yeriko.+ 2 Awo Balaki+ mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abaamoli. 3 Mowaabu n’atya nnyo olw’okuba abantu baali bangi; Mowaabu n’atekemuka olw’Abayisirayiri.+ 4 Mowaabu n’agamba abakadde ba Midiyaani+ nti: “Ekibiina kino kijja kulya era kisaanyeewo byonna ebitwetoolodde, ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”
Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu kiseera ekyo. 5 Awo n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli e Pesoli+ ekiri okumpi n’Omugga* ogw’omu nsi y’ewaabwe. Yamuyita ng’amugamba nti: “Waliwo abantu abavudde e Misiri ababuutikidde ensi,+ era bali mu maaso gange wennyini. 6 Nkwegayiridde jjangu onnyambe okolimire abantu bano+ kubanga bansinga amaanyi; oboolyawo nnaasobola okubawangula ne mbagoba mu nsi. Kubanga nkimanyi nti oyo gw’owa omukisa aba n’omukisa era oyo gw’okolimira aba akolimiddwa.”
7 Awo abakadde ba Mowaabu n’abakadde ba Midiyaani ne batwala bye banaasasulira okulagulibwa ne bagenda eri Balamu+ ne bamubuulira ebigambo bya Balaki. 8 Balamu n’abagamba nti: “Musule wano ekiro kya leero, nange nja kubabuulira kyonna Yakuwa ky’anaŋŋamba.” Bwe batyo abaami ba Mowaabu ne basula ewa Balamu.
9 Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti:+ “Abasajja bano abali naawe be baani?” 10 Balamu n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, ampeerezza obubaka ng’agamba nti, 11 ‘Waliwo abantu abavudde e Misiri ababuutikidde ensi. Jjangu onnyambe obakolimire,+ oboolyawo nnaasobola okubalwanyisa ne mbagobamu.’” 12 Naye Katonda n’agamba Balamu nti: “Togenda nabo era tokolimira bantu abo kubanga baaweebwa omukisa.”+
13 Awo Balamu bwe yagolokoka enkeera n’agamba abaami ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe kubanga Yakuwa aŋŋaanye okugenda nammwe.” 14 Abaami ba Mowaabu ne baddayo eri Balaki ne bamugamba nti: “Balamu agaanye okujja naffe.”
15 Kyokka Balaki n’addamu n’atuma abaami bangi okusinga abaasooka era nga ba kitiibwa okubasinga. 16 Ne bagenda eri Balamu ne bamugamba nti: “Bw’ati Balaki mutabani wa Zipoli bw’agamba, ‘Nkwegayiridde tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kujja gye ndi. 17 Nja kukugulumiza nnyo, era kyonna ky’onoŋŋamba nja kukikola. Nkwegayiridde jjangu onnyambe okolimire abantu bano.’” 18 Naye Balamu n’agamba abaweereza ba Balaki nti: “Balaki ne bw’aba wa kumpa nnyumba ye ng’ejjudde ffeeza ne zzaabu, sisobola kukola kintu kyonna Yakuwa Katonda wange ky’atalagidde, ka kibe kitono oba kinene.+ 19 Nammwe musule wano ekiro kya leero mmale okumanya Yakuwa ky’anaŋŋamba nate.”+
20 Katonda n’ajja eri Balamu ekiro n’amugamba nti: “Abasajja bano bwe baba nga bakukimye, genda nabo. Naye ebyo byokka bye nnaakugamba by’ojja okwogera.”+ 21 Awo Balamu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye* n’agenda n’abaami ba Mowaabu.+
22 Katonda n’asunguwala nnyo olw’okuba Balamu yali agenda, era malayika wa Yakuwa n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, era nga n’abaweereza be babiri bali naye. 23 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Yakuwa ng’ayimiridde mu kkubo ng’asowoddeyo ekitala kye, n’egezaako okukyama okuva mu kkubo egende ku ttale, naye Balamu n’atandika okugikuba edde mu kkubo. 24 Awo malayika wa Yakuwa n’ayimirira mu kkubo effunda eryali wakati w’ennimiro z’emizabbibu ng’eruuyi n’eruuyi eriyo ekisenge eky’amayinja. 25 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Yakuwa, ne yeenyigiriza ku kisenge era n’enyigiriza n’ekigere kya Balamu ku kisenge. Balamu n’addamu okugikuba.
26 Malayika wa Yakuwa ne yeeyongerayo mu maaso n’ayimirira awafunda ennyo awaali watayinza kukyukirwa ku ddyo oba ku kkono. 27 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Yakuwa, n’etuula wansi nga Balamu agituddeko; Balamu n’asunguwala, n’agikuba n’omuggo gwe. 28 Oluvannyuma Yakuwa n’asobozesa endogoyi okwogera,*+ n’egamba Balamu nti: “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino esatu?”+ 29 Balamu n’agamba endogoyi nti: “Kubanga onfudde ng’omusiru. Era mba kuba na kitala mu mukono gwange, nnandikusse!” 30 Awo endogoyi n’egamba Balamu nti: “Si nze ndogoyi yo gy’obadde weebagala obulamu bwo bwonna n’okutuusa leero? Nnali nkuyisizzaako bwe nti?” N’agiddamu nti: “Nedda!” 31 Awo Yakuwa n’azibula amaaso ga Balamu,+ n’alaba malayika wa Yakuwa ng’ayimiridde mu kkubo ng’asowoddeyo ekitala kye. Amangu ago n’akka ku maviivi n’avunnama wansi.
32 Awo malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Lwaki okubye endogoyi yo emirundi gino esatu? Laba! Nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte likontana n’ekigendererwa kyange.+ 33 Endogoyi yandabye n’egezaako okunneebalama emirundi gino esatu.+ Singa teyanneebalamye, nnandibadde nkusse naye yo ne ngireka.” 34 Awo Balamu n’agamba malayika wa Yakuwa nti: “Nnyonoonye; mbadde simanyi nti ggwe obadde oyimiridde mu kkubo okunsisinkana. Kale bwe kiba nga kibi mu maaso go, ka nzireyo.” 35 Naye malayika wa Yakuwa n’agamba Balamu nti: “Genda n’abasajja abo, naye ebyo byokka bye nnaakugamba by’ojja okwogera.” Awo Balamu ne yeeyongerayo n’abaami ba Balaki.
36 Balaki bwe yawulira nti Balamu azze, amangu ago n’agenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku lubalama lwa Alunoni, ku nsalo y’ensi eyo. 37 Awo Balaki n’agamba Balamu nti: “Lwaki nnakutumya n’otojja? Wali olowooza nti sisobola kukugulumiza nnyo?”+ 38 Balamu n’agamba Balaki nti: “Nzuuno kaakano nzize gy’oli. Naye nnakkirizibwa okwogera ekintu kyonna? Ebigambo Katonda by’ateeka mu kamwa kange bye byokka bye nsobola okwogera.”+
39 Awo Balamu n’agenda ne Balaki ne batuuka e Kiriyasi-kuzosi. 40 Balaki n’asaddaaka ente n’endiga n’awaako Balamu n’abaami be yali nabo. 41 Awo ku makya Balaki n’atwala Balamu e Bamosi-bbaali. Nga Balamu ali eyo, yali asobola okulaba abantu bonna.+
23 Awo Balamu n’agamba Balaki nti: “Zimba mu kifo kino ebyoto musanvu+ era onteekereteekere ente ennume musanvu n’endiga ennume musanvu.” 2 Amangu ago Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba. Balaki ne Balamu ne bawaayo ente ennume emu emu n’endiga ennume emu emu ku buli kyoto.+ 3 Balamu n’agamba Balaki nti: “Sigala wano okumpi n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa nze ŋŋende; oboolyawo Yakuwa anandabikira, era kyonna ky’anaŋŋamba nja kukikugamba.” Awo n’agenda ku lusozi waggulu.
4 Awo Katonda n’alabikira Balamu,+ Balamu n’amugamba nti: “Ntegese ebyoto musanvu nga biri mu lunyiriri, era mpaddeyo ente ennume emu emu n’endiga ennume emu emu ku buli kyoto.” 5 Awo Yakuwa n’ateeka ekigambo mu kamwa ka Balamu,+ era n’amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era bino by’ojja okwogera.” 6 Awo n’addayo eri Balaki, n’alaba Balaki n’abaami ba Mowaabu bonna nga bayimiridde okumpi n’ekiweebwayo kye. 7 Awo Balamu n’ayogera ebigambo bino eby’obunnabbi:+
“Balaki kabaka wa Mowaabu yanzigya mu Alamu,+
Yanzigya mu nsozi ez’ebuvanjuba:
‘Jjangu onnyambe okolimire Yakobo.
Jjangu ovumirire Isirayiri.’+
8 Nnyinza ntya okukolimira abo Katonda b’atakolimidde?
Era nnyinza ntya okuvumirira abo Yakuwa b’atavumiridde?+
9 Mbalengera nga nsinziira waggulu ku njazi,
Era mbalengera nga nsinziira ku busozi.
10 Ani ayinza okubala abantu ba Yakobo+ abangi ng’enfuufu,
Era ani ayinza okubala ekitundu ekimu eky’okuna ekya Isirayiri?
Ka nfe ng’abatuukirivu bwe bafa,
Era enkomerero yange k’ebeere ng’eyaabwe.”
11 Awo Balaki n’agamba Balamu nti: “Kiki kino ky’onkoze? Nnakuleese kukolimira balabe bange naye ate ggwe obawadde buwi mukisa.”+ 12 N’amuddamu nti: “Ekyo kyonna Yakuwa ky’ateeka mu kamwa kange si kye nnina okwogera?”+
13 Awo Balaki n’amugamba nti: “Nkwegayiridde, jjangu tugende mu kifo ekirala w’oyinza okubalengerera. Ojja kulengerako bamu so si bonna. Jjangu onnyambe obakolimire ng’osinziira eyo.”+ 14 Awo n’amutwala ku ttale ly’e Zofimu, ku ntikko ya Pisuga,+ n’azimba ebyoto musanvu era n’awaayo ente ennume emu emu n’endiga ennume emu emu ku buli kyoto.+ 15 Balamu n’agamba Balaki nti: “Sigala wano okumpi n’ekiweebwayo kyo nze ŋŋende njogere naye.” 16 Awo Yakuwa n’alabikira Balamu n’ateeka ekigambo mu kamwa ke, era n’amugamba nti:+ “Ddayo eri Balaki era ebyo by’ojja okwogera.” 17 N’addayo gy’ali n’amulaba ng’alindiridde okumpi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa nga n’abaami ba Mowaabu bali naye. Balaki n’amubuuza nti: “Yakuwa agambye ki?” 18 Awo Balamu n’ayogera ebigambo bino eby’obunnabbi:+
“Balaki, situka owulirize.
Mpuliriza ggwe mutabani wa Zipoli.
19 Katonda si muntu nti asobola okulimba,+
Era si mwana wa muntu nti asobola okukyusa ebirowoozo bye.*+
Bw’abaako ky’agambye, takikola?
Bw’ayogera ekintu, takituukiriza?+
21 Takkiriza ddogo lyonna kukolebwa ku Yakobo,
Era takkiriza kabi konna kutuusibwa ku Isirayiri.
Yakuwa Katonda we ali nabo,+
Era atenderezebwa nga kabaka mu bo mu ddoboozi erya waggulu.
22 Katonda abaggya mu Misiri.+
Alinga amayembe ga sseddume ey’omu nsiko* gye bali.+
Mu kiseera kino abantu basobola okwogera ku Yakobo ne ku Isirayiri nti:
‘Laba Katonda ky’akoze!’
24 Laba eggwanga erijja okusituka ng’empologoma,
Era ng’empologoma, lijja kuyimuka.+
Terijja kugalamira okutuusa nga limaze okulya omuyiggo,
Era nga linywedde omusaayi gw’abattiddwa.”
25 Awo Balaki n’agamba Balamu nti: “Bw’oba nga tosobola kumukolimira, kale nno tomuwa mukisa.” 26 Balamu n’addamu Balaki nti: “Saakugambye nti, ‘Ebyo byonna Yakuwa by’anaayogera bye nja okukola’?”+
27 Balaki n’agamba Balamu nti: “Nkwegayiridde, jjangu nkutwale nate mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda ow’amazima anaakiraba nga kirungi gwe okunnyamba okubakolimira ng’osinziira eyo.”+ 28 Awo Balaki n’atwala Balamu ku ntikko ya Pyoli, awatunudde mu Yesimoni.*+ 29 Balamu n’agamba Balaki nti: “Zimba mu kifo kino ebyoto musanvu era onteekereteekere ente ennume musanvu n’endiga ennume musanvu.”+ 30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamulagira, n’awaayo ente ennume emu emu n’endiga ennume emu emu ku buli kyoto.
24 Balamu bwe yalaba nga kisanyusa* Yakuwa okuwa Isirayiri omukisa, n’atagenda nate kunoonya ddogo,+ naye n’akyuka n’atunula mu ddungu. 2 Bwe yayimusa amaaso ge n’alaba ng’Abayisirayiri basiisidde okusinziira ku bika byabwe,+ omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.+ 3 Awo n’ayogera ebigambo bino eby’obunnabbi:+
“Ebigambo bya Balamu mutabani wa Byoli,
Ebigambo by’omusajja azibuddwa amaaso,
4 Ebigambo by’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
Oyo eyalaba okwolesebwa kw’Omuyinza w’Ebintu Byonna,
Eyavunnama nga tazibirizza maaso:+
5 Weema zo nga zirabika bulungi ggwe Yakobo,
Ebifo byo by’obeeramu ggwe Isirayiri!+
6 Zituukira ddala wala okufaananako ebiwonvu,+
Ziringa ennimiro eziri okumpi n’omugga.
Ziringa emiti gya alowe Yakuwa gye yasimba,
Ziringa emiti gy’entolokyo egiri okumpi n’amazzi.
8 Katonda amuggya mu Misiri.
Alinga amayembe ga sseddume ey’omu nsiko* gye bali.
Alizikiriza amawanga, alizikiriza abalabe be,+
Era amagumba gaabwe aligameketameketa, era aligamenyaamenya n’obusaale bwe.
9 Abwamye, agalamidde ng’empologoma,
Era okufaananako empologoma, ani ayinza okwetantala okumugolokosa?
Abo abakuwa omukisa baweebwa omukisa,
Abo abakukolimira bakolimirwa.”+
10 Awo Balaki n’asunguwalira Balamu, n’akuba mu ngalo era n’amugamba nti: “Nnakuyise kukolimira balabe bange,+ naye laba! emirundi gino esatu obawadde buwi mukisa. 11 Kale kaakano ddayo mangu ewammwe. Nnabadde njagala kukugulumiza,+ naye laba! Yakuwa akulemesezza okugulumizibwa.”
12 Awo Balamu n’agamba Balaki nti: “Ababaka be watuma gye ndi saabagamba nti, 13 ‘Balaki ne bw’aba wa kumpa nnyumba ye ng’ejjudde ffeeza ne zzaabu, nze ku bwange* sisobola kukola kintu kyonna Yakuwa ky’atalagidde, ka kibe kirungi oba kibi,’ era nti ‘ekyo kyonna Yakuwa ky’anaŋŋamba kye nja okwogera’?+ 14 Kaakano ŋŋenda eri abantu bange. Naye jjangu nkubuulire abantu bano kye balikola abantu bo mu biseera eby’omu maaso.”* 15 Awo n’ayogera ebigambo bino eby’obunnabbi:+
“Ebigambo bya Balamu mutabani wa Byoli,
Ebigambo by’omusajja azibuddwa amaaso,+
16 Ebigambo by’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
Oyo alina okumanya okuva eri oyo Asingayo Okuba Waggulu,
Yalaba okwolesebwa kw’Omuyinza w’Ebintu Byonna
Bwe yali avunnamye nga tazibirizza maaso:
17 Nja kumulaba, naye si kati;
Nja kumulaba, naye si mangu.
Aliyasaayasa ekyenyi kya Mowaabu+
N’ekiwanga ky’abaana b’oluyoogaano bonna.
19 Mu Yakobo muliva oyo aligenda awangula,+
Era alizikiriza oyo yenna aliba awonyeewo mu kibuga.”
20 Bwe yalaba Amaleki n’ayongera okwogera ebigambo bye eby’obunnabbi ng’agamba nti:
21 Bwe yalaba Abakeeni+ n’ayongera okwogera ebigambo bye eby’obunnabbi ng’agamba nti:
“Ekifo ky’obeeramu kigumu, era ekifo mw’obeera kiri ku lwazi.
22 Naye walibaawo alyokya Abakeeni.*
Kiritwala bbanga ki nga Bwasuli tennabatwala mu buwambe?”
23 N’ayongera okwogera ebigambo bye eby’obunnabbi ng’agamba nti:
“Zibasanze! Katonda bw’alikikola, ani aliwonawo?
Kyokka naye alisaanirawo ddala.”
25 Awo Balamu+ n’asituka n’addayo ewaabwe; Balaki naye n’akwata ekkubo n’agenda.
25 Isirayiri bwe yali mu Sitimu,+ abantu ne batandika okwenda ku bawala ba Mowaabu.+ 2 Abakazi baayita abantu ku ssaddaaka za bakatonda baabwe,+ era abantu ne balya ku ssaddaaka, ne bavunnamira ne bakatonda baabwe.+ 3 Bw’atyo Isirayiri ne yeetaba mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli;+ Yakuwa n’asunguwalira Isirayiri. 4 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Twala abo bonna abakulembeddemu abantu bano obawanike mu maaso ga Yakuwa emisana ttuku,* obusungu bwa Yakuwa buve ku Isirayiri.” 5 Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri+ nti: “Buli omu ku mmwe atte abasajja be abeetabye mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli.”+
6 Awo mu kiseera ekyo omu ku Bayisirayiri n’aleeta mu baganda be omukazi Omumidiyaani+ nga Musa n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri balaba, bwe baali nga bakaabira ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 7 Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, amangu ago n’asituka n’ava mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe, 8 n’agoberera omusajja Omuyisirayiri mu weema, n’abafumita bombi, omusajja Omuyisirayiri, n’omukazi mu bitundu bye eby’ekyama. Awo ekirwadde ekyali kibaluseewo mu Bayisirayiri ne kikomezebwa.+ 9 Abo abaafa ekirwadde baali 24,000.+
10 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 11 “Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye obusungu bwange ku bantu ba Isirayiri olw’okuba tagumiikirizza mu bo butali bwesigwa gye ndi.+ Kyenvudde sisaanyaawo Bayisirayiri, wadde nga njagala okunneemalirako.+ 12 Olw’ensonga eyo mugambe nti, ‘nkola naye endagaano ey’emirembe. 13 Ejja kuba ndagaano ey’obwakabona obw’olubeerera eri ye n’eri ezzadde lye eririmuddirira,+ olw’okuba tagumiikirizza butali bwesigwa eri Katonda we,+ n’atangirira abantu ba Isirayiri.’”
14 Omusajja Omuyisirayiri eyattibwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali ayitibwa Zimuli, mutabani wa Salu, era yali mwami mu emu ku nnyumba za bakitaabwe b’Abasimiyoni. 15 Ate omukazi Omumidiyaani eyattibwa yali ayitibwa Kozebi, muwala wa Zuuli;+ Zuuli yali mukulu wa kika kya kitaawe mu Midiyaani.+
16 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa nti: 17 “Mukijjanye Abamidiyaani era mubatte,+ 18 kubanga baabaleetera emitawaana nga babasendasenda mu ngeri ey’olukujjukujju, ne babaleetera okwonoona ku bikwata ku Pyoli.+ Era baabasendasenda okwonoona nga bayitira mu Kozebi, muwala w’omwami Omumidiyaani, mwannyinaabwe eyattibwa+ ku lunaku ekirwadde lwe kyabajjira olw’ebyo ebikwata ku Pyoli.”+
26 Ekirwadde bwe kyakoma,+ Yakuwa n’agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti: 2 “Mubale ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe, buli yenna asobola okuweereza mu ggye lya Isirayiri.”+ 3 Musa ne Eriyazaali+ kabona ne boogera nabo mu ddungu lya Mowaabu+ okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko,+ ne babagamba nti: 4 “Mubale omuwendo gwabwe okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.”+
Abaana ba Isirayiri abaava mu nsi ya Misiri be bano: 5 Ab’ekika kya Lewubeeni+ omubereberye wa Isirayiri; abaana ba Lewubeeni+ be bano: mu Kanoki mwavaamu ab’oluggya lw’Abakanoki; mu Palu, ab’oluggya lwa Palu, 6 mu Kezulooni, ab’oluggya lwa Kezulooni; mu Kalumi, ab’oluggya lwa Kalumi. 7 Abo be b’empya za Lewubeeni era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 43,730.+
8 Mutabani wa Palu yali Eriyaabu. 9 Batabani ba Eriyaabu be bano: Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu beebo abaali bakiikirira ekibiina, abaawakanya Musa+ ne Alooni nga bali wamu n’ekibinja kya Koola,+ lwe baawakanya Yakuwa.+
10 Ensi yayasama* n’ebamira. Ate ye Koola yafiira wamu n’abawagizi be, omuliro bwe gwazikiriza abantu 250.+ Bwe batyo ne bafuuka ekyokulabirako eri abalala.+ 11 Naye bo batabani ba Koola tebaafa.+
12 Abaana ba Simiyoni+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Nemweri mwavaamu ab’oluggya lwa Nemweri; mu Yamini, ab’oluggya lwa Yamini; mu Yakini, ab’oluggya lwa Yakini, 13 mu Zeera, ab’oluggya lwa Zeera; mu Sawuli, ab’oluggya lwa Sawuli. 14 Abo be b’empya za Simiyoni, era baali 22,200.+
15 Abaana ba Gaadi+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Zefoni mwavaamu ab’oluggya lwa Zefoni; mu Kagi, ab’oluggya lwa Kagi; mu Suni, ab’oluggya lwa Suni, 16 mu Ozeni, ab’oluggya lwa Ozeni; mu Eri, ab’oluggya lwa Eri; 17 mu Alodi, ab’oluggya lwa Alodi; mu Aleri, ab’oluggya lwa Aleri. 18 Abo be b’empya z’abaana ba Gaadi, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 40,500.+
19 Abaana ba Yuda+ be bano: Eli ne Onani.+ Kyokka Eli ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.+ 20 Abaana ba Yuda ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Seera+ mwavaamu ab’oluggya lwa Seera; mu Pereezi,+ ab’oluggya lwa Pereezi; mu Zeera,+ ab’oluggya lwa Zeera. 21 Abaana ba Pereezi be bano: mu Kezulooni+ mwavaamu ab’oluggya lwa Kezulooni; mu Kamuli,+ ab’oluggya lwa Kamuli. 22 Abo be b’empya za Yuda, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 76,500.+
23 Abaana ba Isakaali+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Tola+ mwavaamu ab’oluggya lwa Tola; mu Puva, ab’oluggya lw’Abapuni; 24 mu Yasubu, ab’oluggya lwa Yasubu; mu Simuloni, ab’oluggya lwa Simuloni. 25 Abo be b’empya za Isakaali, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 64,300.+
26 Abaana ba Zebbulooni+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Seredi mwavaamu ab’oluggya lwa Seredi; mu Eroni, ab’oluggya lwa Eroni; mu Yaleeri, ab’oluggya lwa Yaleeri. 27 Abo be b’empya za Zebbulooni, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 60,500.+
28 Abaana ba Yusufu+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: Manase ne Efulayimu.+ 29 Abaana ba Manase+ be bano: mu Makiri+ mwavaamu ab’oluggya lwa Makiri. Makiri ye yazaala Gireyaadi;+ mu Gireyaadi, ab’oluggya lwa Gireyaadi. 30 Abaana ba Gireyaadi be bano: mu Yezeeri mwavaamu ab’oluggya lwa Yezeeri; mu Kereki, ab’oluggya lwa Kereki; 31 mu Asuliyeri, ab’oluggya lwa Asuliyeri; mu Sekemu, ab’oluggya lwa Sekemu; 32 mu Semida, ab’oluggya lwa Semida; mu Keferi, ab’oluggya lwa Keferi. 33 Zerofekaadi mutabani wa Keferi teyazaala mwana wa bulenzi wabula bawala bokka,+ era gano ge mannya ga bawala ba Zerofekaadi:+ Makula, Nuuwa, Kogula, Mirika, ne Tiruza. 34 Abo be b’empya za Manase, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 52,700.+
35 Abaana ba Efulayimu+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Susera+ mwavaamu ab’oluggya lwa Susera; mu Bekeri, ab’oluggya lwa Bekeri; mu Takani, ab’oluggya lwa Takani. 36 Abaana ba Susera be bano: mu Erani mwavaamu ab’oluggya lwa Erani. 37 Abo be b’empya z’abaana ba Efulayimu, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 32,500.+ Abo be baana ba Yusufu ng’empya zaabwe bwe zaali.
38 Abaana ba Benyamini+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Bera+ mwavaamu ab’oluggya lwa Bera; mu Asuberi, ab’oluggya lwa Asuberi; mu Akiramu, ab’oluggya lwa Akiramu; 39 mu Sefufamu, ab’oluggya lw’Abasufamu; mu Kufamu, ab’oluggya lw’Abakufamu. 40 Abaana ba Bera be bano: Aludi ne Naamani:+ mu Aludi mwavaamu ab’oluggya lwa Aludi; mu Naamani, ab’oluggya lwa Naamani. 41 Abo be baana ba Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 45,600.+
42 Abaana ba Ddaani+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Sukamu mwavaamu ab’oluggya lwa Sukamu. Abo be b’empya za Ddaani ng’empya zaabwe bwe zaali. 43 Ab’empya zonna eza Sukamu abaawandiikibwa baali 64,400.+
44 Abaana ba Aseri+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Imuna mwavaamu ab’oluggya lwa Imuna; mu Isuvi, ab’oluggya lwa Isuvi; mu Beriya, ab’oluggya lwa Beriya. 45 Abaana ba Beriya be bano: mu Keberi mwavaamu ab’oluggya lwa Keberi; mu Malukiyeeri, ab’oluggya lwa Malukiyeeri. 46 Muwala wa Aseri yali ayitibwa Seera. 47 Abo be b’empya z’abaana ba Aseri, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 53,400.+
48 Abaana ba Nafutaali+ ng’empya zaabwe bwe zaali be bano: mu Yazeeri mwavaamu ab’oluggya lwa Yazeeri; mu Guni, ab’oluggya lwa Guni; 49 mu Yezeri, ab’oluggya lwa Yezeri; mu Siremu, ab’oluggya lwa Siremu. 50 Abo be b’empya za Nafutaali ng’empya zaabwe bwe zaali, era abantu baabwe abaawandiikibwa baali 45,400.+
51 Abayisirayiri bonna abaawandiikibwa baali 601,730.+
52 Ebyo bwe byaggwa, Yakuwa n’agamba Musa nti: 53 “Ensi ejja kugabanyizibwamu ebaweebwe okuba obusika okusinziira ku lukalala lw’amannya gaabwe.*+ 54 Ebibinja ebirimu abantu abangi ojja kubiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ebibinja ebirimu abantu abatono ojja kubiwa ekitundu kitono okuba obusika.+ Buli kibinja kijja kuweebwa obusika okusinziira ku muwendo gw’abantu abawandiikiddwa. 55 Ensi ejja kugabanyizibwamu ng’ekubibwako kalulu.+ Bajja kuweebwa obusika okusinziira ku mannya g’ebika bya bakitaabwe. 56 Ebitundu by’obusika byonna bijja kukubirwa kalulu bigabirwe ebibinja ebinene n’ebitono.”
57 Bano be Baleevi abaawandiikibwa+ okusinziira ku mpya zaabwe: mu Gerusoni mwavaamu ab’oluggya lwa Gerusoni; mu Kokasi,+ ab’oluggya lwa Kokasi; mu Merali, ab’oluggya lwa Merali. 58 Bano be b’empya z’Abaleevi: Ab’oluggya lwa Libuni,+ ab’oluggya lwa Kebbulooni,+ ab’oluggya lwa Makuli,+ ab’oluggya lwa Musi,+ n’ab’oluggya lwa Koola.+
Kokasi ye yazaala Amulaamu.+ 59 Mukazi wa Amulaamu yali ayitibwa Yokebedi,+ muwala wa Leevi eyamuzaalirwa e Misiri. Yokebedi yazaalira Amulaamu Alooni ne Musa ne Miriyamu+ mwannyinaabwe. 60 Alooni yazaala Nadabu, Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali.+ 61 Naye Nadabu ne Abiku baafa olw’okuwaayo mu maaso ga Yakuwa+ omuliro ogutakkirizibwa.
62 Abaawandiikibwa bonna baali 23,000, abasajja bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okudda waggulu.+ Bo tebaawandiikibwa wamu n’Abayisirayiri+ abalala kubanga tebaali ba kuweebwa busika mu Bayisirayiri.+
63 Abo be baawandiikibwa Musa ne Eriyazaali kabona, bwe baawandiika Abayisirayiri mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko. 64 Naye mu bo temwali n’omu ku abo abaawandiikibwa Musa ne Alooni kabona, Abayisirayiri lwe baabalibwa mu ddungu lya Sinaayi.+ 65 Kubanga Yakuwa yagamba nti: “Bajja kufiira mu ddungu.”+ N’olwekyo tewali n’omu ku bo yasigalawo okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.+
27 Awo bawala ba Zerofekaadi+ mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Makiri mutabani wa Manase, ow’omu mpya za Manase mutabani wa Yusufu, ne basembera. Gano ge mannya ga bawala be: Makula, Nuuwa, Kogula, Mirika ne Tiruza. 2 Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona n’abaami+ n’ekibiina kyonna ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, ne bagamba nti: 3 “Kitaffe yafiira mu ddungu naye teyali mu kibinja ky’abawagizi ba Koola+ abaakuŋŋaana okuwakanya Yakuwa, wabula yafa lwa kibi kye; naye teyazaala mwana wa bulenzi. 4 Kale lwaki erinnya lya kitaffe liggibwa mu kika kye olw’okuba teyazaala mwana wa bulenzi? Tusaba otuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.” 5 Awo Musa n’atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Yakuwa.+
6 Yakuwa n’agamba Musa nti: 7 “Bawala ba Zerofekaadi batuufu. Bawe obutaka obw’obusika mu baganda ba kitaabwe, era obusika bwa kitaabwe bubawe.+ 8 Era gamba Abayisirayiri nti, ‘Singa omusajja yenna afa nga talese mwana wa bulenzi, obusika bwe munaabuwanga muwala we. 9 Bw’ataabenga na mwana wa buwala, obusika bwe munaabuwanga baganda be. 10 Bw’ataabenga na baganda be, obusika bwe munaabuwanga baganda ba kitaawe. 11 Kitaawe bw’ataabenga na baganda be, obusika bwe munaabuwanga amulinako oluganda olw’omusaayi olusinga okuba olw’okumpi, n’abutwala. Kino ekisaliddwawo linaabanga tteeka eri Abayisirayiri, nga Yakuwa bw’alagidde Musa.’”
12 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi luno Abalimu,+ olengere ensi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri.+ 13 Bw’onoomala okugirengera, ojja kugoberera abantu bo,*+ nga Alooni muganda wo bwe yabagoberera,+ 14 olw’okuba ekibiina bwe kyali kinnyombesa mu ddungu lya Zini, mwajeemera ekiragiro kyange ne mutantukuza mu maaso gaabwe bwe nnabawa amazzi.+ Ago ge mazzi g’e Meriba+ e Kadesi+ mu ddungu lya Zini.”+
15 Awo Musa n’agamba Yakuwa nti: 16 “Yakuwa Katonda awa abantu bonna obulamu alondere ekibiina omusajja 17 anaabakulemberanga mu bye bakola, era anaabafulumyanga ate n’abayingiza, ekibiina kya Yakuwa kireme kuba ng’endiga ezitalina musumba.” 18 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alina obusobozi, omusseeko emikono;+ 19 era ojja kumuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukwase obukulembeze nga balaba.+ 20 Ojja kumuwa ku buyinza bwo,*+ ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri kimuwulirizenga.+ 21 Ajja kuyimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, era Eriyazaali anaakozesanga Ulimu+ okwebuuza ku Yakuwa ku lulwe okumanya ky’anaabanga asazeewo. Ye n’Abayisirayiri bonna n’ekibiina kyonna bajja kufulumanga era bajja kuyingiranga nga baweereddwa ekiragiro.”
22 Awo Musa n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, n’atwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, 23 n’amussaako emikono n’amulonda okuba omukulembeze,+ nga Yakuwa bwe yayogera okuyitira mu Musa.+
28 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Lagira Abayisirayiri obagambe nti, ‘Mukakase nti muwaayo gye ndi ekiweebwayo kyange, emmere yange. Ebiweebwayo byange ebyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* gye ndi, birina okuweebwayo mu biseera byabyo ebigereke.’+
3 “Era bagambe nti, ‘Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro kye munaawangayo eri Yakuwa: buli lunaku endiga ento ennume bbiri ennamu obulungi, nga buli emu ya mwaka gumu, ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa.+ 4 Endiga emu ojjanga kugiwaayo ku makya, ate endala ogiweeyo akawungeezi;*+ 5 ojjanga kugiweerayo wamu ne kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu ekitundu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta agaggiddwa mu zzeyituuni enkube, okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke.+ 6 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku,+ ekiweebwayo okuba evvumbe eddungi* ekyalagirwa ku Lusozi Sinaayi, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, 7 awamu n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, nga kimu kya kuna ekya yini ku buli ndiga ento ennume.+ Eky’okunywa eky’omwenge ojja kukiyiwa mu kifo ekitukuvu okuba ekiweebwayo eri Yakuwa eky’eby’okunywa. 8 Era endiga endala ojjanga kugiwaayo akawungeezi.* Ojja kugiweerayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekiri ng’ekyo eky’oku makya era n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako ekiri ng’ekyo eky’oku makya, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.+
9 “‘Naye ku lunaku lwa Ssabbiiti+ mujjanga kuwaayo endiga ento ennume bbiri ennamu obulungi, nga buli emu ya mwaka gumu, n’ebigera bya efa bibiri bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, era muweeyo n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako. 10 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya Ssabbiiti, awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako.+
11 “‘Ku ntandikwa ya buli mwezi* mujjanga kuwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo kino ekyokebwa: ente ento ennume bbiri, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu,+ 12 n’ebigera bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse+ obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke olwa buli nte ennume, n’ebigera bibiri bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke olw’endiga emu,+ 13 n’ekimu kya kkumi eky’ekigera ky’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke olwa buli ndiga ento ennume, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi,*+ ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 14 Ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako bijja kuba kimu kya kubiri ekya yini y’omwenge olwa buli nte ennume,+ ne kimu kya kusatu ekya yini olw’endiga ennume,+ ne kimu kya kuna ekya yini olwa buli ndiga ento ennume.+ Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi ekinaaweebwangayo mu myezi gyonna mu mwaka. 15 Ng’oggyeeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, omwana gw’embuzi gumu gujja kuweebwangayo eri Yakuwa okuba ekiweebwayo olw’ekibi.
16 “‘Olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogusooka lujja kubanga lwa Kuyitako kwa Yakuwa.+ 17 Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo wanaabangawo okukwata embaga. Emigaati egitali mizimbulukuse ginaaliibwanga okumala ennaku musanvu.+ 18 Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna. 19 Mujjanga kuwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo kino ekyokebwa n’omuliro: ente ento ennume bbiri, endiga ennume emu, n’endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu. Zirina okuba nga nnamu bulungi.+ 20 Mujjanga kuwaayo ebiweebwayo ebigenderako eby’emmere ey’empeke eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni,+ era bijja kuba ebigera bisatu bya kkumi olwa buli nte ennume, n’ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume. 21 Mujjanga kuwaayo kimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu, 22 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi okubatangirira. 23 Ebyo bye munaawangayo okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa eky’oku makya ekya buli lunaku. 24 Munaawangayo ebintu ebyo bwe mutyo buli lunaku okumala ennaku musanvu, ng’emmere,* ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa. Kijjanga kuweebwayo wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako. 25 Ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu.+ Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+
26 “‘Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye,+ lwe munaawangayo eri Yakuwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eyaakakungulwa,+ mujja kubeeranga n’olukuŋŋaana olutukuvu ku mbaga yammwe ey’amakungula.+ Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+ 27 Era kino kye munaawangayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume bbiri, endiga ennume emu, n’endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu;+ 28 ebiweebwayo ebigenderako eby’emmere ey’empeke eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni bijja kuba ebigera bisatu bya kkumi olwa buli nte ennume, n’ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume, 29 n’ekimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu; 30 n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi okubatangirira.+ 31 Ezo ze munaawangayo awamu n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke. Zirina okuba nga nnamu bulungi.+
29 “‘Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu mujja kubeeranga n’olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+ Ku lunaku olwo mujja kufuuwanga amakondeere.+ 2 Kino kye kiweebwayo ekyokebwa kye munaawangayo okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi; 3 n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke, kijja kuba ebigera bya efa bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni olw’ente ennume, ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume, 4 n’ekigera kimu kya kkumi olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu, 5 n’omwana gw’embuzi omulume gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi okubatangirira. 6 Mujja kubiwaayo okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako,+ era n’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako,+ awamu n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako,+ ng’enkola eya bulijjo bw’eri, bibeere evvumbe eddungi,* ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.
7 “‘Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu mujja kubeeranga n’olukuŋŋaana olutukuvu,+ era mujjanga kwebonyaabonya.* Temukolanga mulimu gwonna.+ 8 Mujjanga kuwaayo ekiweebwayo kino ekyokebwa eri Yakuwa okuba evvumbe eddungi:* ente ento ennume emu, endiga ennume emu, n’endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi.+ 9 Munaawangayo n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke, ebigera bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, olw’ente ennume, ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume, 10 n’ekimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu; 11 n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo olw’ekibi ekiweebwayo okutangirira ebibi,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako, awamu n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako.
12 “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu mujja kubanga n’olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna, era mujja kukwatanga embaga ya Yakuwa okumala ennaku musanvu.+ 13 Era munaawangayo ekiweebwayo kino ekyokebwa,+ ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume 13, endiga ennume 2, n’endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi.+ 14 Munaawangayo n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke, kijja kuba ebigera bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, olwa buli emu ku nte ennume ekkumi n’essatu, n’ebigera bibiri bya kkumi, olwa buli emu ku ndiga ebbiri ennume, 15 n’ekimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume ekkumi n’ennya; 16 n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
17 “‘Ku lunaku olw’okubiri munaawangayo ente ento ennume 12, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 18 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 19 n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako, awamu n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako.+
20 “‘Ku lunaku olw’okusatu munaawangayo ente ento ennume 11, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 21 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 22 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
23 “‘Ku lunaku olw’okuna munaawangayo ente ennume 10, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 24 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 25 n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
26 “‘Ku lunaku olw’okutaano munaawangayo ente ennume 9, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 27 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 28 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
29 “‘Ku lunaku olw’omukaaga munaawangayo ente ennume 8, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 30 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 31 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
32 “‘Ku lunaku olw’omusanvu munaawangayo ente ennume 7, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 33 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 34 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
35 “‘Ku lunaku olw’omunaana munaabanga n’olukuŋŋaana olw’enjawulo. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+ 36 Era munaawangayo ekiweebwayo kino ekyokebwa, ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 37 n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 38 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+
39 “‘Ebyo bye munaawangayo eri Yakuwa ku mbaga zammwe+ okugatta ku biweebwayo byammwe eby’obweyamo,+ n’ebiweebwayo byammwe ebya kyeyagalire+ bye muwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa,+ n’ebiweebwayo byammwe eby’emmere ey’empeke,+ n’ebiweebwayo byammwe eby’eby’okunywa,+ ne ssaddaaka zammwe ez’emirembe.’”+ 40 Musa n’abuulira Abayisirayiri ebyo byonna Yakuwa bye yamulagira.
30 Musa n’ayogera n’abakulu+ b’ebika by’Abayisirayiri n’abagamba nti: “Kino kye kigambo Yakuwa ky’alagidde: 2 Omusajja bw’aneeyamanga+ eri Yakuwa oba bw’anaalayiranga+ ne yeeyama okubaako bye yeerekereza, takyusanga ky’ayogedde.+ Byonna by’anaabanga yeeyamye alina okubituukiriza.+
3 “Omuwala bw’aneeyamanga eri Yakuwa oba bw’aneeyamanga okubaako bye yeerekereza ng’akyali muto era ng’akyabeera mu nnyumba ya kitaawe, 4 kitaawe n’amuwulira ng’akola obweyamo oba nga yeeyama okubaako bye yeerekereza naye n’atabaako ky’amugamba, omuwala anaabanga alina okutuukiriza obweyamo bwe bwonna era ne byonna by’anaabanga yeeyamye okwerekereza. 5 Naye kitaawe bw’anaawuliranga nti akoze obweyamo oba nti aliko kye yeeyamye okwerekereza, n’amugaana, obweyamo obwo taabutuukirizenga, era Yakuwa anaamusonyiwanga, kubanga kitaawe anaabanga amugaanye.+
6 “Naye bw’anaafumbirwanga omusajja ng’alina obweyamo bw’alina okutuukiriza, oba nga waliwo bye yasuubiza nga tasoose kulowooza, 7 bba n’akiwulira naye n’atabaako ky’amugamba ku lunaku lw’akiwulidde, anaabanga alina okutuukiriza obweyamo bwe era ne by’anaabanga yeeyamye okwerekereza. 8 Naye bba bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaabanga akiwulidde, anaayinzanga okusazaamu obweyamo bwe oba ebyo bye yasuubiza nga tasoose kulowooza,+ era Yakuwa anaamusonyiwanga.
9 “Naye nnamwandu oba omukazi eyagattululwa ne bba bw’aneeyamanga, anaabanga alina okutuukiriza byonna bye yeeyama.
10 “Naye omukazi bw’anaakolanga obweyamo oba bw’aneeyamanga okubaako bye yeerekereza ng’ali mu nnyumba ya bba, 11 bba n’akiwulira naye n’atabaako ky’amugamba era n’atakigaana, anaabanga alina okutuukiriza obweyamo bwe bwonna oba buli kye yeeyama okwerekereza. 12 Naye bba bw’anaasazangamu obweyamo bwe bwonna oba bye yeeyama okwerekereza ku lunaku lw’anaabanga abiwulidde, omukazi anaabanga talina kutuukiriza bweyamo bwe.+ Bba anaabanga abusazizzaamu era Yakuwa anaamusonyiwanga. 13 Obweyamo bwonna oba ekirayiro kyonna ky’anaakolanga nga yeeyama okwerumya, bba anaakikakasanga oba anaakisazangamu. 14 Naye ennaku bwe zinaayitangawo bba n’atabaako ky’amugamba kyonna, anaabanga akakasizza obweyamo bwa mukazi we bwonna oba byonna bye yeeyama okwerekereza. Anaabanga abikakasizza olw’okuba talina kyonna kye yamugamba ku lunaku lwe yabiwulira. 15 Naye bw’anaabisazangamu ng’olunaku lwe yabiwulira luyiseewo, omusango gwa mukazi we ogw’obutabituukiriza gunaabanga ku ye.+
16 “Ebyo bye biragiro Yakuwa bye yawa Musa ebikwata ku musajja ne mukazi we, ne ku taata ne muwala we gw’akyabeera naye awaka.”
31 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Woolera eggwanga+ ku Bamidiyaani+ ku lw’Abayisirayiri. Oluvannyuma ojja kugoberera bajjajjaabo.”*+
3 Bw’atyo Musa n’agamba abantu nti: “Muteeketeeke abasajja mu mmwe bagende mu lutalo balwanyise Midiyaani, bawoolere eggwanga ku Midiyaani ku lwa Yakuwa. 4 Mujja kusindika mu ggye abasajja lukumi lukumi okuva mu buli kika kya Isirayiri.” 5 Awo ne balonda mu nkumi n’enkumi za Isirayiri+ abasajja lukumi lukumi okuva mu buli kika. Bwe batyo abasajja 12,000 ne bateekebwateekebwa okugenda okulwana.
6 Awo Musa n’asindika mu lutalo abasajja lukumi lukumi okuva mu buli kika, nga bali ne Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali, kabona w’eggye, ng’alina mu mukono gwe ebintu ebitukuvu n’amakondeere+ ag’okufuuwa mu lutalo. 7 Ne balwanyisa Midiyaani nga Yakuwa bwe yalagira Musa, era ne batta buli musajja. 8 Mu abo be batta mwalimu bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, Lekemu, Zuuli, Kuli, ne Leeba. Era ne Balamu+ mutabani wa Byoli naye baamutta n’ekitala. 9 Kyokka bo abakazi n’abaana b’omu Midiyaani Abayisirayiri ne babawamba, era ne banyaga ensolo zaabwe zonna n’ebintu byabwe byonna. 10 Ne bookya ebibuga byabwe byonna bye baali babeeramu n’ebifo mwe baasiisiranga. 11 Ne batwala omunyago gwonna, nga muno mwe mwali abantu n’ensolo. 12 Ne baleeta abawambe n’omunyago eri Musa ne Eriyazaali kabona n’eri ekibiina ky’Abayisirayiri mu ddungu lya Mowaabu+ awaali olusiisira, okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko.
13 Awo Musa ne Eriyazaali kabona n’abaami bonna ab’ekibiina ne bafuluma okubasisinkana ebweru w’olusiisira. 14 Musa n’asunguwalira abaalondebwa okukulira abalwanyi, kwe kugamba, abaali bakulira enkumi n’ebikumi abaali bava mu lutalo. 15 Musa n’abagamba nti: “Abakazi bonna mubalese nga balamu? 16 Abo be baakolera ku kigambo kya Balamu ne basendasenda Abayisirayiri okukola ekikolwa eky’obutali bwesigwa+ eri Yakuwa ku bikwata ku Pyoli,+ ekibiina kya Yakuwa ne kikubwa kawumpuli.+ 17 Kale kaakano mutte abaana bonna ab’obulenzi, era mutte na buli mukazi eyali yeebaseeko n’omusajja. 18 Kyokka bo abaana ab’obuwala bonna abateebakangako na musajja mubaleke nga balamu.+ 19 Era musigale ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyasse omuntu na buli eyakutte ku muntu attiddwa,+ yeetukuze+ ku lunaku olw’okusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, mmwe n’abo be mwawambye. 20 Mutukuze buli kyambalo na buli kintu eky’eddiba na buli kintu ekyakolebwa mu byoya by’embuzi na buli kintu eky’omuti.”
21 Eriyazaali kabona n’agamba abasajja ab’omu ggye abaagenda mu lutalo nti: “Lino lye tteeka Yakuwa ly’awadde Musa, 22 ‘Zzaabu ne ffeeza n’ekikomo n’ekyuma n’ebbaati n’erisasi,* 23 buli kintu ekitaggya muliro mulina okukiyisa mu muliro kibeere kirongoofu, era mulina okukitukuza n’amazzi ag’okutukuza.+ Ate buli kintu kyonna ekiggya omuliro mulina okukiyisa mu mazzi. 24 Mujja kwoza ebyambalo byammwe ku lunaku olw’omusanvu mube balongoofu, oluvannyuma mulyoke muyingire mu lusiisira.’”+
25 Yakuwa n’agamba Musa nti: 26 “Ggwe ne Eriyazaali kabona n’abakulu b’ennyumba mu kibiina mubale abantu abaawambiddwa era n’ensolo, muwandiike olukalala lw’omunyago. 27 Ojja kugabanyaamu omunyago ebitundu bibiri, ekimu okiwe ab’omu ggye abaagenze mu lutalo okulwana, ate ekirala okiwe abalala bonna ab’omu kibiina.+ 28 Ojja kusolooleza Yakuwa omusolo guno ku basajja abalwanyi abaagenze mu lutalo: ku buli bantu 500 ojja kuggyako omuntu omu omu, era ne ku magana ne ku ndogoyi ne ku bisibo oggyeko ensolo emu emu ku buli nsolo 500. 29 Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu kye banaafuna muguwe Eriyazaali kabona okuba eky’okuwaayo eri Yakuwa.+ 30 Ku kitundu Abayisirayiri kye banaafuna ojja kuggyako omuntu omu ku buli bantu 50, era ne ku magana ne ku ndogoyi ne ku bisibo ne ku nsolo endala zonna oggyeko emu emu ku buli nsolo 50, obiwe Abaleevi+ abalina obuvunaanyizibwa obw’okukola emirimu gy’oku weema ya Yakuwa.”+
31 Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne bakolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 32 Omunyago ogwasigalawo ku ebyo abaagenda mu lutalo bye baanyaga gwali bwe guti: ku bisibo, ensolo zaali 675,000, 33 ku magana, ensolo zaali 72,000, 34 ate zo endogoyi zaali 61,000. 35 Abakazi abaali bateebakangako na musajja,+ baali 32,000. 36 Ekitundu ekimu eky’okubiri abo abaagenda mu lutalo kye baagabana kyali bwe kiti: ku bisibo baafunako ensolo 337,500. 37 Omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa ku bisibo gwali ensolo 675. 38 Ku magana baafunako ensolo 36,000, era omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa gwali ensolo 72. 39 Ate endogoyi zaali 30,500, era omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa gwali endogoyi 61. 40 Abantu baali 16,000, era omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa gwali abantu 32. 41 Awo Musa n’awa Eriyazaali kabona omusolo okuba eky’okuwaayo eri Yakuwa,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
42 Ekitundu ekimu eky’okubiri ekyaweebwa Abayisirayiri, Musa kye yayawula ku ky’abasajja abaalwana olutalo kyali bwe kiti: 43 Ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ebisibo kyali ensolo 337,500, 44 eky’amagana kyali ensolo 36,000, 45 endogoyi zaali 30,500, 46 ate bo abantu baali 16,000. 47 Awo ku kitundu ekimu eky’okubiri eky’Abayisirayiri Musa n’aggyako omuntu omu omu ku buli bantu 50, n’ensolo emu emu ku buli nsolo 50 n’abiwa Abaleevi+ abaalina obuvunaanyizibwa obw’okukola emirimu gy’oku weema+ ya Yakuwa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
48 Awo abasajja abaalondebwa okukulira enkumi mu ggye,+ kwe kugamba, abakulira enkumi n’ebikumi ne bajja awali Musa, 49 ne bamugamba nti: “Abaweereza bo babaze abasajja abalwanyi be tukulira, era tewali n’omu abuzeeko.+ 50 Kale ka buli omu ku ffe aleete ky’alabye okuba eky’okuwaayo eri Yakuwa: ebintu ebya zzaabu, obujegere obw’oku magulu, obukomo, empeta eziramba, eby’oku matu, n’amajolobero amalala, tusobole okutangirirwa mu maaso ga Yakuwa.”
51 Musa ne Eriyazaali ne bakkiriza zzaabu gwe baaleeta, kwe kugamba, amajolobero gonna. 52 Zzaabu yenna abakulira enkumi n’ebikumi gwe baawaayo eri Yakuwa ng’eky’okuwaayo yali azitowa sekeri* 16,750. 53 Buli omu ku basajja abalwanyi yagabana ku munyago. 54 Musa ne Eriyazaali kabona bakkiriza zzaabu abakulira enkumi n’ebikumi gwe baabawa, ne bamuleeta mu weema ey’okusisinkaniramu okuba ekijjukizo eri abantu ba Isirayiri mu maaso ga Yakuwa.
32 Abaana ba Lewubeeni+ n’abaana ba Gaadi+ baalina ensolo nnyingi nnyo. Awo ne balaba ensi ya Yazeri+ n’eya Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo. 2 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne batuukirira Musa ne Eriyazaali kabona n’abaami b’omu kibiina ne babagamba nti: 3 “Atalosi ne Diboni ne Yazeri ne Nimira ne Kesuboni+ ne Ereyale ne Sebamu ne Nebo+ ne Beyoni,+ 4 ensi Yakuwa gye yawangula ng’ekibiina kya Isirayiri+ kiraba nnungi okulundiramu ensolo, ate ng’abaweereza bo balina ensolo nnyingi.”+ 5 Era ne bagamba nti: “Bwe tuba nga tusiimibwa mu maaso go, ensi eno k’eweebwe abaweereza bo ebeere yaabwe. Totusomosa Yoludaani.”
6 Awo Musa n’agamba abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni nti: “Baganda bammwe banaagenda okulwana nga mmwe musigadde eno? 7 Lwaki mwagala okuterebula abantu ba Isirayiri baleme okusomoka okugenda mu nsi Yakuwa gy’agenda okubawa? 8 Bakitammwe ekyo kye baakola bwe nnabatuma okuva e Kadesi-baneya okugenda okulaba ensi.+ 9 Bwe baagenda ne batuuka mu Kiwonvu Esukoli+ ne balaba ensi, ne baterebula abantu ba Isirayiri baleme okugenda mu nsi Yakuwa gye yali agenda okubawa.+ 10 Obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti:+ 11 ‘Abasajja abaava mu Misiri okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu tebaliraba nsi+ gye nnalayirira Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo,+ kubanga tebangoberedde na mutima gwabwe gwonna, 12 okuggyako Kalebu+ mutabani wa Yefune Omukenizi ne Yoswa+ mutabani wa Nuuni, kubanga bo bagoberedde Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna.’+ 13 Bwe kityo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’ababungeesa mu ddungu okumala emyaka 40,+ okutuusa omulembe ogwo gwonna ogwali gukola ebibi mu maaso ga Yakuwa lwe gwaggwaawo.+ 14 Kaakano muzze mu kifo kya bakitammwe ng’olulyo lw’abakozi b’ebibi abongera okuleetera obusungu bwa Yakuwa okubuubuukira Isirayiri. 15 Bwe munaakyuka ne mulekera awo okumugoberera, naye ajja kuddamu abaleke mu ddungu, era mujja kuleetera abantu bano bonna okuzikirira.”
16 Oluvannyuma ne bamutuukirira ne bamugamba nti: “Ka tuzimbire wano ensolo zaffe ebiyumba eby’amayinja era tuzimbire n’abaana baffe ebibuga. 17 Naye ffe tujja kweyongera okuba abeetegefu okulwana+ era tujja kukulemberamu Abayisirayiri okutuusa lwe tulibatuusa mu kifo kyabwe, ng’abaana baffe bo basigadde mu bibuga ebiriko bbugwe, abantu b’omu nsi gye bataabakolereko kabi. 18 Tetujja kudda mu nnyumba zaffe okutuusa nga buli omu ku Bayisirayiri afunye ekitundu ky’obusika bwe.+ 19 Tetujja kufunira wamu nabo busika ku luuyi luli olwa Yoludaani n’okweyongerayo, kubanga obusika bwaffe tubufunye ku luuyi lwa Yoludaani luno olw’ebuvanjuba.”+
20 Awo Musa n’abagamba nti: “Mukole bwe muti: Mukwate eby’okulwanyisa mu maaso ga Yakuwa mugende mulwane;+ 21 buli omu ku mmwe bw’anaakwata eby’okulwanyisa n’asomoka Yoludaani mu maaso ga Yakuwa ng’agoba abalabe be mu maaso ge,+ 22 okutuusa ensi lw’eneewangulwa mu maaso ga Yakuwa,+ mujja kudda+ era temujja kubaako musango mu maaso ga Yakuwa ne Isirayiri. Awo ensi eno ejja kubeera yammwe mu maaso ga Yakuwa.+ 23 Naye bwe mutaakole bwe mutyo, mujja kuba mwonoonye eri Yakuwa, era mukimanye nti ekibi kyammwe kijja kubagoberera. 24 Kale muzimbire abaana bammwe ebibuga n’ensolo zammwe ebiyumba,+ naye mulina okutuukiriza ekyo kye musuubizza.”
25 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti: “Abaweereza bo bajja kukola nga mukama waffe bw’alagidde. 26 Abaana baffe ne bakazi baffe bajja kusigala eyo mu bibuga by’e Gireyaadi awamu n’ensolo zaffe zonna,+ 27 naye abaweereza bo bajja kusomoka, nga buli musajja yeeteeseteese okulwana mu maaso ga Yakuwa,+ nga mukama waffe bw’agambye.”
28 Awo Musa n’awa Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni n’abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’ebika bya Isirayiri ebiragiro ebibakwatako. 29 Musa n’abagamba nti: “Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni bwe banaasomoka nammwe Yoludaani, nga buli musajja yeeteeseteese okulwana mu maaso ga Yakuwa, era ensi n’ewangulwa mu maaso gammwe, mubawanga ensi y’e Gireyaadi ebeere yaabwe.+ 30 Naye bwe bataakwate bya kulwanyisa okusomoka nammwe, bajja kutuula mu mmwe mu nsi ya Kanani.”
31 Awo abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba nti: “Tujja kukola ekyo Yakuwa ky’agambye abaweereza bo. 32 Tujja kukwata eby’okulwanyisa tusomoke mu maaso ga Yakuwa tugende mu nsi ya Kanani,+ naye omugabo gw’obusika bwaffe gujja kuba ku ludda luno olwa Yoludaani.” 33 Awo Musa n’awa abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni+ n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase+ mutabani wa Yusufu obwakabaka bwa Sikoni+ kabaka w’Abaamoli n’obwakabaka bwa Ogi+ kabaka wa Basani, kwe kugamba, ettaka ly’ebibuga mu bitundu ebyo, n’obubuga bw’omu bitundu ebyetooloddewo.
34 Abaana ba Gaadi ne bazimba* Diboni+ ne Atalosi+ ne Aloweri,+ 35 ne Atulosu-sofani ne Yazeri+ ne Yogubeka,+ 36 ne Besu-nimira+ ne Besu-kalani,+ ebibuga ebyaliko bbugwe, era ne bazimba n’ebiyumba by’ensolo eby’amayinja. 37 N’abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni+ ne Ereyale+ ne Kiriyasayimu,+ 38 ne Nebo+ ne Bbaali-myoni+ (amannya gaabyo gaakyusibwa) ne Sibima; era ebibuga bye baazimba baabituuma amannya amalala.
39 Abaana ba Makiri+ mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi ne bakiwamba ne bagobamu Abaamoli abaakirimu. 40 Bw’atyo Musa n’awa Makiri mutabani wa Manase Gireyaadi, era n’atandika okukibeeramu.+ 41 Yayiri mutabani wa Manase n’agenda n’awamba obubuga obutono obw’omu kitundu ekyo n’abutuuma Kavosu-yayiri.*+ 42 Ate ye Noba n’agenda n’awamba Kenasi n’obubuga obukyetoolodde era n’akituuma erinnya lye Noba.
33 Bwe bati abantu ba Isirayiri bwe baatambula mu bibinja*+ byabwe nga bava mu nsi ya Misiri+ nga bakulemberwa Musa ne Alooni.+ 2 Musa yawandiikanga buli kifo kye baavangamu okudda mu kirala nga batambula, nga Yakuwa bwe yalagira, era bwe bati bwe baatambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala:+ 3 Abayisirayiri baava e Lamusesi+ mu mwezi ogusooka ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo.+ Baavaayo ku lunaku olwaddirira Okuyitako+ nga tebaliimu kutya kwonna* era ng’Abamisiri bonna balaba. 4 Mu kiseera ekyo Abamisiri baali baziika ababereberye bonna Yakuwa be yali asse mu bo;+ era Yakuwa yali asalidde bakatonda baabwe omusango n’ababonereza.+
5 Bwe batyo Abayisirayiri ne bava e Lamusesi ne basiisira e Sukkosi.+ 6 Ne bava e Sukkosi ne basiisira mu Esamu+ ekiri ku nsalo y’eddungu. 7 Ne bava mu Esamu ne baddayo emabega okwolekera Pikakirosi ekiri mu maaso ga Bbaali-zefoni,+ ne basiisira mu maaso ga Migudooli.+ 8 Ne bava e Pikakirosi ne bayita wakati mu nnyanja+ ne bagenda mu ddungu,+ ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu lya Esamu+ ne basiisira e Mala.+
9 Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu. Mu Erimu waaliyo ensulo z’amazzi 12 n’enkindu 70. Ne basiisira eyo.+ 10 Ne bava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emmyufu. 11 Ne bava okumpi n’Ennyanja Emmyufu ne basiisira mu ddungu lya Sini.+ 12 Ne bava mu ddungu lya Sini ne basiisira e Dofuka. 13 Ne bava e Dofuka ne basiisira mu Alusi. 14 Ne bava mu Alusi ne basiisira e Lefidimu.+ Eyo tewaaliyo mazzi abantu ge baali bayinza okunywa. 15 Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu ddungu lya Sinaayi.+
16 Awo ne bava mu ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu-kataava.+ 17 Ne bava e Kiberosu-kataava ne basiisira e Kazerosi.+ 18 Ne bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma. 19 Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni-pereezi. 20 Ne bava e Limoni-pereezi ne basiisira e Libuna. 21 Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa. 22 Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa. 23 Ne bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.
24 Ne bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada. 25 Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi. 26 Ne bava+ e Makerosi ne basiisira e Takasi. 27 Ne bava e Takasi ne basiisira e Teera. 28 Ne bava e Teera ne basiisira e Misuka. 29 Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona. 30 Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi. 31 Ne bava e Moserosi ne basiisira e Bene-yaakani.+ 32 Ne bava e Bene-yaakani ne basiisira e Kolu-kagidugada. 33 Ne bava e Kolu-kagidugada ne basiisira e Yotubasa.+ 34 Ne bava e Yotubasa ne basiisira mu Abulona. 35 Ne bava mu Abulona ne basiisira mu Eziyoni-geberi.+ 36 Ne bava mu Eziyoni-geberi ne basiisira mu ddungu lya Zini,+ kwe kugamba, e Kadesi.
37 Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Kooli,+ ku nsalo y’ensi ya Edomu. 38 Alooni kabona n’ayambuka ku Lusozi Kooli nga Yakuwa bwe yalagira, n’afiira eyo mu mwaka ogw’amakumi ana okuva Abayisirayiri lwe baava mu nsi ya Misiri, mu mwezi ogw’okutaano ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo.+ 39 Alooni yalina emyaka 123 we yafiira ku Lusozi Kooli.
40 Kabaka Omukanani ow’e Aladi+ eyali abeera mu Negebu mu nsi ya Kanani n’awulira nti Abayisirayiri bajja.
41 Oluvannyuma baava ku Lusozi Kooli+ ne basiisira e Zalumona. 42 Ne bava e Zalumona ne basiisira e Punoni. 43 Ne bava e Punoni ne basiisira mu Obosi.+ 44 Ne bava mu Obosi ne basiisira mu Yiye-abalimu ku nsalo ya Mowaabu.+ 45 Ne bava mu Yiyimu ne basiisira e Diboni-gaadi.+ 46 Ne bava e Diboni-gaadi ne basiisira mu Alumonu-dibulasayimu. 47 Ne bava mu Alumonu-dibulasayimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu+ mu maaso ga Nebo.+ 48 Oluvannyuma ne bava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko.+ 49 Ne beeyongera okusiisira okumpi ne Yoludaani okuva e Besu-yesimosi okutuuka mu Aberu-sitimu+ mu ddungu lya Mowaabu.
50 Yakuwa n’ayogera ne Musa mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko, n’amugamba nti: 51 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Mugenda kusomoka Yoludaani muyingire mu nsi ya Kanani.+ 52 Mulina okugoba abantu b’omu nsi eyo bonna mu maaso gammwe era musaanyeewo ebifaananyi byabwe byonna ebyayolebwa mu mayinja,+ n’ebifaananyi byabwe byonna eby’ekyuma,*+ era musaanyeewo n’ebifo byabwe byonna ebigulumivu.+ 53 Mujja kutwala ensi mugibeeremu kubanga nja kugibawa ebeere yammwe.+ 54 Ensi mujja kugigabana nga mukuba kalulu+ okusinziira ku mpya zammwe. Ekibinja ekirimu abantu abangi mujja kukiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ekirimu abatono mujja kukiwa ekitundu kitono okuba obusika.+ Buli omu akalulu we kanaamuteeka we wajja okuba obusika bwe. Mujja kufuna ettaka ery’obusika okusinziira ku bika bya bakitammwe.+
55 “‘Naye bwe mutaagobe bantu ba mu nsi eyo mu maaso gammwe,+ abo be munaalekamu bajja kuba ng’ebintu ebibalagala mu maaso gammwe era ng’amaggwa mu mbiriizi zammwe, era bajja kubalabya ennaku mu nsi gye munaaba mutuddemu.+ 56 Era ekyo kye nnateekateeka okubakola nammwe kye nja okubakola.’”+
34 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Lagira Abayisirayiri nti: ‘Bwe munaatuuka mu nsi ya Kanani,+ eyo ye nsi gye mugenda okufuna ng’obusika, ensi ya Kanani ng’ensalo zaayo bwe ziri.+
3 “‘Ensalo yammwe ey’ebukiikaddyo ejja kuva ku ddungu lya Zini okuliraana Edomu, ate ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo yammwe ey’ebukiikaddyo ejja kuva Ennyanja ey’Omunnyo* gy’ekoma.+ 4 Ensalo yammwe ejja kuweta eyite ebukiikaddyo w’ekkubo eryambuka Akulabbimu,+ yeeyongereyo okutuuka e Zini n’okutuukira ddala ebukiikaddyo wa Kadesi-baneya.+ Okuva awo ejja kugenda etuuke e Kazalu-addali+ yeeyongereyo e Azumoni. 5 Ejja kuwetera Azumoni eyite ku Kiwonvu* ky’e Misiri, era ejja kukoma ku Nnyanja.*+
6 “‘Ensalo yammwe ey’ebugwanjuba ejja kuba Ennyanja Ennene* n’olubalama lwayo. Eyo y’ejja okuba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.+
7 “‘Eno y’ejja okuba ensalo yammwe ey’ebukiikakkono: Mujja kulamba ensalo yammwe okuva ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Lusozi Kooli. 8 Okuva ku Lusozi Kooli mujja kulamba ensalo okutuuka e Lebo-kamasi,*+ era egendere ddala okutuuka e Zedadi.+ 9 Ensalo ejja kweyongerayo e Zifuloni era ejja kukoma Kazalu-enaani.+ Eyo y’ejja okuba ensalo yammwe ey’ebukiikakkono.
10 “‘Era mujja kulamba ensalo yammwe ku luuyi olw’ebuvanjuba okuva e Kazalu-enaani okutuuka e Sefamu. 11 Okuva e Sefamu ensalo ejja kweyongerayo etuuke e Libula ebuvanjuba wa Ayini, era ejja kuserengeta eyite mu busozi obuli ebuvanjuba w’Ennyanja Kinneresi.*+ 12 Ensalo ejja kweyongerayo etuuke ku Yoludaani, era ejja kukoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.+ Eyo y’ejja okuba ensi yammwe+ era ezo ze zijja okuba ensalo zaayo ku njuyi zonna.’”
13 Awo Musa n’alagira Abayisirayiri ng’agamba nti: “Eyo ye nsi gye mujja okugabana nga mukuba akalulu+ nga Yakuwa bw’alagidde, eweebwe ebika omwenda n’ekitundu. 14 Kubanga ekika ky’Abalewubeeni okusinziira ku nnyumba ya bakitaabwe, n’ekika ky’Abagaadi okusinziira ku nnyumba ya bakitaabwe, n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase bimaze okufuna obusika bwabyo.+ 15 Ebika ebibiri n’ekitundu bimaze okufuna obusika bwabyo mu kitundu ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani ekiriraanye Yeriko.”+
16 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 17 “Gano ge mannya g’abasajja abanaabagabanyizaamu ensi ebeere yammwe: Eriyazaali+ kabona ne Yoswa+ mutabani wa Nuuni. 18 Mujja kuggya omwami omu omu mu buli kika bayambe mu kugabanyaamu ensi okuba obusika bwammwe.+ 19 Gano ge mannya g’abasajja: okuva mu kika kya Yuda,+ Kalebu+ mutabani wa Yefune; 20 okuva mu kika ky’abaana ba Simiyoni,+ Semweri mutabani wa Ammikudi; 21 okuva mu kika kya Benyamini,+ Eridaadi mutabani wa Kisuloni; 22 okuva mu kika ky’abaana ba Ddaani,+ omwami Bukki mutabani wa Yoguli; 23 okuva mu baana ba Yusufu,+ ab’ekika ky’abaana ba Manase,+ omwami Kaniyeri mutabani wa Efodi; 24 okuva mu kika ky’abaana ba Efulayimu,+ omwami Kemweri mutabani wa Sifutani; 25 okuva mu kika ky’abaana ba Zebbulooni,+ omwami Erizafani mutabani wa Palunaki; 26 okuva mu kika ky’abaana ba Isakaali,+ omwami Palutiyeri mutabani wa Azani; 27 okuva mu kika ky’abaana ba Aseri,+ omwami Akikudi mutabani wa Seromi; 28 okuva mu kika ky’abaana ba Nafutaali,+ omwami Pedakeri mutabani wa Ammikudi.” 29 Abo Yakuwa be yalagira okugabanyizaamu Abayisirayiri ensi ya Kanani.+
35 Yakuwa era n’ayogera ne Musa mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani+ okuliraana Yeriko, n’amugamba nti: 2 “Gamba Abayisirayiri nti bajja kuwa Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu nga babiggya ku busika bwe banaafuna,+ era bajja kubawa n’amalundiro ageetoolodde ebibuga ebyo.+ 3 Ebibuga bajja kubibeerangamu, ate amalundiro agabyetoolodde gajja kubeeranga ga magana gaabwe n’ebisibo byabwe, n’ebintu byabyo, n’ensolo zaabwe endala zonna. 4 Amalundiro ageetoolodde ebibuga bye munaawa Abaleevi gajja kuba emikono* 1,000 obuwanvu okuva ku kisenge ky’ekibuga ku njuyi zonna. 5 Mujja kupima ebweru w’ekibuga ku luuyi olw’ebuvanjuba emikono 2,000, ne ku luuyi olw’ebukiikaddyo emikono 2,000, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba emikono 2,000, ne ku luuyi olw’ebukiikakkono emikono 2,000, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge gajja okuba amalundiro g’ebibuga byabwe.
6 “Ebibuga bye munaawa Abaleevi bijja kuba ebibuga 6 eby’okuddukiramu;+ mujja kubiwaayo, oyo anaabanga asse omuntu addukire omwo,+ era mubawe n’ebirala 42. 7 Ebibuga byonna bye munaawa Abaleevi bijja kuba ebibuga 48, awamu n’amalundiro gaabyo.+ 8 Ebibuga bye munaawaayo bijja kuva ku butaka bw’Abayisirayiri.+ Abangi mujja kubaggyako bingi, ate abatono mujja kubaggyako bitono.+ Buli kika kijja kuwa Abaleevi ebimu ku bibuga byakyo okusinziira ku busika bwe kinaafuna.”
9 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 10 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Mugenda kusomoka Yoludaani okugenda mu nsi ya Kanani.+ 11 Mujja kulonda ebibuga ebinaababeerera ebyangu okutuukamu, bibeere ebibuga eby’okuddukiramu, oyo anaabanga asse omuntu mu butanwa mw’anaddukiranga.+ 12 Ebibuga ebyo bye munaddukirangamu okuwona oyo awoolera eggwanga,+ oyo anaabanga asse omuntu aleme okuttibwa nga tannawozesebwa mu maaso ga kibiina.+ 13 Ebibuga omukaaga eby’okuddukiramu bye munaawaayo bye munaakozesanga. 14 Mujja kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olwa Yoludaani,+ n’ebirala bisatu mu nsi ya Kanani,+ bibeere ebibuga eby’okuddukiramu. 15 Ebibuga ebyo omukaaga binaddukirwangamu Omuyisirayiri n’omugwira n’omusenze mu bo;+ oyo yenna anaabanga asse omuntu mu butanwa anaddukiranga omwo.+
16 “‘Naye bw’anaabanga amukubisizza ekintu eky’ekyuma n’afa, anaabanga mutemu. Omutemu taalemenga kuttibwa.+ 17 Bw’anaabanga amukubye ejjinja eriyinza okutta omuntu, era n’afa, anaabanga mutemu. Omutemu taalemenga kuttibwa. 18 Bw’anaabanga amukubisizza ekintu eky’omuti ekiyinza okutta omuntu, era n’afa, anaabanga mutemu. Omutemu taalemenga kuttibwa.
19 “‘Oyo awoolera eggwanga y’anattanga omutemu. Ye yennyini y’anaamuttanga ng’amusanze. 20 Era bw’aba nga yamusindika lwa kuba nti yamulinako empalana, oba nga yamukasukira ekintu ng’agenderera okumutuusaako akabi,*+ n’amutta, 21 oba bw’aba nga yamukuba n’omukono gwe olw’okuba yamulinako empalana, n’afa, oyo eyamukuba anattibwanga kubanga mutemu. Awoolera eggwanga y’anattanga omutemu ng’amusanze.
22 “‘Kyokka bw’aba nga yamusindika mu butanwa nga si lwa kuba nti yamulinako empalana, oba ng’aliko kye yamukasukira naye nga teyagenderera kumutuusaako kabi,*+ 23 oba nga yali tamulabye bw’atyo n’amusuulako ejjinja mu butanwa, nga teyali mulabe we era nga teyalina kigendererwa kya kumukolako kabi, omuntu oyo n’afa, 24 ekibiina kinaasalangawo wakati w’oyo eyamukuba n’oyo awoolera eggwanga, nga kigoberera ebiragiro ebyo.+ 25 Ekibiina kinaawonyanga oyo anaabanga asse omuntu mu mukono gw’oyo awoolera eggwanga, ne kimuzzaayo mu kibuga eky’okuddukiramu ky’anaabanga addukiddemu, era alina okubeera omwo okutuusa nga kabona asinga obukulu eyafukibwako amafuta amatukuvu amaze okufa.+
26 “‘Naye oyo anaabanga asse omuntu bw’anaasalanga ensalo y’ekibuga eky’okuddukiramu ky’anaabanga addukiddemu, 27 awoolera eggwanga n’amusanga ebweru w’ensalo y’ekibuga eky’okuddukiramu n’amutta, taabengako musango gwa kuyiwa musaayi. 28 Kubanga oyo eyatta omuntu alina okubeera mu kibuga eky’okuddukiramu okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa. Kabona asinga obukulu bw’anaamalanga okufa, ng’olwo oyo eyatta omuntu addayo mu kibanja kye.+ 29 Gano ge mateeka ge munaagobereranga nga musala emisango mu mirembe gyammwe gyonna, mu bitundu byonna gye munaabeeranga.
30 “‘Buli anattanga omuntu anattibwanga olw’obutemu+ nga waliwo abajulizi abamulumiriza,*+ naye omuntu tattibwenga nga waliwo obujulizi bwa muntu omu yekka. 31 Temukkirizanga kinunulo kiweebwayo ku lw’omutemu agwanira okufa, kubanga alina okuttibwa.+ 32 Temukkirizanga kinunulo kiweebwayo olw’oyo eyaddukira mu kibuga eky’okuddukiramu; temumukkirizanga kuddayo kubeera mu kitundu kye nga kabona asinga obukulu tannafa.
33 “‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu, kubanga omusaayi gwonoona ensi,+ era tewali kiyinza kutangirira musaayi oguba guyiiriddwa mu nsi okuggyako omusaayi gw’oyo aba aguyiye.+ 34 Era temwonoonanga nsi gye mubeeramu, era gye mbeeramu; kubanga nze Yakuwa mbeera mu bantu ba Isirayiri.’”+
36 Awo abakulu b’empya z’abaana ba Gireyaadi mutabani wa Makiri+ mutabani wa Manase okuva mu mpya z’abaana ba Yusufu ne bajja ne boogerera mu maaso ga Musa n’abaami, abakulu b’empya z’Abayisirayiri, 2 ne bagamba nti: “Yakuwa yalagira mukama waffe okugabira Abayisirayiri ensi ng’obusika ng’ekubirwa kalulu;+ era Yakuwa yalagira mukama waffe nti obusika bwa Zerofekaadi muganda waffe abuwe bawala be.+ 3 Bwe banaafumbirwa abasajja ab’omu bika bya Isirayiri ebirala, obusika bw’abakazi abo bujja kuggibwa ku busika bwa bakitaffe bugattibwe ku busika bw’ekika kye banaaba bafumbiddwamu, bwe kityo buggibwe ku mugabo gw’obusika bwaffe. 4 Omwaka gw’Abayisirayiri ogwa Jjubiri+ bwe gunaatuuka, obusika bw’abakazi abo bujja kugattibwa ku busika bw’ekika kye banaaba bafumbiddwamu, bwe kityo obusika bwabwe buggibwe ku busika bw’ekika kya bakitaffe.”
5 Awo Musa n’alagira Abayisirayiri nga Yakuwa bwe yamulagira, n’agamba nti: “Ab’ekika ky’abaana ba Yusufu kye bagamba kituufu. 6 Kino kye kigambo Yakuwa ky’alagidde ku bawala ba Zerofekaadi, ‘Bayinza okufumbirwa yenna gwe baba basiimye. Naye balina kufumbirwa mu luggya lw’ekika kya kitaabwe. 7 Tewabangawo busika bw’Abayisirayiri bukyuka kuva mu kika ekimu okudda mu kirala, kubanga Abayisirayiri balina okukuuma obusika bw’ekika kya bajjajjaabwe. 8 Era buli muwala anaafunanga obusika mu bika bya Isirayiri alina kufumbirwa omu ku b’omu kika kya kitaawe,+ Abayisirayiri basobole okusigaza obusika bwa bakitaabwe. 9 Tewabangawo busika bukyuka kuva mu kika ekimu okudda mu kirala, kubanga ebika bya Isirayiri birina okukuuma obusika bwabyo.’”
10 Bawala ba Zerofekaadi baakolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.+ 11 Makula, Tiruza, Kogula, Mirika, ne Nuuwa, bawala ba Zerofekaadi,+ baafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe. 12 Baafumbirwa abasajja ab’omu mpya za Manase mutabani wa Yusufu, obusika bwabwe busobole okusigala mu kika kya kitaabwe.
13 Bino bye biragiro n’amateeka Yakuwa bye yawa Abayisirayiri ng’ayitira mu Musa, mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko.+
Obut., “eky’abaana ba Isirayiri.”
Obut., “okusinziira ku ggye lyabwe.”
Kwe kugamba, atali Muleevi.
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Oba, “okukuuma; okukola emirimu ku.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “Gino gye mirembe.”
Obut., “emikono gyabwe ne gijjuzibwa.”
Kwe kugamba, omuntu atali wa mu lunyiriri lwa Alooni.
Kwe kugamba, atali Muleevi.
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Oba, “sekeri entukuvu.”
Gera yali yenkana gramu 0.57. Laba Ebyong. B14.
Obut., “ng’akamwa.”
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 25:5.
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 27:3.
Obut., “Banaayatulanga.”
Obut., “kye banaabanga bakoze.”
Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.
Kino kiyinza okuba kitegeeza okufuuka omugumba.
Kirabika kitegeeza ebitundu by’omubiri ebisobozesa omuntu okuzaala.
Kino kiyinza okuba kitegeeza okufuuka omugumba.
Kirabika kitegeeza ebitundu by’omubiri ebisobozesa omuntu okuzaala.
Oba, “Kibeere bwe kityo! Kibeere bwe kityo!”
Kino kiyinza okuba kitegeeza okufuuka omugumba.
Kirabika kitegeeza ebitundu by’omubiri ebisobozesa omuntu okuzaala.
Mu Lwebbulaniya, na·zirʹ; kitegeeza, “Eyeewaddeyo; Ayawuliddwawo.”
Oba, “n’ayonoona omutwe gw’Obunaziri bwe.”
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 29:2.
Oba, “omutwe gw’Obunaziri bwe.”
Obut., “akuyimusize obwenyi bwe.”
Oba, “kiweebwayo.”
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Oba, “okusinziira ku sekeri entukuvu.”
Oba, “akabakuli.”
Obut., “okwogera naye.”
Obut., “kuwuubawuuba,” kwe kugamba, okubazza emabega ne mu maaso.
Obut., “obawuubewuube,” kwe kugamba, obazze emabega ne mu maaso.
Obut., “n’obawuubawuuba,” kwe kugamba, n’obazza emabega ne mu maaso.
Oba, “ababereberye bonna abaggula enda.”
Obut., “n’abawuubawuuba,” kwe kugamba, n’abazza emabega ne mu maaso.
Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”
Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”
Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”
Kwe kugamba, Yesero.
Oba, “okuba amaaso gaffe.”
Litegeeza, “Okwaka,” kwe kugamba, okubuubuuka.
Obut., “obusigo bwa koliyanda.”
Bedola gaba masanda agaggibwa mu miti egimu.
Oba, “omulezi omusajja.”
Oba, “ne batandika okwogera obunnabbi.”
Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
Komeri yali egyaamu lita 220. Laba Ebyong. B14.
Litegeeza, “Ebifo Bye Baaziikamu Abeegomba.”
Oba, “yali mwetoowaze okusinga abantu bonna.”
Obut., “Mu nnyumba yange yonna akiraze nti mwesigwa.”
Obut., “Kamwa ku kamwa.”
Oba, “Yekosuwa,” eritegeeza, “Yakuwa Bwe Bulokozi.”
Obut., “nsava.”
Obut., “nkovvu.”
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Litegeeza, “Ekirimba ky’Ezzabbibu.”
Oba, “bazzukulu ba.”
Obut., “abantu abo mugaati gye tuli.”
Obut., “ng’atta omuntu omu.”
Obut., “nnawanikira omukono gwange.”
Obut., “obwamalaaya.”
Oba, “kye kitegeeza nze okuba omulabe wammwe.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.
Yini yali yenkana lita 3.67. Laba Ebyong. B14.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obugaati buno bwabangamu ekituli.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “kutukajjalako?”
Obut., “ne lyasamya akamwa kaalyo.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Obut., “ne bazikirira mu kibiina.”
Kwe kugamba, atali wa nnyumba ya Alooni.
Kwe kugamba, atali wa nnyumba ya Alooni.
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Oba, “nga sekeri entukuvu bw’eri.”
Gera yali yenkana gramu 0.57. Laba Ebyong. B14.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Kwe kugamba, endagaano ey’olubeerera etakyuka.
Kwe kugamba, amazzi ag’okutukuza.
Kitegeeza, “Okuyomba.”
Obut., “ennaku.”
Obut., “n’omukono ogw’amaanyi.
Kino kisoko ekitegeeza okufa.
Obut., “ajja kukuŋŋaanyizibwa era afiire eyo.”
Litegeeza, “Okuzikiriza.”
Oba, “egy’omuliro.”
Oba, “ogw’omuliro.”
Obut., “kitundu.”
Kirabika, Omugga Fulaati.
Obut., “ndogoyi ye enkazi.”
Obut., “n’aggula akamwa k’endogoyi enkazi.”
Oba, “asobola okwejjusa.”
Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “eddungu; olukoola.”
Obut., “nga kirungi mu maaso ga.”
Oba, “ezzadde lye.”
Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
Obut., “okuva mu mutima gwange.”
Oba, “ku nkomerero y’ennaku.”
Obut., “Kayini.”
Obut., “mu maaso g’enjuba.”
Obut., “yayasamya akamwa kaayo.”
Oba, “okusinziira ku muwendo gw’amannya agaawandiikibwa.”
Kino kisoko ekitegeeza okufa.
Oba, “ku kitiibwa kyo.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”
Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.
Yini yali egyaamu lita 3.67. Laba Ebyong. B14.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obut., “Ku ntandikwa y’emyezi gyammwe.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obut., “ng’omugaati.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Okutwalira awamu, “okwebonyaabonya” kitegeeza okwerumya mu ngeri ez’enjawulo, omuli n’okusiiba.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Kino kisoko ekitegeeza okufa.
Kika kya kyuma ekigonvu ekya kikuusikuusi ekisaanuuka amangu.
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Oba, “ne baddamu okuzimba.”
Litegeeza, “Ebyalo bya Yayiri Ebya Weema.”
Obut., “okusinziira ku ggye lyabwe.”
Obut., “n’omukono oguwanikiddwa.”
Oba, “ebisaanuuse.”
Ennyanja Enfu.
Laba Awanny.
Ennyanja Ennene, Ennyanja Meditereniyani.
Ennyanja Meditereniyani.
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Ennyanja ey’e Genesaleeti, oba, ennyanja ey’e Ggaliraaya.
Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
Obut., “ng’amuteeze”
Obut., “teyamuteega.”
Obut., “emimwa egimulumiriza.”